Kulaakulanya Okwagala Okutalemererwa
‘Okwagala kugumiikiriza ebintu byonna. Okwagala tekulemererwa.’—1 KOL. 13:7, 8.
1. (a) Okwagala kutera kwogerwako kutya? (b) Abantu bangi basinga kwagala ki?
EBINTU bingi nnyo ebyogeddwa ku kwagala. Ennyimba nnyingi ezifulumizibwa leero zigulumiza okwagala. Kyo kituufu nti buli muntu yeetaaga okulagibwa okwagala. Naye ebitabo bingi ne firimu biwa ekifaananyi ekitali kituufu ku kwagala, ate nga bitundibwa buli wamu. Eky’ennaku kiri nti abantu tebakyalina kwagala kwa nnamaddala eri Katonda ne muliraanwa. Baibuli bye yalagula nti bijja kubaawo mu nnaku ez’oluvannyuma kati tubiraba. Abantu ‘beeyagala bokka, baagala nnyo ssente, era baagala eby’amasanyu okusinga Katonda.’—2 Tim. 3:1-5.
2. Baibuli erabula etya ku kwagala okutali kulungi?
2 Abantu basobola okwoleka okwagala, naye Ekigambo kya Katonda kitulabula nti waliwo okwagala okutali kulungi. Baibuli era etubuulira ekibaawo bwe tuleka okwagala okw’engeri eyo okuyingira mu mitima gyaffe. (1 Tim. 6:9, 10) Ojjukira omutume Pawulo kye yayogera ku Dema? Wadde nga Dema yali aweereza ne Pawulo, yamulekawo olw’okwagala ebintu by’ensi. (2 Tim. 4:10) Omutume Yokaana naye yalabula Abakristaayo ku kabi kano. (Soma 1 Yokaana 2:15, 16.) Okwagala ensi n’ebintu byayo eby’ekiseera obuseera kikontana n’okwagala Katonda n’ebintu ebiva gy’ali.
3. Buzibu ki bwe twolekagana nabwo, era kino kireetawo bibuuzo ki?
3 Tetuli ba nsi eno wadde nga tugibeeramu. Bwe kityo kitwetagisa okufuba ennyo okulaba nti tetutwalirizibwa kwagala kwa nsi eno okubi. Kati olwo ani gwe tusaanidde okulaga okwagala kw’Ekikristaayo? Biki ebinaatuyamba okukulaakulanya okwagala okugumiikiriza ebintu byonna era okutalemererwa? Okwoleka okwagala okwo kituyamba kitya kati ne mu biseera eby’omu maaso? Okusobola okumanya ekituufu ku nsonga zino, twetaaga obulagirizi bwa Katonda.
Kulaakulanya Okwagala Yakuwa
4. Okwagala kwaffe eri Katonda kuyinza kutya okukula?
4 Lowooza ku mulimi afuba okuteekateeka ennimiro era n’asimbamu ensigo. Aba asuubira ensigo ezo okumera era zikule. (Beb. 6:7) Mu ngeri y’emu, okwagala kwaffe eri Katonda kusaanidde okukula. Kino kitwetaagisa kukola ki? Kitwetaagisa okulabirira obulungi emitima gyaffe omwasimbibwa ensingo z’amazima g’Obwakabaka. Kino tusobola okukikola nga tunyiikirira okusoma Ekigambo kya Katonda tusobole okwongera ku kumanya kwaffe. (Kol. 1:10) Okubeerangawo mu nkuŋŋaana n’okuzeenyigiramu nakyo kijja kutuyamba okwongera ku kumanya kwaffe. Ofuba okulaba nti oyongera ku kumanya kwo?—Nge. 2:1-7.
5. (a) Tuyinza tutya okuyiga ku ngeri za Yakuwa enkulu? (b) Kiki ky’oyinza okwogera ku bwenkanya, amagezi, n’amaanyi ga Katonda?
5 Okuyitira mu Kigambo kye, Yakuwa atuyamba okumutegeera obulungi. Bwe tusoma Ebyawandiikibwa ne tweyongera okumanya ebikwata ku Yakuwa, tweyongera okutegeera engeri ze—obwenkanya, amaanyi, amagezi, n’okusinga byonna, okwagala kwe okw’ekitalo. Mu byonna by’akola era ne mu mateeka ge agatuukiridde, Yakuwa ayoleka obwenkanya. (Ma. 32:4; Zab. 19:7) Okufumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda kituleetera okumutya olw’amagezi ge amangi ennyo. (Zab. 104:24) Ebintu bye yatonda era biraga nti Yakuwa ye Nsibuko y’amaanyi.—Is. 40:26.
6. Katonda atulaze atya okwagala, era ekyo kikukutteko kitya?
6 Ate kiri kitya ku ngeri ya Katonda esinga obukulu, okwagala? Okwagala kwe kweyolekera mu byonna by’akola era ffenna kutuganyula. Yalaga okwagala okwo bwe yawaayo ssaddaaka okununula olulyo lw’omuntu. (Soma Abaruumi 5:8.) Wadde nga ssaddaaka eyo yagiwaayo ku lw’abantu bonna, abo bokka abalaga okusiima ne bakkiririza mu Mwana we be bagiganyulwamu. (Yok. 3:16, 36) Okuba nti Katonda yawaayo Omwana we nga ssaddaaka olw’ebibi byaffe kyanditukubirizza okumwagala.
7, 8. (a) Tulina kukola ki okulaga nti twagala Katonda? (b) Abantu ba Katonda boolekagana na buzibu ki nga bafuba okukwata ebiragiro bye?
7 Tuyinza tutya okulaga Katonda okwagala olw’ebyo byonna by’atukoledde? Baibuli egamba nti: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye; era ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yok. 5:3) Yee, okwagala Yakuwa Katonda kutukubiriza okukwata ebiragiro bye. Eno y’emu ku nsonga lwaki tuwa obujulirwa ku linnya lye ne ku Bwakabaka bwe, okuganyula abalala. Kino bwe tukikola n’omutima gwaffe gwonna, kiba kiraga nti twagala okukwata ebiragiro bya Katonda.—Mat. 12:34.
8 Baganda baffe okwetooloola ensi bafuba okukwata ebiragiro bya Katonda wadde ng’abamu be babuulira obubaka bw’Obwakabaka babugaana oba tebeefiirayo. Kino tekibalemesa kutuukiriza buweereza bwabwe mu bujjuvu. (2 Tim. 4:5) Naffe bwe tutyo tufuba okubuulira abalala amazima agakwata ku Katonda n’okukwata ebiragiro bye ebirala byonna.
Ensonga Lwaki Twagala Mukama Waffe Yesu Kristo
9. Bizibu ki Kristo bye yagumira, era kiki ekyamuyamba okubigumira?
9 Ng’oggyeko okwagala Katonda, waliwo ensonga nnyingi lwaki twandifubye okukulaakulanya okwagala kwaffe eri Omwana we. Wadde nga Yesu tetwamulabako, gye tukoma okumusomako gye tukoma okweyongera okumwagala. (1 Peet. 1:8) Bizibu ki Yesu bye yagumira? Bwe yali akola Kitaawe bye yamutuma, Yesu yakyayibwa awataali nsonga, yayigganyizibwa, yawaayirizibwa, yavumibwa, era yajolongebwa. (Soma Yokaana 15:25.) Okwagala Yesu kwe yalina eri Kitaawe ow’omu ggulu kwamuyamba okugumira okugezesebwa okwo. Era okwagala kwamuleetera okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.—Mat. 20:28.
10, 11. Tusaanidde kukola ki olw’ebirungi Kristo bye yatukolera?
10 Bye tuyiga ku Yesu bitukubiriza okubaako kye tukolawo. Okufumiitiriza ku birungi Kristo by’atukoledde kituleetera okweyongera okumwagala. Olw’okuba tuli bagoberezi ba Kristo, tusaanidde okufuba okukulaakulanya n’okulaga okwagala ng’okukwe, tusobole okutuukiriza ekiragiro kye eky’okubuulira Obwakabaka n’okufuula abalala abayigirizwa.—Mat. 28:19, 20.
11 Okwagala Kristo kwe yalaga olulyo lw’omuntu kutukubiriza okufuba okumaliriza omulimu gwe yatuwa ng’enkomerero tennajja. (Soma 2 Abakkolinso 5:14, 15.) Okwagala Kristo kwe yalina kwe kwasinga okumukubiriza okutuukiriza ekigendererwa kya Katonda eri olulyo lw’omuntu. Okugoberera ekyokulabirako Kristo kye yatulekera kitusobozesa okubaako kye tukola mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda ekyo. Kino kyetaagisa okukola buli kye tusobola okukulaakulanya okwagala kwaffe eri Katonda. (Mat. 22:37) Bwe twetegereza Yesu bye yayigiriza era ne tukwata ebiragiro bye, tuba tulaga nti tumwagala era nti tuli bamalirivu okuwagira obufuzi bwa Katonda mu buli ngeri, nga Yesu bwe yakola.—Yok. 14:23, 24; 15:10.
Okugoberera Ekkubo Erisinga Gonna ery’Okwagala
12. Pawulo yali ategeeza ki bwe yayogera ku ‘kkubo erisinga gonna?’
12 Olw’okuba Pawulo yali akoppa Kristo, teyaliimu nkenyera yonna kugamba baganda be kumukoppa. (1 Kol. 11:1) Wadde nga yakubiriza Abakristaayo b’e Kkolinso okufuba okufuna ebirabo by’omwoyo ebyagabibwanga mu kyasa ekyasooka, gamba ng’okuwonya n’okwogera ennimi, Pawulo yabalaga nti waliwo ekintu ekikulu okusinga ebirabo ebyo. Mu 1 Abakkolinso 12:31, yagamba nti: “Naye nze mbalaga ekkubo erisinga gonna.” Ennyiriri eziddirira ziraga nti ekkubo erisinga gonna ly’ery’okwagala. Lisinga mu ngeri ki? Pawulo yawa ebyokulabirako ng’alaga kye yali ategeeza. (Soma 1 Abakkolinso 13:1-3.) Yalaga nti ne bwe yandibadde n’obusobozi obw’enjawulo era n’akola ebintu eby’ekitalo naye nga talina kwagala, yandibadde talina ky’agasa. Ng’aluŋŋamizibwa omwoyo gwa Katonda, Pawulo yatangaaza bulungi ensonga eno enkulu. Atya?
13. (a) Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2010 kye kiruwa? (b) Mu ngeri ki okwagala gye kutalemererwa?
13 Pawulo yannyonnyola okwagala kye kutegeeza. (Soma 1 Abakkolinso 13:4-8.) Kati weekebere olabe bw’oyimiridde bwe kituuka ku kulaga okwagala. Weetegereze ebigambo ebisembayo mu lunyiriri 7 n’ebyo ebisooka mu lunyiriri 8: ‘Okwagala kugumiikiriza ebintu byonna. Okwagala tekulemererwa,’ nga kino kye kyawandiikibwa ky’omwaka 2010. Mu lunyiriri 8, Pawulo yagamba nti ebirabo by’omwoyo, nga muno mwe muli okwogera obunnabbi n’okwogera ennimi—ebyali mu kibiina Ekikristaayo nga kyakatandikibwawo—byandikomye. Naye okwagala kwa kubaawo emirembe gyonna. Yakuwa yennyini kwagala era abeerawo emirembe gyonna. N’olwekyo, okwagala tekuyinza kulemererwa wadde okukoma. Kujja kubaawo emirembe gyonna olw’okuba eyo ngeri ya Katonda waffe ow’emirembe n’emirembe.—1 Yok. 4:8.
Okwagala Kugumiikiriza Ebintu Byonna
14, 15. (a) Okwagala kutuyamba kutya okugumira okugezesebwa? (b) Lwaki ow’oluganda omu omuvubuka yagaana okwekkiriranya?
14 Kiki ekiyamba Abakristaayo okugumira ebizibu, okugezesebwa, n’embeera enzibu ze boolekagana nazo? Okwagala okwa namaddala kwe kusinga okubayamba. Okulaga okwagala ng’okwo kisingawo ku kuba nti tuliko ebintu bye twefiirizza. Kizingiramu okukuuma obugolokofu bwaffe, ne bwe kiba kyetaagisa kuwaayo bulamu bwaffe ku lwa Kristo. (Luk. 9:24, 25) Lowooza ku bwesigwa bw’Abajulirwa ababonaabonera mu nkambi z’abasibe nga Ssematalo II ayinda oba ng’awedde.
15 Wilhelm, Omujulirwa omuvubuka eyali Omugirimaani, yalaga obwesigwa ng’obwo. Wadde ng’Abanazi baali bagenda okumukuba amasasi, yagaana okwekkiriranya. Mu bbaluwa gye yawandiika ng’agenda okuttibwa, yagamba nti: “Tulina okwagala Katonda okusinga byonna, ng’Omukulembeze waffe Yesu Kristo bwe yalagira. Bwe tumunywererako, ajja kutuwa empeera.” Oluvannyuma, mu kitundu ekimu ekyali mu Watchtower, omu ku b’eŋŋanda ze yagamba nti: “Mu bizibu bino byonna bye tuyiseemu, tufubye okulaba nti okwagala Katonda kye kintu ekisinga obukulu mu maka gaffe.” Ab’oluganda bangi abali mu makomera mu Armenia, Eritrea, South Korea, ne mu nsi ndala nabo booleka omwoyo gwe gumu. Tebaddiridde mu kwagala kwabwe eri Yakuwa.
16. Bizibu ki baganda baffe mu Malawi bye baagumira?
16 Mu nsi nnyingi, baganda baffe boolekagana n’ebizibu bingi ebigezesa okukkiriza kwabwe. Okumala emyaka 26, Abajulirwa ba Yakuwa mu Malawi baawerebwa gavumenti, baayigganyizibwa, era baakolebwako ebikolwa bingi eby’obukambwe. Obugumiikiriza bwabwe bwavaamu ebirungi. Okuyigganyizibwa we kwatandikira, Abajulirwa baali nga 18,000 mu nsi eyo. Naye oluvannyuma lw’emyaka 30, omuwendo gwabwe gwali gukubisizzaamu emirundi egisukka mu ebiri, nga bali 38,393. Okukulaakulana ng’okwo kubaddewo ne mu nsi endala nnyingi.
17. Buzibu ki baganda baffe abamu bwe bafuna, era kiki ekibayambye okugumira okuyigganyizibwa?
17 Abantu ba Katonda bonna awamu bwe bayigganyizibwa kireeta ennaku ya maanyi. Naye ate Omukristaayo bw’ayigganyizibwa abantu b’abeera nabo oba ab’eŋŋanda ze awulira bubi n’okusingawo. Kino Yesu yali yakiragulako, era bangi balabye obutuufu bw’ebigambo bye. (Mat. 10:35, 36) Abatiini bangi bagumye nga bayigganyizibwa bazadde baabwe abatali bakkiriza. Abamu bagobeddwa n’awaka, nga kati babeera na Bajulirwa bannaabwe. Abalala abazadde baabwe baabazaalukuka. Kiki ekiyambye abali mu mbeera ng’eyo okugumira okuyigganyizibwa? Okwagala kwe balina eri baganda baabwe, n’okusingira ddala, okwagala okwa nnamaddala kwe balina eri Yakuwa n’Omwana we.—1 Peet. 1:22; 1 Yok. 4:21.
18. Okwagala okugumiikiriza ebintu byonna kuyamba kutya abafumbo Abakristaayo?
18 Waliwo embeera endala nnyingi ezitwetaagisa okulaga okwagala okugumiikiriza ebintu byonna. Mu bufumbo, okwagala kuyamba omwami n’omukyala okukolera ku bigambo bya Yesu bino: “Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulanga.” (Mat. 19:6) Bwe baba ‘babonaabona mu mibiri,’ abafumbo Abakristaayo basaanidde okujjukira nti okwesiga Yakuwa kijja kubayamba. (1 Kol. 7:28) Ekigambo kye kigamba nti ‘okwagala kugumiikiriza ebintu byonna,’ era okwagala ng’okwo kuyamba omwami n’omukyala okunyweza obufumbo bwabwe.—Bak. 3:14.
19. Kiki abantu ba Katonda kye bakoze nga waguddewo obutyabaga?
19 Okwagala kutuyamba okugumiikiriza ebintu byonna nga tugwiriddwa obutyabaga. Bwe kityo bwe kyali musisi bwe yayita mu bukiika ddyo bwa Peru, n’omuyaga Katrina bwe gwakuba ebitundu by’Amerika. Ab’oluganda bangi baafiirwa amayumba n’ebintu ebirala bingi mu butyabaga obwo. Okwagala kwakubiriza ab’oluganda okuva mu bitundu by’ensi ebitali bimu okuwaayo obuyambi, era bannakyewa baayamba mu kuzzaawo amayumba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka. Ebikolwa ng’ebyo biraga nti baganda baffe baagalana era nti buli omu afaayo ku munne mu buli mbeera.—Yok. 13:34, 35; 1 Peet. 2:17.
Okwagala Tekulemererwa
20, 21. (a) Lwaki okwagala kukulu nnyo? (b) Lwaki omaliridde okugoberera ekkubo ery’okwagala?
20 Kyeyolese bulungi mu bantu ba Yakuwa leero nti kya magezi okugoberera ekkubo erisinga gonna ery’okwagala. Mazima ddala, okwagala tekulemererwa mu mbeera zonna. Weetegereze engeri kino Pawulo gye yakiggumizaamu. Yasooka n’alaga nti ebirabo by’omwoyo byandikomye era nti ekiseera kyandituuse ekibiina Ekikristaayo ne kiba nga kikuze. Yawunzika ng’agamba nti: “Kyokka, kaakano ebisigaddewo ebisatu bye bino, okukkiriza, okusuubira, n’okwagala; naye ku bino, okwagala kwe kusinga.”—1 Kol. 13:13.
21 Ebintu bye tukkiririzaamu bwe birimala okutuukirizibwa, okukkiriza kwe tulina mu bintu ebyo kujja kukoma. Era ebintu byonna bwe birimala okufuulibwa ebiggya, essuubi lye tulina mu bintu ebyo lijja kukoma. Naye ate kiri kitya ku kwagala? Kwo tekugenda kulemererwa, oba kukoma. Kujja kusigalawo. Bwe tunaafuna obulamu obutaggwawo, tujja kulaba era tutegeere okwagala kwa Katonda mu ngeri endala nnyingi. Bw’onookola nga Katonda bw’ayagala n’ogoberera ekkubo erisinga gonna ery’okwagala okutalemererwa, ojja kufuna obulamu obutaggwawo.—1 Yok. 2:17.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki tulina okwewala okwagala okutali kulungi?
• Okwagala kutuyamba kugumira ki?
• Mu ngeri ki okwagala gye kutalemererwa?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 27]
Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2010 kigamba: ‘Okwagala kugumiikiriza ebintu byonna. Okwagala tekulemererwa.’ —1 Kol. 13:7, 8.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Okwagala Katonda kutukubiriza okuwa obujulirwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Okwagala okutalemererwa kwayamba baganda baffe ne bannyinaffe mu Malawi okugumira okugezesebwa