Kristo—Oyo Obunnabbi Gwe Bwali Busongako
‘Okuwa obujulirwa ku Yesu kye kigendererwa ky’obunnabbi.’—OKUBIKKULIRWA 19:10, NW.
1, 2. (a) Kusalawo ki Abaisiraeri kwe baayolekagana nakwo okutandika n’omwaka gwa 29 C.E.? (b) Kiki ekigenda okwekenneenyezebwa mu kitundu kino?
TULI mu mwaka gwa 29 C.E. Waliwo oluvuuvuumo mu Isiraeri olukwata ku Masiya eyasuubizibwa. Obuweereza bwa Yokaana Omubatiza buleetedde abantu okweyongera okwesunga okujja kwa Masiya. (Lukka 3:15) Yokaana abategeeza nti si ye Kristo, wabula asonga ku Yesu ow’e Nazaaleesi, n’agamba nti, ‘Mbakakasa nti oyo ye Mwana wa Katonda.’ (Yokaana 1:20, 34) Mangu ddala, abantu bagoberera Yesu, okuwuliriza by’ayigiriza n’okuwonyezebwa.
2 Mu myezi egiddirira, Yakuwa awa obujulirwa obw’amaanyi obukwata ku Mwana we. Abo ababadde basoma Ebyawandiikibwa era ne balaba ebyo Yesu by’akola balina kwe basinziira okumukkiririzaamu. Kyokka, okutwalira awamu, abantu ba Katonda ab’endagaano tebooleka kukkiriza. Batono abakkiriza nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda. (Yokaana 6:60-69) Kiki kye wandikoze singa waliwo mu kiseera ekyo? Wandikkirizza nti Yesu ye Masiya era n’ofuuka omugoberezi we omwesigwa? Weetegereze obukakafu Yesu bw’awa obulaga kyali bw’avunaanibwa okumenya etteeka lya Ssabbiiti, era weetegereze obukakafu obulala bw’awa oluvannyuma, okusobola okunyweza okukkiriza kw’abayigirizwa be abeesigwa.
Yesu Kennyini Awa Obukakafu
3. Kiki ekyaleetera Yesu okuwa obukakafu obulaga ky’ali?
3 Kaakano tuli mu kiseera eky’embaga ey’Okuyitako mu mwaka 31 C.E. Yesu ali mu Yerusaalemi, era yaakamala okuwonya omusajja abadde omulwadde okumala emyaka 38. Kyokka, Abayudaaya bayigganya Yesu olw’okuwonya omusajja ono ku Ssabbiiti. Ate era, bagamba nti muvvoozi era baagala okumutta olw’okuba yeeyita Mwana wa Katonda. (Yokaana 5:1-9, 16-18) Nga Yesu yeewozaako, awa obukakafu bwa mirundi esatu obwandiyambye Abayudaaya ab’emitima emirungi okutegeera nti ye Masiya.
4, 5. Obuweereza bwa Yokaana bwalina kigendererwa ki, era kiki ekiraga nti yabutuukiriza bulungi?
4 Okusooka, Yesu ayogera ku bujulirwa bwa Yokaana Omubatiza eyamusookawo, ng’agamba: “Mwatumira Yokaana [ababaka] naye n’ategeeza amazima. Oyo yali ttabaaza eyaka, emasamasa, nammwe mwayagala ekiseera kitono okusanyukira okutangaala kwe.”—Yokaana 5:33, 35.
5 Yokaana Omubatiza yali “ttabaaza eyaka, emasamasa” mu ngeri nti, nga Kerode tannamusiba, yali atuukirizza omulimu Katonda gwe yamuwa ogw’okuteekerateekera Masiya ekkubo. Yokaana yagamba: ‘Ensonga lwaki nnajja nga mbatiza n’amazzi eri nti, Masiya ayolesebwe mu Isiraeri. Nnalaba omwoyo ng’ava mu ggulu ng’ejjiba n’abeera ku ye. Nange ssaamumanya, naye eyantuma okubatiza n’amazzi ye yaŋŋamba nti Ggwe oliraba omwoyo ng’akka ng’abeera ku ye, oyo ye abatiza n’omwoyo omutukuvu. Nange ne ndaba ne ntegeeza nti oyo Mwana wa Katonda.’a (Yokaana 1:26-37) Yokaana yagamba nti Yesu ye yali Omwana wa Katonda—Masiya eyasuubizibwa. Obujulirwa Yokaana bwe yawa bwali butegeerekeka bulungi, ne kiba nti nga wayiseewo emyezi nga munaana ng’amaze okufa, Abayudaaya bangi ab’emitima emirungi baagamba: “Byonna Yokaana bye yayogera ku ono byali bya mazima.”—Yokaana 10:41, 42.
6. Lwaki ebyo Yesu bye yakola byali bisobola okukakasa abantu nti Katonda ye yali amutumye?
6 Ate era, Yesu awa obukakafu obulala obulaga nti ye Masiya. Ayogera ku mirimu gye ng’obukakafu obulaga nti Katonda ye yamutuma. Agamba: “Obujulizi bwe mpa businga obwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu gyennyini gye nkola, gye gimpako obujulizi nti Kitange ye yantuma.” (Yokaana 5:36, NW) N’abalabe ba Yesu baali tebasobola kugaana bukakafu buno obwali buzingiramu ebyamagero ebingi bye yakola. Oluvannyuma abamu beebuuza: ‘Tukole tutya? kubanga omuntu oyo akola eby’amagero bingi.’ (Yokaana 11:47) Kyokka abalala booleka endowooza ennuŋŋamu nga bagamba: ‘Kristo bw’alijja, alikola ebyamagero bingi okusinga ono bye yakola?’ (Yokaana 7:31) Abaali bawuliriza Yesu baali basobolera ddala okulaba engeri za Kitaawe ezaali zeeyolekera mu Mwana.—Yokaana 14:9.
7. Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya biwa bitya obujulirwa ku Yesu?
7 Ku nkomerero Yesu ayogera ku bujulirwa obutasobola kuwakanyizibwa. Agamba: “Ebyawandiikibwa . . . bye bimpaako obujulirwa.” Ate era ayongera n’agamba: “Singa mukkiriza Musa, nange mwandinzikkirizza; kubanga yampandiikako nze.” (Yokaana 5:39, 46, NW) Kya lwatu, Musa yali omu ku bajulirwa abangi abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo, abaawandiika ebikwata ku Kristo. Bye baawandiika birimu ebikumi n’ebikumi by’obunnabbi awamu n’ennyiriri z’obuzaale, ebyandiyambye abantu okutegeera Masiya. (Lukka 3:23-38; 24:44-46; Ebikolwa 10:43) Ate go Amateeka ga Musa? “Amateeka yali mutwazi waffe eri Kristo,” bw’atyo omutume Pawulo bwe yawandiika. (Abaggalatiya 3:24) Yee, ‘okuwa obujulirwa ku Yesu kye kigendererwa ky’obunnabbi.’—Okubikkulirwa 19:10, NW.
8. Lwaki Abayudaaya bangi tebakkiriza nti Yesu ye yali Masiya?
8 Ebintu bino byonna, kwe kugamba, obujulirwa Yokaana bwe yawa obwali butegeerekeka obulungi, emirimu Yesu gye yakola, engeri ze ezaali zooleka engeri za Katonda, awamu n’obujulirwa obw’amaanyi obw’omu Byawandiikibwa—tebikukakasa nti Yesu ye Masiya? Omuntu yenna eyali ayagalira ddala Katonda awamu n’Ekigambo kye yandibadde ategeera bulungi ebintu bino era n’akkiriza nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa. Kyokka, okutwalira awamu Abaisiraeri tebaalina kwagala ng’okwo. Yesu yagamba bw’ati abaali bamuwakanya: “Mbategedde mmwe ng’okwagala kwa Katonda tekubaliimu.” (Yokaana 5:42) Mu kifo ‘ky’okwagala ekitiibwa ekiva eri Katonda omu yekka,’ baali ‘baagala ekitiibwa okuva eri bantu bannaabwe.’ Tekyewuunyisa nti baali tebakkiriziganya na Yesu, akyayira ddala endowooza eyo okufaananako Kitaawe.—Yokaana 5:43, 44; Ebikolwa 12:21-23.
Banywezebwa Okwolesebwa okw’Obunnabbi
9, 10. (a) Lwaki akabonero Yesu ke yawa abayigirizwa be kaatuukira mu kiseera ekituufu? (b) Kintu ki Yesu kye yasuubiza abagoberezi be?
9 Kati omwaka gususse mu gumu bukya Yesu awa obukakafu obulaga nti ye Masiya. Embaga ey’Okuyitako ey’omwaka 32 C.E. ewedde. Bangi ku baali bamukkirizza balekedde awo okumugoberera, oboolyawo olw’okuyigganyizibwa, okuluubirira eby’obugagga, oba olw’okweraliikirira eby’omu bulamu. Abalala bayinza okuba nga basobeddwa oba banyiivu olw’okuba Yesu yagaana okufuulibwa kabaka. Abakulu b’eddiini y’Ekiyudaaya bwe baamugamba okukola akabonero okuva mu ggulu, yagaana kubanga kandimuleetedde okugulumizibwa. (Matayo 12:38, 39) Abantu abamu bayinza okuba nga baasoberwa Yesu bwe yagaana okukola akabonero ako. Ate era, Yesu atandise okubuulira abayigirizwa be ekintu ekibazibuwalira okutegeera. Abagamba nti: “Kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n’abawandiisi, n’okuttibwa.”—Matayo 16:21-23.
10 Mu myezi nga mwenda oba kkumi okuva kati, ‘Yesu ajja kuva mu nsi muno agende eri Kitaawe.’ (Yesu 13:1) Olw’okuba afaayo nnyo ku bayigirizwa be abeesigwa, asuubiza okukolera abamu ku bo ekintu kyennyini kye yagaana okukolera Abayudaaya abatalina kukkiriza—akabonero okuva mu ggulu. Agamba: “Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n’akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w’omuntu mu bwakabaka bwe.” (Matayo 16:28) Kya lwatu, Yesu tategeeza nti abamu ku bayigirizwa be bajja kubeerawo nga balamu okutuusa ku kuteekebwawo kw’Obwakabaka bwa Masiya mu 1914. Yesu ky’alina mu birowoozo, kwe kuwa abayigirizwa be abasatu ab’oku lusegere okwolesebwa okulaga ekitiibwa ky’ajja okuba nakyo ng’afuga mu Bwakabaka. Okwolesebwa kuno kuyitibwa okufuusibwa kwa Yesu.
11. Nnyonnyola ebyaliwo mu kufuusibwa kwa Yesu.
11 Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga, Yesu atwala Peetero, Yakobo ne Yokaana ku lusozi waggulu—kirabika ku Lusozi Kerumooni. Nga bali eyo, Yesu ‘afuusibwa nga balaba: amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng’omusana.’ Nnabbi Musa ne Nnabbi Eriya nabo balabika era banyumya naye. Kirabika okufuusibwa kuno okwewuunyisa ennyo kubaawo kiro ne kusobola okulabikira ddala obulungi. Mu butuufu kuba kwa ddala gye bali ne kiba nti Peetero asaba okuzimba ensiisira ssatu—emu ya Yesu, endala ya Musa, ate endala ya Eriya. Peetero aba akyayogera, ekire ne kibasiikiriza era eddoboozi ne liva mu kire nga ligamba: “Ono ye mwana wange gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo mumuwulire.”—Matayo 17:1-6.
12, 13. Okufuusibwa kwa Yesu kwakola ki ku bayigirizwa be, era lwaki ogamba bw’otyo?
12 Kyo kituufu nti, gye buvuddeko awo Peetero yayogera nti Yesu ye “Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.” (Matayo 16:16) Kyokka, kiteeberezeemu nga kati awulira Katonda kennyini ng’akakasa nti Yesu Mwana we eyafukibwako amafuta! Ng’okwolesebwa okwo kuteekwa okuba nga kunywezezza nnyo okukkiriza kwa Peetero, Yakobo ne Yokaana! Kati ng’okukkiriza kwabwe kunywezeddwa, basobola okwaŋŋanga ebizibi eby’omu maaso era n’okutuukiriza omulimu omukulu mu kibiina ekinaabaawo mu biseera eby’omu maaso.
13 Abatume bakwatibwako nnyo okufuusibwa okwo. Nga wayiseewo emyaka egissuka mu 30, Peetero awandiika bw’ati: “[Yesu] yaweebwa Katonda Kitaffe ettendo n’ekitiibwa, eddoboozi bwe lyava mu kitiibwa ekimasamasa ne lijja gy’ali bwe liti nti Ono ye Mwana wange omwagalwa, gwe nsanyukira ennyo. N’eddoboozi eryo ffe ne tuliwulira nga liva mu ggulu, bwe twali awamu naye ku lusozi olutukuvu.” (2 Peetero 1:17, 18) Yokaana naye akwatibwako mu ngeri y’emu. Kirabika aba ayogera ku kwolesebwa okwo bw’awandiika ebigambo bino nga wayiseewo emyaka egisukka mu 60: ‘Twalaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng’eky’oyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe.’ (Yokaana 1:14) Kyokka, okufuusibwa okwo si kwe kwolesebwa okwasembayo okuweebwa abagoberezi ba Yesu.
Abeesigwa Beeyongera Okutegeera Ekisingawo
14, 15. Mu ngeri ki omutume Yokaana gye yandibaddewo okutuusa Yesu lw’ajja?
14 Nga Yesu amaze okuzuukira, alabikira abayigirizwa be ku Nnyanja y’e Ggaliraaya. Ng’ali eyo, agamba Peetero: “Bwe njagala [Yokaana] abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki?” (Yokaana 21:1, 20-22, 24) Ebigambo bino bitegeeza nti Yokaana yandiwangadde okusinga abatume abalala? Kirabika bwe kiri, olw’okuba Yokaana aweereza Yakuwa n’obwesigwa emyaka emirala nga 70. Kyokka, ebigambo bya Yesu ebyo birina amakulu agasingawo.
15 Ebigambo “okutuusa we ndijjira” bitujjukiza ebigambo bya Yesu bino: ‘Okutuusa Omwana w’omuntu lw’alijja mu bwakabaka bwe.’ (Matayo 16:28) Yokaana abeerawo okutuusa Yesu lw’ajja mu ngeri nti, oluvannyuma aweebwa okwolesebwa okw’obunnabbi okukwata ku kujja kwa Yesu ng’Omufuzi mu Bwakabaka. Ng’ebulayo ekiseera kitono afe, ng’ali ku kizinga ky’e Patumo, Yokaana afuna Okubikkulirwa okulimu obubonero obwewuunyisa obw’obunnabbi, obulaga ebintu ebirina okubaawo mu ‘lunaku lwa Mukama waffe.’ Yokaana akwatibwako nnyo okwolesebwa okwo okuwuniikiriza ne kiba nti Yesu bw’agamba nti: “Njija mangu,” Yokaana addamu nti “Amiina: jjangu, Mukama waffe Yesu.”—Okubikkulirwa 1:1, 10; 22:20.
16. Lwaki kikulu okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe?
16 Abantu ab’emitima emirungi ab’omu kyasa ekyasooka bakkiriza nti Yesu ye Masiya. Abo abafuuka abakkiriza beetaaga okunywezebwa mu kukkiriza olw’okuba bali mu bantu abatalina kukkiriza, era balina n’omulimu ogw’okukola, ssaako ebigezo bye bagenda okwolekagana nabyo. Yesu awadde abagoberezi be obukakafu bungi obulaga nti ye Masiya, ate era abawadde okwolesebwa okw’obunnabbi okusobola okubazzaamu amaanyi . Leero tuli wala nnyo mu ‘lunaku lwa Mukama waffe.’ Mu kiseera ekitali kya wala, Kristo ajja kusaanyawo enteekateeka ya Setaani eno embi era anunule abantu ba Katonda. Naffe tuteekwa okunyweza okukkiriza kwaffe nga tukozesa bulungi buli kimu Yakuwa ky’atuwadde okulwana olutalo lwaffe eby’eby’omwoyo.
Bakuumibwa mu Kizikiza ne mu Kubonaabona
17, 18. Njawulo ki ey’amaanyi eyaliwo mu kyasa ekyasooka wakati w’abagoberezi ba Yesu n’abo abaali baziyiza ekigendererwa kya Katonda, era kiki ekyatuuka ku buli kibinja?
17 Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, abayigirizwa be bagondera ekiragiro eky’okumuwaako obujulirwa “mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya bwonna ne mu Samaliya, n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.” (Ebikolwa 1:8) Wadde nga bayigganyizibwa nnyo, Yakuwa ayamba abali mu kibiina Ekikristaayo ekippya okweyongera okutegeera ebintu eby’eby’omwoyo n’okufuna abayigirizwa abapya bangi.—Ebikolwa 2:47; 4:1-31; 8:1-8.
18 Ku luuyi olulala, abo abaziyiza amawulire amalungi ebintu bigenda byongera okubabijjira. Engero 4:19 lugamba bwe luti: “Ekkubo ery’ababi liriŋŋanga ekizikiza, tebamanyi kibeesittaza.” “Ekizikiza” kyeyongera mu 66 C.E. amagye g’Abaruumi bwe gazingiza Yerusaalemi. Awatali nsonga emanyiddwa, Abaruumi bajjulula amagye gaabwe, kyokka oluvannyuma bakomawo mu 70 C.E., era ku luno basaanyawo ekibuga. Okusinziira ku munnabyafaayo Omuyudaaya, Josephus, Abayudaaya abasukka mu kakadde kalamba bafa. Kyokka, Abakristaayo abeesigwa bo bawonawo. Lwaki? Kubanga Abaruumi bwe bajjulula amagye gaabwe, bagondera ekiragiro kya Yesu eky’okudduka.—Lukka 21:20-22.
19, 20. (a) Lwaki abantu ba Katonda tebasaanidde kutya ng’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno egenda esembera? (b) Kintu ki ekikulu Yakuwa kye yayamba abantu be okutegeera ng’omwaka 1914 gunaatera okutuuka?
19 Embeera yaffe efaananako n’eyo eyaliwo. Ekibonyoobonyo ekinene ekibindabinda kye kijja okulaga nti okuzikirizibwa kw’enteekateeka ya Setaani eno embi kutuuse. Kyokka, abantu ba Katonda tebasaanidde kutya kubanga Yesu yabasuubiza nti: “Laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” (Matayo 28:20) Okusobola okunyweza okukkiriza kw’abagoberezi be abaasooka n’okubateekateeka okwaŋŋanga ebyali bigenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso, Yesu yabawa okwolesebwa okulaga ekitiibwa kye eky’omu ggulu ng’afuga nga Masiya Kabaka. Kiri kitya leero? Mu 1914, okwolesebwa okwo kwatuukirizibwa. Era, ng’okutuukirizibwa kwakwo kunywezezza nnyo okukkiriza kw’abantu ba Katonda! Kunywezezza essuubi lyabwe ery’ebiseera eby’omu maaso, era kubayambye okweyongera okutegeera ebintu ebikwata ku Bwakabaka bwa Masiya. Ng’embeera y’omu nsi egenda yeeyongera okwonooneka, “ekkubo ery’abatuukirivu liriŋŋanga omusana ogwakayakana, ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe butuukirira.”—Engero 4:18.
20 Ng’omwaka 1914 tegunnatuuka, akabinja akatono ak’Abakristaayo abaafukibwako amafuta kaatandika okutegeera ebintu ebikulu ebikwata ku kudda kwa Mukama waffe. Ng’ekyokulabirako, okusinziira ku ebyo eby’ayogerwa bamalayika ababiri abaalabikira abatume mu 33 C.E. nga Yesu addayo mu ggulu, baakitegeera nti okudda okwo kwandibadde tekulabibwa. Oluvannyuma lw’ekire okusiikiriza abatume ne baba nga tebakyasobola kulaba Yesu, bamalayika baagamba: ‘Oyo Yesu abaggiddwako okutwalibwa mu ggulu, alijja mu ngeri y’emu nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu.’—Ebikolwa 1:9-11, NW.
21. Kiki ekigenda okwekenneenyezebwa mu kitundu ekiddako?
21 Abagoberezi ba Yesu abeesigwa bokka be baamulaba ng’addayo mu ggulu. Nga bwe kyali mu kufuusibwa, okutwalira wamu ensi teyamanya ng’addayo mu ggulu. Era bwe kityo bwe kyandibadde ne mu kukomawo kwe mu Bwakabaka. (Yokaana 14:19) Abagoberezi be abeesigwa abaafukibwako amafuta bokka be banditegedde nti afuga nga Kabaka. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba engeri okutegeera okwo gye kwandibakutteko ne kubaviirako okukuŋŋaanya obukadde n’obukadde bw’abantu Yesu b’agenda okufuga wano ku nsi.—Okubikkulirwa 7:9, 14.
[Obugambo obuli wansi]
a Kirabika, mu kubatizibwa kwa Yesu, Yokaana yekka ye yawulira eddoboozi lya Katonda. Abayudaaya Yesu b’ayogera nabo ‘tebawuliranga ku ddoboozi lya Katonda wadde okulaba ekifaananyi kye.’—Yokaana 5:37.
Ojjukira?
• Bukakafu ki Yesu bwe yawa okulaga nti ye Masiya, bwe baamuvunaana nti amenya etteeka lya Ssabbiiti era nti muvvoozi?
• Abayigirizwa ba Yesu abaasooka baaganyulwa batya mu kufuusibwa kwe?
• Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti Yokaana yandibaddewo okutuusa lwe yandizze?
• Kwolesebwa ki okw’obunnabbi okwatuukirizibwa mu 1914?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 3]
Yesu yawa obukakafu obulaga nti ye yali Masiya
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Okufuusibwa kwa Yesu kwanyweza okukkiriza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Yokaana yandibaddewo okutuusa ku ‘kujja’ kwa Yesu