ESSUULA 95
Ebikwata ku Kugoba Abakazi ne ku Kwagala Abaana
MATAYO 19:1-15 MAKKO 10:1-16 LUKKA 18:15-17
YESU AWA ENDOWOOZA YA KATONDA KU KUGOBA ABAKAZI
EKIRABO EKY’OBWANNAMUNIGINA
ENSONGA LWAKI KIKULU OKUBA NG’ABAANA ABATO
Yesu n’abayigirizwa be bwe bava e Ggaliraaya, basomoka Omugga Yoludaani ne boolekera Pereya ekiri e bukiikaddyo. Yesu lwe yasembayo okuba mu Pereya yategeeza Abafalisaayo endowooza ya Katonda ku kugoba abakazi. (Lukka 16:18) Kati bakomyawo ensonga eyo nga bagezaako okukema Yesu.
Musa yawandiika nti omusajja yabanga asobola okugoba mukazi we ‘ng’amulabyemu ekitasaana.’ (Ekyamateeka 24:1) Abantu balina endowooza za njawulo ku ebyo ebirina okusinziirwako okugoba omukazi. Abamu bagamba nti n’obusonga obutonotono buyinza okuviirako omukazi okugobwa. N’olwekyo, Abafalisaayo babuuza Yesu nti: “Kikkirizibwa omusajja okugoba mukazi we ku buli nsonga yonna?”—Matayo 19:3.
Mu kifo ky’okubaddamu ng’asinziira ku ndowooza z’abantu, Yesu abategeeza endowooza ya Katonda ku bufumbo. Agamba nti: “Temusomangako nti oyo eyabatonda ku lubereberye yatonda omusajja n’omukazi era n’agamba nti: ‘Omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we era ababiri abo banaabanga omubiri gumu’? Nga tebakyali babiri naye nga bali omubiri gumu. N’olwekyo, Katonda ky’agasse awamu, omuntu yenna takyawulangamu.” (Matayo 19:4-6) Katonda bwe yagatta Adamu ne Kaawa mu bufumbo, teyassaawo nteekateeka yonna ya kubagattulula.
Ng’Abafalisaayo banyiivu, babuuza Yesu nti: “Kati olwo lwaki Musa yagamba nti buli agoba mukazi we alina okumuwa ebbaluwa eraga nti amugobye?” (Matayo 19:7) Yesu abaddamu nti: “Olw’obukakanyavu bw’emitima gyammwe, Musa yabakkiriza okugoba bakyala bammwe, naye si bwe kityo bwe kyali okuva ku lubereberye.” (Matayo 19:8) “Olubereberye” Yesu lw’ayogerako terwaliwo mu kiseera kya Musa, wabula kye kiseera Katonda lwe yatandikawo obufumbo mu lusuku Edeni.
Yesu abategeeza ekintu ekikulu ennyo: “Mbagamba nti, buli agoba mukazi we okuggyako ng’amuvunaana gwa bwenzi [mu Luyonaani, por·neiʹa], n’awasa omulala, aba ayenze.” (Matayo 19:9) N’olwekyo, obwenzi ye nsonga yokka esinziirwako mu Byawandiikibwa okugattululwa mu bufumbo.
Abayigirizwa kibeewuunyisa nnyo era bagamba nti: “Bwe kiba ng’obufumbo bwe butyo bwe buli, kirungi obutawasa.” (Matayo 19:10) N’olwekyo, oyo yenna ayagala okuyingira obufumbo asaanidde okukimanya nti bwa lubeerera!
Bwe kituuka ku bwannamunigina, Yesu annyonnyola nti abamu bazaalibwa nga balaawe, nga tebasobola kuyingira bufumbo. Abalala balaayibwa ne baba nga tebasobola kwenyigira mu bikolwa bya kwegatta. Kyokka, eriyo n’abo abasalawo obutayingira bufumbo. Ekyo bakikola basobole okwemalira ku kuweereza Katonda. Yesu akubiriza abamuwuliriza ng’agamba nti: “Oyo asobola okusigala nga si mufumbo asigale bw’atyo.”—Matayo 19:12.
Ebyo nga biwedde, abantu batandika okuleeta abaana baabwe abato eri Yesu. Kyokka, abayigirizwa baboggolera abantu oboolyawo nga tebaagala batawaanye Yesu. Yesu bw’akiraba asunguwala n’abagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi; temubagaana, kubanga Obwakabaka bwa Katonda bw’abo abalinga abaana abato. Mazima mbagamba nti, omuntu yenna atakkiriza Bwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto, talibuyingiramu.”—Makko 10:14, 15; Lukka 18:15.
Ekyo nga kya kuyiga kirungi nnyo! Okusobola okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda, tusaanidde okuba abangu b’okuyigiriza era abawombeefu ng’abaana abato. Yesu akiraga nti ayagala nnyo abaana abato ng’abasitula era ng’abawa omukisa. Era ayagala nnyo buli ‘akkiriza Obwakabaka bwa Katonda ng’omwana omuto.’—Lukka 18:17.