Wuliriza Eddoboozi ly’Omuntu Wo ow’Omunda
‘Ab’amawanga abatalina mateeka ga Katonda bakola mu buzaaliranwa eby’amateeka.’—ABARUUMI 2:14.
1, 2. (a) Mu ngeri ki abantu bangi gye balaze nti bafaayo ku balala? (b) Byakulabirako ki ebiri mu Byawandiikibwa ebiraga engeri abamu gye baafaayo ku balala?
OMUSAJJA ow’emyaka 20 bwe yali alinda eggaali y’omukka, yagwa ensimbu n’agwa mu luguudo lw’eggaali y’omukka. Omusajja omu bwe yamulaba, yata buwala bwe bwe yali akutte ku mikono n’agenda amuyambe. Yasika omusajja oyo eyali agudde ensimbu okuva mu luguudo lw’eggaali y’omukka n’amuwonya okulinnyibwa eggaali y’omukka eyali ejja. Abamu bandigambye nti omusajja oyo eyawonya munne yali muzira, naye ye yagamba bw’ati: “Omuntu asaanidde okukola ekituufu. Nkikoze lwa kisa. So si kwefunira ttutumu.”
2 Oyinza okuba ng’olina omuntu gy’omanyi eyassa obulamu bwe mu kabi okusobola okuyamba abalala. Bangi baakola bwe batyo mu Ssematalo II, bwe baakwekanga abantu be batamanyi. Ate jjukira ebyaliwo eryato omutume Pawulo n’abantu abalala 275, mwe baali bwe lyamenyekera e Merita, ekiri okumpi ne Sisiri. Abantu abaali babeera mu kitundu ekyo bajja okubadduukirira wadde nga baali tebalina kye babamanyiiko, era ne babalaga “obulungi obutali bwa bulijjo.” (Ebikolwa 27:27–28:2) Ate era ojjukira omuwala Omuisiraeri, eyalaga ekisa omu ku Basuuli abaali bamututte mu buwambe wadde nga ye okukola ekyo ayinza okuba nga teyassa bulamu bwe mu kabi? (2 Bassekabaka 5:1-4) Lowooza ne ku lugero lwa Yesu olumanyiddwa ennyo olw’Omusamaliya omulungi. Kabona n’Omuleevi baayita buyisi ku Muyudaaya munnaabwe eyali abulako katono okufa, kyokka ye Omusamaliya yayimirira n’amuyamba. Olugero luno lukutte ku mitima gy’abantu bangi mu byasa by’emyaka ebizze biyitawo.—Lukka 10:29-37.
3, 4. Eky’okuba nti abantu baagala okuyamba abalala kiraga ki ku ndowooza egamba nti abantu baava mu bisolo?
3 Kituufu nti tuli mu ‘biro eby’okulaba ennaku’; abantu bangi ‘bakambwe’ era ‘tebaagala bulungi.’ (2 Timoseewo 3:1-3) Wadde kiri kityo, tulabye abantu abakolera bannaabwe ebikolwa eby’ekisa, ng’oboolyawo naffe kennyini tulagiddwa ekisa eky’engeri ng’eyo. Abantu okwagala okuyamba abalala kya bulijjo era abamu bakitwala nti kya mu butonde.
4 Eky’okuba nti abantu mu bitundu byonna eby’ensi baagala okuyamba abalala wadde nga kiyinza okwetaagisa okwefiiriza kikontana n’endowooza egamba nti abantu baava mu nsolo olw’okuba zo mu butonde tezifaayo ku zinnaazo. Francis S. Collins, munnasayansi Omumerika yagamba nti: “Abo abakkiriza nti abantu baava mu nsolo bagamba nti abantu mu bika byabwe beefaako bokka okufaananako ebisolo. Kyokka ekituufu kiri nti abantu ab’ekika ekimu baafaayo ku b’ebika ebirala ne bwe kiba nti kyetaagisa okwefiiriza olw’abo be batalina kye bafaanaganya. Kino kikontana n’endowooza egamba nti abantu baava mu bisolo.”
“Eddoboozi ly’Omuntu ow’Omunda”
5. Kiki ekyetegerezeddwa ennyo mu bantu?
5 Ng’ayogera ku mwoyo ogw’okufaayo ku balala Dr. Collins agamba bw’ati: “Eddoboozi ly’omuntu ow’omunda litukubiriza okuyamba abalala wadde nga tetulina kye tugenda kusasulwa.”a Ky’ayogera wano ku ‘muntu ow’omunda’ kiyinza okutujjukiza ensonga omutume Pawulo gye yaggumiza bwe yagamba nti: “Buli ab’amawanga abatalina mateeka lwe bakola mu buzaaliranwa ebintu eby’omu mateeka, abantu abo, wadde nga tebalina mateeka bo bennyini beebeerera amateeka. Era balaga nti omulimu gw’amateeka guwandiikiddwa mu mutima gyabwe, ng’omuntu waabwe ow’omunda awa nabo obujulirwa era mu birowoozo byabwe nga bavunaanibwa omusango oba bejjeerezebwa.”—Abaruumi 2:14, 15, NW.
6. Lwaki abantu bonna bavunaanyizibwa eri Omutonzi?
6 Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, Pawulo yakiraga nti abantu bavunaanyizibwa eri Katonda kubanga ebintu ebirabwako biraga nti gy’ali era byoleka engeri ze. Ekyo kibadde bwe kityo ‘okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi.’ (Abaruumi 1:18-20; Zabbuli 19:1-4) Kyo kituufu nti bangi basudde muguluka Omutonzi waabwe era beenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu. Kyokka, Katonda ayagala abantu bagoberere ekkubo lye ery’obutuukirivu era beenenye ebikolwa byabwe ebibi. (Abaruumi 1:22–2:6) Abayudaaya baali basobola bulungi okukola bwe batyo kubanga baali baweereddwa Amateeka ga Katonda okuyitira mu Musa. Kyokka n’abantu abataalina ‘bigambo bya Katonda’ bandibadde bategeera nti Katonda gy’ali.—Abaruumi 2:8-13; 3:2.
7, 8. Obusobozi bw’okumanya ekituufu n’ekikyamu busangibwa mu baani, era kino kiraga ki?
7 Emu ku nsonga enkulu lwaki abantu bonna basaanidde okukkiririza mu Katonda n’okukola by’ayagala eri nti balina obusobozi obw’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu. Eky’okuba nti mu butonde twagala obwenkanya kiraga nti tulina omuntu ow’omunda. Lowooza ku mbeera eno: Abaana abato basimbye layini okukozesa ekyesuubo. Omu ku bo ava emabega n’ayisa banne abali mu layini. Amangu ago banne bamugamba nti, ‘Ekyo si kya bwenkanya n’akamu!’ Kati weebuuze, ‘Kijja kitya okuba nti n’abaana abo abato basobola okumanya ekikolwa ekitali kya bwenkanya?’ Ekyo kiraga nti balina obusobozi bw’okumanya ekituufu n’ekikyamu. Pawulo yawandiika nti: “Buli ab’amawanga abatalina mateeka lwe bakola mu buzaaliranwa ebintu eby’omu mateeka.” Teyakozesa kigambo nti, “singa,” nga gy’obeera ky’ayogerako kyali tekitera kubeerawo. Wabula, yakozesa ekigambo “buli,” ng’alaga nti ky’ayogerako kitera okubeerawo. Kwe kugamba, abantu “bakola mu buzaaliranwa ebintu eby’omu mateeka,” amakulu nti muli munda baba bamanyi ekituufu n’ekikyamu era nga basobola okukola ebyo bye tusoma mu mateeka ga Katonda agali mu buwandiike.
8 Obusobozi buno obw’okumanya ekituufu n’ekikyamu abantu babulaze mu nsi nnyingi. Profesa omu ow’omu Cambridge yawandiika nti emitindo gy’empisa Abababulooni, Abamisiri, n’Abayonaani awamu n’abantu abaasooka okubeera mu Australia ne mu Amerika gye baagobereranga gyali gizingiramu “okuvumirira okutulugunya, obutemu, enkwe n’obulimba, era n’amateeka agakubiriza okulaga ekisa abo abakaddiye, abato, n’abanafu.” Ate ye, Dr. Collins yagamba nti: “Okwetooloola ensi, kirabika nti abantu bonna balina obusobozi bw’okumanya ekituufu n’ekikyamu.” Ebigambo ebyo tebikujjukiza ebyo ebiri mu Abaruumi 2:14?
Omuntu Wo ow’Omunda—Akola Atya?
9. Omuntu ow’omunda kye ki, era ayinza kukuyamba atya nga tonnabaako ky’okola?
9 Baibuli eraga nti omuntu wo ow’omunda bwe busobozi bw’olina obw’okutunuulira n’osalawo obanga ebikolwa byo bituufu oba bikyamu. Obeera ng’awulira eddoboozi munda erikugamba obanga ky’oyagala okukola kituufu oba kikyamu. Pawulo yayogera bw’ati ku ddoboozi ery’engeri eyo: “Omuntu wange ow’omunda awa nange obujulirwa okuyitira mu mwoyo omutukuvu.” (Abaruumi 9:1, NW) Ng’ekyokulabirako, omuntu wo ow’omunda ayinza okukubuulirirawo obanga ky’ogenda okukola kituufu oba kikyamu. Ayinza okukuyamba okwekenneenya ky’oyagala okukola era n’akulaga n’engeri gy’oyinza okuwulira singa okikola.
10. Omuntu ow’omunda atera kukola atya?
10 Omuntu wo ow’omunda atera nnyo okukola oluvannyuma lw’okubaako ekintu ky’okoze. Bwe yali emmomboze ng’adduka Kabaka Sawulo, Dawudi yeesanga mu mbeera mwe yali asobola okukolera ekintu ekiweebuula kabaka Katonda gwe yafukako amafuta, era yakikola. Oluvannyuma, ‘Dawudi yalumwa omwoyo.’ (1 Samwiri 24:1-5; Zabbuli 32:3, 5) Wadde ng’ebigambo “omuntu ow’omunda” tebikozesebwa mu nnyiriri ezo, Dawudi omuntu we ow’omunda yamulumiriza. Era naffe omuntu waffe ow’omunda yali atulumirizzaako. Waliwo ekintu kye twakola, naye oluvannyuma lw’okukikola ne tuwulira bubi. Abamu abaali batasasudde misolo gyabwe omuntu waabwe ow’omunda yabalumiriza oluvannyuma ne bagisasula. Abalala abaagwa mu bwenzi omuntu waabwe ow’omunda yabawaliriza okwetondera bannaabwe mu bufumbo. (Abaebbulaniya 13:4) Yee, singa oli akolera ku muntu we ow’omunda, asobola okuwulira essanyu n’emirembe.
11. Lwaki kiyinza okuba eky’akabi okumala ‘gagoberera bugoberezi buli kimu omuntu wo ow’omunda ky’akugamba’? Waayo ekyokulabirako.
11 Kati olwo ekyo kitegeeza nti tusaanidde kumala ‘gagoberera bugoberezi buli kimu omuntu waffe ow’omunda ky’atugamba’? Kyo kituufu nti tulina okuwuliriza omuntu waffe ow’omunda, naye ky’atugamba kiyinza okutuwabya. Yee, eddoboozi ‘ly’omuntu waffe ow’omunda’ liyinza obutatulaga kituufu. (2 Abakkolinso 4:16) Ng’ekyokulabirako, Baibuli eyogera ku Suteefano, omugoberezi wa Kristo omunyiikivu eyali ‘ajjudde ekisa n’amaanyi.’ Abayudaaya abamu baafulumya Suteefano ebweru wa Yerusaalemi ne bamukuba amayinja ne bamutta. Sawulo (oluvannyuma eyafuuka omutume Pawulo) yaliwo era ‘yasiima okuttibwa kwa’ Suteefano. Kirabika Abayudaaya abo baali bakakafu nti kye baali bakoze kyali kituufu ne kiba nti omuntu waabwe ow’omunda teyabalumiriza. Ne Sawulo ateekwa okuba nga bw’atyo bwe yali alowooza, kubanga oluvannyuma lw’ekyo “yali akyayogera ebigambo eby’okukanga n’eby’okutta abayigirizwa ba Mukama waffe.” Kya lwatu, omuntu we ow’omunda kye yali amugamba mu kiseera ekyo tekyali kituufu.—Ebikolwa 6:8; 7:57–8:1; 9:1.
12. Engeri emu omuntu waffe ow’omunda gy’ayinza okwonoonekamu y’eruwa?
12 Kiki ekiyinza okuba nga kye kyali kireetedde omuntu wa Sawulo ow’omunda okubeera bw’atyo? Enkolagana ey’okulusegere gye yalina n’abantu abamu eyinza okuba y’emu ku ebyo ebyayonoona omuntu we ow’omunda. Bangi ku ffe twali twogeddeko n’omuntu ku ssimu ng’alina eddoboozi ng’erya kitaawe. Ayinza okuba ng’eddoboozi eryo yasikira sikire, naye ate era ayinza okuba nga yalikoppa bukoppi. Mu ngeri y’emu, enkolagana ey’oku lusegere Sawulo gye yalina n’Abayudaaya abaali bataagala Yesu era nga bawakanya enjigiriza ze eyinza okuba nga ye yamuleetera okweyisa bw’atyo. (Yokaana 11:47-50; 18:14; Ebikolwa 5:27, 28, 33) Yee, mikwano gya Sawulo bayinza okuba nga balina kinene kye baakola ku ddoboozi ly’omuntu we ow’omunda.
13. Mu ngeri ki embeera y’omu kitundu omuntu mw’ali gy’eyinza okukyamya omuntu we ow’omunda?
13 Era ng’ekitundu omuntu ky’abeeramu bwe kiyinza okumuleetera okukyusa mu ngeri gy’ayogeramu olulimi, n’empisa oba embeera z’omu kitundu ky’alimu ziyinza okubaako kye zikola ku muntu we ow’omunda. (Matayo 26:73) Kiteekwa okuba ng’ekyo kye kyaliwo ku Basuuli ab’edda. Baali bamanyiddwa ng’abalwanyi, era ebifaananyi byabwe bibaraga nga batulugunya abantu be baawambanga. (Nakkumu 2:11, 12; 3:1) Abantu b’omu Nineeve mu kiseera kya Yona boogerwako ng’abaali ‘tebayinza kwawula mukono gwabwe ogwa ddyo n’omukono gwabwe ogwa kkono.’ Kwe kugamba, baali tebalina mitindo mituufu kwe bayinza kusinziira kwawulawo kituufu na kikyamu mu maaso ga Katonda. Kati teeberezaamu omuntu eyali mu Nineeve, engeri embeera eyo gye yayonoonangamu omuntu we ow’omunda! (Yona 3:4, 5; 4:11) Mu ngeri y’emu leero, omuntu wo ow’omunda ayinza okwonoonebwa abo b’obeeramu.
Okutereeza Eddoboozi ly’Omuntu ow’Omunda
14. Okuba nti tulina omuntu ow’omunda kirina kakwate ki n’ebyo ebiri mu Olubereberye 1:27?
14 Yakuwa yawa Adamu ne Kaawa ekirabo eky’omuntu ow’omunda, naffe bwe tutyo ne tukisikira. Olubereberye 1:27 watugamba nti abantu baakolebwa mu kifaananyi kya Katonda. Ekyo tekitegeeza nti tufaanana Katonda mu ndabika, kubanga ye alina omubiri gwa mwoyo. Tuli mu kifaananyi kya Katonda kubanga tulina engeri ze, era nga tulina obusobozi bw’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu nga tweyambisa omuntu waffe ow’omunda. Okumanya ekyo kisobola okutuyamba okutegeera engeri emu gye tusobola okuyamba omuntu waffe ow’omunda n’asobola okuba nga ddala yeesigika. Engeri eno kwe kweyongera okuyiga ebikwata ku Mutonzi n’okunyweza enkolagana yaffe naye.
15. Engeri emu gye tuganyulwamu olw’okumanya Kitaffe y’eruwa?
15 Baibuli eraga nti mu ngeri emu Yakuwa ye Kitaffe ffenna. (Isaaya 64:8) Abakristaayo abeesigwa, ka babe ng’essuubi lyabwe lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi, bwe baba basaba bayinza okuyita Katonda Kitaabwe. (Matayo 6:9) Tusaanidde okweyongera okunyweza enkolagana yaffe ne Kitaffe era tuyige endowooza ye ne emitindo gye. (Yakobo 4:8) Naye bangi kino tebaagala kukikola. Baalinga Abayudaaya Yesu be yagamba nti: “Temwawulira ddoboozi lye n’akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye. So temulina kigambo nga kibeeera mu mmwe.” (Yokaana 5:37, 38) Tetuwuliranga ku ddoboozi lya Katonda lyennyini, naye tusobola okufuna endowooza ye nga tusoma ekigambo kye, bwe kityo ne tumufaanana era ne tulowooza nga ye.
16. Bye tusoma ku Yusufu bitulaga bitya obukulu bw’okutendeka n’okuwuliriza omuntu waffe ow’omunda?
16 Bye tusoma ku Yusufu ng’ali mu nnyumba ya Potifali biraga ekyo. Muka Potifali yagezaako okusendasenda Yusufu. Wadde ng’ekiseera we yabeererawo tewaaliwo kitabo kya Baibuli na kimu ekyali mu buwandiike, era nga n’Amateeka Ekkumi gaali tegannaweebwa, Yusufu yagamba nti: “Nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n’okusobya [mu maaso ga] Katonda?” (Olubereberye 39:9) Teyayogera bw’atyo kusanyusa b’ewaabwe kubanga baali babeera wala nnyo. Okusinga byonna yali ayagala kusanyusa Katonda. Yusufu yali amanyi omutindo gwa Katonda ogukwata ku bufumbo kwe kugamba omusajja omu alina kuba na mukazi omu, era nga bombi bali “omubiri gumu.” Era oboolyawo yali awulidde ku ngeri Abimereki gye yawuliramu ng’ategedde nti Lebbeeka yali mufumbo—nti kyandibadde kibi omusajja omulala okumweddiza, era nga kyandireese omusango ku bantu be. Yakuwa yawa omukisa ebyo ebyavaamu era n’ekiraga endowooza gy’alina ku bwenzi. Yusufu okumanya ebyafaayo ebyo kirabika kyayongera okunyweza omuntu we ow’omunda, ne kimuleetera okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu.—Olubereberye 2:24; 12:17-19; 20:1-18; 26:7-14.
17. Mu kufuba okufaanana Kitaffe, nkizo ki ze tusinza Yusufu?
17 Kya lwatu, tulina kye tusinza Yusufu. Tulina Baibuli mu bulambalamba etusobozesa okumanya endowooza ya Kitaffe n’enneewulira ye, nga mw’otwalidde n’ebyo by’ayagala ne by’akyawa. Gye tukoma okutegeera Ebyawandiikibwa, gye tukomya okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda era n’okumufaanana. Bwe tukola bwe tutyo, omuntu waffe ow’omunda by’atugamba bijja kweyongera okukwatagana n’endowooza ya Kitaffe. Era bijja kuba nga byeyongerayongera okukwatagana n’ekigendererwa Kye.—Abaefeso 5:1-5.
18. Wadde ng’omuntu waffe ow’omunda ayinza okuba nga yakyamizibwa, tusobola kukola ki okumutereeza?
18 Ate embeera mwe twakulira ziyinza kukola ki ku muntu waffe ow’omunda? Endowooza n’ebikolwa by’ab’eŋŋanda zaffe awamu n’enneeyisa y’abantu b’omu kitundu gye twakulira biyinza okuba nga birina kye byatukolako. N’olwekyo, ebyo omuntu waffe ow’omunda by’atugamba biyinza okuba nga si birungi oba si bituufu. Ayinza okuba nga yayonoonebwa abantu abatwetoolodde. Kyo kituufu nti tetusobola kukyusa byayita; naye tusobola okulonda emikwano n’embeera eneesobozesa omuntu waffe ow’omunda okukola obulungi. Kikulu okubeeranga awamu n’Abakristaayo abeesigwa abamaze ebbanga eddene nga bafuba okufaanana Kitaabwe. Okusobola okutuuka ku kino, tulina okubeerangawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina, n’okunyumyako n’ab’oluganda nga tezinnatandika oba nga ziwedde. Tuyinza okwetegereza endowooza ya Bakristaayo bannaffe eyeesigamiziddwa ku Baibuli n’engeri gye beeyisaamu ng’omuntu waabwe ow’omunda abalaze endowooza ya Katonda n’amakubo ge. Oluvannyuma lw’ekiseera, kino kijja kutuyamba okukwataganya omuntu waffe ow’omunda n’emisingi gya Baibuli, kituleetere okwoleka obulungi ekifaananyi kya Katonda. Bwe tunaagenda tukwataganya omuntu waffe ow’omunda n’emisingi gya Kitaffe era ne tugoberera ebyokulabirako bya Bakristaayo bannaffe ebirungi, ajja kweyongera okuba nga yeesigika era tujja kweyongera okwagala okumuwuliriza.—Isaaya 30:21.
19. Bintu ki ebirala ebikwata ku muntu ow’omunda bye tujja okwekenneenya?
19 Kyokka, bangi basanga obuzibu okuwuliriza ekyo omuntu waabwe ow’omunda ky’abagamba. Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku mbeera ezimu Abakristaayo ze boolekaganye nazo. Bwe twekenneenya embeera ezo, tujja kusobola okweyongera okutegeera obulungi ekyo omuntu ow’omunda ky’akola, lwaki abantu bayinza okuba n’omuntu ow’omunda ow’enjawulo, n’engeri gye tusobola okwongera okuwuliriza eddoboozi lye.—Abaebbulaniya 6:11, 12.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu ngeri y’emu, Owen Gingerich, omukugu mu by’obwengula, ow’omu Harvard University, yawandiika nti: “Okwekenneenya ebikwata ku nneeyisa y’ebisolo kiyinza obutatuyamba kumanya lwaki abantu bafaayo ku balala. Kyandiba nti Katonda yatuwa engeri zino, nga mw’otwalidde n’omuntu ow’omunda, ezituleetera okweyisa bwe tutyo.”
Oyize Ki?
• Lwaki bantu bonna balina obusobozi obw’okwawulawo ekituufu n’ekikyamu oba omuntu ow’omunda?
• Lwaki tetulina kumala gagendera ku ekyo omuntu waffe ow’omunda ky’atugamba?
• Ezimu ku ngeri ezisobola okutuyamba okutereeza omuntu waffe ow’omunda ze ziruwa?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Dawudi yalumirizibwa omuntu we ow’omunda . . .
naye si bwe kyali eri Sawulo ow’e Taluso
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Tusobola okutendeka omuntu waffe ow’omunda