ESSUULA 96
Yesu Addamu Omufuzi Omugagga
MATAYO 19:16-30 MAKKO 10:17-31 LUKKA 18:18-30
OMUSAJJA OMUGAGGA ABUUZA EBIKWATA KU BULAMU OBUTAGGWAAWO
Yesu akyali mu Pereya naye atambula ng’ayolekedde Yerusaalemi. Omusajja omugagga ajja ng’adduka n’avunnama mu maaso ge. Omusajja ono ‘y’omu ku bafuzi,’ oboolyawo ye mukulu w’ekuŋŋaaniro oba omu ku abo abali ku Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. Abuuza Yesu nti “Omuyigiriza Omulungi, kiki kye nteekwa okukola okusobola okusikira obulamu obutaggwaawo?”—Lukka 8:41; 18:18; 24:20.
Yesu amubuuza nti, “Lwaki ompita omulungi? Teri mulungi, okuggyako Katonda.” (Lukka 18:19) Kirabika omusajja ono akozesa ekigambo “omulungi” ng’ekitiibwa, kubanga bwe kityo bwe kikozesebwa ku balabbi. Wadde nga Yesu muyigiriza mulungi ayamba omusajja oyo okukimanya nti ekitiibwa “Omulungi” kirina kuweebwa Katonda yekka.
Yesu agamba omusajja oyo nti: “Naye bw’oba oyagala okufuna obulamu, kwatanga ebiragiro.” Omusajja kwe kubuuza Yesu nti: “Bye biruwa?” Yesu anokolayo agamu ku Mateeka Ekkumi—tottanga, toyendanga, tobbanga, towaayirizanga, ne ossangamu bazadde bo ekitiibwa. Yesu ayongerako n’ekiragiro ekirala ekikulu ennyo: “Olina okwagala muntu munno nga bwe weeyagala.”—Matayo 19:17-19.
Omusajja addamu nti: “Bino byonna mbaddenga mbikwata; kiki ekirala kye mbulako?” (Matayo 19:20) Kirabika awulira nti alina ky’abulako, oboolyawo ekikolwa eky’obuzira ekinaamusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo. Yesu bw’akiraba nti omusajja oyo mwesimbu, ‘amwagala nnyo.’ (Makko 10:21) Kyokka, waliwo ekintu kimu ekimulemesa.
Omusajja oyo yeemalidde ku by’obugagga, era Yesu amugamba nti: “Ekintu kimu kyokka ky’obuzaayo okukola: Genda otunde ebintu by’olina ogabire abaavu, era oliba n’obugagga mu ggulu; ojje ongoberere.” Omusajja oyo ssente ze alina okuzigabira abaavu, abatasobola kumusasula, afuuke omuyigirizwa wa Yesu. Nga munakuwavu, omusajja oyo ayimuka n’agenda era kirabika Yesu amusaasira. Olw’okuba omusajja oyo ayagala nnyo ‘ebintu ebingi’ oba eby’obugagga by’alina, alemererwa okufuna eky’obugagga ekisingirayo ddala obulungi. (Makko 10:21, 22) Yesu agamba nti: “Nga kijja kuba kizibu nnyo abalina ssente okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda!”—Lukka 18:24.
Abayigirizwa beewuunya nnyo olw’ebigambo ebyo era n’ebirala Yesu by’azzaako. Agamba nti: “Mu butuufu, kyangu eŋŋamira okuyita mu katuli k’empiso, okusinga omugagga okuyingira mu Bwakabaka bwa Katonda.” Abayigirizwa bagamba nti: “Ddala ani ayinza okulokolebwa?” Naye ddala kizibu nnyo abantu okulokolebwa? Yesu abatunuulira era n’abagamba nti: “Ebintu ebitasoboka eri abantu, bisoboka eri Katonda.”—Lukka 18:25-27.
Peetero akiraga nti bo tebaasalawo ng’omusajja oyo omugagga ng’agamba nti: “Laba! Twaleka ebintu byonna ne tukugoberera; kale tulifuna ki?” Yesu ayogera ku miganyulo gye banaafuna olw’okusalawo obulungi, ng’agamba nti: “Mazima mbagamba nti, Omwana w’omuntu bw’alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa ng’ebintu byonna bizzibwa obuggya, mmwe abangoberedde mulituula ku ntebe 12 ne mulamula ebika bya Isirayiri 12.”—Matayo 19:27, 28.
Yesu ayogera ku kiseera eky’omu maaso ebintu lwe binazzibwa obuggya ku nsi bibe nga bwe byali mu lusuku Edeni. Peetero n’abayigirizwa abalala bajja kufuna enkizo ey’okufugira awamu ne Yesu ensi eriba efuuliddwa Olusuku lwa Katonda, enkizo esinga okwefiiriza kwonna kwe bayinza okukola!
Naye emikisa egimu baakugifuna mu kiseera kino. Yesu abagamba nti: “Tewali n’omu eyaleka ennyumba, mukazi we, baganda be, bazadde be, oba abaana olw’Obwakabaka bwa Katonda atalifuna ebisingawo emirundi mingi mu kiseera kino, n’obulamu obutaggwaawo mu nteekateeka y’ebintu egenda okujja.”—Lukka 18:29, 30.
Ekyo kituufu kubanga yonna abayigirizwa be gye bagenda basangayo bakkiriza bannaabwe era ng’oluganda lwabwe olw’eby’omwoyo lusinga n’oluganda olw’omubiri. Kirabika omufuzi oyo omugagga tajja kufuna nkizo eyo era tajja kufuna bulamu mu Bwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu.
Yesu agattako nti: “Naye bangi ab’olubereberye baliba ba luvannyuma, n’ab’oluvannyuma baliba ba lubereberye.” (Matayo 19:30) Ategeeza ki?
Omufuzi oyo omugagga y’omu ku ‘b’olubereberye,’ kubanga y’omu ku bakulembeze b’Abayudaaya. Olw’okuba akwata ebiragiro bya Katonda, alaga nti ayagala okukola ebirungi era bingi ebimusuubirwamu. Kyokka, akulembeza bya bugagga n’ebintu ebirala by’alina. Okwawukana ku mugagga oyo, abantu aba bulijjo bo bakitegeera nti ebyo Yesu by’ayigiriza ge mazima era lye kkubo ery’obulamu. Be babadde “ab’oluvannyuma,” naye kati bagenda kufuuka “ba lubereberye.” Balina essuubi ery’okutuula ku ntebe z’Obwakabaka nga bali wamu ne Yesu nga bafuga ensi eriba efuuliddwa Olusuku lwa Katonda.