Obulamu Obutaggwawo ku Nsi—Ssuubi lya Bakristaayo?
“[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate.”—KUB. 21:4.
1, 2. Tumanya tutya nti Abayudaaya ab’omu kyasa ekyasooka baalina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi?
O MUSAJJA eyali omugagga era nga mututumufu yajja eri Yesu n’afukamira n’amubuuza nti: “Omuyigiriza Omulungi, kiki kye nteekwa okukola okusobola okusikira obulamu obutaggwawo?” (Mak. 10:17) Omusajja oyo yali ayogera ku kufuna obulamu obutaggwawo—naye yali asuubira kubufunira ludda wa? Nga bwe twalaba mu kitundu ekyaggwa, Katonda yawa Abayudaaya essuubi ery’okuzuukira n’okuba abalamu ku nsi emirembe gyonna. N’olwekyo, Abayudaaya bangi ab’omu kyasa ekyasooka baalina essuubi eryo.
2 Kirabika mukwano gwa Yesu Maliza yali amanyi nti wajja kubaayo okuzuukira ku nsi, era bw’atyo yayogera ku mwannyina eyali afudde nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero.” (Yok. 11:24) Kituufu nti Abasaddukaayo ab’omu kiseera ekyo baali tebakkiririza mu kuzuukira. (Mak. 12:18) Kyokka, mu kitabo kye ekiyitibwa Judaism in the First Centuries of the Christian Era, George Foot Moore agamba nti: “Ebiwandiiko . . . eby’omu kyasa ekyokubiri oba ekyasooka ng’embala yaffe tennatandika biraga nti kyali kisuubirwa nti ekiseera kijja kutuuka abantu abaafa bazuukizibwe baddemu okuba abalamu ku nsi.” Omusajja omugagga eyatuukirira Yesu yali ayagala kufuna bulamu obutaggwawo ku nsi.
3. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
3 Leero, amadiini mangi nga kw’ogasse n’abeekenneenya ebikwata ku Baibuli tebakkiriza nti Yesu yayigiriza nti abantu bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna. Abantu abasinga bagamba nti omuntu bw’afa agenda mu ttwale ery’omwoyo. Bwe kityo, abantu bwe basoma Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani ne basanga ebigambo “obulamu obutaggwawo,” bangi balowooza nti bitegeeza bulamu butaggwawo mu ggulu. Naye ekyo kituufu? Yesu yali ategeeza ki bwe yayogera ku bulamu obutaggwawo? Abayigirizwa be bo baali bakitegeera batya? Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byogera ku ssuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi?
Obulamu Obutaggwawo “ng’Ebintu Byonna Bizzibwa Obuggya”
4. Kiki ekinaabaawo “ng’ebintu byonna bizzibwa obuggya”?
4 Baibuli eyigiriza nti Abakristaayo abaafukibwako amafuta bokka be bajja okuzuukizibwa bagende mu ggulu bafuge ensi. (Luk. 12:32; Kub. 5:9, 10; 14:1-3) Kyokka Yesu bwe yayogera ku bulamu obutaggwawo, yali tayogera ku abo bokka. Lowooza ku ekyo Yesu kye yagamba abayigirizwa be oluvannyuma lw’omusajja omugagga okuva mu maaso ge n’agenda ng’anakuwadde olw’okuba yali amugambye aleke ebintu bye byonna amugoberere. (Soma Matayo 19:28, 29.) Yagamba abatume be nti baali bamu ku abo abandifuze nga bakabaka, era nti bandiramudde “ebika bya Isiraeri ekkumi n’ebibiri,” nga bano be bantu abalala bonna abatatwalibwa mu ggulu kufuga. (1 Kol. 6:2) Yesu era yagamba nti “buli muntu” amugoberera ajja kufuna empeera. Abantu abo nabo bajja ‘kufuna obulamu obutaggwaawo.’ Bino byonna bijja kubaawo “ng’ebintu byonna bizzibwa obuggya.”
5. Ebigambo “ebintu byonna bizzibwa obuggya” bitegeeza ki?
5 Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yayogera ku ‘bintu byonna okuzzibwa obuggya’? Mu nkyusa eyitibwa The Bible—An American Translation, ebigambo ebyo byavvuunulwa “ensi empya.” Mu nkyusa eyitibwa The Jerusalem Bible byavvuunulwa “byonna bwe binazzibwa obuggya” ne mu The Holy Bible—New International Version byavvuunulwa “okuzzibwa obuggya okw’ebintu byonna.” Yesu okuba nti yayogera ebigambo ebyo naye n’atabinnyonnyola kiraga nti yali ayogera ku kintu Abayudaaya kye baali bategeera obulungi. Ebintu byonna ku nsi byali bya kuzzibwa buggya bibe nga bwe byali mu lusuku Adeni nga Adamu ne Kaawa tebannayonoona. Ebintu bwe binazzibwa obuggya, Katonda kye yasuubiza nti “ntonda eggulu eriggya, n’ensi empya” kijja kuba kituukiridde.—Is. 65:17.
6. Olugero lw’endiga n’embuzi lutuyigiriza ki ku ssuubi ly’obulamu obutaggwawo?
6 Yesu era yayogera ku bulamu obutaggwawo bwe yali ayogera ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu. (Mat. 24:1-3) Yagamba nti: “Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye ng’ali wamu ne bamalayika bonna, alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa. Amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge era alyawula abantu ng’omusumba bw’ayawula endiga okuva mu mbuzi.” Abo abalisalirwa omusango “baligenda mu kufa okw’olubeerera, naye abatuukirivu baligenda mu bulamu obutaggwaawo.” “Abatuukirivu” abaweebwa obulamu obutaggwawo beebo abayamba “baganda” ba Kristo abaafukibwako amafuta. (Mat. 25:31-34, 40, 41, 45, 46) Okuva bwe kiri nti abaafukibwako amafuta baalondebwa okufuga mu Bwakabaka obw’omu ggulu, “abatuukirivu” bateekwa kuba nga beebo abanaabeera ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka obwo. Baibuli yalagula nti: “[Kabaka wa Yakuwa] anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, era okuva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z’ensi.” (Zab. 72:8) Abo abanaafugibwa Kabaka oyo bajja kufuna obulamu obutaggwawo ku nsi.
Enjiri ya Yokaana Eraga Ki?
7, 8. Ssuubi ki ery’emirundi ebiri Yesu lye yayogerako ng’ayogera ne Nikodemu?
7 Mu Njiri ya Matayo, eya Makko, n’eya Lukka, Yesu yakozesa ebigambo “obulamu obutaggwawo” nga bwe tulabye waggulu. Mu Njiri ya Yokaana, Yesu akozesa ebigambo obulamu obutaggwawo emirundi 17. Ka tulabe Yesu bye yayogera ku bulamu obutaggwawo ku nsi ku gimu ku mirundi egyo.
8 Okusinziira ku Yokaana, obulamu obutaggwawo Yesu yasooka kubwogerako ng’ayogera n’Omufalisaayo ayitibwa Nikodemu. Yamugamba nti: “Okuggyako ng’omuntu azaaliddwa amazzi n’omwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” Abo abayingira mu Bwakabaka obw’omu ggulu bateekwa ‘okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri.’ (Yok. 3:3-5) Yesu teyakoma awo, wabula yayogera ne ku ssuubi abantu abalala bonna lye bandibadde nalyo. (Soma Yokaana 3:16.) Yesu yali ayogera ku bulamu obutaggwawo abagoberezi be abaafukibwako amafuta bwe bandifunye mu ggulu, era n’abalala bwe bajja okufuna ku nsi.
9. Yesu yayogera ku ssuubi ki bwe yali ng’ayogera n’omukazi Omusamaliya?
9 Bwe yamala okwogera ne Nikodemu ng’ali e Yerusaalemi, Yesu yatambula ng’adda e Ggaliraaya. Yali tannatuuka n’asanga omukazi ku luzzi lwa Yakobo mu kibuga Sukali eky’omu Samaliya. Yamugamba nti: “Buli anywa ku mazzi ge nnaamuwa, taliddamu kulumwa nnyonta, naye gajja kufuuka mu ye ensulo eneevangamu amazzi agawa obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 4:5, 6, 14) Amazzi gakiikirira enteekateeka zonna Katonda z’akoze okuyamba abantu okufuna obulamu obutaggwawo, nga mw’otwalidde n’abo abajja okubeera ku nsi. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti Katonda yennyini agamba nti: “Oyo alumwa ennyonta ndimuwa buwa amazzi agava mu nsulo ez’amazzi ag’obulamu.” (Kub. 21:5, 6; 22:17) Bwe kityo, Yesu yabuulira omukazi Omusamaliya ebikwata ku bulamu obutaggwawo abaafukibwako amafuta n’abo abanaabeera ku nsi bwe bandiweereddwa.
10. Kiki ekikwata ku bulamu obutaggwawo Yesu kye yagamba abo abaamuvumirira olw’okuwonya omusajja ku kidiba ky’e Besuzasa?
10 Omwaka ogwaddako ng’ali e Yerusaalemi, Yesu yawonya omusajja omulwadde eyali ku kidiba ky’e Besuzasa. Yesu yagamba Abayudaaya abaamuvumirira olw’okukola ekyo nti “Omwana tayinza kukola kintu kyonna ku bubwe, wabula ekyo ky’alaba nga Kitaawe akola.” Oluvannyuma lw’okubagamba nti Katonda “obuyinza bwonna obw’okusala omusango abukwasizza Mwana,” Yesu yagamba nti: “Oyo awulira ekigambo kyange n’akkiriza oyo eyantuma alina obulamu obutaggwaawo.” Yesu era yagamba nti: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi [ly’Omwana w’omuntu] ne bavaamu, abo abaakolanga ebintu ebirungi balizuukirira obulamu, n’abo abaakolanga ebintu ebibi balizuukirira omusango.” (Yok. 5:1-9, 19, 22, 24-29) Yesu yali agamba Abayudaaya abaali bamuyigganya nti ye Katonda gwe yalonda okutuukiriza ekisuubizo ekyaweebwa Abayudaaya eky’okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi, ng’ekyo yandikikoze ng’azuukiza abafu.
11. Tumanya tutya nti Yesu bye yayogera ebiri mu Yokaana 6:48-51 bizingiramu essuubi ly’obulamu obutaggwawo ku nsi?
11 Yesu bwe yali e Ggaliraaya, abantu bangi baamugoberera nga baagala abawe emmere mu ngeri ey’ekyamagero. Naye Yesu yababuulira ku kika ky’emmere kirala—‘emmere ey’obulamu.’ (Soma Yokaana 6:40, 48-51.) Yagamba nti: ‘Emmere gye nnaagaba gwe mubiri gwange.’ Yesu yawaayo obulamu bwe, si ku lw’abo bokka abandifuze naye mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu, naye ne “ku lw’obulamu bw’ensi,” nga bano be bantu abalala bonna ab’emitima emirungi. “Omuntu yenna bw’alya ku mmere eno,” kwe kugamba, bw’akkiririza mu ssaddaaka ya Yesu, aba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo. Bino byonna biraga nti Yesu bye yayogera ku ‘ky’okubeerawo emirembe gyonna’ byali bizingiramu essuubi Abayudaaya lye baalina ery’obulamu obutaggwawo ku nsi mu kiseera ky’obufuzi bwa Masiya.
12. Ssuubi ki Yesu lye yali ayogerako bwe yagamba abo abaali bamuwakanya nti ‘ajja kuwa endiga ze obulamu obutaggwawo’?
12 Oluvannyuma, bwe yali mu Yerusaalemi ku Mbaga ey’Okuzza Obuggya, Yesu yagamba abo abaali bamuwakanya nti: “Temukkiriza kubanga temuli ndiga zange. Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nzimanyi, era zingoberera. Nziwa obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 10:26-28) Wano Yesu yali ayogera ku bulamu bwa mu ggulu bwokka, oba yali ayogera ne ku bulamu obutaggwawo mu Lusuku lwa Katonda ku nsi? Waali waakayita ekiseera kitono bukya Yesu agamba abayigirizwa be nti: “Temutya mmwe ekisibo ekitono, kubanga Kitammwe yasiima okubawa obwakabaka.” (Luk. 12:32) Kyokka bwe yali ku mbaga eyo, Yesu yagamba nti: “Nnina endiga endala ezitali za mu kisibo kino; nazo nnina okuzireeta.” (Yok. 10:16) Bwe kityo, obulamu obutaggwawo Yesu bye yayogerako ng’ali n’abo abaali bamuwakanya bwali buzingiramu obwo ‘ab’ekisibo ekitono’ bwe bajja okuweebwa mu ggulu, ‘n’ab’endiga endala’ bwe bajja okuweebwa ku nsi.
Ekintu Ekyali Kiteetaagisa Kunnyonnyola
13. Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda”?
13 Bwe yali ku muti ogw’okubonaabona, Yesu yakiraga bulungi nti abantu bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna. Omu ku bakozi b’obubi yamugamba nti: “Yesu, onzijukiranga bw’olituuka mu bwakabaka bwo.” Yesu yamusuubiza nti: “Mazima nkugamba leero nti, Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Luk. 23:42, 43) Olw’okuba omusajja ono yali Muyudaaya, kyali tekyetaagisa kumunnyonnyola bikwata ku Lusuku lwa Katonda. Yali amanyi nti mu biseera eby’omu maaso abantu bajja kufuna obulamu obutaggwawo ku nsi.
14. (a) Kiki ekiraga nti eky’okugenda mu ggulu abatume tebaakitegeera mu kusooka? (b) Abagoberezi ba Yesu baategeera ddi ebikwata ku ssuubi ery’okufuna obulamu mu ggulu?
14 Ekintu ekyali kyetaagisa okunnyonnyola kye ky’abantu okufuna obulamu mu ggulu. Yesu bwe yayogera ku ky’okugenda mu ggulu okubateekerateekera ekifo, abayigirizwa be tebaategeera kye yali agamba. (Soma Yokaana 14:2-5.) Oluvannyuma yabagamba nti: “Nkyalina ebintu bingi eby’okubabuulira naye temuyinza kubitegeera kaakano. Naye oyo bw’alijja, omwoyo ow’amazima, alibawa obulagirizi ng’abayamba okutegeerera ddala amazima.” (Yok. 16:12, 13) Abagoberezi ba Yesu baamala kufukibwako mafuta ku Pentekoote eya 33 E.E. ne balyoka bakitegeera nti baali ba kutuula ku ntebe ez’obwakabaka mu ggulu. (1 Kol. 15:49; Bak. 1:5; 1 Peet. 1:3, 4) Eky’okusikira obulamu mu ggulu kyali kipya gye bali, era essuubi lino lye lissibwako essira mu bbaluwa eziri mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani. Naye ebbaluwa zino zoogera ne ku ssuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo ku nsi?
Ebbaluwa Ezaaluŋŋamizibwa Zigamba Ki?
15, 16. Ebbaluwa eri Abebbulaniya n’ebigambo bya Peetero biraga bitya nti wajja kubaawo obulamu obutaggwawo ku nsi?
15 Mu baluwa ye eri Abebbulaniya, omutume Pawulo bakkiriza banne yabayita “ab’oluganda abatukuvu abalina omugabo mu kuyitibwa okw’omu ggulu.” Kyokka era yagamba nti ‘ensi egenda okujja’ Katonda yagiteeka wansi w’obuyinza bwa Yesu. (Beb. 2:3, 5; 3:1) Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekigambo “ensi” kikozesebwa emirundi mingi nga kitegeeza ensi omuli abantu. Bwe kityo, ‘ensi egenda okujja’ ye nteekateeka y’ebintu ejja okubaawo mu biseera by’obufuzi bwa Yesu Kristo. Olwo Yesu ajja kutuukiriza Katonda kye yasuubiza nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zab. 37:29.
16 Omutume Peetero naye yaluŋŋamizibwa okuwandiika ku biseera by’abantu eby’omu maaso. Yagamba nti: “Eggulu n’ensi ebiriwo kati biterekeddwa omuliro era bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw’omusango era olw’okuzikiririzaako abantu abatatya Katonda.” (2 Peet. 3:7) Kiki ekinadda mu kifo ky’obufuzi obwogerwako ng’eggulu, ne mu kifo ky’abantu ababi abaliwo leero? (Soma 2 Peetero 3:13.) Wajja kuddawo “eggulu eriggya”—Obwakabaka bwa Katonda obufugibwa Masiya—‘n’ensi empya’—abantu abatuukirivu era abasiimibwa Katonda.
17. Okubikkulirwa 21:1-4 woogera ki ku biseera by’abantu eby’omu maaso?
17 Ebyo ebiri mu kitabo ekisembayo mu Baibuli ebyogera ku kiseera abantu lwe baliba nga batuukiridde bituzzaamu nnyo amaanyi. (Soma Okubikkulirwa 21:1-4.) Lino lye ssuubi abantu abakkiririza mu Katonda lye babadde nalyo okuviira ddala omuntu lwe yayonoona mu lusuku Adeni. Abantu abatuukirivu bajja kubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna awatali kukaddiwa. Essuubi lino lyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya n’eby’Oluyonaani, era lizzaamu nnyo abaweereza ba Yakuwa abeesigwa amaanyi.—Kub. 22:1, 2.
Osobola Okunnyonnyola?
• Yesu yali ategeeza ki bwe yayogera ku bintu ‘okuzzibwa obuggya’?
• Kiki Yesu kye yagamba Nikodemu?
• Kiki Yesu kye yasuubiza omusajja omubi bwe baakomererwa awamu?
• Ebbaluwa eri Abebbulaniya n’ebigambo bya Peetero biraga bitya nti wajja kubaawo obulamu obutaggwawo ku nsi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Abantu abalinga endiga bajja kufuna obulamu obutaggwawo ku nsi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]
Yesu yabuulira abalala ebikwata ku bulamu obutaggwawo