-
Bayibuli—Bubaka bwa Katonda Gye TuliNyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
-
-
6. Kitabo kya bantu bonna
Bayibuli kye kitabo ekisinzeeyo okuvvuunulwa n’okubunyisibwa mu byafaayo. Soma Ebikolwa 10:34, 35, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Lwaki Katonda ayagala Ekigambo kye okuvvuunulwa mu nnimi nnyingi n’okubunyisibwa wonna?
Kiki ekikwata ku Bayibuli ekisinga okukukwatako?
Kyenkana abantu
bonna
mu nsi
basobola okufuna Bayibuli mu lulimi lwe bategeera
Eri mu nnimi
ezisukka mu
3,000
mu bulambalamba oba mu bitundu
Bayibuli ezikubiddwa ziri nga
5,000,000,000
era nnyingi nnyo okusinga ekitabo ekirala kyonna
-
-
Osobola Okuba Mukwano gwa YakuwaNyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
-
-
3. Kiki Yakuwa ky’asuubira mu mikwano gye?
Yakuwa ayagala abantu bonna okutwalira awamu, “naye abagolokofu abafuula mikwano gye egy’oku lusegere.” (Engero 3:32) Yakuwa asuubira mikwano gye okufuba okukola ebintu by’atwala nti birungi n’okwewala ebyo by’atwala nti bibi. Abamu balowooza nti tebasobola kutuukiriza ebyo Katonda by’abasuubiramu. Naye Yakuwa alina ekisa kingi nnyo. Asembeza buli muntu amwagala mu bwesimbu era afuba okukola ebimusanyusa.—Zabbuli 147:11; Ebikolwa 10:34, 35.
-
-
Kuuma Obumu mu KibiinaNyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
-
-
4. Weggyeemu obusosoze
Tulina okwagala baganda baffe bonna. Naye oluusi kiyinza okutuzibuwalira okwagala abo be tulaba ng’ab’enjawulo ku ffe. Kiki ekiyinza okutuyamba? Soma Ebikolwa 10:34, 35, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Yakuwa asembeza gy’ali abantu aba buli ngeri. Ekyo kisaanidde kukwata kitya ku ngeri gye tutwalamu abo be tulaba ng’ab’enjawulo ku ffe?
Busosoze bwa ngeri ki obuli mu kitundu gy’obeera bwe wandyagadde okwewala?
Soma 2 Abakkolinso 6:11-13, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Oyinza otya okukola omukwano ne bakkiriza banno bonna?
-