Baani Abalizuukizibwa?
“Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, ne bavaamu.”—YOKAANA 5:28, 29.
1. Bigambo ki Musa bye yawulira okuva mu kisaka ekyaka omuliro, era ani eyabijuliza?
EKINTU ekitali kya bulijjo kyaliwo emyaka egisukka mu 3,500 emabega. Musa bwe yali alunda endiga za Yesero okumpi n’Olusozi Kolebu, malayika wa Yakuwa yamulabikira mu kisaka ekyaka omuliro. Ekitabo ky’Okuva kiraga nti Musa ‘y’atunuulira ekisaka nga kyaka omuliro naye nga tekisiriira.’ Oluvannyuma yawulira eddoboozi okuva mu kisaka ekyo nga ligamba: “Nze ndi Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.” (Okuva 3:1-6) Mu kyasa ekyasooka C.E., n’Omwana wa Katonda yajuliza ebigambo ebyo.
2, 3. (a) Kiki ekinaatuuka ku Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo? (b) Bibuuzo ki ebijjawo?
2 Yesu bwe yali ayogera n’Abasaddukaayo abaali batakkiririza mu kuzuukira, yagamba: “Okumanya ng’abafu bazuukira, ne Musa yakiraga ku kisaka bwe yamuyita Mukama Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. Naye si ye Katonda wa bafu, naye wa balamu: kubanga bonna [eri Katonda baba balamu].” (Lukka 20:27, 37, 38) Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yakiraga nti abantu abaali baafa edda nga Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo, Katonda yali akyabajjukira. Okufaananako Yobu, nabo bakyebase mu kufa. (Yobu 14:14) Bajja kuzuukizibwa mu nsi ya Katonda empya.
3 Ate kiri kitya eri obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abazze bafa? Nabo balizuukizibwa? Nga tetunnafuna kya kuddamu, ka tusooke tulabe Ekigambo kya Katonda kye kyogera ku wa abafu gye bagenda.
Abafu Bali Ludda Wa?
4. (a) Abantu bwe bafa bagenda wa? (b) Amagombe kye ki?
4 Baibuli egamba nti abafu “tebaliiko kye bamanyi.” Abantu bwe bafa tebagenda mu muliro okubonyaabonyezebwa wadde mu Limbo, egambibwa okugenda emyoyo gy’abo abaafa nga tebabatiziddwa. Wabula, abafu badda buzzi mu nfuufu. N’olw’ensonga eyo, Ekigambo kya Katonda kikubiriza abakyali abalamu: “Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n’amaanyi go; kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.” (Omubuulizi 9:5, 10; Olubereberye 3:19) Amadiini mangi gayigiriza nti abafu bakyali balamu, naye Ekigambo kya Katonda kiraga nti bali magombe. Amagombe ye ntaana.
5, 6. Yakobo bwe yafa yagenda wa, era baani be yeegattako?
5 Mu Baibuli, ekigambo “amagombe” kisooka kulabikira mu Olubereberye 37:35. Ng’alowooza nti Yusufu, mutabani we gwe yali ayagala ennyo yali afudde, Yakobo yagaana okubudaabudibwa era n’agamba: “Ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba.” Olw’okuba yali amanyi nti mutabani we afudde, Yakobo naye yayagala afe agende emagombe. Oluvannyuma lw’ekiseera, batabani be mwenda baayagala okutwala Benyamini, e Misiri, basobole okufuna emmere baleme okufa enjala. Kyokka, Yakobo yagaana era n’agamba: “Omwana wange taliserengeta nammwe; kubanga muganda we yafa, naye asigaddewo yekka: akabi bwe kalimubaako mu kkubo lye muliyitamu, muliserengesa envi zange mu magombe olw’okunakuwala.” (Olubereberye 42:36, 38) Ebyawandiikibwa ebyo byombi biraga nti omuntu bw’afa agenda magombe, so tagenda wantu walala wonna.
6 Ekitabo ky’Olubereberye kitutegeeza nti Yusufu ye yali akulira eby’okugaba emmere mu Misiri. Bwe kityo, Yakobo yasobola okugendayo n’amusisinkana. Yakobo yasengukira e Misiri era n’abeera eyo okutuusa lwe yafa ng’aweza emyaka 147 era ng’akaddiye nnyo. Nga bwe yali asabye nga tannafa, batabani be baatwala amagumba ge ne bagaziika mu mpuku ya Makupeera, mu nsi y’e Kanani. (Olubereberye 47:28; 49:29-31; 50:12, 13) Bwe kityo, Yakobo yeegatta ku kitaawe Isaaka ne jjajjaawe Ibulayimu.
‘Baatwalibwa eri Abantu Baabwe’
7, 8. (a) Ibulayimu bwe yafa yalaga wa? Nnyonnyola. (b) Kiki ekiraga nti n’abalala bwe baafa baagenda magombe?
7 Emabegako, Yakuwa bwe yakola endagaano ne Ibulayimu n’amusuubiza okwaza ezzadde lye, yamubuulira ekyandimutuuseeko. Yamugamba: “Naye ggwe, oligenda awali bajjajja bo n’emirembe; oliziikibwa bw’olimala okuwangaala obulungi.” (Olubereberye 15:15) Era ekyo kyennyini kye kyamutuukako. Olubereberye 25:8 lugamba nti: “Ibulayimu n’ata omukka n’afa ng’amaze okuwangaala obulungi, nga mukadde emyaka gye nga gituukiridde: n’atwalibwa eri abantu be.” Abantu be aboogerwako wano be baani? Olubereberye 11:10-26 luwa olukalala lwa bajjajja ba Ibulayimu okuviira ddala ku Nuuwa mutabani wa Seemu. N’olwekyo, Ibulayimu yatwalibwa eri bajjajja be abo abaali beebaka edda emagombe.
8 Ebigambo ‘okutwalibwa eri abantu be’ birabika emirundi egiwerako mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. N’olwekyo, tetuba bakyamu okugamba nti mutabani wa Ibulayimu Isimaeri ne muganda wa Musa, Alooni, bwe baafa baagenda magombe nga balindirira okuzuukira. (Olubereberye 25:17; Okubala 20:23-29) Ate era, wadde nga tewali yamanya ntaana ye we yali, ne Musa bwe yafa yagenda magombe. (Okubala 27:13; Ekyamateeka 34:5, 6) Mu ngeri y’emu, ne Yoswa eyaddira Musa mu bigere mu kukulembera abaana ba Isiraeri, era n’abantu bonna ab’omu kiseera kye, nabo bwe baafa baagenda magombe.—Ekyabalamuzi 2:8-10.
9. Abo abali emagombe balindirira ki?
9 Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, Dawudi yafuuka kabaka w’ebika 12 ebya Isiraeri. Bwe yafa, ‘yeebaka wamu ne bajjajja be.’ (1 Bassekabaka 2:10) Naye yagenda magombe? Ku lunaku lwa Pentekoote 33 C.E., omutume Peetero yayogera ku kufa kwa Dawudi era n’ajuliza Zabbuli 16:10 awagamba: “Tolireka mmeeme yange mu magombe.” Oluvannyuma lw’okulaga nti Dawudi yali akyali magombe, Peetero yalaga nti zabbuli eyo yali ekwata ku Yesu era n’akiraga nti Dawudi ‘yamanya ebiribaawo n’ayogera ku kuzuukira kwa Kristo ng’agamba nti: Teyalekebwa Magombe era n’omubiri gwe tegwavunda. Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, era ffenna ffe bajulirwa.’ (Ebikolwa 2:29-32) Weetegereze nti Peetero yalaga nti abafu bali “magombe” nga balindirira okuzuukira.
Emagombe Eriyo Abatali Batuukirivu?
10, 11. Lwaki tuyinza okugamba nti abantu abamu abatali batuukirivu bagenda magombe nga bafudde?
10 Oluvannyuma lwa Musa okuggya Abaisiraeri e Misiri, beewaggula nga bali mu ddungu. Musa yagamba abantu okweyawula ku Koola, Dasani, ne Abiraamu abaatandikawo obwewagguzi obwo. Baali bagenda kuzikirizibwa. Musa yannyonnyola: “Abantu bano bwe balifa ng’abantu bonna bwe baffa bulijjo, oba bwe balijjirwa ng’abantu bonna bwe bajjirwa; kale Mukama nga teyantuma. Naye Mukama bw’anaakola ekigambo ekiggya, ettaka ne lyasama akamwa kaalyo, ne libamira, wamu n’ebyaabwe byonna, ne bakka nga balamu mu bunnya [oba, emagombe]; kale munaategeera ng’abantu bano bannyoomye Mukama.” (Okubala 16:29, 30) N’olwekyo, ka kibe nti ettaka lye lyayasama ne libamira oba ng’omuliro gwe gwabookya nga Koola ne banne Abaleevi 250 abeewaggula, bonna baagenda magombe.—Okubala 26:10.
11 Simeeyi, eyakolimira Kabaka Dawudi, yabonerezebwa Sulemaani eyadda mu bigere Dawudi. Dawudi yali alagidde Sulemaani nti: “Tomuyitanga ataaliko musango, kubanga oli musajja wa magezi; era olimanya ebikugwanira okumukola, n’omutwe gwe oguliko envi oligussa emagombe n’omusaayi.” Sulemaani yalagira Benaya okutta Simeeyi. (1 Bassekabaka 2:8, 9, 44-46) Omuntu omulala Benaya gwe yatta yali Yowaabu eyali omukulu w’eggye lya Isiraeri. Mu bukadde bwe ‘teyakkirizibwa kukka magombe mu mirembe.’ (1 Bassekabaka 2:5, 6, 28-34) Ebyatuuka ku bantu abo bombi biraga obutuufu bw’ebigambo by’oluyimba lwa Dawudi: “Ababi balidda mu magombe. [N’amawanga] gonna ageerabira Katonda.”—Zabbuli 9:17.
12. Akisoferi ye yali ani, era bwe yafa yagenda wa?
12 Akisoferi ye yawanga Dawudi amagezi. Amagezi ge yawanga gaatwalibwa ng’agava eri Yakuwa yennyini. (2 Samwiri 16:23) Eky’ennaku, Akisoferi eyali omwesigwa yeekobaana ne Abusaalomu ne baggya Dawudi ku nnamulondo. Kyandiba nga Dawudi yali ayogera ku Akisoferi eyamulyamu olukwe bwe yagamba: “Omulabe si ye yanvuma; nandiyinzizza okugumiikiriza: so si oyo eyankyawa eyanneegulumirizaako; nandyekwese, mu maaso ge.” Dawudi yeeyongera n’agamba nti: “Okufa kubatuukeko nga tebalowooza, bakke mu bunnya [oba, emagombe] nga bakyali balamu: kubanga obubi buli mu nnyumba yaabwe, mu bo wakati.” (Zabbuli 55:12-15) Akisoferi ne banne bwe baafa bonna baagenda magombe.
Baani Abali mu Ggeyeena?
13. Lwaki Yuda ayitibwa “omwana w’okuzikirira”?
13 Geraageranya ebyo ebyatuuka ku Dawudi n’ebyo ebyatuuka ku Yesu, asinga ku Dawudi. Omu ku batume ba Kristo 12, Yuda Isukalyoti, naye yakola ekintu kye kimu nga Akisoferi. Kyokka, ekyo Yuda kye yakola kyali kibi nnyo n’okusinga ekya Akisoferi. Ekibi kino yakikola Mwana wa Katonda. Mu kusaba kwe ng’akomekereza obuweereza bwe obw’oku nsi, Omwana wa Katonda yayogera bw’ati ku bagoberezi be: “Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo: era ne mbazibira, tekubulanga muntu ku bo, wabula omwana w’okubula [“w’okuzikirira,” NW]; ebyawandiikibwa bituukirire.” (Yokaana 17:12) Mu kugamba nti Yuda yali ‘mwana wa kuzikirira,’ Yesu yali alaga nti Yuda bwe yandifudde teyandizuukiziddwa. Bwe yafa, Katonda yamuggya mu birowoozo bye. N’olwekyo, Yuda teyagenda magombe, wabula yagenda mu Ggeyeena. Kati olwo, Ggeyeena kye ki?
14. Ggeyeena kikiikirira ki?
14 Yesu yavumirira abakulembeze b’amaddiini ab’omu kiseera kye ‘olw’okufuula buli muyigirizwa waabwe omwana wa Ggeyeena.’ (Matayo 23:15) Mu kiseera kya Yesu, abantu baali bamanyi bulungi Ekiwonvu kya Kinomu, ekifo gye baasuulanga ebisasiro n’emirambo gy’abamenyi b’amateeka abaali tebagwanira kuziikibwa. Emabegako, mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi Yesu yali ayogedde ku Ggeyeena. (Matayo 5:29, 30) N’olwekyo, abaali bamuwuliriza baategeera bulungi kye yali ategeeza. Ggeyeena kyali kikiikirira okuzikirira ddala nga tewali na ssuubi lya kuzuukira. Ng’ogyeko Yuda Isukalyoti eyaliwo mu kiseera kya Yesu, waliwo n’abalala abaagenda mu Ggeyeena nga bafudde?
15, 16. Baani abaagenda mu Ggeyeena, era lwaki?
15 Abantu abaasooka, Adamu ne Kaawa, baatondebwa nga batuukiridde. Baayonoona mu bugenderevu. Baali basobola okulondawo obulamu obutaggwaawo oba okufa. Naye baajeemera Katonda ne badda ku ludda lwa Setaani. Bwe baafa tebaaganyulwa mu kinunulo kya Kristo. Wabula, baagenda mu Ggeyeena.
16 Mutabani wa Adamu omubereberye, Kayini, yatta muganda we Abbeeri, era okuva ku olwo n’afuuka momboze. Omutume Yokaana yayita Kayini “ow’omubi.” (1 Yokaana 3:12) N’olwekyo, tetuba bakyamu okugamba nti Kayini bwe yafa yagenda mu Ggeyeena nga bazadde be. (Matayo 23:33, 35) Ku luuyi olulala, Abbeeri omutuukirivu yagenda mu kifo kya njawulo. Pawulo yagamba: “Olw’okukkiriza [Abbeeri] yawa Katonda ssaddaaka esinga obulungi okukira eya Kayini, eyamutegeezesa okuba n’obutuukirivu, Katonda bwe yategeereza ku birabo bye: era [olw’okukkiriza okwo] newakubadde nga yafa akyayogera.” (Abaebbulaniya 11:4) Abbeeri ali magombe ng’alindirira okuzuukira.
Okuzuukira “okw’Olubereberye” n’Okwo “Okusinga Obulungi”
17. (a) Mu kiseera kino “eky’enkomerero,” baani abagenda emagombe? (b) Kiki ekinaatuuka ku abo abali emagombe n’abo abali mu Ggeyeena?
17 Bangi abasoma ekitundu kino bayinza okwebuuza ekituuka ku abo abafa ‘mu kiseera kino eky’enkomerero.’ (Danyeri 8:19) Essuula 6 ey’ekitabo ky’Okubikkulirwa eyogera ku beebagazi b’embalaasi bana mu kiseera eky’enkomerero. Ku beebagazi abo, asembayo ayitibwa Kufa, era ng’agobererwa Magombe. N’olwekyo, bangi ku abo abafa olw’ebyo ebireetebwa abeebagazi b’embalaasi bagenda magombe, nga balindirira okuzuukira babeere mu nsi ya Katonda empya. (Okubikkulirwa 6:8) Kati olwo, kiki ekinaatuuka ku abo abali emagombe n’abo abali mu Ggeyeena? Abali emagombe bajja kuzuukizibwa, ate abo abali mu Ggeyeena tebajja kuzuukizibwa.
18. Abo abazuukizibwa mu “kuzuukira okw’olubereberye” balina ssuubi ki?
18 Omutume Yokaana yawandiika: “Aweereddwa omukisa, era ye mutukuvu alina omugabo mu kuzuukira okw’olubereberye: okufa okw’okubiri tekulina buyinza ku bo, naye banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye emyaka lukumi.” Abo abanaafugira awamu ne Kristo be bazuukizibwa mu “kuzuukira okw’olubereberye.” Kati olwo, abantu abalala bo balina ssuubi ki?—Okubikkulirwa 20:6.
19. Abantu abamu baganyulwa batya mu “kuzuukira okusinga obulungi”?
19 Okuviira ddala mu kiseera ky’abaweereza ba Katonda Eriya ne Erisa, abantu baazuukizibwanga mu ngeri ey’ekyamagero. Pawulo yagamba: “Abakazi ne baweebwa abafu baabwe mu kuzuukira: n’abalala ne bayigganyizibwa, nga tebaganya kununulibwa, balyoke baweebwa okuzuukira okusinga obulungi.” Mazima ddala, abantu abo abeesigwa baali balindirira okuzuukira okwandibasobozesezza okufuna obulamu obutaggwaawo so si okuzuukira ne babeerawo emyaka mitono ne bafa. Mu butuufu, okwo kujja kuba “okuzuukira okusinga obulungi.”—Abaebbulaniya 11:35.
20. Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku ki?
20 Singa tufa nga tuli beesigwa nga Yakuwa tannazikiriza mulembe guno omubi, tuba n’essuubi ery’okufuna “okuzuukira okusinga obulungi,” mu ngeri nti, tuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Yesu yasuubiza: “Temwewuunya ekyo, kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu.” (Yokaana 5:28, 29) Ekitundu kyaffe ekiddako kijja kwogera ku kigendererwa ky’okuzuukira. Kijja kutulaga engeri essuubi lino gye lituyambamu okukuuma obwesigwa n’okuba n’omwoyo ogw’okwefiiriza.
Ojjukira?
• Lwaki Yakuwa ayogerwako nga Katonda “wa balamu”?
• Abo abali emagombe bali mu mbeera ki?
• Kiki ekituuka ku abo abali mu Ggeyeena?
• Abantu abamu baganyulwa batya mu “kuzuukira okusinga obulungi”?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]
Okufaananako Ibulayimu, abo abagenda emagombe bajja kuzuukizibwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 23]
Lwaki Adamu ne Kaawa, Kayini ne Yuda Isukalyoti baagenda mu Ggeyeena?