‘Omwana Ayagala Okumanyisa Abantu Ebikwata ku Kitaawe’
“Tewali amanyi bulungi Kitaawe wabula Omwana, na buli muntu Omwana gw’ayagala okumanyisa Kitaawe.”—LUK. 10:22.
WANDIZZEEMU OTYA?
Lwaki Yesu yali asobola bulungi okumanyisa abalala ebikwata ku Kitaawe okusinga omuntu omulala yenna?
Yesu yamanyisa atya abalala ebikwata ku Kitaawe?
Oyinza otya okuyamba abantu abalala okumanya ebikwata ku Yakuwa?
1, 2. Kibuuzo ki abantu bangi kye batasobola kuddamu, era lwaki?
‘KATONDA y’ani?’ Ekibuuzo ekyo abantu bangi tebasobola kukiddamu. Ng’ekyokulabirako, wadde ng’abantu bangi abeeyita Abakristaayo bakkiriza nti Katonda ali mu busatu, bangi ku bo bagamba nti enjigiriza eyo tetegeerekeka. Omukulembeze w’eddiini omu yagamba nti tewali muntu n’omu asobola kunnyonnyola bulungi njigiriza egamba nti Katonda ali mu busatu. Ate waliwo n’abantu abagamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa era abalowooza nti Katonda taliiyo. Bagamba nti obutonde bwonna bwajjawo mu butanwa. Naye munnasayansi Charles Darwin, eyali akkiririza ennyo mu njigiriza eyo, teyagamba nti Katonda taliiyo, wabula yagamba nti abantu tebasobola kutegeerera ddala Katonda.
2 Abantu bangi bagezezzaako okunoonya eby’okuddamu mu bibuuzo ebikwata ku Katonda. Kyokka bangi bwe babulwa eby’okuddamu ebimatiza, basalawo okubivaako. Mu butuufu, Sitaani “azibye amaaso” g’abantu abatalina kukkiriza. (2 Kol. 4:4) N’olwekyo tekyewuunyisa nti abantu bangi babuzaabuziddwa era tebamanyi mazima gakwata ku Kitaffe, Omutonzi w’ebintu byonna.—Is. 45:18.
3. (a) Ani atuyambye okumanya amazima agakwata ku Katonda? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
3 Kikulu nnyo okutegeera amazima agakwata ku Katonda. Lwaki? Kubanga abo bokka abakoowoola “erinnya lya Yakuwa” be bajja okulokolebwa. (Bar. 10:13) Bwe tuba ab’okukoowoola erinnya lya Yakuwa tuba tulina okutegeera obulungi ebimukwatako. Yesu yayigiriza abayigirizwa be amazima agakwata ku Katonda. Yabamanyisa ebikwata ku Kitaawe. (Soma Lukka 10:22.) Lwaki Yesu yali asobola bulungi okumanyisa abalala ebikwata ku Kitaawe okusinga omuntu omulala yenna? Ekyo Yesu yakikola atya? Era tuyinza tutya okumukoppa? Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu kitundu kino.
YESU KRISTO YALI ASOBOLA BULUNGI OKUMANYISA ABALALA EBIKWATA KU KITAAWE
4, 5. Lwaki Yesu yali asobola bulungi okumanyisa abantu ebikwata ku Kitaawe okusinga omuntu omulala yenna?
4 Yesu yali asobola bulungi okumanyisa abantu ebikwata ku Kitaawe okusinga omuntu omulala yenna. Lwaki? Kubanga Katonda bwe yali tannaba kutonda kitonde kirala kyonna, Yesu yaliyo mu ggulu ng’ekitonde eky’omwoyo. Ye “Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka.” (Yok. 1:14; 3:18) Yesu yamala ekiseera kiwanvu ng’ali wamu ne Kitaawe ng’ebintu ebirala byonna tebinnatondebwa. Okumala emyaka butabalika, Katonda ateekwa okuba nga yanyumyanga ne Yesu era enkolagana yaabwe ne yeeyongera okunywera. (Yok. 5:20; 14:31) Nga Yesu ateekwa okuba nga yayiga ebintu bingi ebikwata ku Kitaawe awamu n’engeri ze!—Soma Abakkolosaayi 1:15-17.
5 Yakuwa yalonda Yesu okuba omwogezi we. Eyo ye nsonga lwaki Yesu ayitibwa “Kigambo kya Katonda.” (Kub. 19:13) N’olwekyo, Yesu yali asobola bulungi okumanyisa abalala ebikwata ku Kitaawe. Omutume Yokaana yagamba nti Yesu, “Kigambo,” “ali mu kifuba kya Kitaawe.” (Yok. 1:1, 18) Mu kwogera ebigambo ebyo, Yokaana ayinza okuba nga yali alowooza ku kintu ekyabangawo mu kiseera kye ng’abantu bali ku kijjulo. Omugenyi omu yatuulanga kumpi n’omugenyi omulala era ng’omutwe gwe guli kumpi n’ekifuba ky’oyo eyabanga amutudde emabega. Ekyo kyakifuulanga kyangu eri abagenyi abo okunyumya. Bwe kityo, Omwana okuba “mu kifuba” kya Kitaawe kiraga nti yanyumyanga nnyo ne Kitaawe.
6, 7. Enkolagana eyali wakati wa Katonda n’Omwana we yeeyongera etya okunywera?
6 Katonda ‘yasanyukiranga’ Omwana we bulijjo. (Soma Engero 8:22, 23, 30, 31.) Enkolagana eyali wakati wa Katonda n’Omwana we yeeyongeranga okunywera buli lunaku. Baakoleranga wamu era Omwana yeeyongera okukoppa engeri za Kitaawe. Ebitonde ebirala ebitegeera bwe byatondebwa, Omwana yalaba engeri Yakuwa gye yali akolaganamu na buli kimu ku bitonde ebyo era ekyo kyamuleetera okwongera okwagala Kitaawe n’okumussaamu ekitiibwa.
7 Sitaani bwe yasalawo okuwakanya obufuzi bwa Yakuwa, ekyo kyawa Yesu akakisa okulaba engeri Yakuwa gye yandyoleseemu okwagala, obwenkanya, amagezi, n’amaanyi mu mbeera eyo eyali enzibu. Ekyo kyayamba Yesu okwetegekera embeera enzibu ze yandyolekaganye nazo mu buweereza bwe ku nsi.—Yok. 5:19.
8. Ebyo bye tusoma ku Yesu bituyamba bitya okutegeera engeri za Kitaawe?
8 Olw’okuba yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, Yesu yali asobola bulungi okunnyonnyola ebikwata ku Kitaawe okusinga omuntu omulala yenna. Engeri esingayo obulungi gye tusobola okuyiga ebikwata ku Katonda kwe kusoma ku ebyo Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka bye yakola ne bye yayigiriza. Ng’ekyokulabirako, twandisobodde okutegeera obulungi amakulu g’ekigambo “okwagala” singa twakoma ku kukisomako busomi mu nkuluze? Nedda. Naye bwe tusoma era ne tufumiitiriza ku ebyo abawandiisi b’Enjiri bye baawandiika ku buweereza bwa Yesu, tulaba engeri gye yafaangayo ku balala ekyo ne kituyamba okutegeera obulungi amakulu g’ebigambo “Katonda kwagala.” (1 Yok. 4:8, 16) Ate era Yesu bwe yali ku nsi, yayoleka n’engeri za Kitaawe endala nnyingi.
ENGERI YESU GYE YAMANYISAAMU ABALALA EBIKWATA KU KITAAWE
9. (a) Yesu yayamba atya abayigirizwa be okumanya ebikwata ku Katonda? (b) Kyakulabirako ki Yesu kye yawa okuyamba abayigirizwa be okumanya ebikwata ku Kitaawe.
9 Yesu yayamba atya abayigirizwa be okumanya ebikwata ku Katonda? Ekyo yakikola mu ngeri bbiri: okuyitira mu bye yayigiriza ne mu ngeri gye yeeyisaamu. Kati ka tusooke twetegereze ebyo Yesu bye yayigiriza. Ebyo Yesu bye yayigiriza abagoberezi be bituyamba okutegeera endowooza, enneewulira, n’engeri za Kitaawe. Ng’ekyokulabirako, Yesu yageraageranya Kitaawe ku muntu aba n’endiga, naye emu ku zo n’ebula. Bw’azuula endiga eyo, “agisanyukira nnyo okusinga ekyenda mu omwenda ezitabuze.” Lwaki Yesu yakozesa ekyokulabirako ekyo? Yagamba nti: “Kitange ali mu ggulu tayagala wadde omu ku bato bano azikirire.” (Mat. 18:12-14) Ekyokulabirako ekyo kituyigiriza ki ku Yakuwa? Ebiseera ebimu oyinza okulowooza nti Yakuwa takufaako era ng’owulira ng’atalina mugaso. Naye kijjukire nti Kitaffe ow’omu ggulu akufaako era akutwala ng’oli wa muwendo.
10. Yesu yayamba atya abayigirizwa be okumanya ebikwata ku Kitaawe okuyitira mu ngeri gye yeeyisaamu?
10 Engeri ey’okubiri Yesu gye yayambamu abayigirizwa be okumanya ebikwata ku Kitaawe ye ngeri gye yeeyisaamu. Omutume Firipo bwe yagamba Yesu nti: “Tulage Kitaawo,” Yesu yamuddamu nti: “Alabye nze aba alabye ne Kitange.” (Yok. 14:8, 9) Ka tulabeyo ebyokulabirako ebiraga engeri Yesu gye yayolekamu engeri za Kitaawe. Omugenge omu bwe yasaba Yesu okumuwonya, Yesu yakwata ku ‘mugenge’ oyo era n’amugamba nti: “Njagala. Longooka.” Bwe yamala okuwonyezebwa, omugenge oyo yakiraba nti Yakuwa yali akozesezza Yesu okumuwonya. (Luk. 5:12, 13) Ate era, Lazaalo bwe yafa, abayigirizwa ba Yesu bateekwa okuba nga baakiraba nti Yakuwa wa kisa bwe baalaba Yesu ‘ng’asinda mu nda ye, ng’anakuwadde nnyo, era ng’akaaba.’ Wadde nga Yesu yali amanyi nti yali agenda kuzuukiza Lazaalo, yawulira ennaku ab’eŋŋanda za Lazaalo ne mikwano gye gye baali bawulira. (Yok. 11:32-35, 40-43) Naawe oyinza okuba ng’olina ebintu ebirala by’omanyi ebyogerwako mu Bayibuli Yesu bye yakola ebiraga nti Kitaawe musaasizi.
11. (a) Yesu okugoba abantu abaali boonoona yeekaalu, kituyigiriza ki ku Yakuwa? (b) Lwaki ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi?
11 Ate kiki kye tuyigira ku ekyo ekyaliwo Yesu bwe yagoba abantu ababi mu yeekaalu? Lowooza ku ekyo ekyaliwo: Yesu yakwata emiguwa n’agikolamu embooko, n’agoba mu yeekaalu abo bonna abaali batunda ente n’endiga. Yayiwa ssente z’abo abaali bawaanyisa ssente era n’avuunika emmeeza zaabwe. (Yok. 2:13-17) Ekyo Yesu kye yakola kyaleetera abayigirizwa be okujjukira ebigambo bino eby’obunnabbi Kabaka Dawudi bye yayogera: “Obuggya obw’ennyumba yo bundidde.” (Zab. 69:9) Ekyo Yesu kye yakola kyalaga nti yali ayagala nnyo okusinza okw’amazima. Bw’osoma ku ebyo ebyaliwo, olina engeri ya Yakuwa yonna gy’olaba Yesu gye yayoleka? Ekyo Yesu kye yakola kiraga nti Katonda alina amaanyi okumalawo ebikolwa ebibi ku nsi era nti ayagala nnyo okubiggyawo. Engeri Yesu gye yeeyisaamu eraga nti Yakuwa tayagalira ddala bikolwa bibi ebicaase ennyo mu nsi leero. Ng’ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi naddala bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya!
12, 13. Engeri Yesu gye yayisaamu abayigirizwa be etuyigiriza ki ku Yakuwa?
12 Yesu era yayoleka engeri za Kitaawe mu ngeri gye yayisaamu abayigirizwa be. Enfunda n’enfunda abayigirizwa be baakaayananga bokka na bokka ku ani ku bo eyali asinga obukulu. (Mak. 9:33-35; 10:43; Luk. 9:46) Okuva bwe kiri nti Yesu yali amaze ebbanga ddene ng’ali ne Kitaawe, yali akimanyi nti Yakuwa tayagalira ddala bantu ba malala. (2 Sam. 22:28; Zab. 138:6) Ate era Yesu yali alabye engeri Sitaani gye yali ayoleseemu amalala. Sitaani ayagala nnyo obukulu era yeerowoozaako yekka. Yesu ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo okulaba abayigirizwa be be yali atendese obulungi nga nabo booleka amalala! Era ateekwa okuba nga yawulira bubi nnyo okulaba nga n’abamu ku bayigirizwa be be yali alonze okuba abatume nga nabo booleka amalala! Baayoleka amalala okutuusiza ddala ku lunaku olwasembayo Yesu amale attibwe. (Luk. 22:24-27) Wadde kyali kityo, Yesu yeeyongera okubatereeza mu ngeri ey’ekisa. Yali asuubira nti ekiseera kyandituuse ne bafuna endowooza ng’eyiye.—Baf. 2:5-8.
13 Engeri Yesu gye yayolekamu obugumiikiriza ng’atereeza abayigirizwa be abaalina endowooza enkyamu tekuyamba okukiraba nti Yakuwa mugumiikiriza? Ebyo Yesu bye yayogera ne bye yakola birina kye bikuyigiriza ku Kitaawe? Yakuwa tayabulira bantu be ne bwe baba nga bakoze ensobi enfunda n’enfunda. Okumanya engeri za Katonda, kitukubiriza okwenenya n’okumusaba atusonyiwe nga tukoze ensobi.
YESU YALI AYAGALA OKUMANYISA KITAAWE
14. Yesu yalaga atya nti yali ayagala nnyo okumanyisa abantu ebikwata ku Kitaawe?
14 Abafuzi bangi bagezaako okukuumira abantu be bafuga mu butamanya basobole okweremeza mu buyinza. Naye ye Yesu teyali bw’atyo. Yali ayagala nnyo okuyamba abalala okumanya ebikwata ku Kitaawe, era bw’atyo yababuulira ebintu byonna bye baali beetaaga okumanya ku Kitaawe. (Soma Matayo 11:27.) Ate era Yesu yawa abayigirizwa be “okutegeera [ba]sobole okumanya ow’amazima,” Yakuwa Katonda. (1 Yok. 5:20) Ekyo kitegeeza ki? Kitegeeza nti Yesu yayamba abayigirizwa be okutegeera ebyo bye yali abayigiriza ebikwata ku Kitaawe. Bwe yali abayigiriza ebikwata ku Kitaawe, teyabayigiriza bintu ebitategeerekeka, gamba ng’enjigiriza egamba nti Katonda ali mu busatu.
15. Lwaki Yesu teyabuulira bayigirizwa be bintu byonna ebikwata ku Kitaawe?
15 Yesu yabuulira abayigirizwa be ebintu byonna bye yali amanyi ku Kitaawe? Nedda. Yesu yayoleka amagezi n’atababuulira bintu byonna. (Soma Yokaana 16:12.) Lwaki? Kubanga yali akimanyi nti abayigirizwa be baali ‘tebayinza kutegeera’ bintu ebyo byonna mu kiseera ekyo. Kyokka Yesu yagamba nti abayigirizwa be bandisobodde okutegeera ebintu bingi ebikwata ku Kitaawe, “omuyambi,” omwoyo omutukuvu, bwe yandizze n’abayamba “okutegeerera ddala amazima.” (Yok. 16:7, 13) Omuzadde ow’amagezi abaako ebintu by’atabuulira baana be okutuusa nga bakuze ekimala okusobola okubitegeera obulungi. Mu ngeri y’emu, Yesu teyabuulira bayigirizwa be ebintu ebimu ebikwata ku Kitaawe okutuusa nga bakuze ekimala mu by’omwoyo okusobola okubitegeera obulungi. Yesu yalaga nti yali ategeera obusobozi bw’abayigirizwa be.
KOPPA YESU NG’OYAMBA ABALALA OKUMANYA EBIKWATA KU YAKUWA
16, 17. Lwaki tusobola bulungi okuyamba abalala okumanya ebikwata ku Yakuwa?
16 Bw’otegeera omuntu obulungi era n’okiraba nti alina engeri ennungi, ekyo tekikukubiriza okubuulira abalala ebimukwatako? Yesu bwe yali ku nsi, yabuulira abalala ebikwata ku Kitaawe. (Yok. 17:25, 26) Naffe tusobola okukoppa Yesu nga tubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa.
17 Nga bwe tulabye, Yesu yali amanyi ebintu bingi nnyo ebikwata ku Kitaawe okusinga omuntu omulala yenna. Naye yali ayagala nnyo okuyigiriza abalala ebimu ku bintu bye yali amanyi ku Kitaawe, era yayamba abayigirizwa be okutegeera obulungi engeri za Kitaawe. Yesu atuyambye okutegeera obulungi Katonda, wadde ng’abantu bangi tebamumanyi. Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yesu atuyambye okutegeera obulungi Kitaawe okuyitira mu bintu bye yayigiriza ne mu ngeri gye yeeyisaamu! Mu butuufu, nkizo ya maanyi okuba nti tumanyi Yakuwa! (Yer. 9:24; 1 Kol. 1:31) Okuva bwe kiri nti tufubye okusemberera Yakuwa, naye yeeyongedde okutusemberera. (Yak. 4:8) Kati tusobola bulungi okuyamba abalala okumanya ebikwata ku Yakuwa. Ekyo tuyinza kukikola tutya?
18, 19. Oyinza otya okuyamba abantu abalala okumanya ebikwata ku Yakuwa? Nnyonnyola.
18 Tusaanidde okukoppa Yesu nga tuyamba abalala okumanya Yakuwa okuyitira mu bintu bye twogera ne mu ngeri gye tweyisaamu. Tusaanidde okukijjukira nti abantu bangi be tusanga nga tubuulira tebamanyi Katonda. Bangi balina endowooza enkyamu ku Katonda olw’okuba babuzaabuziddwa enjigiriza ez’obulimba. Tusobola okukozesa Bayibuli okubayamba okumanya erinnya lya Katonda, ekigendererwa kye eri abantu, n’engeri ze. Ate era tuyinza n’okubuulirako bakkiriza bannaffe ebyo bye tuba tusomye mu Bayibuli ebiba bituyambye okwongera okusiima engeri za Katonda. Ekyo nabo kisobola okubazzaamu amaanyi.
19 Lwaki tusaanidde okukoppa Yesu nga tuyamba abalala okumanya ebikwata ku Yakuwa okuyitira mu nneeyisa yaffe? Abantu bwe balaba nga twoleka okwagala ng’okwa Kristo mu ngeri gye tweyisaamu, bajja kwagala okuba n’enkolagana ennungi ne Yesu awamu ne Yakuwa. (Bef. 5:1, 2) Omutume Pawulo yatukubiriza ‘okumukoppa nga naye bwe yakoppa Kristo.’ (1 Kol. 11:1) Nga tulina enkizo ya maanyi okuyamba abantu okumanya Yakuwa okuyitira mu nneeyisa yaffe! N’olwekyo, ka ffenna tweyongere okukoppa Yesu nga tumanyisa abalala ebikwata ku Kitaawe.