ESSOMO 21
Amawulire Amalungi Gabuulirwa Gatya?
Yakuwa anaatera okuggyawo ebizibu byonna bye twolekagana nabyo ng’akozesa Obwakabaka bwe. Amawulire ago malungi nnyo ne kiba nti tetusobola kugasirikira. Yesu yalagira abagoberezi be okubuulirako buli muntu amawulire ago! (Matayo 28:19, 20) Abajulirwa ba Yakuwa bakoledde batya ku kiragiro kya Yesu ekyo?
1. Ebigambo ebiri mu Matayo 24:14 bituukirizibwa bitya leero?
Yesu yagamba nti: “Amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna.” (Matayo 24:14) Abajulirwa ba Yakuwa banyumirwa okukola omulimu ogwo omukulu ennyo. Tubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna mu nnimi ezisukka mu 1,000! Omulimu guno omunene ennyo gwetaagisa okufuba okw’amaanyi era n’okukolebwa mu ngeri entegeke obulungi. Teguyinza kukolebwa awatali buyambi bwa Yakuwa.
2. Biki bye tukola okusobola okubuulira abantu?
Tubuulira mu bifo byonna we tusobola okusanga abantu. Okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka, tubuulira “nnyumba ku nnyumba.” (Ebikolwa 5:42) Enkola eyo etusobozesa okutuuka ku bantu bukadde na bukadde buli mwaka. Okuva bwe kiri nti oluusi tetusanga bantu mu maka gaabwe, tubuulira ne mu bifo ebya lukale. Bulijjo tukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa ne ku bigendererwa bye.
3. Baani abalina okukola omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi?
Abakristaayo bonna ab’amazima balina okubuulira abalala amawulire amalungi. Obuvunaanyizibwa obwo tubutwala nga bukulu nnyo. Tufuba okubuulira ng’embeera zaffe bwe ziba zitusobozesa kubanga tukimanyi nti obulamu bw’abantu buli mu kabi. (Soma 1 Timoseewo 4:16.) Tetusasulwa kukola mulimu ogwo kubanga Bayibuli egamba nti: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.” (Matayo 10:7, 8) Abantu ne bwe batawuliriza bubaka bwaffe, tweyongera okubuulira kubanga okubuulira kitundu kya kusinza kwaffe era kisanyusa Yakuwa.
YIGA EBISINGAWO
Manya ebisingawo ku ngeri Abajulirwa ba Yakuwa gye babuuliramu mu nsi yonna era n’engeri Yakuwa gy’atuyambamu.
4. Tufuba okutuusa obubaka ku bantu bonna
Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okutuusa amawulire amalungi ku bantu yonna gye bali. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.
Ggwe owulira otya bw’olowooza ku kufuba Abajulirwa ba Yakuwa kwe bateekamu okusobola okubuulira amawulire amalungi?
Soma Matayo 22:39 ne Abaruumi 10:13-15, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Omulimu gwaffe ogw’okubuulira gulaga gutya nti twagala bantu bannaffe?
Yakuwa atwala atya abo ababuulira amawulire amalungi?—Laba olunyiriri 15.
5. Tukolera wamu ne Katonda
Waliwo ebyokulabirako bingi ebiraga nti Yakuwa atuwa obulagirizi nga tukola omulimu guno. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu ayitibwa Paul abeera mu New Zealand bwe yali abuulira nnyumba ku nnyumba, yasanga omukyala omu. Ku olwo lwennyini ku makya, omukyala oyo yali asabye Katonda ng’akozesa erinnya lye Yakuwa, n’amugamba wabeewo ajja okumubuulira. Paul agamba nti: “Nga wayise essaawa ssatu, nnatuuka ku nnyumba y’omukyala oyo.”
Soma 1 Abakkolinso 3:9, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Ebyokulabirako, gamba ng’ekyo ekyaliwo mu New Zealand, biraga bitya nti Yakuwa atuyambako nga tukola omulimu gw’okubuulira?
Soma Ebikolwa 1:8, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki twetaaga obuyambi bwa Yakuwa okusobola okukola omulimu gw’okubuulira?
Obadde okimanyi?
Buli wiiki, mu lukuŋŋaana olubaawo wakati mu wiiki, tutendekebwa engeri y’okukolamu omulimu gw’okubuulira. Bw’oba nga wali obaddeko ku lumu ku nkuŋŋaana ezo, kiki ky’olowooza ku kutendekebwa okwo?
6. Tugondera ekiragiro Katonda kye yatuwa eky’okubuulira
Mu kyasa ekyasooka, abalabe ba Yesu baagezaako okulemesa abagoberezi be okubuulira. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baalwanirira eddembe lyabwe ery’okubuulira ‘nga bayitira mu mateeka.’ (Abafiripi 1:7) Abajulirwa ba Yakuwa nabo bakola kye kimu leero.a
Soma Ebikolwa 5:27-42, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Lwaki tetusobola kulekera awo kubuulira?—Laba olunyiriri 29, 38, ne 39.
OMUNTU AYINZA OKUKUBUUZA NTI: “Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa babuulira nnyumba ku nnyumba?”
Wandizzeemu otya?
MU BUFUNZE
Yesu yalagira abagoberezi be okubuulira amawulire amalungi mu mawanga gonna. Yakuwa ayamba abantu be okukola omulimu ogwo.
Okwejjukanya
Amawulire amalungi gabuulirwa gatya mu nsi yonna?
Omulimu gwe tukola ogw’okubuulira gulaga gutya nti twagala bantu bannaffe?
Olowooza okubuulira kusobola okuleeta essanyu? Lwaki ogamba bw’otyo?
LABA EBISINGAWO
Laba engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye babuuliramu abantu mu bibuga ebinene.
Biki Abajulirwa ba Yakuwa bye bakoze okusobola okubuulira abanoonyi b’obubudamu?
Laba essanyu abo ababuulira ekiseera kyonna lye bafuna.
Ndi Musanyufu Okuba nti Nnasalawo Okukola Omulimu Guno (6:29)
Laba engeri obuwanguzi bwe tutuuseeko mu kkooti gye butusobozesezza okweyongera okubuulira amawulire amalungi.
a Katonda ye yatulagira okukola omulimu gw’okubuulira. N’olwekyo, Abajulirwa ba Yakuwa tebeetaaga kufuna lukusa okuva eri ab’obuyinza okubuulira amawulire amalungi.