“Mwagulibwa na Muwendo”
“Mwagulibwa na muwendo. Kale mugulumizenga Katonda.”—1 ABAKKOLINSO 6:20.
1, 2. (a) Okusinziira ku Mateeka ga Musa, abaddu Abaisiraeri baalinanga kuyisibwa batya? (b) Kiki omuddu eyali aky’ayagala okubeera ewa mukama we kye yali asobola okukola?
“OBUDDU bwakkirizibwanga mu biseera eby’edda,” bwe kityo ekitabo ekiyitibwa Holman Illustrated Bible Dictionary bwe kigamba. Ate era kigattako nti: “Misiri, Buyonaani, ne Rooma zaakulaakulana lwa kuba nti zaakozesanga abaddu. Mu kyasa ekyasooka, omuntu omu ku buli bantu basatu mu Italy era n’omuntu omu ku buli bantu bataano mu nsi endala yali muddu.”
2 Wadde nga ne mu Isiraeri ey’edda obuddu bwakkirizibwanga, Amateeka ga Musa gaakuumanga abaddu Abebbulaniya. Ng’ekyokulabirako, Amateeka gaagaananga omuntu okukozesa omuddu Omuisiraeri ebbanga erisukka mu myaka omukaaga. Mu mwaka ogw’omusanvu, omuddu oyo yalinga asobola ‘okuweebwa eddembe n’agenda nga tewali ky’asasudde.’ Kyokka, mu Mateeka ago mwalimu erigamba nti: “Omuddu bw’ayogeranga ddala nti Njagala mukama wange, mukazi wange, n’abaana bange; saagala kugenda n’eddembe: awo mukama we amuleetanga eri Katonda, amuleetanga ku luggi oba ku mufuubeeto; ne mukama we amuwummulanga okutu n’olukato; anaamuweerezanga ennaku zonna.”—Okuva 21:2-6; Eby’Abaleevi 25:42, 43; Ekyamateeka 15:12-18.
3. (a) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bakkiriza buddu bwa ngeri ki? (b) Kiki ekitukubiriza okuweereza Katonda?
3 Etteeka eryali likwata ku kwewaayo kyeyagalire okuweereza ng’omuddu lyali lisonga ku buddu Abakristaayo ab’amazima bwe balimu. Ng’ekyokulabirako, abawandiisi ba Baibuli, Pawulo, Yakobo, Peetero, ne Yuda beeyogerako ng’abaddu ba Katonda ne Kristo. (Tito 1:1; Yakobo 1:1; 2 Peetero 1:1; Yuda 1) Pawulo yajjukiza Abakristaayo Abasessaloniika nti ‘baava mu buddu bw’ebifaananyi, ne bafuuka abaddu ba Katonda omulamu era ow’amazima.’ (1 Abasessaloniika 1:9) Kiki ekyakubiriza Abakristaayo abo okwewaayo kyeyagalire okubeera abaddu ba Katonda? Kiki ekyakubirizanga omuddu Omuisiraeri okusalawo okusigala ewa mukama we? Si kwe kwagala kwe yalina eri mukama we? Obuddu obw’Ekikristaayo nabwo bwesigamye ku kwagala Katonda. Bwe tumanya Katonda ow’amazima era ne tumwagala, kijja kutukubiriza okumuweereza “n’omutima [gwaffe] gwonna era n’emmeeme [yaffe] yonna.” (Ekyamateeka 10:12, 13) Kati olwo, kiki ekizingirwa mu kufuuka abaddu ba Katonda ne Kristo? Era kino kikwata kitya ku bulamu bwaffe?
“Mukolenga Byonna olw’Ekitiibwa kya Katonda”
4. Tufuuka tutya abaddu ba Katonda ne Kristo?
4 Omuddu ye “muntu, omuntu omulala gw’alinako obwannannyini era ng’alina okumugondera mu buli kimu.” Bwe twewaayo ne tubatizibwa, Yakuwa aba atulinako obwannannyini. Omutume Pawulo yagamba nti: “Temuli ku bwammwe kubanga mwagulibwa na muwendo.” (1 Abakkolinso 6:19, 20) Kya lwatu, omuwendo ogwo kye kinunulo kya Yesu Kristo, okuva bwe kiri nti Katonda ky’asinziirako okutukkiriza okuba abaweereza be, ka tube Bakristaayo abaafukibwako amafuta oba abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. (Abaefeso 1:7; 2:13; Okubikkulirwa 5:9) N’olwekyo, okuva lwe tubatizibwa, ‘tufuuka ba Yakuwa.’ (Abaruumi 14:8) Okuva bwe kiri nti twagulibwa n’omusaayi gwa Yesu Kristo ogw’omuwendo, tuli baddu be era tulina okukwata ebiragiro bye.—1 Peetero 1:18, 19.
5. Ng’abaddu ba Yakuwa tuteekwa kukola ki, era kino tuyinza kukikola tutya?
5 Abaddu bateekwa okugondera mukama waabwe. Twewaayo kyeyagalire okuba abaddu ba Mukama waffe era ekyo tukikola olw’okuba tumwagala. Yokaana Ekisooka 5:3 wagamba: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.” N’olwekyo, bwe tuba abawulize eri Katonda, tuba tulaga nti tumwagala. Obuwulize obwo bweyolekera mu buli kye tukola. Pawulo yagamba: ‘Kale oba nga mulya oba nga munywa oba nga mukola ekintu kyonna, mukolenga byonna olw’ekitiibwa kya Katonda.’ (1 Abakkolinso 10:31) Mu buli kyonna kye tukola, ne mu buntu obutono, twagala okulaga nti ‘tuli baddu ba Yakuwa.’—Abaruumi 12:11.
6. Okuba abaddu ba Katonda kikwata kitya ku kusalawo kwe tukola? Waayo ekyokulabirako.
6 Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tulina bye tusalawo, twandikakasizza nti bituukagana n’ebyo Mukama waffe ow’omu ggulu Yakuwa, by’ayagala. (Malaki 1:6) Bwe twolekagana n’okusalawo okw’amaanyi, kiyinza okugezesa obuwulize bwaffe eri Katonda. Tunaagondera okubuulirira kwa Katonda mu kifo ky’ekyo omutima gwaffe ‘omulimba’ era ‘omulwadde’ kye gutugamba? (Yeremiya 17:9) Oluvannyuma lw’ebbanga ttono ng’abatiziddwa, Omukristaayo omu ayitibwa Melisa yatuukirirwa omuvubuka omu ng’amugamba okumuwasa. Omuvubuka oyo yalabika ng’omuntu omulungi, era yali asoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Wadde kyali kityo, omukadde omu yayogerako ne Melisa ku kugondera ekiragiro kya Yakuwa ‘eky’okufumbirwa mu Mukama waffe.’ (1 Abakkolinso 7:39; 2 Abakkolinso 6:14) Melisa agamba: “Tekyannyanguyira kugondera kubuulirira okwo. Naye olw’okuba nnali nneewaddeyo eri Katonda okukola by’ayagala, nnasalawo okugondera ebiragiro bye.” Bw’alowooza ku byaddirira, agamba bw’ati: “Ndi musanyufu nnyo okuba nti nnagoberera okubuulirira okwampeebwa. Waayita ekiseera kitono omuvubuka oyo n’alekera awo okusoma Baibuli. Singa nnali nneeyongedde mu maaso n’omuvubuka oyo, kati nnandibadde nnafumbirwa omusajja atali mukkiriza.”
7, 8. (a) Lwaki twandyewaze okusanyusa abantu? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri y’okuvvuunukamu okutya abantu.
7 Okuva bwe tuli abaddu ba Katonda, tetulina kuba baddu ba bantu. (1 Abakkolinso 7:23) Kyo kituufu nti tewali n’omu ku ffe ayagala kuboolebwa, naye tuteekwa okukijjukira nti Abakristaayo balina emisingi egy’enjawulo ku gy’ensi. Pawulo yabuuza: ‘Nkolerera kusiimibwa bantu?’ Yaddamu nti: ‘Singa mbadde njagala kusanyusa bantu, ssandibadde muddu wa Kristo.’ (Abaggalatiya 1:10) Tetusobola kukola ebyo abantu bye baagala olw’okwagala okubasanyusa. Kati olwo, twandikoze ki singa tupikirizibwa okufaanana abantu b’ensi?
8 Weetegereze ekyokulabirako ky’omuvubuka omu Omukristaayo ow’omu Spain ayitibwa Elena. Bangi ku bayizi banne baali bagaba omusaayi. Naye baali bakimanyi bulungi nti Elena yali tasobola kugaba musaayi wadde okukkiriza okugumuteekamu okuva bwe yali omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Elena bwe yasabibwa okunnyonnyola bayizi banne ebikwata ku nzikiriza ye, yakkiriza. Agamba nti: “Mu kusooka nnawulira nga ntidde. Naye olw’okuba nnategeka bulungi, ebyavaamu byali birungi nnyo. Bayizi bannange baalekera awo okumpisaamu amaaso, era n’omusomesa yaŋŋamba nti asiima omulimu gwe nkola. N’okusinga byonna, nnafuna essanyu olw’okuba nnali ngulumizza erinnya lya Yakuwa era nga nsobodde okunnyonnyola enzikiriza yange eyeesigamiziddwa ku Byawandiikibwa.” (Olubereberye 9:3, 4; Ebikolwa 15:28, 29) Kituufu nti, ng’abaddu ba Katonda ne Kristo, tuli ba njawulo ku balala. Kyokka, abantu abamu bajja kusiima singa tubannyonnyola bulungi enzikiriza zaffe.—1 Peetero 3:15.
9. Kiki kye tuyigira ku malayika eyalabikira omutume Yokaana?
9 Bwe tujjukira nti tuli baddu ba Katonda kijja kutuyamba okuba abeetoowaze. Lumu, omutume Yokaana yawuniikirira nnyo ng’afunye okwolesebwa kwa Yerusaalemi eky’omu ggulu n’atuuka n’okuvuunama ku bigere bya malayika eyakola ng’omwogezi wa Katonda, ng’ayagala okumusinza. Malayika oyo yamugamba: “Tokola bw’otyo: ndi muddu munno era ow’omu baganda bo bannabbi, n’abo abakwata ebigambo eby’ekitabo kino: sinza Katonda.” (Okubikkulirwa 22:8, 9) Nga malayika oyo yateerawo abaddu ba Katonda bonna ekyokulabirako ekirungi! Abakristaayo abamu bayinza okuba n’ebifo eby’obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ennyo mu kibiina. Kyokka, Yesu yagamba: “Buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe: na buli ayagala okuba ow’olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wammwe.” (Matayo 20:26, 27) Olw’okuba tuli bagoberezi ba Yesu, ffenna tuli baddu.
“Ebyatugwanira Okukola Bye Tukoze”
10. Waayo ebyokulabirako okuva mu Byawandiikibwa ebiraga nti abaweereza ba Katonda abeesigwa tekyabanguyiranga kukola Katonda by’ayagala.
10 Bulijjo abantu abatatuukiridde tekibabeerera kyangu okukola Katonda by’ayagala. Nnabbi Musa yalonzalonza Yakuwa bwe yamugamba okugenda e Misiri okununula abaana ba Isiraeri okuva mu buddu. (Okuva 3:10, 11; 4:1, 10) Yona bwe yatumibwa okugenda okulangirira obubaka obw’omusango eri abantu b’e Nineeve, ‘yagolokoka n’addukira e Talusiisi okuva mu maaso ga Mukama.’ (Yona 1:2, 3) Baluki, eyali omuwandiisi wa nnabbi Yeremiya, yeemulugunya nti yali aweddemu amaanyi. (Yeremiya 45:2, 3) Twandikoze ki singa bye twagala biba bikontana n’ebyo Katonda by’ayagala? Olugero lwa Yesu lutuwa eky’okuddamu.
11, 12. (a) Mu bufunze yogera ku lugero lwa Yesu oluli mu Lukka 17:7-10. (b) Kiki kye tuyigira ku lugero lwa Yesu?
11 Yesu yayogera ku muddu eyali asiibye ku ttale ng’alabirira endiga. Omuddu oyo bwe yakomawo awaka nga yenna akooye oluvannyuma lw’okukola olunaku lwonna, mukama we teyamugamba kuwummulako abeeko ky’alya. Wabula, yamugamba: “Jjula emmere ndye, weesibe, ompeereze, mmale okulya n’okunywa; naawe olyoke olye era onywe.” Omuddu yali tasobola kukola ku bibye okuggyako ng’amaze okuweereza mukama we. Yesu yawunzika ng’agamba: “Era nammwe bwe mutyo, bwe mumalanga okukola byonna bye mwalagirwa, mugambenga nti Ffe tuli baddu abatasaana; ebyatugwanira okukola bye tukoze.”—Lukka 17:7-10.
12 Mu kugera olugero luno Yesu yali tategeeza nti Yakuwa tasiima bye tukola mu kumuweereza. Baibuli ekiraga bulungi nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.” (Abaebbulaniya 6:10) N’olwekyo, mu lugero olwo Yesu yali ategeeza nti omuddu tasaanidde kwesanyusa wadde okukulembeza ebibye ku bubwe. Okuva bwe twewaayo eri Katonda ne tusalawo okubeera abaddu be, twakkiriza okukulembeza by’ayagala. N’olwekyo, tulina okukulembeza ebyo Katonda by’ayagala.
13, 14. (a) Ddi lwe tuyinza okwewaliriza okukola ebintu ebimu? (b) Lwaki twandikulembezza Katonda by’ayagala?
13 Okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku n’ebitabo ‘by’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo. (Matayo 24:45) Naddala kiba bwe kityo singa tutera okukaluubirirwa okusoma oba ng’ekitabo kye tusoma kyogera ku “bintu eby’omunda ennyo ebya Katonda.” (1 Abakkolinso 2:10) Naye, tetwandifubye okuwaayo ekiseera okwesomesa? Kiyinza okutwetaagisa okwekubiriza okusoma era ne tuwaayo ebiseera okusoma n’obwegendereza. Singa tetukola bwe tutyo, tunaasobola okuwoomerwa ‘emmere enkalubo ey’abakulu’?—Abaebbulaniya 5:14.
14 Ate kiri kitya ebiseera ebimu lwe tunyukka nga tukooye nnyo? Kiyinza okwetaagisa okwewaliriza okusobola okubaawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo. Oba kiyinza okutubeerera ekizibu okubuulira abantu be tutamanyi. Pawulo naye yakitegeera nti wayinza okubaawo ebiseera lwe tubuulira amawulire amalungi ‘olw’obuwaze.’ (1 Abakkolinso 9:17) Kyokka, tukola ebintu ebyo olw’okuba Yakuwa—Mukama waffe ow’omu ggulu, gwe twagala—y’atugamba okubikola. Naye tekituwa essanyu bwe tufuba ne twesomesa, ne tubaawo mu nkuŋŋaana, era ne twenyigira mu kubuulira?—Zabbuli 1:1, 2; 122:1; 145:10-13.
‘Totunuulira bya Mabega’
15. Yesu yatuteerawo kyakulabirako ki eky’obuwulize eri Katonda?
15 Yesu Kristo yalaga obuwulize obw’ekika ekya waggulu ennyo eri Kitaawe ow’omu ggulu. Yagamba abayigirizwa be: “Saava mu ggulu kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky’ayagala.” (Yokaana 6:38) Bwe yali yeeraliikirira ng’ali mu lusuku olw’e Gesusemane, yasaba bw’ati: “Kitange, ekikompe kino kinveeko, oba kiyinzika: naye si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”—Matayo 26:39.
16, 17. (a) Twanditutte tutya ebintu bye twaleka emabega? (b) Nnyonnyola ensonga lwaki Pawulo yali mutuufu okugamba nti ebiruubirirwa by’ensi byali ‘butaliimu.’
16 Yesu Kristo ayagala tutuukirize obweyamo bwaffe obw’okuba abaddu ba Katonda. Yagamba: “Tewali muntu akwata ekyuma ekirima n’atunula ennyuma asaanira obwakabaka bwa Katonda.” (Lukka 9:62) Okusobola okuba abaddu ba Katonda, tetwanditadde birowoozo byaffe ku bintu bye twaleka emabega. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okwenyumiriza mu mikisa gye tufunye mu kuba abaddu ba Katonda. Bwe yali awandiikira Abafiripi, Pawulo yagamba: “Ebintu byonna nnabirowooza nga kufiirwa olw’obulungi obungi obw’okutegeera Kristo Yesu Mukama wange: ku bw’oyo nnafiirwa ebintu byonna, era mbirowooza okubeera mpitambi [“ebitaliimu,” NW], ndyoke nfune amagoba ye Kristo.”—Abafiripi 3:8.
17 Lowooza ku bintu Pawulo bye yatwala ng’ebitalimu era n’abireka ng’aluubirira okufuna emikisa egiva mu kubeera omuddu wa Katonda. Teyakoma ku kwerekereza bulamu bulungi kyokka, naye era yeefiiriza n’omukisa ogw’okufuuka omukulembeze w’eddiini y’Ekiyudaaya. Singa yasigala mu ddiini y’Ekiyudaaya, yandituuse ku ddaala lya Simyoni, mutabani wa Gamalyeri eyali omuyigiriza wa Pawulo. (Ebikolwa 22:3; Abaggalatiya 1:14) Simyoni yafuuka omukulembeze w’Abafalisaayo, era alina kinene nnyo kye yakola mu keegugungo akaaliwo ng’Abayudaaya bajeemedde Abaruumi mu 66-70 C.E., wadde nga yali takkiriziganya nabo mu bintu ebimu. Yafiira mu keegugungo ako, era kirabika Abayudaaya bannalukalala be baamutta oba amagye g’Abaruumi.
18. Waayo ekyokulabirako ekiraga emiganyulo egiva mu kuluubirira eby’omwoyo.
18 Abajulirwa ba Yakuwa bangi bagoberedde ekyokulabirako kya Pawulo. Jean agamba: “Mu myaka mitono nnyo oluvannyuma lw’okumala emisomo gyange, nnatandika okukola ng’omuwandiisi wa munnamateeka omumanyifu ennyo mu London. Omulimu gwange nnali ngwagala nnyo era nga nfuna ssente nnyingi, naye muli nnali mpulira nti nandikoze ekisingawo mu kuweereza Yakuwa. Ku nkomerero nnalekulira era ne ntandika okuweereza nga payoniya. Ndi musanyufu nnyo okuba nti nnasalawo bwe ntyo kati kumpi emyaka 20 egiyise! Essanyu lye nfunye mu buweereza obw’ekiseera kyonna lisinga eryo lye nnandifunye mu mulimu ogw’obuwandiisi. Tewali kireeta ssanyu ng’okulaba ng’Ekigambo kya Yakuwa kikyusa obulamu bw’omuntu. Okuyamba abantu okukyusa obulamu bwabwe kireeta essanyu ppitirivu. Kye tuwa Yakuwa kitono nnyo bw’okigeraageranya n’ebyo by’atuwa.”
19. Twandimaliridde kukola ki, era lwaki?
19 Embeera zaffe ziyinza okukyuka ekiseera bwe kigenda kiyitawo. Kyokka, ffe tusigala tukyali baweereza ba Katonda. Tukyali baddu ba Yakuwa era atuwa ebbeetu okwesalirawo ku ngeri y’okukozesaamu ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, ebitone byaffe awamu n’ebirala. N’olwekyo, engeri gye tusalawo esobola okwoleka okwagala kwe tulina eri Katonda. Ate era okusalawo kwe tukola kwoleka obanga tuli bamalirivu okwefiiriza. (Matayo 6:33) N’olwekyo, ka tubeere mu mbeera ki, tetwandifubye okulaba nti tuwa Yakuwa ekisingayo obulungi? Pawulo yawandiika: ‘Oba nga mwegomba okubaako kye muwaayo, Katonda akkiriza ekyo kye mulina, so si ekyo kye mutalina.’—2 Abakkolinso 8:12.
“Mulina Ebibala Byammwe”
20, 21. (a) Abaddu ba Katonda bafuna miganyulo ki? (b) Mpeera ki Yakuwa gy’awa abo abafuba okukola kyonna kye basobola mu buweereza bwe?
20 Okuba abaddu ba Katonda tekinyigiriza. Kituyamba okwewala obuddu obutumalako essanyu. Pawulo yawandiika: “[Olw’okuba] mwaweebwa eddembe okuva mu kibi, ne mufuuka abaddu ba Katonda, mulina ebibala byammwe olw’okutuukirizibwa, n’enkomerero [o]bulamu obutaggwaawo.” (Abaruumi 6:22) Bwe tubeera abaddu ba Katonda, tufuna emiganyulo egiva mu kubeera abatuukirivu oba ab’empisa ennungi. Ate era, kijja kutuviiramu okufuna obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso.
21 Yakuwa abaddu be abawa na mikono ebiri. Bwe tukola kyonna kye tusobola mu buweereza bwaffe, ‘atuggulirawo ebituli eby’omu ggulu, n’atufukira omukisa, ne wataba na bbanga we tugussa.’ (Malaki 3:10) Nga kijja kutuleetera essanyu okweyongera okuba abaddu ba Yakuwa emirembe gyonna!
Ojjukira?
• Lwaki tufuuka abaddu ba Katonda?
• Tulaga tutya obuwulize eri Katonda?
• Lwaki twandibadde beetegefu okukulembeza Katonda by’ayagala?
• Lwaki ‘tetwanditunuulidde ebyo bye twaleka emabega?’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 14, 15]
Enteekateeka ey’okwewaayo kyeyagalire okuweereza ng’omuddu yali esonga ku buddu obw’Ekikristaayo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Bwe tubatizibwa tufuuka baddu ba Katonda
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Abakristaayo bakulembeza ebyo Katonda by’ayagala