‘Teweemulugunya’
“Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga.”—ABAFIRIPI 2:14.
1, 2. Kubuulirira ki omutume Pawulo kwe yawa Abakristaayo ab’omu Firipi ne Kkolinso, era lwaki?
OMUTUME Pawulo yasiima nnyo Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ab’omu kibiina ky’omu Firipi, mu bbaluwa ye gye yabawandiikira. Yasiima bakkiriza banne ab’omu kibuga ekyo olw’omwoyo ogw’okugaba n’olw’obunyiikivu bwabwe, era n’ayoleka essanyu olw’ebikolwa byabwe ebirungi. Wadde kyali kityo, Pawulo yabajjukiza nti: “Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga.” (Abafiripi 2:14) Lwaki omutume yababuulirira bw’atyo?
2 Pawulo yali amanyi ekiyinza okuva mu kwemulugunya. Emyaka mitono emabega, yajjukiza ekibiina ky’omu Kkolinso nti kya kabi okwemulugunya. Pawulo yagamba nti Abaisiraeri bwe baali mu ddungu, banyiiza Yakuwa enfunda n’enfunda. Mu ngeri ki? Nga beegomba ebintu ebibi, basinza ebifaananyi nga benda, nga bakema Yakuwa era nga beemulugunya. Pawulo yakubiriza Abakkolinso okuyigira ku ebyo ebyaliwo. Yagamba: “Era temwemulugunyanga, ng’abamu ku bo bwe beemulugunya, ne bazikirizibwa omuzikiriza.”—1 Abakkolinso 10:6-11.
3. Lwaki kikulu okwogera ku kwemulugunya leero?
3 Ng’abaweereza ba Yakuwa ab’omu kiseera kino, twoleka omwoyo ng’ogwo Abakristaayo ab’omu kibiina kya Firipi gwe baayoleka. Naffe twoleka ebikolwa ebirungi era twagalana. (Yokaana 13:34, 35) Kyokka, olw’okuba okwemulugunya kwaleetawo akabi mu bantu ba Katonda ab’edda, kiba kirungi okugoberera okubuulirira kuno: “Mukolenga byonna awatali kwemulugunyanga.” Ka tusooke twekkenneenye ebyo ebikwata ku bantu abeemulugunya aboogerwako mu Byawandiikibwa. Oluvannyuma, tujja kulaba kye tuyinza okukola okusobola okwewala akabi akayinza okuva mu kwemulugunya leero.
Ekibiina eky’Abantu Ababi Abeemulugunyiza Yakuwa
4. Abaisiraeri beemulugunya batya nga bali mu ddungu?
4 Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa ‘okwemulugunya, oba okutolotooma’ kikozesebwa mu Baibuli nga kikwataganyizibwa n’ebyo ebyaliwo mu myaka 40 Abaisiraeri gye baamala mu ddungu. Emirundi egimu, Abaisiraeri tebaali bamativu n’embeera y’obulamu bwe baalimu era baakiraga nga beemulugunya. Ng’ekyokulabirako, nga wakayitawo wiiki ntono bukya banunulwa mu buddu e Misiri, ‘ekibiina kyonna eky’abaana ba Isiraeri beemulugunyiza Musa ne Alooni.’ Bwe baali tebalina mmere, Abaisiraeri beemulugunya nga bagamba nti: “Waakiri twandifiiridde olw’omukono gwa Mukama mu nsi ey’e Misiri, bwe twali tutudde awali entamu ez’ennyama, bwe twali tulya emmere nga tukkuta; kubanga mwatufulumya mu ddungu lino, okutta ekibiina kino kyonna n’enjala.”—Okuva 16:1-3.
5. Abaisiraeri bwe beemulugunyiza, ani ddala gwe beemulugunyiza?
5 Mu butuufu, Yakuwa yawa Abaisiraeri emmere n’amazzi, ebintu bye baali beetaaga nga bali mu ddungu. Abaisiraeri baali tebayinza kufa njala nga baali mu ddungu. Kyokka, olw’obutaba bamativu baazimbulukusa ekizibu kyabwe ne batandika okwemulugunya. Wadde nga beemulugunyiza Musa ne Alooni, Yakuwa yakitwala nti baali beemulugunyiza ye. Musa yagamba Abaisiraeri nti: “Mukama awulidde okwemulugunya kwammwe kwe mumwemulugunyiza: naffe ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama.”—Okuva 16:4-8.
6, 7. Nga bwe kiragibwa mu Okubala 14:1-3, endowooza y’Abaisiraeri yali ekyuse etya?
6 Akaseera katono oluvannyuma lw’ekyo, Abaisiraeri baddamu okwemulugunya. Musa yatuma abasajja 12 okugenda okuketta Ensi ensuubize. Kkumi ku bo baaleeta lipoota embi. Kiki ekyavaamu? “Abaana ba Isiraeri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni: ekibiina kyonna ne babagamba nti Singa twafiira mu nsi y’e Misiri! Oba singa twafiira mu ddungu muno! Era Mukama atuleetera ki mu nsi muno, okugwa n’ekitala? Bakazi baffe n’abaana baffe abato baliba munyago: si kye kisinga obulungi gye tuli okuddayo mu Misiri?”—Okubala 14:1-3.
7 Ng’endowooza y’Abaisiraeri yali ekyuse nnyo! Mu kusooka baalaga okusiima bwe baanunulwa mu Misiri ne mu Nnyanja Emmyufu era ne kibaleetera okuyimba nga batendereza Yakuwa. (Okuva 15:1-21) Kyokka, olw’embeera embi gye baalimu mu ddungu era n’olw’okutya Abakanani, baalekera awo okusiima Yakuwa ne batandika okwemulugunya. Mu kifo ky’okusiima Katonda olw’okubanunula, bamunenya nga bakitwala nti alina ebintu by’atabawadde. N’olwekyo, okwemulugunya kwalaga nti tebasiima ebyo Yakuwa bye yali abawa. Tekyewuunyisa nti yabagamba nti: “Ndituusa wa okugumiikiriza ekibiina kino ekibi, abanneemulugunyiza?”—Okubala 14:27; 21:5.
Okwemulugunya Okwaliwo mu Kyasa Ekyasooka
8, 9. Waayo ebyokulabirako okuva mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani eby’abantu abeemulugunya.
8 Ebyokulabirako ebyo eby’okwemulugunya bye tulabye bikwata ku bantu abaayoleka mu lujjudde obutali bumativu bwabwe. Kyokka, Yesu Kristo bwe yali mu Yerusaalemi ku Mbaga ey’Ensiisira mu 32 C.E., ‘waabaawo okumuunyamuunya kungi mu bibiina.’ (Yokaana 7:12, 13, 32) Baali bakubagana obwama nga bamwogerako, abamu nga bagamba nti yali musajja mulungi, ate abalala nti teyali mulungi.
9 Ku mulundi omulala, Yesu n’abayigirizwa baakyala mu maka ga Leevi, oba Matayo omuwooza. “Abafalisaayo n’abawandiisi baabwe ne beemulugunyiza abayigirizwa be, nga bagamba nti Kiki ekibaliisa n’okunywera awamu n’abawooza n’abantu abalina ebibi?” (Lukka 5:27-30) Ate oluvannyuma ng’ali mu Ggaliraaya, ‘Abayudaaya beemulugunya olw’okuba Yesu yagamba nti Nze mmere eyava mu ggulu.’ N’abamu ku bagoberezi ba Yesu beesittala olw’ebyo bye yayogera era ne batandika okwemulugunya.—Yokaana 6:41, 60, 61.
10, 11. Lwaki Abayudaaya abaali boogera Oluyonaani beemulugunya, era abakadde mu kibiina basobola batya okuganyulwa mu ngeri okwemulugunya okwo gye kwakwatibwamu?
10 Okwemulugunya okwaliwo oluvannyuma lwa Penteekoote 33 C.E kwavaamu ebirungi. Abayigirizwa bangi abapya abataali baamu Isiraeri baali basembezeddwa bakkiriza bannaabwe abaali mu Buyudaaya, naye wajjawo obuzibu ku bikwata ku ngabanya y’ebintu. Ekyawandiikibwa kigamba nti: “Ne wabaawo okwemulugunya mu Bakerenisiti [Abayudaaya aboogera Oluyonaani] ku Baebbulaniya, kubanga bannamwandu baabwe baabafissanga mu kuweereza okwa bulijjo.”—Ebikolwa 6:1.
11 Abeemulugunya abo tebaalinga Abaisiraeri abaali mu ddungu. Abayudaaya aboogera Oluyonaani tebeemulugunya olw’okuba tebaali bamativu n’embeera y’obulamu bwabwe. Baayogera ku ky’okulemererwa okukola ku bwetaavu bwa bannamwandu abamu. Ate era, abo abeemulugunya tebaaleetawo buzibu nga beemulugunyiza Yakuwa mu lujjude. Okwemulugunya kwabwe bakutwala eri abatume, abaakolerawo enteekateeka ensonga zaabwe okukolwako, kubanga kye baali beemulugunyizaako kyali kituufu. Ng’abatume bateerawo abakadde leero ekyokulabirako ekirungi ennyo! Abasumba bano eb’eby’omwoyo, bakakasa nti ‘tebaziba matu gaabwe omwavu bw’akaaba.’— Engero 21:13; Ebikolwa 6:2-6.
Weewale Akabi Akava mu Kwemulugunya
12, 13. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga ebiva mu kwemulugunya. (b) Kiki ekiyinza okuleetera omuntu okwemulugunya?
12 Ebyokulabirako ebisinga obungi bye tulabye okuva mu Byawandiikibwa, biraga nti okwemulugunya kwaleetawo akabi ak’amaanyi mu bantu ba Katonda mu biseera ebyayita. N’olwekyo, tusaanidde okulowooza ennyo ku kabi akayinza okuva mu kwemulugunya leero. Ekyokulabirako kino wammanga kiyinza okutuyamba okulaba akabi akayinza okuvaamu. Ebyuma ebisinga obungi bitera okutalagga. Ekyuma bwe kitafiibwako nga kyakatandika okutalagga, kiyinza okutalaggira ddala ne kyonooneka nga tekikyayinza kukozesebwa. Ebyuma bingi nnyo birekera awo okukozesebwa si lwa kuba biba byonoonese naye lwa kuba biba bitalaze nnyo nga tebikyayinza kukozesebwa. Tuyinza tutya okukwataganya ekyokulabirako kino n’okwemulugunya?
13 Ng’ebyuma bwe bitera okutalagga, n’abantu abatatuukiridde nabo batera okwemulugunya. Twandibadde bulindaala okulaba obanga tutandise okufuna omwoyo gw’okwemulugunya. Ng’amazzi n’omunnyo bwe bireetera ekyuma okutalagga amangu, n’ebizibu bituleetera okwemulugunya. Embeera enzibu eyinza okuviirako ekizibu ekitono okulabika ng’eky’amaanyi. Ng’embeera mu nnaku zino ez’oluvannyuma zeeyongera okwonooneka, ebintu ebiviirako okwemulugunya biyinza okweyongera. (2 Timoseewo 3:1-5) N’olwekyo, omuweereza wa Yakuwa omu ayinza okutandika okwemulugunyiza omulala. Ensonga eyinza okuviirako okwemulugunya eyinza obutaba ya maanyi. Eyinza okuva ku bunafu bw’omulala, obusobozi obw’omuntu omulala oba enkizo y’obuweereza ey’omuntu omulala.
14, 15. Lwaki tetwandirese kwemulugunya kweyongera maaso?
14 K’ebe nsonga ki eba tetusanyusizza, singa tuleka omwoyo gw’okwemulugunya okweyongera mu maaso, kiyinza okutuviirako obutaba bamativu n’okubeera abantu abeemulugunya buli kiseera. Mazima ddala, okwemulugunya kuyinza okutwonoonera ddala mu by’omwoyo. Abaisiraeri bwe beemulugunya olw’embeera gye baalimu mu ddungu, baatuuka n’okunenya Yakuwa. (Okuva 16:8) Kikafuwe ffe okukola ekyo!
15 Ekyuma kiyinza okusigibwa langi kireme okutalagga era n’ebitundu ebiba bitalazze ne bikolwako mangu. Mu ngeri yemu, singa naffe tulaba nga tutandise okufuna omwoyo gw’okwemulugunya, tuyinza okuvvuunuka ekizibu ekyo singa tusaba amangu ago era ne tufuba okukukomya. Mu ngeri ki?
Tunuulira Ebintu nga Yakuwa bw’Abitunuulira
16. Tuyinza tutya okuvvuunuka omwoyo gw’okwemulugunya?
16 Okwemulugunya kutuleetera okwerowoozaako n’okwemalira ku kulowooza ku bizibu byaffe ne kutwerabiza emikisa gye tufuna ng’Abajulirwa ba Yakuwa. Okusobola okuvvuunuka ekizibu ky’okwemulugunya, twetaaga okulowooza ku mikisa gye tufuna. Ng’ekyokulabirako, buli omu ku ffe alina enkizo ey’okuyitibwa erinnya lya Yakuwa. (Isaaya 43:10) Tuyinza okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere naye, era ekiseera kyonna tuyinza okwogera n’Oyo “awulira okusaba.” (Zabbuli 65:2; Yakobo 4:8) Obulamu bwaffe bulina amakulu kubanga tutegeera ensonga ekwata ku bufuzi bw’obutonde bwonna era tukimanyi nti tulina okukuuma obugolokofu eri Katonda. (Engero 27:11) Tusobola okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka obutayosa. (Matayo 24:14) Okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu Kristo kutusobozesa okubeera n’omuntu ow’omunda omulungi. (Yokaana 3:16) Gino gye mikisa gye tufuna ka tube nga twolekaganye na bizibu ki.
17. Lwaki twanditunuulidde ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira, ne bwe tuba n’ensonga entuufu etuleetera okwemulugunya?
17 Ka tugezeeko okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira so si nga ffe bwe tubitunuulira. Dawudi omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Ondage amakubo go, ai Mukama; onjigirize empenda zo.” (Zabbuli 25:4) Bwe tuba n’ensonga entuufu okwemulugunya, Yakuwa aba agiraba. Asobola okutereeza ensonga mu bwangu ddala. Kati olwo, lwaki ebiseera ebimu aleka ebizibu okweyongera okubaawo? Abirekawo okutuyamba okukulaakulanya engeri ennungi gamba nga, obugumiikiriza, n’okukkiriza.—Yakobo 1:2-4.
18, 19. Waayo ekyokulabirako ekiraga ebiyinza okuva mu kugumiikiriza ebizibu awatali kwemulugunya.
18 Bwe tugumiikiriza embeera enzibu awatali kwemulugunya, tekituyamba kulongoosa mu ngeri zaffe kyokka naye era kisikiriza abalala abalaba engeri gye tweyisaamu. Mu 2003 waaliwo Abajulirwa ba Yakuwa abaali batambulira mu bbaasi nga bava e Bugirimaani nga bagenda ku lukuŋŋaana olunene mu Hungary. Omuvuzi wa bbaasi teyali Mujulirwa, era yali tayagala kubeera na Bajulirwa ba Yakuwa okumala ennaku ezo ekkumi. Kyokka, ku nkomerero y’olugendo olwo, yali akyusizza endowooza ye. Lwaki?
19 Ku lugendo olwo, waaliwo ebintu bingi ebitaagenda bulungi. Naye Abajulirwa tebeemulugunya. Omuvuzi wa bbaasi yagamba nti Abajulirwa be basaabaze abasingayo obulungi be yali abaddeko nabo! Mu butuufu, yasuubiza nti Abajulirwa bwe balijja mu maka ge, ajja kubaaniriza era abawulirize bulungi. Ng’abasaabaze abo baawa ekifaananyi kirungi nnyo nga ‘bakola ebintu byonna awatali kwemulugunya’!
Okusonyiwa Kuleetawo Obumu
20. Lwaki buli omu yandisonyiye munne?
20 Watya singa tuba n’ensonga gye twemulugunya ku muganda waffe? Ensonga eyo bw’eba ya maanyi nnyo, tuyinza okugoberera omusingi oguli mu bigambo Yesu bye yayogera ebisangibwa mu Matayo 18:15-17. Okuva bwe kiri nti ensobi za baganda baffe tezitera kuba za maanyi, kiba tekyetaagisa kugoberera musingi ogwo. Singa ensobi teba ya maanyi, lwaki tokozesa mukisa ogwo okusonyiwa muganda wo? Pawulo yawandiika: “Muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw’abeeranga n’ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo. Ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira.” (Abakkolosaayi 3:13, 14) Tuli beetegefu okumusonyiwa? Yakuwa talina nsonga emuleetera okutwemulugunyako? Kyokka, atusaasira era n’atusonyiwa enfunda n’enfunda.
21. Abo abawuliriza okwemulugunya bayinza kukwatibwako batya?
21 Ka kibe kintu ki ekitakusanyusizza, okwemulugunya tekujja kugonjoola nsonga. Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivvuunulwa “okwemulugunya” era kiyinza okutegeeza “okutolotooma.” Awatali kubuusabuusa, tetwagala kubeera na muntu yeemulugunya buli kiseera era tugezaako okumwewala. Singa twemulugunya oba tutolotooma, abo abatuwuliriza nabo bayinza okuwulira obubi. Mu butuufu, kiyinza okubayisa obubi ne batuuka n’okutwewala! Omuntu ayinza okwagala okumanya lwaki otolotooma naye tayinza kusikirizibwa kubeera mukwano gwo.
22. Kiki omuwala omu kye yayogera ku Bajulirwa ba Yakuwa?
22 Okusonyiwa abalala kutumbula obumu—ekintu abantu ba Yakuwa kye batwala ng’eky’omuwendo. (Zabbuli 133:1-3) Mu nsi emu eya Bulaaya, omuwala Omukatuliki ow’emyaka 17 yawandiika ebbaluwa ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa ng’abasiima. Yagamba: “Kye kibiina kyokka kye manyi ekitaawuliddwamu olw’obukyayi, omululu, obutagumiikirizigana, n’okwerowoozaako.”
23. Kiki kye tujja okwogerako mu kitundu ekiddako?
23 Okusiima emikisa egy’eby’omwoyo gye tufuna ng’abasinza ba Katonda ow’amazima, Yakuwa, kijja kutuyamba okutumbula obumu n’okwewala okwemulugunya ng’abalala balina kye batukoze. Ekitundu ekiddako kijja kutulaga engeri Katonda z’atuyigiriza eziyinza okutuyamba okwewala okwemulugunya okw’akabi ennyo—okwemulugunyiza ekibiina kya Yakuwa eky’oku nsi.
Ojjukira?
• Kiki ekizingirwa mu kwemulugunya?
• Byakulabirako ki ebiraga akabi akayinza okuva mu kwemulugunya?
• Kiki ekiyinza okutuyamba obuteeyongera kwemulugunya?
• Okubeera abeetegefu okusonyiwa kuyinza kutya okutuyamba okwewala okwemulugunya?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Mu butuufu Abaisiraeri beemulugunyizza Yakuwa!
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]
Ogezaako okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 12]
Okusonyiwa kuleetawo obumu mu Bakristaayo