‘Oneeyongera Okutambulira mu Mwoyo’?
“Mutambulirenga mu [m]woyo, kale temuutuukirizenga kwegomba kwa mubiri.”—ABAGGALATIYA 5:16.
1. Kiki ekisobola okuyamba omuntu okuggwaamu okweraliikirira nti ayinza okwonoona eri omwoyo omutukuvu?
OMUNTU bw’aba yeeraliikirira nti ayinza okwonoona eri omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu, okweraliikirira okwo kusobola okumuggwamu. Kino kisoboka bw’akola ekyo omutume Pawulo kye yagamba nti: “Mutambulirenga mu [m]woyo, kale temuutuukirizenga kwegomba kwa mubiri.” (Abaggalatiya 5:16) Singa tuleka omwoyo gwa Katonda okutukulembera, okwegomba kw’omubiri okubi tekujja kutuwangula.—Abaruumi 8:2-10.
2, 3. Tunaaganyulwa tutya singa tweyongera okutambulira mu mwoyo?
2 Bwe ‘tutambulira mu mwoyo,’ amaanyi ga Katonda ago agakola gajja kutuyamba okumugondera. Tujja kwoleka engeri ze nga tubuulira, nga tuli mu kibiina, nga tuli awaka n’awalala wonna. Ebibala by’omwoyo era bijja kweyolekera mu ngeri gye tuyisaamu bannaffe mu bufumbo, abaana baffe, basinza bannaffe, n’abantu abalala.
3 Okuba abalamu “mu mwoyo okusinziira ku ndaba ya Katonda” kituyamba okwewala okukola ekibi. (1 Peetero 4:1-6, NW) Bwe tuleka omwoyo okutukulembera, tetujja kukola kibi kyonna ekitasonyiyibwa. Naye tunaaganyulwa mu ngeri ki endala singa tweyongera okutambulira mu mwoyo?
Beera Kumpi ne Katonda ne Kristo
4, 5. Okutambulira mu mwoyo kikwata kitya ku ngeri gye tutwalamu Yesu?
4 Olw’okuba tutambulira mu mwoyo, tusobola okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda n’Omwana we. Ng’awandiika ku birabo eby’omwoyo, Pawulo yagamba bakkiriza banne ab’omu Kkolinso nti: “Kyenva mbategeeza [mwe abaali basinza ebifaananyi] nga siwali muntu bw’ayogera mu [m]woyo gwa Katonda agamba nti Yesu akolimiddwa; so siwali muntu ayinza okwogera nti Yesu ye Mukama waffe, wabula mu [m]woyo [o]mutukuvu.” (1 Abakkolinso 12:1-3) Omwoyo gwonna oguleetera abantu okukolimira Yesu gulina kuba nga guva wa Setaani Omulyolyomi. Kyokka, ng’Abakristaayo abatambulira mu mwoyo omutukuvu, tuli bakakafu nti Yakuwa yazuukiza Yesu okuva mu bafu era n’amugulumiza okusinga ebitonde byonna. (Abafiripi 2:5-11) Tukkiririza mu ssaddaaka ya Kristo era tukkiriza nti Yesu ye Mukama Katonda gwe yatuteerawo.
5 Abamu ku baali beetwala okuba Abakristaayo mu kyasa ekyasooka C.E. baali tebakkiriza nti Yesu yajja mu mubiri. (2 Yokaana 7-11) Endowooza eyo enkyamu yaleetera abamu obutakkiriza njigiriza ntuufu ekwata ku Kristo, Masiya. (Makko 1:9-11; Yokaana 1:1, 14) Okutambulira mu mwoyo omutukuvu kituyamba obutatwalirizibwa ndowooza za bakyewaggula ng’ezo. Naye okusobola okweyongera okufuna ekisa kya Yakuwa ‘n’okutambuliranga mu mazima,’ tulina okulaba nti tufaayo nnyo ku by’omwoyo. (3 Yokaana 3, 4) N’olwekyo ka tube bamalirivu okwewala bakyewaggula bonna tusobole okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaffe ow’omu ggulu.
6. Abo abatambulira mu mwoyo gwa Katonda gubayamba kubala bibala ki?
6 Okuddira okusinza ebifaananyi n’okwesalamu, Pawulo yabiteeka mu kiti kimu ‘n’ebikolwa eby’omubiri’ ng’obwenzi n’obukaba. Kyokka yagamba nti: ‘Abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri wamu n’okwegomba kwagwo. Bwe tuba abalamu ku bw’omwoyo era tutambulenga ku bw’omwoyo.’ (Abaggalatiya 5:19-21, 24, 25) Abo abatambulira mu mwoyo gwa Katonda gubayamba kubala bibala ki? Pawulo yawandiika nti: “Ebibala by’[o]mwoyo kwe kwagala, okusanyuka [“essanyu,” NW], emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza [“okwefuga,” NW].” (Abaggalatiya 5:22, 23) Ka twetegereze ebibala by’omwoyo bino.
‘Mwagalanenga’
7. Okwagala kye ki, era ebimu ku biraga nti omuntu alina engeri eno bye biruwa?
7 Okwagala—ekimu ku bibala by’omwoyo—kutera okutwaliramu okufaayo ennyo ku balala, n’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere nabo. Ebyawandiikibwa bigamba nti “Katonda kwagala” kubanga y’asingirayo ddala okwoleka engeri eno. Ekinunulo kya Yesu Kristo kiraga nti Katonda n’Omwana we baagala nnyo olulyo lw’omuntu. (1 Yokaana 4:8; Yokaana 3:16; 15:13; Abaruumi 5:8) Okuba nti twagalana ke kabonero akalaga nti tuli bagoberezi ba Yesu. (Yokaana 13:34, 35) Mu butuufu, tulagirwa ‘okwagalananga.’ (1 Yokaana 3:23) Era Pawulo agamba nti okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Tekuba na buggya, era tekwekulumbaza, tekukola bitasaana, oba okunoonya ebyakwo. Okwagala tekunyiiga oba okusiba obubi ku mwoyo. Kusanyukira amazima, so si bitali bya butuukirivu. Okwagala kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, era kuzibiikiriza byonna. Ate era, okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna.—1 Abakkolinso 13:4-8.
8. Lwaki tusaanidde okulaga basinza bannaffe okwagala?
8 Singa tuleka omwoyo gwa Katonda ne gutuyamba okwoleka okwagala, tujja kuba n’enkolagana ennungi ne Katonda era ne baliraanwa baffe. (Matayo 22:37-39) Omutume Yokaana yawandiika nti: “Atayagala abeera mu kufa. Buli muntu yenna akyawa muganda we ye mussi; era mumanyi nga tewali mussi alina obulamu obutaggwaawo nga bubeera mu ye.” (1 Yokaana 3:14, 15) Omussi yali asobola okufuna obuddukiro mu kimu ku bibuga bya Isiraeri ebiddukirwamu singa yabanga tabadde na mpalana yonna ku muntu gw’asse. (Ekyamateeka 19:4, 11-13) Singa tuba tukulemberwa omwoyo omutukuvu, tujja kulaga okwagala eri Katonda, basinza bannaffe, n’abantu abalala.
“Essanyu lya Mukama ge Maanyi Gammwe”
9, 10. Bintu ki ebituleetera essanyu?
9 Yakuwa ‘Katonda musanyufu.’ (1 Timoseewo 1:11; Zabbuli 104:31) Omwana asanyukira okukola Kitaawe by’ayagala. (Zabbuli 40:8; Abaebbulaniya 10:7-9) Era “essanyu lya Mukama ge maanyi [gaffe].”—Nekkemiya 8:10.
10 Essanyu Katonda ly’atuwa lituyamba okuba abamativu nga tukola by’ayagala, ka tube nga tuli mu biseera bizibu, bya nnaku, oba nga tuyigganyizibwa. ‘Ng’okumanya Katonda’ kuleetera essanyu lingi nnyo! (Engero 2:1-5) Enkolagana yaffe ennungi ne Katonda yesigamye ku kuba nti tumukkiririzaamu, tukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu era tulina okumanya okutuufu. (1 Yokaana 2:1, 2) Okubeera n’oluganda olwa nnamaddala olw’ensi yonna nakyo kituleetera essanyu. (Zeffaniya 3:9; Kaggayi 2:7) Essuubi lyaffe ery’Obwakabaka n’enkizo ey’ekitalo ey’okulangirira amawulire amalungi gye tulina nabyo bituleetera essanyu. (Matayo 6:9, 10; 24:14) Essuubi ly’okufuna obulamu obutaggwaawo nalyo lituleetera essanyu. (Yokaana 17:3) Essuubi ng’eryo ery’ekitalo, lisaanye kutuleetera ‘ssanyu jjereere.’—Ekyamateeka 16:15.
Mubeere ba Mirembe era Bagumiikiriza
11, 12. (a) Emirembe kye ki? (b) Emirembe gya Katonda gituyamba gitya?
11 Emirembe—ekibala ky’omwoyo ekirala—kwe kubeera omutebenkevu era nga tolina kikweraliikiriza. Kitaffe ow’omu ggulu ye Katonda ow’emirembe, era tukakasibwa nti: “Mukama omukisa gw’aliwa abantu be gye mirembe.” (Zabbuli 29:11; 1 Abakkolinso 14:33) Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa.” (Yokaana 14:27) Ekyo kyandiyambye kitya abagoberezi be?
12 Emirembe Yesu gye yawa abayigirizwa be gyabakkakkanya emitima n’ebirowoozo ne baba nga tebakyatya nnyo. Naddala baawebwa emirembe bwe baafuna omwoyo omutukuvu ogwabasuubizibwa. (Yokaana 14:26) Okusaba kwaffe bwe kuddibwamu ne tufuna omwoyo omutukuvu, tufuna “emirembe gya Katonda” egitageraageranyizika era tuba bateefu mu mutima ne mu birowoozo. (Abafiripi 4:6, 7) Ate era, omwoyo gwa Yakuwa gutuyamba okuba abakkakkamu era ab’emirembe nga tukolagana ne basinza bannaffe n’abantu abalala.—Abaruumi 12:18; 1 Abasessaloniika 5:13.
13, 14. Okugumiikiriza kye ki, era lwaki tusaanidde okukwoleka?
13 Okugumiikiriza kulina akakwate n’okuba ow’emirembe kubanga okugumiikiriza kitegeeza okusigala ng’oli mukkakkamu ng’ofunye ekizibu olw’okuba oba olina essuubi nti embeera ejja kulongooka. Katonda mugumiikiriza. (Abaruumi 9:22-24) Ne Yesu alaga obugumiikiriza. Tusobola okuganyulwa mu bugumiikiriza bwa Yesu kubanga Pawulo yawandiika nti: “Kyennava nsaasirwa Yesu Kristo alyoke alabisize mu nze ow’olubereberye okugumiikiriza kwe kwonna, okubeeranga ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiriza olw’obulamu obutaggwaawo.”—1 Timoseewo 1:16.
14 Okuba abagumiikiriza kituyamba okusigala nga tuli bakkakkamu bwe wabaawo abatwogeddeko oba abatukoze ekikyamu. Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne nti: “Mugumiikirizenga eri bonna.” (1 Abasessaloniika 5:14) Okuva bwe kiri nti ffenna tetutuukiridde era tukola ensobi, twandyagadde abalala okutukwata mu ngeri ey’obukkakkamu, n’okutugumiikiriza bwe tubaako ekikyamu kye tubakoze. N’olw’ekyo ka tufube “okugumiikiriza n’essanyu.”—Abakkolosaayi 1:9-12, NW.
Mulage Ekisa n’Obulungi
15. Ekisa kye ki, era waayo ebyokulabirako eby’abantu ab’ekisa.
15 Ekisa kwe kufaayo ku balala mu bigambo ne mu bikolwa. Yakuwa wa kisa era Omwana naye bw’atyo. (Abaefeso 1:5, 6; Yokaana 1:14) Abaweereza ba Katonda ne Kristo balina okuba ab’ekisa. (Mikka 6:8; Abakkolosaayi 3:12) N’abantu abamu abatalina nkolagana na Katonda balaze “ekisa ekitali kya bulijjo.” (Ebikolwa 27:3 NW; 28:2, NW) N’olw’ekyo, tusobola okuba ab’ekisa singa ‘tweyongera okutambulira mu mwoyo.’
16. Ezimu ku mbeera ezandituleetedde okulaga ekisa ze ziruwa?
16 Tusobola okulaga ekisa ne bwe waba nga waliwo ayogedde oba akoze ekintu ekitunyiizizza. Pawulo yagamba nti: “Musunguwalenga so temwonoonanga: enjuba eremenga okugwa ku busungu bwammwe: so temuwanga bbanga Setaani. . . . [mubenga ba] kisa, nga musonyiwagananga, era nga Katonda bwe yabasonyiwa mu Kristo.” (Abaefeso 4:26, 27, 32) Naddala kyetaagisa okulaga ekisa eri abo abali mu buzibu. Awatali kubuusabuusa, omukadde mu kibiina aba talaze kisa singa tawabula muntu ayolekedde okuva mu kkubo ‘ly’obulungi, obutuukirivu n’amazima,’ ng’atya nti kiyinza okumuyisa obubi.—Abaefeso 5:9.
17, 18. Obulungi kye ki, era engeri eno esaanidde kuba na kifo ki mu bulamu bwaffe?
17 Obulungi kwe kuba omuntu mulamu oba ow’empisa ennungi. Katonda mulungi ku kigero ekisingirayo ddala. (Zabbuli 25:8; Zekkaliya 9:17) Yesu muntu mulamu era wa mpisa. Kyokka, bwe baamuyita “Omuyigiriza omulungi,” eky’okumuyita “omulungi” yakigaana. (Makko 10:17, 18) Yakigaana kubanga yali amanyi nti Katonda y’asingayo okuba omulungi.
18 Ekibi kye twasikira kitulemesa okwoleka obulungi nga bwe kisaanira. (Abaruumi 5:12) Wadde kiri kityo, tusobola okwoleka engeri eno singa tusaba Katonda ‘okutuyigiriza okuba abalungi.’ (Zabbuli 119:66, NW) Pawulo yagamba bakkiriza banne ab’omu Ruumi nti: “Nange nze ntegeeredde ddala ebyammwe, baganda bange, nga nammwe mujjudde obulungi, mujjudde okutegeera kwonna.” (Abaruumi 15:14) Omulabirizi Omukristaayo ateekwa okuba ‘ng’ayagala obulungi.’ (Tito 1:7, 8) Singa tukulemberwa omwoyo gwa Katonda, abalala bajja kukiraba nti tuli bantu balungi, era Yakuwa ajja ‘kutujjukira olw’ebirungi bye tukola.’—Nekkemiya 5:19; 13:31.
‘Okukkiriza Okutaliimu Bukuusa’
19. Okusinziira ku Abaebbulaniya 11:1, okukkiriza kye ki?
19 Okukkiriza—nga nakyo kibala kya mwoyo—‘kye kinyweza ebisuubirwa, era bwe bukakafu obulaga ebyo ebitalabika.’ (Abaebbulaniya 11:1, NW) Bwe tuba n’okukkiriza, tuba tukakasizza ddala nti buli kintu Yakuwa ky’asuubiza kijja kutuukirira. Wabaawo obukakafu bwa maanyi nnyo obulaga nti ebyasuubizibwa bijja kutuukirira ne kiba nti n’okukkiriza kuba kwa maanyi nnyo ng’obukakafu obwo. Ng’ekyokulabirako, ebitonde bituwa obukakafu nti waliwo Omutonzi. Tujja kuba n’okukkiriza okw’engeri ng’eyo singa tweyongera okutambulira mu mwoyo.
20. “Ekibi ekitwesibako” kye kiruwa, era ekibi ekyo n’ebikolwa eby’omubiri tusobola tutya okubyewala?
20 Obutaba na kukkiriza kye ‘kibi ekitwesibako.’ (Abaebbulaniya 12:1, NW) Twetaaga obuyambi bw’omwoyo omutukuvu okusobola okwewala ebikolwa eby’omubiri, okululunkanira ebintu, n’enjigiriza ezisobola okwonoona okukkiriza kwaffe. (Abakkolosaayi 2:8; 1 Timoseewo 6:9, 10; 2 Timoseewo 4:3-5) Omwoyo gwa Katonda guyamba abaweereza ba Yakuwa mu kiseera kino okuba n’okukkiriza ng’okw’Abajulirwa aboogerwako mu Baibuli abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnabaawo. (Abaebbulaniya 11:2-40) Era bwe tuba ‘n’okukkiriza okutaliimu bukuusa’ kiyinza okunyweza okukkiriza kw’abalala.—1 Timoseewo 1:5; Abaebbulaniya 13:7.
Mulage Obuwombeefu n’Okwefuga
21, 22. Obuwombeefu kye ki, era lwaki tusaanidde okubwoleka?
21 Obuwombeefu kwe kukwata ensonga n’obukkakkamu. Emu ku ngeri za Katonda bwe buwombeefu. Kino tukimanyi kubanga Yesu, eyali omusajja omuwombeefu, yayolekera ddala engeri za Yakuwa. (Matayo 11:28-30; Yokaana 1:18; 5:19) Kati olwo, ffe ng’abaweereza ba Katonda tusaanidde kukola ki?
22 Ng’Abakristaayo, tusaanidde ‘okulaga obuwombeefu eri abantu bonna.’ (Tito 3:2, NW) Twoleka obuwombeefu nga tuli mu kubuulira. Abo abakuze mu by’omwoyo bakubirizibwa okugolola Omukristaayo aba akutte ekkubo ekyamu “mu mwoyo gw’obuwombeefu.” (Abaggalatiya 6:1) Ffenna tusobola okubaako kye tukola okuleetawo obumu n’emirembe mu kibiina nga twoleka ‘obukkakkamu n’obuwombeefu.’ (Abaefeso 4:1-3) Tusobola okulaga obuwombeefu singa tweyongera okutambulira mu mwoyo era ne tuba beegendereza.
23, 24. Okwefuga kye ki, era kuyinza kutuyamba kutya?
23 Okwefuga kujja kutuyamba okwewala okwogera, okukola n’okulowooza ebintu ebikyamu. Yakuwa ‘yeefuga’ mu ngeri gye yakwatamu Abababulooni abaazikiriza Yerusaalemi. (Isaaya 42:14, NW) Omwana we yeefuga bwe yali abonyaabonyezebwa era bw’atyo ‘n’atulekera ekyokulabirako.’ N’omutume Peetero yakubiriza Bakristaayo banne ‘okwongera ku kumanya kwabwe okwefuga.’—1 Peetero 2:21-23; 2 Peetero 1:5-8, NW.
24 Abakadde Abakristaayo balina okwefuga. (Tito 1:7, 8, NW) Mu butuufu, abo bonna abakulemberwa omwoyo basobola okwefuga era bwe kityo ne beewala obwenzi, okwogera ebigambo eby’obuwemu, oba ekintu kyonna ekiyinza okunyiiza Yakuwa. Singa tuleka omwoyo gwa Katonda ne gutuyamba okwefuga, abalala bajja kukiraba mu ngeri gye twogeramu ne gye tweyisaamu.
Mweyongere Okutambulira mu Mwoyo
25, 26. Bwe tutambulira mu mwoyo kinaakwata kitya ku nkolagana yaffe n’abalala era ne ku biseera byaffe eby’omu maaso?
25 Singa tutambulira mu mwoyo, tujja kuba banyiikivu mu kulangirira Obwakabaka. (Ebikolwa 18:24-26) Abalala bajja kuba basanyufu okukolagana naffe, naddala abo abettanira eby’omwoyo. Ng’abantu abakulemberwa omwoyo omutukuvu, tujja kuzzaamu ne bakkiriza bannaffe amaanyi okweyongera okutambulira mu mwoyo. (Abafiripi 2:1-4) Buli Mukristaayo ekyo si kye yandyagadde okukola?
26 Mu nsi eno efugibwa Setaani, si kyangu okutambulira mu mwoyo. (1 Yokaana 5:19) Wadde kiri kityo, abantu bangi bakikola leero. Singa twesiga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, tujja kunyumirwa obulamu kati era tujja kweyongere okutambulira mu makubo ag’obutuukirivu ag’Oyo atuwa omwoyo omutukuvu emirembe gyonna.—Zabbuli 128:1; Engero 3:5, 6.
Wandizzeemu Otya?
• ‘Okutambulira mu mwoyo’ kikwata kitya ku nkolagana yaffe ne Katonda era n’Omwana we?
• Ebibala by’omwoyo bye biruwa?
• Ezimu ku ngeri mwe tuyinza okwolekera ebibala by’omwoyo ze ziruwa?
• Okutambulira mu mwoyo kikwata kitya ku bulamu bwaffe kati ne ku ssuubi lyaffe ery’ebiseera eby’omu maaso?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Laga ekisa mu bigambo byo ne mu bikolwa