Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yokaana
YOKAANA—“omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga”—ye yasembayo ku abo abaaluŋŋamizibwa okuwandiika ebikwata ku bulamu bwa Kristo n’obuweereza bwe. (Yok. 21:20) Enjiri eno yawandiikibwa awo nga 98 C.E., era kumpi ebintu byonna ebigirimu tebisangibwa mu Njiri endala essatu.
Omutume Yokaana yalina ekigendererwa ng’awandiika Enjiri ye. Ng’ayogera ku bintu bye yawandiika agamba nti: “[Bino byawandiikibwa], mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda; era bwe mukkiriza mube n’obulamu mu linnya lye.” (Yok. 20:31) Obubaka obuli mu Njiri eno mazima ddala bwa mugaso gye tuli.—Beb. 4:12.
“LABA, OMWANA GW’ENDIGA GWA KATONDA”
Bw’alaba Yesu, Yokaana Omubatiza agamba nti: “Laba, Omwana gw’endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi!” (Yok. 1:29) Yesu bw’ayita mu Samaliya, Ggaliraaya, Buyudaaya, n’ebitundu ebiri ebuvanjuba wa Yoludaani—ng’abuulira, ayigiriza, era ng’akola ebyamagero bingi—‘abantu bangi bajja gy’ali era bamukkiriza.’—Yok. 10:41, 42.
Ekimu ku byamagero ebisingayo okuba eby’amaanyi Yesu by’akola kwe kuzuukiza Lazaalo. Bangi bakkiriza Yesu bwe balaba ng’omusajja abadde afudde okumala ennaku nnya azuukidde. Kyokka, bakabona abakulu n’Abafalisaayo beekobaana okutta Yesu. Bw’atyo Yesu avaayo n’agenda “mu kifo ekiri okumpi n’eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu.”—Yok. 11:53, 54.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:35, 40—Ng’oggyeko Andereya, muyigirizwa ki omulala eyali ayimiridde ne Yokaana Omubatiza? Buli lw’ayogera ku Yokaana Omubatiza, omuwandiisi amuyita “Yokaana” era ye yennyini erinnya lye talyogerako mu Njiri ye. N’olwekyo, omuyigirizwa ono atayogerwa linnya kirabika ye Yokaana omuwandiisi w’Enjiri.
2:20—Yeekaalu ki ‘eyazimbibwa mu myaka amakumi ana mu omukaaga’? Abayudaaya baali boogera ku yeekaalu ya Zerubbaberi, Kabaka Kerode owa Buyudaaya gye yaddamu okuzimba. Okusinziira ku munnabyafaayo Josephus, omulimu ogwo gwatandika mu mwaka ogwa 18 ogw’obufuzi bwa Kerode, oba mu 18/17 B.C.E. Yeekaalu yennyini n’ebizimbe ebirala byazimbibwa mu myaka munaana. Kyokka, omulimu gwonna okutwalira awamu gwagenda mu maaso okutuusa nga n’Okuyitako kwa 30 C.E. kuwedde, Abayudaaya we baagambira nti yali etutte 46 okuzimba.
5:14—Okulwala kiva ku kwonoona? Oluusi si bwe kiba. Omusajja Yesu gwe yawonya yali alwalidde emyaka 38 olw’okusikira obutali butuukirivu. (Yok. 5:1-9) Yesu kye yali ategeeza kyali nti okuva omusajja oyo bwe yali alagiddwa ekisa, yalina okugoberera ekkubo ly’obulokozi era yeewale okwonoona mu bugenderevu si kulwa ng’atuukibwako ekintu ekibi okusinga n’obulwadde. Omusajja oyo yali ayinza okukola ekibi ekitasonyiyika, ekyandimuviiriddeko okufa awatali ssuubi lya kuzuukira.—Mat. 12:31, 32; Luk. 12:10; Beb. 10:26, 27.
5:24, 25—Baani ‘abava mu kufa ne batuuka mu bulamu’? Yesu ayogera ku abo abaali abafu mu by’omwoyo naye ne bawulira ebigambo bye ne bamukkiriza, era ne balekera awo okutambulira mu kkubo lyabwe ebbi. ‘B’ava mu kufa ne batuuka mu bulamu’ mu ngeri nti ekibonerezo ky’okufa kibagibwako, ne bafuna essuubi ery’obulamu obutaggwawo olw’okukkiririza mu Katonda.—1 Peet. 4:3-6.
5:26; 6:53—Kitegeeza ki omuntu okubeera ‘n’obulamu mu ye’? Eri Yesu Kristo, kino kitegeeza nti Katonda amusobozesa okukola ebintu bibiri—okuyamba abantu okuba n’ennyimirira ennungi mu maaso ga Yakuwa, n’okuzuukiza abafu. Eri abagoberezi ba Yesu, ‘okubeera n’obulamu mu bo’ kitegeeza okufuna obulamu obwa nnamaddala. Abakristaayo abaafukibwako amafuta babufuna bwe bazuukizibwa ne babeera mu ggulu. Abo abalina essuubi ly’okubeera ku nsi bajja kufuna obulamu obwa nnamaddala oluvannyuma lw’okuyita mu kugezesebwa okusembayo okunaabaawo ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi.—1 Kol. 15:52, 53; Kub. 20:5, 7-10.
6:64—Yesu we yalondera Yuda Isukalyoti yali amanyi nti Yuda yandimuliddemu olukwe? Kirabika yali takimanyi. Kyokka, lumu mu mwaka 32 C.E., Yesu yagamba abatume be nti: “Omu ku mmwe [mulyolyomi].” Oboolyawo mu kiseera ekyo Yesu yali akirabye nti Yuda Isukalyoti ‘atandise’ okukwata ekkubo ekyamu.—Yok. 6:66-71.
Bye Tuyigamu:
2:4. Yesu yali alaga Malyamu nti olw’okuba yali abatiziddwa era n’afukibwako amafuta ng’Omwana wa Katonda, Kitaawe ow’omu ggulu ye yalina okumulagira eky’okukola. Wadde nga Yesu yali atandika butandisi obuweereza bwe, yali amanyi bulungi essaawa, oba ekiseera ky’okukola omulimu gwe nga mw’otwalidde n’eky’okufa kwe. Yali tayinza kukkiriza muntu n’omu kweyingiza mu buweereza bwe eri Katonda, k’abe wa mu nju nga Malyamu. Naffe tusaanidde okuba abamalirivu nga tuweereza Yakuwa Katonda.
3:1-9. Nikoodemo, omu ku bafuzi b’Abayudaaya, tumuyigirako ebintu bibiri. Ekisooka, Nikoodemo yalaga obwetoowaze, amagezi, n’okuba nti amanyi obwetaavu bwe obw’eby’omwoyo bwe yakkiriza nti omwana w’omubazzi yali muyigiriza avudde eri Katonda. Abakristaayo ab’amazima balina okuba abeetoowaze. Ekyokubiri, Nikoodemo yeewala okufuuka omuyigirizwa nga Yesu akyali ku nsi. Kino kiyinza okuba nga kyava ku kutya bantu, ku kwagala nnyo bitiibwa, gamba ng’ekyo kye yalina mu Lukiiko Olukulu, oba ku kwagala bya bugagga bye. Kino kirina ekintu ekikulu ennyo kye kituyigiriza: Tetulina kukkiriza bintu ng’ebyo kutulemesa ‘kwetikka muti gwaffe ogw’okubonaabona n’okugobereranga Yesu.’—Luk. 9:23, NW.
4:23, 24. Okusinza kwaffe bwe kuba okw’okusiimibwa Katonda, kulina okuba n’obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu era nga kutuukana n’amazima agali mu Baibuli.
6:27. Okukolerera “ekyokulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo” kitegeeza okunyiikira okwerabirira mu by’omwoyo. Bwe tukola tutyo tuba basanyufu.—Mat. 5:3.
6:44. Yakuwa atufaako kinnoomu. Buli omu ku ffe amuleeta eri Omwana we ng’ayitira mu mulimu gw’okubuulira era ng’akozesa omwoyo Gwe omutukuvu okumuyamba okutegeera n’okussa mu nkola ebyo by’ayiga okuva mu Baibuli.
11:33-36. Okwoleka enneewulira zaffe tekiraga nti tuli banafu.
‘WEEYONGERE OKUMUGOBERERA’
Ng’Okuyitako kwa 33 C.E. kunaatera okutuuka, Yesu addayo e Bessaniya. Nga Nisani 9, ajja e Yerusaalemi nga yeebagadde omwana gw’endogoyi. Nga Nisani 10, Yesu akomawo mu yeekaalu. Ng’okusaba kwe okwali kukwata ku kugulumiza erinnya lya Kitaawe kuddibwamu, eddoboozi eriva mu ggulu ligamba nti: “Nnaligulumiza, era ndirigulumiza nate.”—Yok. 12:28.
Bwe baba balya ekijjulo ky’Okuyitako, Yesu abuulirira abagoberezi be omulundi ogusembayo era abasabira. Oluvannyuma lw’okukwatibwa, okusalirwa omusango, era n’okukomererwa, Yesu azuukizibwa.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
14:2—Yesu ‘yanditeekedeteekedde’ atya abagoberezi be ‘ekifo’ mu ggulu? Kino Yesu yandikikoze bwe yanditongozza endagaano empya ng’alabika mu maaso ga Katonda n’awaayo omuwendo gw’omusaayi gwe gy’Ali. Okuteekateeka okwo era kwanditwaliddemu Kristo okufuuka Kabaka, era oluvannyuma lw’ekyo n’atandika okuzuukiza abagoberezi be abaafukibwako amafuta n’abatwala mu ggulu.—1 Bas. 4:14-17; Beb. 9:12, 24-28; 1 Peet. 1:19; Kub. 11:15.
19:11—Yesu bwe yali mu maaso ga Piraato n’ayogera ku musajja eyali amuwaddeyo yali ategeeza Yuda Isukalyoti? Kirabika Yesu yali tayogera ku Yuda oba omuntu omulala yenna, wabula yali ategeeza abo bonna abaalina omusango gw’okumutta. Mu bano mwe mwali Yuda, “bakabona abakulu n’ab’omu lukiiko bonna,” ‘n’ebibiina’ by’abantu ebyasendebwasendebwa ne basaba Balaba ateebwe.—Mat. 26:59-65; 27:1, 2, 20-22.
20:17—Lwaki Yesu yagamba Malyamu Magudaleene obutamwekwatako? Kirabika nti Malyamu yeekwata ku Yesu kubanga yali alowooza nti Yesu agenda kuddayo mu ggulu, abe nga takyaddamu kumulaba. Okumukakasa nti yali tannatuusa kuddayo, Yesu yamugamba aleke kumwekwatako, naye agende abuulire abayigirizwa be nti yali azuukidde.
Bye Tuyigamu:
12:36. Okusobola okufuuka “abaana b’omusana,” tulina okumanya amazima agali mu Kigambo kya Katonda, Baibuli. Era tulina okukozesa amazima ago okuyamba abalala okuva mu kizikiza eky’eby’omwoyo okujja mu kitangaala kya Katonda.
14:6. Tewali ngeri yonna gye tusobola kusiimibwa Katonda okuggyako okuyitira mu Yesu Kristo. Okukkiririza mu Yesu n’okugoberera ekyokulabirako kye bye bintu byokka ebitusobozesa okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa.—1 Peet. 2:21.
14:15, 21, 23, 24; 15:10. Okukola Katonda by’ayagala kijja kutuyamba okusigala mu kwagala kwe n’okwa Omwana we.—1 Yok. 5:3.
14:26; 16:13. Omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gutuyigiriza, gutuyamba okujjukira bye twayiga, era gutubikkulira amazima. Mu ngeri eyo, gusobola okutuyamba okukulaakulana mu kumanya, mu magezi, mu kutegeera, ne mu kusalawo obulungi. N’olwekyo, tusaanidde okunyiikirira okusaba Katonda okugutuwa.—Luk. 11:5-13.
21:15, 19, NW. Yesu yabuuzibwa Peetero obanga yali amwagala okusinga “bino,” ebyennyanja ebyali mu maaso gaabwe. Bw’atyo Yesu yayamba Peetero okusalawo okufuuka omuweereza ow’ekiseera kyonna mu kifo ky’okuba omuvubi. Oluvannyuma lw’okwetegereza ebiri mu Njiri zonna, ka tube bamalirivu okwagala Yesu okusinga ekintu kyonna ekiyinza okutusikiriza. Yee, ka tweyongere okumugoberera n’omutima gwaffe gwonna.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Kiki kye tuyiga ku Nikoodemo?