ESSUULA 93
Omwana w’Omuntu Alirabisibwa
OBWAKABAKA BULI WAKATI MU BO
KIRIBA KITYA YESU BW’ALIRABISIBWA?
Kirabika Yesu akyali mu Samaliya oba mu Ggaliraaya. Abafalisaayo bamubuuza ku kujja kw’Obwakabaka era basuubira nti wajja kubaawo ebivvulu nga buzze. Naye Yesu abagamba nti: “Obwakabaka bwa Katonda tebujja kujja mu ngeri erabika; era abantu tebajja kugamba nti, ‘Laba, buli wano!’ oba nti ‘Laba, buli wali!’ Kubanga Obwakabaka bwa Katonda buli wakati mu mmwe.”—Lukka 17:20, 21.
Abamu bayinza okulowooza nti Yesu ategeeza nti Obwakabaka bufugira mu mitima gy’abaweereza ba Katonda. Naye ekyo si kituufu kubanga Obwakabaka tebusobola kuba mu mitima gy’Abafalisaayo Yesu b’ayogera nabo. Kyokka, buli wakati mu bo kubanga Yesu, eyalondebwa okuba Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, ali wakati mu bo.—Matayo 21:5.
Kirabika Abafalisaayo bwe bamala okugenda, Yesu annyonnyola abayigirizwa be ebisingawo ebikwata ku kujja kw’Obwakabaka bwa Katonda. Ku bikwata ku kiseera eky’okubeerawo kwe ng’afuga nga Kabaka, Yesu asooka kulabula nti: “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu ku nnaku z’Omwana w’omuntu naye temulirulaba.” (Lukka 17:22) Yesu ategeeza nti Omwana w’omuntu ajja kufuga mu Bwakabaka mu kiseera eky’omu maaso. Ng’ekiseera kyo tekinnatuuka, abamu ku bayigirizwa bayinza okwagala ennyo okulaba ng’Omwana w’omuntu atandise okufuga, naye basaanidde okweyongera okulindirira okutuusa ekiseera kya Katonda ekigereke, Omwana w’omuntu kye yandijjiddemu.
Yesu ayongerako: “Abantu balibagamba nti, ‘Laba, wali!’ oba nti, ‘Laba, wano!’ Temugendangayo era temubagobereranga. Ng’ekimyanso bwe kimyansiza ku luuyi olumu olw’eggulu ne kirabikira ku luuyi olulala olw’eggulu, n’Omwana w’omuntu bw’atyo bw’aliba mu lunaku lwe.” (Lukka 17:23, 24) Abayigirizwa ba Yesu baneewala batya okugoberera ba masiya ab’obulimba? Yesu abagamba nti okujja kwa Masiya omutuufu kujja kuba ng’ekimyanso eky’oku ggulu ekirabibwa abantu bangi. Abo abafaayo ku by’omwoyo bajja kulaba bulungi akabonero akalaga okubeerawo kwe ng’afuga mu Bwakabaka bwa Katonda.
Oluvannyuma Yesu ayogera ku ebyo ebyaliwo edda okulaga endowooza abantu gye baliba nayo mu kiseera eky’okubeerawo kwe. Agamba nti: “Nga bwe kyali mu nnaku za Nuuwa, bwe kityo bwe kiriba mu nnaku z’Omwana w’omuntu . . . Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya, nga banywa, nga batunda, nga bagula, nga basimba era nga bazimba. Naye ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu, omuliro n’amayinja agookya byatonnya okuva mu ggulu, ne bibazikiriza bonna. Bwe kityo bwe kiriba ku lunaku Omwana w’omuntu lw’alirabisibwa.”—Lukka 17:26-30.
Yesu tategeeza nti abantu b’omu kiseera kya Nuuwa oba ab’omu kiseera kya Lutti baazikirizibwa olw’okukola ebintu ebya bulijjo gamba ng’okulya, okunywa, okugula, okutunda, okusimba, oba okuzimba. Nuuwa ne Lutti n’ab’omu maka gaabwe baali bakola ebimu ku bintu ebyo. Naye abantu abalala baali beemalidde ku bintu ebyo nga tebafaayo ku ebyo Katonda by’ayagala era nga tebafaayo ku biseera bye baalimu. N’olwekyo, Yesu akubiriza abayigirizwa be okufaayo ku ebyo Katonda by’ayagala n’okubikola. Mu ngeri eyo abalaga engeri gye bajja okuwonawo mu biseera eby’omu maaso nga Yakuwa azikiriza abantu ababi.
Abayigirizwa balina okwewala okuwugulibwa ebintu by’ensi, ‘ebintu bye balese emabega.’ Yesu agamba nti: “Ku lunaku olwo, omuntu aliba waggulu ku nnyumba naye ng’ebintu bye biri mu nnyumba, takkanga okubiggyamu, era n’oyo aliba mu nnimiro taddiranga by’aliba alese emabega. Mujjukire mukazi wa Lutti.” (Lukka 17:31, 32) Yafuuka empagi y’omunnyo.
Yesu yeeyongera okunnyonnyola embeera eribaawo ng’Omwana w’omuntu afuga nga Kabaka, ng’agamba nti: “Mu kiro ekyo, abantu babiri baliba mu kitanda kimu; omu alitwalibwa, naye omulala alirekebwa.” (Lukka 17:34) Ekyo kitegeeza nti abamu bajja kulokolebwa, naye abalala bajja kulekebwawo, oba bajja kufiirwa obulamu bwabwe.
Abayigirizwa bamubuuza nti: “Wa, Mukama waffe?” Yesu abaddamu nti: “Awaba ekifudde, empungu we zikuŋŋaanira.” (Lukka 17:37) Abo abajja okulokolebwa bajja kuba balengerera wala ng’empungu era bajja kujja eri Kristo omutuufu, Omwana w’omuntu. Mu kiseera ekyo eky’omu maaso, abayigirizwa be abalina okukkiriza Yesu ajja kubawa amazima aganaabasobozesa okuwonawo.