-
Abakadde mu Kibiina—’Bakozi Bannaffe olw’Essanyu Lyaffe’Omunaala gw’Omukuumi—2013 | Jjanwali 15
-
-
6, 7. (a) Abakadde bayinza batya okukoppa Yesu, Pawulo, n’abaweereza ba Katonda abalala? (b) Lwaki ab’oluganda basanyuka nnyo bwe tubayita amannya gaabwe?
6 Ab’oluganda bangi baagamba nti kibasanyusa nnyo abakadde bwe balaga nti babafaako. Ekyo abakadde bakikola nga bakoppa ekyokulabirako kya Dawudi, Eriku, ne Yesu. (Soma 2 Samwiri 9:6; Yobu 33:1; Lukka 19:5.) Buli omu ku baweereza ba Yakuwa abo yalaga nti afaayo ku balala ng’abayita amannya gaabwe. Omutume Pawulo naye yali akimanyi nti kikulu nnyo okukozesa amannya ga bakkiriza banne. Bwe yali akomekkereza emu ku bbaluwa ze, yatumira bakkiriza banne abasukka mu 25 ng’ayogera n’amannya gaabwe. Omu ku abo be yatumira yali Perusi, gwe yayogerako ng’agamba nti: “Mulamuse Perusi omwagalwa waffe.”—Bar. 16:3-15.
-
-
Abakadde mu Kibiina—’Bakozi Bannaffe olw’Essanyu Lyaffe’Omunaala gw’Omukuumi—2013 | Jjanwali 15
-
-
8. Pawulo yakoppa atya Yakuwa ne Yesu?
8 Pawulo era yalaga nti yali afaayo ku balala ng’abasiima era ng’eyo ye ngeri endala abakadde gye bayinza okuyamba bakkiriza bannaabwe okuweereza Katonda nga basanyufu. Mu bbaluwa gye yawandiikira Abakkolinso, Pawulo yabagamba nti: “Mbenyumiririzaamu nnyo.” (2 Kol. 7:4) Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo ab’oluganda mu Kkolinso amaanyi. Pawulo era yasiima n’ab’oluganda abaali mu bibiina ebirala. (Bar. 1:8; Baf. 1:3-5; 1 Bas. 1:8) Mu bbaluwa gye yawandiikira ab’oluganda mu Rooma, Pawulo yagamba nti Perusi “yakola emirimu mingi mu Mukama waffe.” (Bar. 16:12) Nga Perusi ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bwe yawulira ebigambo ebyo ebirungi Pawulo bye yamwogerako! Pawulo yakoppa Yakuwa ne Yesu ng’asiima abalala olw’ebirungi bye baali bakola.—Soma Makko 1:9-11; Yokaana 1:47; Kub. 2:2, 13, 19.
-