EKITUNDU EKY’OKUSOMA 14
“Mutambulirenga mu Bigere Bye”
“Kristo yabonaabona ku lwammwe, n’abalekera ekyokulabirako mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.”—1 PEET. 2:21.
OLUYIMBA 13 Kristo, Ekyokulabirako Kyaffe
OMULAMWAa
1-2. Tuyinza tutya okutambulira mu bigere bya Yesu? Waayo ekyokulabirako.
KUBA akafaananyi ng’oli mu kibinja ky’abantu, nga muyita mu ddungu ery’obulabe. Waliwo omuntu alina obumanyirivu abakulembeddemu okubayisa mu ddungu eryo. Bw’aba atambula, agenda aleka ebigere mu musenyu. Ekiseera kituuka ne muba nga temukyamulaba. Naye ekyo tekibatiisa kubanga mulaba ebigere by’alese emabega era mugenda mugoberera ebigere ebyo!
2 Abakristaayo ab’amazima tutambulira mu ddungu ery’obulabe, kwe kugamba, ensi ya Sitaani eno embi. Ekirungi Yakuwa yatuwa omuntu atuukiridde, ng’ono ye Mwana we Yesu Kristo, era nga tulina okutambulira mu bigere bye. (1 Peet. 2:21) Okusinziira ku kitabo ekimu, wano Peetero yageraageranya Yesu ku muntu akulemberamu abalala. Okufaananako omuntu akulemberamu abalala aleka ebigere emabega, Yesu naye yatulekera ebigere bye tusobola okutambuliramu. Mu kitundu kino tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bisatu. Kitegeeza ki okutambulira mu bigere bya Yesu? Lwaki tulina okubitambuliramu? Tuyinza tutya okubitambuliramu?
KITEGEEZA KI OKUTAMBULIRA MU BIGERE BYA YESU?
3. Kitegeeza ki okutambulira mu bigere by’omuntu?
3 Kitegeeza ki okutambulira mu bigere by’omuntu? Mu Bayibuli, ebigambo “ebigere” ne “okutambula” oluusi bitegeeza engeri omuntu gy’atambuzaamu obulamu bwe. (Lub. 6:9; Nge. 4:26) Ekyokulabirako omuntu ky’assaawo kiyinza okugeraageranyizibwa ku bigere by’aleka emabega. N’olwekyo okutambulira mu bigere by’omuntu, kitegeeza okukoppa ekyokulabirako kye, oba okumukoppa.
4. Kitegeeza ki okutambulira mu bigere bya Yesu?
4 Kati olwo kitegeeza ki okutambulira mu bigere bya Yesu Kristo? Kitegeeza okukoppa ekyokulabirako kye yassaawo. Mu kyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino, omutume Peetero yayogera ku kyokulabirako ekirungi Yesu kye yassaawo mu kugumiikiriza ng’abonyaabonyezebwa. Naye tusobola okukoppa Yesu ne mu bintu ebirala bingi. (1 Peet. 2:18-25) Mu butuufu, obulamu bwa Yesu bwonna, kwe kugamba, ebintu byonna bye yayogera ne bye yakola, kyakulabirako gye tuli kye tusaanidde okukoppa.
5. Abantu abatatuukiridde basobola okukoppa Yesu eyali atuukiridde? Nnyonnyola.
5 Naye ffe abantu abatatuukiridde tusobola okukoppa Yesu? Yee, tusobola. Weetegereze nti Peetero teyatugamba nti ‘tutambulire mu bigere bya Yesu’ mu ngeri etuukiridde, wabula yatugamba nti tutambulire mu bigere bya Yesu. Bwe tukola kyonna ekisoboka okutambulira mu bigere bya Yesu ng’abantu abatatuukiridde, tuba tukolera ku bigambo by’omutume Yokaana bino: ‘Mutambulenga nga Yesu bwe yatambula.’—1 Yok. 2:6.
LWAKI TUSAANIDDE OKUTAMBULIRA MU BIGERE BYA YESU?
6-7. Lwaki tuyinza okugamba nti okutambulira mu bigere bya Yesu kituyamba okusemberera Yakuwa?
6 Okutambulira mu bigere bya Yesu kitusobozesa okusemberera Yakuwa. Lwaki tugamba bwe tutyo? Ekisooka, Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ku ngeri y’okusanyusaamu Katonda. (Yok. 8:29) N’olwekyo bwe tutambulira mu bigere bya Yesu, tusanyusa Yakuwa. Era tuli bakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu asemberera abo abafuba okuba mikwano gye.—Yak. 4:8.
7 Eky’okubiri, Yesu yakoppa Kitaawe mu ngeri etuukiridde. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba nti: “Buli andaba aba alabye ne Kitange.” (Yok. 14:9) Bwe tukoppa engeri za Yesu n’engeri gye yakolaganangamu n’abalala, gamba nga bwe yakwatirwa omugenge ekisa, bwe yalumirirwa omukazi eyalina obulwadde obw’amaanyi, bwe yasaasira abo abaali bafiiriddwa, tuba tukoppa Yakuwa. (Mak. 1:40, 41; 5:25-34; Yok. 11:33-35) Gye tukoma okuba nga Yakuwa, gye tukoma okumusemberera.
8. Nnyonnyola ensonga lwaki okutambulira mu bigere bya Yesu kituyamba ‘okuwangula’ ensi.
8 Okutambulira mu bigere bya Yesu kituyamba obutawugulibwa nsi eno embi. Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yagamba nti: “Nze mpangudde ensi.” (Yok. 16:33) Yali ategeeza nti teyakkiriza kutwalirizibwa ndowooza ya nsi, ebiruubirirwa byayo, n’ebikolwa byayo. Yesu teyakkiriza kuwugulibwa kuva ku nsonga eyamuleeta ku nsi, kwe kugamba, okugulumiza Yakuwa. Ate ffe? Ensi eno erimu ebintu bingi ebisobola okutuwugula. Naye okufaananako Yesu, bwe twemalira ku kukola Yakuwa by’ayagala, naffe tujja ‘kuwangula.’—1 Yok. 5:5.
9. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okusigala mu kkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo?
9 Okutambulira mu bigere bya Yesu kijja kutusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo. Omusajja omu omugagga bwe yabuuza Yesu kye yalina okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo Yesu yamuddamu nti: ‘Jjangu ongoberere.’ (Mat. 19:16-21) Ate Yesu yagamba Abayudaaya abamu abaali batamukkiririzaamu nti: “Endiga zange . . . zingoberera. Nziwa obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 10:24-29) Ate Nikodemu, eyali omu ku b’Olukiiko Olukulu era eyali ayagala okuwuliriza Yesu bye yayigirizanga, Yesu yamugamba nti abo ‘abamukkiririzaamu bandifunye obulamu obutaggwaawo.’ (Yok. 3:16) Tukiraga nti tukkiririza mu Yesu nga tukolera ku ebyo bye yayigiriza era nga tukoppa bye yakola. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kusigala ku kkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo.—Mat. 7:14.
TUYINZA TUTYA OKUTAMBULIRA MU BIGERE BYA YESU?
10. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola ‘okumanya’ Yesu obulungi? (Yok. 17:3)
10 Okusobola okutambulira mu bigere bya Yesu, tulina okusooka okumumanya. (Soma Yokaana 17:3.) ‘Okumanya’ Yesu kintu kye tulina okukola awatali kulekera awo. Buli lukya tulina okweyongera okumumanya, kwe kugamba, okumanya engeri ze, endowooza ye, n’emitindo kw’atambulira. Ka tube nga tumaze bbanga ki mu mazima, tulina okweyongera okumanya Yakuwa n’Omwana we.
11. Ebitabo by’Enjiri ebina birimu ki?
11 Okusobola okutuyamba okumanya Omwana we, Yakuwa yateeka mu Kigambo kye ebitabo by’Enjiri ebina. Ebitabo ebyo, byogera ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe. Ebitabo ebyo birimu ebyo Yesu bye yayogera, bye yakola, era bitubuulira n’engeri gye yawulirangamu. Ebitabo ebyo ebina bituyamba ‘okulowooza ennyo’ ku kyokulabirako kya Yesu. (Beb. 12:3) Mu ngeri endala, birimu ebigere Yesu bye yatulekera. N’olwekyo bwe twekenneenya ebitabo by’Enjiri ebyo, kituyamba okweyongera okumanya obulungi Yesu. N’ekivaamu, tuba tusobola okutambulira mu bigere bye.
12. Tuyinza tutya okuganyulwa mu bujjuvu mu bitabo by’Enjiri?
12 Okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu bitabo by’Enjiri, tetulina kukoma ku kubisoma busomi. Tulina okwekenneenya n’obwegendereza ebyo ebirimu era ne tubifumiitirizaako. (Geraageranya Yoswa 1:8.) Kati ka tulabeyo ebintu bibiri ebisobola okutuyamba okufumiitiriza ku ebyo bye tusoma mu bitabo by’Enjiri n’okubikolerako.
13. Kiki ekisobola okukuyamba okutegeerera ddala obulungi ebyo by’oba osoma mu bitabo by’Enjiri?
13 Ekisooka, kuba akafaananyi ku ebyo by’oba osoma. Gezaako okuba ng’alaba era awulira ebyo ebyaliwo. Ekyo okusobola okukikola, baako by’onoonyereza mu bitabo ebikubibwa ekibiina kya Yakuwa. Weekenneenye ennyiriri eziriraanyeewo olabe ebyo ebyaliwo ng’ekyo ky’osomako tekinnabaawo era n’ebyo ebyakiddirira. Noonyereza ebisingawo ebikwata ku bantu aboogerwako mu ebyo by’oba osomako, era n’ebifo ebyogerwako. Ekyo ky’oba osomako mu Njiri emu kigeraageranye n’awalala we kyogerwako mu Njiri endala. Omuwandiisi w’Enjiri emu ayinza okubaako ekintu ekimu kye yateekamu ekitali mu Njiri ndala.
14-15. Kiki kye tulina okukola okusobola okukolera ku ebyo bye tusoma ku Yesu?
14 Eky’okubiri, kolera ku ebyo by’osoma mu bitabo by’Enjiri. (Yok. 13:17) Oluvannyuma lw’okusoma ekitundu ekimu mu kitabo ky’Enjiri, weebuuze: ‘Waliwo ekintu mu bino bye nsomyeko kye nsobola okukolerako mu bulamu bwange? Bino bye nsomye nnyinza ntya okubikozesa okuyamba omuntu omulala?’ Baako omuntu gw’olowoozaako gw’oyinza okubuulira ku ekyo ky’oyize era mu kiseera ekituufu kimubuulire, naye ng’okikola mu ngeri ey’amagezi.
15 Ka tulabeyo ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okukolera ku magezi ago ag’emirundi ebiri. Tugenda kwekenneenya ebyo ebyogerwa ku nnamwandu omwavu Yesu gwe yalaba mu yeekaalu.
NNAMWANDU OMWAVU MU YEEKAALU
16. Kafaananyi ki k’okuba ku ebyo ebyaliwo ebyogerwako mu Makko 12:41.
16 Kuba akafaananyi ku ebyo ebyaliwo. (Soma Makko 12:41.) Olunaku lwa Nisaani 11, omwaka gwa 33 E.E era tekyawera na wiiki Yesu attibwe. Olunaku olwo Yesu amaze essaawa eziwerako ng’ayigiriza mu yeekaalu. Naye abakulu b’eddiini babadde bafuba okumuziyiza. Abamu ku bo baamubuuzizza wa gye yaggya obuyinza okukola by’akola. Abalala baagezezzaako okumutega nga bamubuuza ebibuuzo ebizibu. (Mak. 11:27-33; 12:13-34) Kati Yesu agenze mu kitundu ekirala ekya yeekaalu. Eno gy’agenze kirabika mu Luggya lw’Abakazi, asobola okulaba mwe basuula ssente eziweebwayo. Abaako w’atuula ne yeetegereza abantu abawaayo ssente. Alaba abagagga bangi nga basuulamu ebinusu bingi. Ayinza okuba nga w’ali awulira bulungi ng’ebinusu bye basuulamu bigwamu.
17. Kiki nnamwandu omwavu ayogerwako mu Makko 12:42 kye yakola?
17 Soma Makko 12:42. Oluvannyuma lw’ekiseera, wajjawo omukazi omu Yesu gwe yeetegereza. Omukazi ono ‘nnamwandu era mwavu.’ (Luk. 21:2) Obulamu si bwangu gy’ali; era kirabika tekimwanguyira kwetuusaako byetaago bya bulamu. Naye agenda we basuula ssente n’asuulamu obunusu bubiri, era kirabika bwe bugwaamu tebuvaamu na ddoboozi lyonna. Yesu akimanyi nti nnamwandu oyo asuddemu obunusu bubiri obusingayo okuba obw’omuwendo omutono mu kiseera ekyo. Obunusu obwo tebumala na kugula nkazaluggya emu, akanyonyi akaali kasingayo okuba ak’ebbeeyi entono mu binyonyi ebiriibwa.
18. Okusinziira ku Makko 12:43, 44, kiki Yesu kye yayogera ku ekyo nnamwandu kye yawaayo?
18 Soma Makko 12:43, 44. Ekyo nnamwandu oyo ky’akola kikwata nnyo ku Yesu. Bwe kityo Yesu ayita abayigirizwa be n’amubalaga era n’agamba nti: “Nnamwandu ono omwavu ataddemu kingi okusinga abalala bonna.” Era agattako nti: “Abalala bonna [naddala abagagga] bataddemu ku bibafikkiridde, naye ye, wadde ng’ali mu bwetaavu, ataddemu byonna by’abadde alina.” Nnamwandu oyo omwesigwa bwe yawaayo obusente bwe yali asigazza ku lunaku olwo, yali yessa mu mikono gya Yakuwa okumulabirira.—Zab. 26:3.
19. Kintu ki ekikulu kye tuyiga mu ebyo Yesu bye yayogera ku nnamwandu omwavu?
19 Kolera ku ebyo by’oyize. Weebuuze, ‘Kiki kye nsobola okuyigira ku ebyo Yesu bye yayogera ku nnamwandu omwavu?’ Fumiitiriza ku nnamwandu oyo. Tewali kubuusabuusa nti muli yali awulira nti yandyagadde okuwa Yakuwa ekisingawo. Naye yakola kye yali asobola; yawa Yakuwa ekisingayo obulungi ekyali mu busobozi bwe. Yesu yali akimanyi nti ekyo nnamwandu kye yali awaddeyo kyali kya muwendo nnyo mu maaso ga Kitaawe. Ekyo kituyigiriza ekintu kino ekikulu: Yakuwa asanyuka nnyo bwe tumuwa ekisingayo obulungi kye tuba tusobola, kwe kugamba, bwe tumuweereza n’omutima gwaffe gwonna n’obulamu bwaffe bwonna. (Mat. 22:37; Bak. 3:23) Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba nga tufuba okukola kyonna kye tusobola okumuweereza! Ekyo kikwata ne ku budde n’amaanyi bye tumala mu kusinza Yakuwa, kwe kugamba, nga twenyigira mu bintu gamba ng’okubuulira, n’okubaawo mu nkuŋŋaana.
20. Oyinza otya okukolera ku ebyo ebyogerwa ku nnamwandu? Waayo ekyokulabirako.
20 Oyinza otya okukolera ku ebyo ebyogerwa ku nnamwandu? Lowoozaayo ku bantu abayinza okuddamu amaanyi bw’obakakasa nti Yakuwa asiima okufuba kwabwe. Ng’ekyokulabirako, olinayo mwannyinaffe nnamukadde awulira ng’alumizibwa omutima oba awulira nti talina mugaso olw’okuba takyasobola kukola kinene mu mulimu gw’okubuulira olw’embeera y’obulamu bwe, oba olw’amaanyi amatono g’alina? Oba oyinza okulowoozaayo ow’oluganda alina obulwadde obutawona era obuluma ennyo, oluusi awulira ng’aweddemu amaanyi olw’okuba enkuŋŋaana ezimu tasobola kuzibeeramu? Abali ng’abo bayambe ng’oyogera nabo ebigambo ‘ebirungi ebisobola okubazimba.’ (Bef. 4:29) Bategeeze ku ebyo ebizzaamu amaanyi bye tuyigira ku nnamwandu omwavu. Ebigambo byo ebizzaamu amaanyi bisobola okubayamba okuba abakakafu nti Yakuwa asanyuka nnyo bwe tumuwa ekisingayo obulungi ekiri mu busobozi bwaffe. (Nge. 15:23; 1 Bas. 5:11) Bw’osiima abalala olw’okuwa Yakuwa ekisingayo obulungi, ka kibe nga kirabika ng’ekitono, oba otambulira mu bigere bya Yesu.
21. Kiki ky’omaliridde okukola?
21 Nga tusiima nnyo Yakuwa okuba nti ebitabo by’Enjiri birimu ebintu bingi ebikwata ku bulamu bwa Yesu, ebituyamba okukoppa Yesu oba okutambulira mu bigere bye! Lwaki tokola enteekateeka okwekenneenya ebyo ebiri mu bitabo by’Enjiri, ggwe kinnoomu oba mu kusinza kw’amaka? Ate era tusaanidde okukijjukira nti okusobola okuganyulwa mu bujjuvu mu ebyo bye tusoma mu bitabo ebyo, tusaanidde okukuba akafaananyi ku ebyo bye tuba tusoma, era ne tukolera ku ebyo bye tuba tuyize. Ng’oggyeeko okukoppa ebyo Yesu bye yakola, era tulina okuwuliriza bye yayogera. Mu kitundu ekiddako, tugenda kulaba ebyo bye tusobola okuyigira ku bigambo Yesu bye yasembayo okwogera nga tannafa.
OLUYIMBA 15 Tendereza Omwana wa Yakuwa Omubereberye!
a Abakristaayo ab’amazima tulina okutambulira mu bigere bya Yesu. Bigere ki Yesu bye yatulekera okutambuliramu? Ekitundu kino kigenda kuddamu ekibuuzo ekyo. Ate era kigenda kulaga ensonga lwaki tulina okutambulira mu bigere bya Yesu n’engeri gye tuyinza okubitambuliramu.
b EBIFAANANYI: Oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku ebyo Yesu bye yayogera ku nnamwandu omwavu, mwannyinaffe asiima mwannyinaffe akaddiye olw’okuweereza Yakuwa n’omutima gwe gwonna.