ESSOMO 40
Tuyinza Tutya Okuba Abayonjo mu Maaso ga Katonda?
Lowooza ku maama ateekateeka katabani ke okugenda ku ssomero. Akakasa nti omwana oyo anaabye, engoye ze nnyonjo, era nti zisaana. Ekyo kiyamba omwana oyo okuba omulamu obulungi, era n’abalala baba bakiraba nti bazadde be bamulabirira bulungi. Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu naye ayagala tube bayonjo mu mubiri ne mu mpisa. Bwe tuba abayonjo, ffe kennyini tuganyulwa era naye tumuweesa ekitiibwa.
1. Tuyinza tutya okuba abayonjo mu mubiri?
Yakuwa atugamba nti: “Mubenga batukuvu.” (1 Peetero 1:16) Ekyo kizingiramu okuba abayonjo mu mubiri ne mu mpisa. Tusobola okuba abayonjo mu mubiri nga tunaaba buli lunaku, era ng’amaka gaffe, engoye zaffe, n’ebidduka byaffe tubikuuma nga biyonjo era nga biri mu mbeera nnungi. Ate era kikulu okuyonja ebizimbe byaffe eby’Obwakabaka. Bwe tuba abayonjo mu mubiri, tuweesa Yakuwa ekitiibwa.—2 Abakkolinso 6:3, 4.
2. Okusobola okuba abayonjo, mize ki gye tusaanidde okwewala?
Bayibuli etukubiriza ‘okwenaazaako byonna ebyonoona omubiri n’omwoyo.’ (2 Abakkolinso 7:1) N’olwekyo, tulina okwewala ekintu kyonna ekiyinza okwonoona omubiri gwaffe n’ebirowoozo byaffe. Olw’okuba ebyo bye tulowoozaako birina okuba nga bisanyusa Yakuwa, tulina okufuba okwewala okulowooza ku bintu ebibi. (Zabbuli 104:34) Ate era enjogera yaffe erina okuba ng’esaana.—Soma Abakkolosaayi 3:8.
Kiki ekirala ekiyinza okutuviirako obutaba bayonjo mu mubiri oba mu mpisa? Waliwo ebintu ebisobola okwonoona emibiri gyaffe. N’olwekyo, tusaanidde okwewala ebintu nga ssigala, enjaga, amayirungi, n’ebiragalalagala ebirala. Bwe twewala ebintu ng’ebyo, emibiri gyaffe giba miramu bulungi, era tuba tukiraga nti tussa ekitiibwa mu kirabo eky’obulamu. Ate era tufuba okuba abayonjo mu mpisa nga twewala emize emibi, gamba ng’okwemazisa, oba okulaba ebintu eby’obuseegu. (Zabbuli 119:37; Abeefeso 5:5) Tekiba kyangu kulekayo mize egyo, naye Yakuwa asobola okutuyamba.—Soma Isaaya 41:13.
YIGA EBISINGAWO
Laba ensonga lwaki okuba abayonjo mu mubiri kiweesa Yakuwa ekitiibwa, era laba engeri omuntu gy’ayinza okulekayo emize emibi.
3. Okuba abayonjo mu mubiri kiweesa Yakuwa ekitiibwa
Bwe twekenneenya amateeka Yakuwa ge yawa eggwanga lya Isirayiri ery’edda, tusobola okumanya endowooza gy’alina ku buyonjo. Soma Okuva 19:10 ne 30:17-19, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Okusinziira ku byawandiikibwa ebyo, Yakuwa alina ndowooza ki ku buyonjo?
Biki by’oyinza okukola okusobola okusigala ng’oli muyonjo mu mubiri?
Kyetaagisa ebiseera n’okufuba okusobola okuba abayonjo mu mubiri. Naye tusobola okuba abayonjo ka tube nga tubeera wa, oba ka tube nga tuli baavu oba bagagga. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukugabanye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.
Okukuuma ebintu byaffe nga biyonjo era nga biri mu mbeera nnungi, kiweesa kitya omulimu gwaffe ogw’okubuulira ekitiibwa?
4. Weekutule ku mize emibi
Bw’oba ng’oli munywi wa ssigala, oba ng’okozesa ebiragalalagala, oyinza okuba ng’okimanyi nti kizibu nnyo okuleka ebintu ebyo. Kiki ekiyinza okukuyamba? Lowooza ku ngeri omuze ogwo gye gukukosaamu. Soma Matayo 22:37-39, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku ngeri okunywa ssigala oba okukozesa ebiragalalagala gye kikwata ku . . .
nkolagana yʼomuntu ne Yakuwa.
b’omu maka ge n’abantu abalala b’abeeramu.
Kola ebinaakuyamba okulekayo omuze omubi.a Laba VIDIYO.
Soma Abafiripi 4:13, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Okuba n’enteekateeka ennungi ey’okusaba, okwesomesa, n’okubangawo mu nkuŋŋaana, kiyamba kitya omuntu okulekayo omuze omubi?
5. Fuba okulwanyisa ebirowoozo ebibi n’ebikolwa ebibi
Soma Abakkolosaayi 3:5, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Tumanya tutya nti okulaba ebintu eby’obuseegu, okubiweereza abalala, n’okwemazisa, bibi mu maaso ga Yakuwa?
Olowooza kikola amakulu okuba nti Yakuwa atwetaagisa okuba abayonjo mu mpisa? Lwaki ogamba bw’otyo?
Laba engeri gy’oyinza okulwanyisaamu ebirowoozo ebibi. Laba VIDIYO.
Yesu alina ekyokulabirako kye yakozesa okulaga nti tulina okubaako kye tukolawo okusobola okusigala nga tuli bayonjo mu mpisa. Soma Matayo 5:29, 30, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Wadde nga Yesu yali tategeeza nti tulina okwetuusaako ebisago, yakiraga nti tulina okubaako kye tukolawo. Kiki omuntu ky’ayinza okukolawo okusobola okwewala okulowooza ku bintu ebibi?b
Bw’oba ng’ofuba okulwanyisa ebirowoozo ebibi, Yakuwa alaba okufuba kwo. Soma Zabbuli 103:13, 14, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Bw’oba ng’olina omuze omubi gw’ofuba okulwanyisa, ekyawandiikibwa ekyo kikuyamba kitya obutaggwaamu maanyi?
Toggwaamu maanyi!
Kyangu okulowooza nti, ‘Nnemereddwa, ka mbiveeko.’ Naye lowooza ku kino: Omuddusi bw’aseerera n’agwa, kiba tekitegeeza nti tasobola kuwangula mbiro, era kiba tekitegeeza nti alina kuddayo gye yatandikidde. Mu ngeri y’emu, okuddamuko okwenyigira mu muze gw’olwanyisa, kiba tekitegeeza nti olemereddwa okugulwanyisa. Era kiba tekitegeeza nti okufuba kwonna kw’ozze okola kubadde kwa bwereere. N’olwekyo, toggwaamu maanyi. Yakuwa asobola okukuyamba okuvvuunuka omuze omubi.
ABAMU BAGAMBA NTI: “Ngezezzaako okwekutula ku muze guno emirundi egiwera, naye ne nnemererwa. Sisobola kuguvaako.”
Kyawandiikibwa ki ky’osobola okukozesa okulaga omuntu nti Yakuwa asobola okumuyamba okuvvuunuka omuze omubi?
MU BUFUNZE
Tusobola okusanyusa Yakuwa bwe tukuuma emibiri gyaffe, ebirowoozo byaffe, n’enneeyisa yaffe nga biyonjo.
Okwejjukanya
Lwaki kikulu nnyo okuba abayonjo?
Oyinza otya okuba omuyonjo mu mubiri?
Oyinza otya okukuuma ebirowoozo byo n’enneeyisa yo nga biyonjo?
LABA EBISINGAWO
Bintu ki by’osobola okukola okusobola okuba omuyonjo mu mubiri, ne bw’oba ng’oli mwavu?
Laba by’oyinza okukola okusobola okulekera awo okunywa ssigala.
“Engeri gy’Oyinza Okulekera Awo Okunywa Ssigala” (Awake!, Maayi 2010)
Weetegereze akabi akali mu kulaba ebifaananyi eby’obuseegu.
“Akabi Akali mu Kulaba Ebifaananyi eby’Obuseegu” (Omunaala gw’Omukuumi, Agusito 1, 2013)
Laba engeri omusajja omu gye yavvuunukamu omuze gw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu.
“Nnalemererwa Emirundi Mingi Naye Oluvannyuma ne Mpangula” (Omunaala gw’Omukuumi Na. 4 2016)
a Ekitundu, “Engeri gy’Oyinza Okulekera Awo Okunywa Ssigala,” ekiri wansi w’omutwe Laba Ebisingawo mu ssomo lino, kiraga ebintu by’osobola okukola okusobola okulekayo emize emibi.
b Okusobola okumanya ekinaakuyamba okuvvuunuka omuze ogw’okwemazisa, laba ekitundu “Nnyinza Ntya Okuvvuunuka Omuze ogw’Okwemazisa?” mu katabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Omuzingo 1, essuula 25.