Yakuwa Awa ‘Omwoyo Omutukuvu Abo Abamusaba’
“Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa [o]mwoyo [o]mutukuvu abamusaba.”—LUKKA 11:13.
1. Ddi lwe tusinga okwetaaga obuyambi bw’omwoyo omutukuvu?
‘K INO nze siyinza kukigumira ku bwange. Omwoyo omutukuvu gwokka gwe guyinza okunsobozesa okukigumira!’ Wali oyogeddeko ebigambo ng’ebyo? Abakristaayo abasinga baali babyogeddeko. Oyinza okuba wabyogera oluvannyuma lw’okukitegeera nti ofunye obulwadde obw’amaanyi. Oba wayogera bw’otyo ng’ofiiriddwa munno mu bufumbo. Oba wabyogera mu kiseera ekyo nga waliwo embeera endala ekumazeeko essanyu. Mu biseera ebyo ebizibu, oyinza okuwulira nti wasobola okuguma olw’okuba omwoyo omutukuvu gwakuwa ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo.’—2 Abakkolinso 4:7-9; Zabbuli 40:1, 2.
2. (a) Buzibu ki Abakristaayo bwe balina? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?
2 Abakristaayo ab’amazima, ensi eno etatya Katonda egenda yeeyongera okubanyigiriza. (1 Yokaana 5:19) Okugatta ku ekyo, abagoberezi ba Kristo balumbibwa Setaani Omulyolyomi kennyini, alwanyisa abo “abakwata ebiragiro bya Katonda, era abalina okutegeeza kwa Yesu.” (Okubikkulirwa 12:12, 17) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti twetaaga nnyo obuwagizi bw’omwoyo omutukuvu kati n’okusinga bwe kyali kibadde. Tuyinza kukola ki okukakasa nti tweyongera okufuna omwoyo gwa Katonda mu bujjuvu? Era lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa mwetegefu okutuwa amaanyi ge twetaaga nga tuli mu biseera ebizibu? Eby’okuddamu mu bibuuzo bino bisangibwa mu byokulabirako bibiri Yesu bye yawa.
Nyiikirira Okusaba
3, 4. Kyakulabirako ki Yesu kye yawa, era yakikwataganya atya n’okusaba?
3 Lumu, omu ku bayigirizwa ba Yesu yamusaba nti: “Mukama waffe, tuyigirize okusaba.” (Lukka 11:1) Bwe yali addamu, Yesu yawa abayigirizwa be ebyokulabirako bibiri. Ekisooka kyali kikwata ku musajja eyali akyazizza omugenyi. Eky’okubiri kikwata ku taata awa omwana we ky’aba amusabye. Ka twetegereze ebyokulabirako bino byombi.
4 Yesu yagamba: “Ani ku mmwe alina ow’omukwano aligenda ewuwe ettumbi, n’amugamba nti Mukwano gwange, mpola emigaati esatu; kubanga mukwano gwange azze, ava mu lugendo, nange sirina kya kussa mu maaso ge; n’oli ali munda n’addamu n’agamba nti Tonteganya; kaakano oluggi luggale, abaana bange nange tumaze okwebaka, siyinza kugolokoka kukuwa? Mbagamba nti Newakubadde nga tagolokoka n’amuwa kubanga mukwano gwe, naye [olw’okumwetayirira] anaagolokoka n’amuwa byonna bye yeetaaga.” Yesu oluvannyuma yalaga akakwate akaliwo wakati w’ekyokulabirako kino n’okusaba ng’agamba nti: “Nange mbagamba mmwe nti Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo. Kubanga buli muntu yenna asaba aweebwa; n’anoonya alaba; n’eyeeyanjula aliggulirwawo.”—Lukka 11:5-10.
5. Ekyokulabirako ky’omusajja eyeetayirira munne kituyigiriza ki ku kusaba?
5 Ekyokulabirako kino eky’omusajja eyeetayirira munne kirina kye kituyigiriza ku kusaba. Weetegereze nga Yesu yagamba nti omusajja oyo yafuna kye yali yeetaaga ‘olw’okwetayirira’ munne. (Lukka 11:8) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘okwetayirira’ kikozesebwa omulundi gumu gwokka mu Baibuli era singa kiba kivvuunuddwa butereevu kitegeeza “obutaswala.” Emirundi mingi obutaswala tekiba kirungi. Kyokka, bwe twoleka obutaswala oba bwe twetayirira omuntu olw’ensonga ennungi, kiyinza okuba eky’omuganyulo. Era bwe kityo bwe kiri mu kyokulabirako kino eky’omusajja eyakyaza omugenyi. Teyaswala kwetayirira munne ng’alina ky’ayagala. Okuva Yesu bw’atuwa omusajja ng’ekyokulabirako, naffe tulina okunyiikirira okusaba. Yakuwa ayagala ‘tusabenga, tunoonyenga, era tukonkonenga.’ Bwe tunyiikira bwe tutyo, Yakuwa ‘ajja kutuwa omwoyo omutukuvu.’
6. Mu biseera bya Yesu, eky’okusembeza abagenyi kyatwalibwanga kitya?
6 Yesu takoma ku kutulaga nti tulina okusaba enfunda n’enfunda, naye era atulaga n’ensonga lwaki kyetaagisa. Okutegeera kino obulungi, tulina okujjukira engeri abo abaali bawuliriza olugero lwa Yesu luno gye baali batwalamu eky’okusembeza abagenyi. Ebyawandiikibwa bingi biraga nti mu biseera bya Baibuli okulabirira omugenyi kyali kintu kikulu nnyo, naddala mu baweereza ba Katonda. (Olubereberye 18:2-5; Abaebbulaniya 13:2) Obutalabirira mugenyi kyabanga kya buswavu nnyo. (Lukka 7:36-38, 44-46) Nga tumaze okutegeera ebyo, ka twetegereze ekyokulabirako kya Yesu.
7. Lwaki omusajja ayogerwako mu kyokulabirako kya Yesu tatya kuzuukusa mukwano gwe?
7 Omusajja ayogerwako mu kyokulabirako afuna omugenyi ekiro mu ttumbi. Awulira nti alina okuwa omugenyi we eky’okulya naye talina kintu kyonna ‘kya kussa mu maaso ge.’ Awulira nti ekizibu ky’alimu kya maanyi nnyo era kirina okukolebwako mu bwangu! Alina okufunira omugenyi eky’okulya amangu ddala nga bwe kisoboka. Bw’atyo agenda ewa mukwano gwe era n’amuzuukusa nga talina kutya kwonna. Amukoowoola nti: “Mukwano gwange, mpola emigaati esatu.” Amubeeba okutuusa lw’amuwa kye yeetaaga. Okuggyako ng’afunye emigaati egyo, awulira nti talina ngeri gy’asobola okulabiriramu bulungi mugenyi we.
Gy’Okoma Okwetaaga gy’Okoma n’Okusaba
8. Kiki ekinaatuleetera okunyiikirira okusaba omwoyo omutukuvu?
8 Ekyokulabirako kino kitulaga kitya obukulu bw’okunyiikirira okusaba? Omusajja yeegayirira nnyo munne amuwe emigaati olw’okuba yali awulira nti talina bw’ayinza kulabirira mugenyi we okuggyako ng’agifunye. (Isaaya 58:5-7) Obutawa mugenyi kyakulya kyandiraze nti tamusanyukidde. Mu ngeri y’emu, olw’okuba tukimanyi nti twetaaga omwoyo gwa Katonda okusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe ng’Abakristaayo ab’amazima, tunyiikirira okusaba Katonda atuwe omwoyo ogwo. (Zekkaliya 4:6) Bwe tutaba nagwo, tujja kulemererwa. (Matayo 26:41) Kati olaba eky’okuyiga ekikulu ekiri mu kyokulabirako kino? Bwe tukiraba nti twetaaga nnyo omwoyo gwa Katonda, tujja kunyiikirira okugusaba.
9, 10. (a) Waayo ekyokulabirako okulaga lwaki tusaanidde okunyiikirira okusaba Katonda atuwe omwoyo gwe. (b) Kibuuzo ki kye tusaanidde okwebuuza, era lwaki?
9 Okusobola okutegeerera ddala obulungi eky’okuyiga kino, teeberezaamu ng’omu ku b’awaka agwiriddwa obulwadde ekiro mu ttumbi. Wandizuukusizza omusawo ajje abayambe? Obulwadde bwe buba nga si bwa maanyi, oyinza obutakikola. Kyokka, singa obulwadde obuba bumugwiridde buba bwa mutima, tewanditidde kuzuukusa musawo. Lwaki? Kubanga kino kiba kizibu kya maanyi ekirina okukolebwako mu bwangu. Ate okiraba nti singa omulwadde talaba musawo, ayinza okufa. Tuyinza okugamba nti n’Abakristaayo ab’amazima bali mu mbeera efaananako eyo. Anti kati Setaani ali “ng’empologoma ewuluguma,” ng’agezaako okutulya. (1 Peetero 5:8) Okusobola okusigala nga tuli balamu bulungi mu by’omwoyo, twetaaga omwoyo gwa Katonda. Singa tetugusaba, tuba mu kabi ka maanyi. N’olwekyo, tulina okunyiikirira okusaba Katonda okutuwa omwoyo gwe omutukuvu. (Abaefeso 3:14-16) Eno ye ngeri yokka gye tuyinza okufunamu amaanyi ge twetaaga okusobola ‘okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero.’—Matayo 10:22; 24:13.
10 N’olwekyo, kikulu nnyo okwebuuza, ‘Ddala essaala zange ziraga nti nnyiikirira okusaba kye njagala?’ Jjukira nti singa tukitegeera bulungi nti twetaaga obuyambi bwa Katonda, tujja kunyiikirira nnyo okumusaba atuwe omwoyo gwe omutukuvu.
Kiki Ekituleetera Okusaba nga Tetubuusabuusa?
11. Kya kuyiga ki ekikwata ku kusaba Yesu kye yalaga ng’akozesa ekyokulabirako ky’omwana ne kitaawe?
11 Ekyokulabirako kya Yesu eky’omusajja eyeetayirira munne kitulaga endowooza oyo aba asaba gy’alina okuba nayo. Ekyokulabirako kye ekiddako kitulaga endowooza y’oyo awuliriza okusaba kwaffe, Yakuwa Katonda. Yesu yabuuza: “Ani ku mmwe kitaawe w’omuntu[,] omwana we bw’alimusaba omugaati, alimuwa ejjinja? oba ekyennyanja, n’amuwa omusota mu kifo ky’ekyennyanja? Oba bw’alisaba eggi, n’amuwa enjaba?” Yesu yeeyongera n’agamba nti: “Kale oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa [o]mwoyo [o]mutukuvu abamusaba.”—Lukka 11:11-13.
12. Ekyokulabirako kya taata awa omwana we ky’aba amusabye kiraga kitya nti Yakuwa mwetegefu okuddamu okusaba kwaffe?
12 Ng’akozesa ekyokulabirako kino ekya taata awa omwana we ky’amusabye, Yesu yalaga nti Yakuwa afaayo nnyo ku abo abamusaba. (Lukka 10:22) Okusooka, weetegereze nti obutafaananako musajja ayogerwako mu kyokulabirako ekisooka eyali agaanye okuyamba munne, ye Yakuwa alinga omuzadde afaayo era omwetegefu okuwa omwana we ky’aba amusabye. (Zabbuli 50:15) Yesu era atulaga lwaki Yakuwa mwetegefu nnyo okutuyamba ng’akiraga nti bakitaffe ab’oku nsi bwe baba bakikola, ate ye ow’omu ggulu yandibasingidde wala nnyo. Agamba nti oba ng’omuzadde, wadde nga ‘mubi’ olw’obutali butuukirivu, asobola okuwa omwana we ekirabo ekirungi, twandisuubidde nti Kitaffe ow’omu ggulu ow’ekisa ekingi ennyo, asobolera ddala okuwa omwoyo omutukuvu abo abamusinza!—Yakobo 1:17.
13. Tuli bakakafu ku ki bwe tusaba Yakuwa?
13 Kiki kye tuyigamu? Tusobola okuba abakakafu nti singa tusaba Kitaffe ow’omu ggulu okutuwa omwoyo omutukuvu, ajja kuddamu okusaba kwaffe. (1 Yokaana 5:14) Bwe tusaba awatali kukoowa, Yakuwa tasobola n’omulundi n’ogumu kutugamba nti: ‘Temunteganya; kaakano oluggi luggale.’ (Lukka 11:7) Mu kifo ky’ekyo, Yesu yagamba: “Musabe, muliweebwa; munoonye, muliraba; mweyanjule, muliggulirwawo.” (Lukka 11:9, 10) Yee, Yakuwa “aba kumpi n’abo bonna abamukaabirira.”—Zabbuli 145:18.
14. (a) Ndowooza ki enkyamu abamu gye baba nayo nga bafunye ebizibu? (b) Bwe tuba n’ebizibu, lwaki tusobola okusaba Yakuwa nga tetubuusabuusa?
14 Ate era ekyokulabirako kya Yesu ekya taata afaayo kiraga nti obulungi bwa Yakuwa busingira wala obw’omuzadde yenna ow’oku nsi. N’olwekyo, tetusaanidde kulowooza nti ebizibu bye twolekagana nabyo bitegeeza nti Katonda atunyiigidde. Setaani, omulabe waffe y’ayagala tulowooze bwe tutyo. (Yobu 4:1, 7, 8; Yokaana 8:44) Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa tatugezesa na “bintu bibi.” (Yakobo 1:13, NW) Tatuleetera bizibu wadde ebigezo ebiyinza okugeraageranyizibwa ku misota oba enjaba. Kitaffe ow’omu ggulu ‘abo abamusaba abawa ebintu ebirungi.’ (Matayo 7:11; Lukka 11:13) Mazima ddala, gye tukoma okutegeera nti Yakuwa mulungi era mwetegefu okutuyamba, gye tujja okukoma okumusaba nga tuli bakakafu nti ajja kutuwuliriza. Nga tumusaba, naffe tujja kuba n’endowooza ng’ey’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Mazima Katonda awulidde; alowoozezza eddoboozi ery’okusaba kwange.”—Zabbuli 10:17; 66:19.
Engeri Omwoyo Omutukuvu gye Gutuyamba
15. (a) Yesu yasuubiza ki ku bikwata ku mwoyo omutukuvu? (b) Ngeri ki emu omwoyo omutukuvu gye gutuyambamu?
15 Ng’anaatera okufa, Yesu yaddamu okukakasa kye yayogera mu byokulabirako bye. Ng’ayogera ku mwoyo omutukuvu, yagamba abayigirizwa be nti: “Ndisaba Kitange, naye alibawa [o]mubeezi omulala, abeerenga nnammwe emirembe n’emirembe.” (Yokaana 14:16) Bw’atyo Yesu yasuubiza abagoberezi be nti omubeezi oyo, oba omwoyo omutukuvu, yandibadde nabo mu biseera eby’omu maaso nga mw’otwalidde n’ebyo bye tulimu. Ngeri ki enkulu ennyo omwoyo omutukuvu gye gutuyambamu leero? Gutuyamba okugumira ebizibu ebitali bimu. Mu ngeri ki? Omutume Pawulo, nga naye kennyini yayolekagana n’ebizibu bingi, yannyonnyola Abakristaayo ab’omu Kkolinso engeri omwoyo gwa Katonda gye gwamuyambamu. Ka twetegereze bye yawandiika.
16. Embeera yaffe eyinza etya okufaananako n’eya Pawulo?
16 Okusooka, Pawulo yategeeza bakkiriza banne nti yalina ekizibu kye yayita “eriggwa mu mubiri.” Oluvannyuma n’abagamba nti: “Nneegayirira Mukama [Yakuwa] emirundi esatu, kinveeko.” (2 Abakkolinso 12:7, 8) Wadde Pawulo yasaba Katonda okumuggyako ekizibu ekyo, tekyavaawo. Naawe oyinza okuba ng’oli mu mbeera ng’eyo. Okufaananako Pawulo, naawe oyinza okuba ng’osabye Yakuwa enfunda n’enfunda akuggyeko ekizibu ekyo. Kyokka, wadde ng’osabye nnyo bw’otyo, ekizibu ekyo okyali nakyo. Ekyo kitegeeza nti Yakuwa teyawuliriza kusaba kwo, era nti omwoyo gwe tegukuyamba? N’akatono! (Zabbuli 10:1, 17) Weetegereze omutume Pawulo ky’addako okwogera.
17. Yakuwa yaddamu atya okusaba kwa Pawulo?
17 Katonda yaddamu okusaba kwa Pawulo n’amugamba nti: “Ekisa kyange kikumala: kubanga amaanyi gange gatuukiririra mu bunafu.” Pawulo yagamba nti: “Kyennaavanga nneenyumiriza n’essanyu eringi olw’eby’obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gasiisire ku nze.” (2 Abakkolinso 12:9; Zabbuli 147:5) Pawulo yakitegeera nti okuyitira mu Kristo, obukuumi bwa Katonda obw’amaanyi bwali ku ye nga weema. Leero, Yakuwa addamu okusaba kwaffe mu ngeri y’emu. Obukuumi bwe bubeera ku baweereza be bonna ne baba ng’abali munda mu weema.
18. Lwaki tusobola okugumira ebizibu?
18 Kyo kituufu nti weema tegaana nkuba kutonnya oba embuyaga okukunta, naye era ewa obukuumi. Mu ngeri y’emu, “amaanyi ga Kristo” tegakugira bizibu kututuukako. Wabula, gatukuuma mu by’omwoyo eri ensi eno embi n’eri Setaani omufuzi waayo. (Okubikkulirwa 7:9, 15, 16) N’olwekyo, ne bw’oba nga olina ekizibu ‘ekitakuvaako,’ beera mukakafu nti Yakuwa alaba embeera yo era nti azzeemu “eddoboozi ery’oku[k]aaba kwo.” (Isaaya 30:19; 2 Abakkolinso 1:3, 4) Pawulo yawandiika: “Katonda mwesigwa, ataabaganyenga kukemebwa okusinga bwe muyinza; naye awamu n’okukemebwa era anassangawo n’obuddukiro mulyoke muyinzenga okugumiikiriza.”—1 Abakkolinso 10:13; Abafiripi 4:6, 7.
19. Kiki ky’omaliridde okukola, era lwaki?
19 Kyo kituufu nti ‘ennaku zino ez’oluvannyuma’ ez’ensi eno etatya Katonda ‘biro bya kulaba nnaku.’ (2 Timoseewo 3:1) Naye wadde kiri kityo, abaweereza ba Katonda basobola okugumira ebizibu ebizirimu. Lwaki? Kubanga balina obuwagizi n’obukuumi bw’omwoyo omutukuvu, Yakuwa gw’awa abo abanyiikirira okumusaba. N’olwekyo, ka tube bamalirivu okumusabanga okutuwa omwoyo gwe omutukuvu buli lunaku.—Zabbuli 34:6; 1 Yokaana 5:14, 15.
Oyinza Kuddamu Otya?
• Twetaaga kukola ki okusobola okufuna omwoyo gwa Katonda omutukuvu?
• Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa omwoyo omutukuvu bwe tumusaba?
• Omwoyo omutukuvu gutuyamba gutya okugumira ebizibu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 13]
Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Yesu eky’omusajja eyeetayirira munne?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Onyiikirira okusaba Katonda okukuwa omwoyo gwe omutukuvu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]
Ekyokulabirako kya taata afaayo ku mwana we kituyigiriza ki ku Yakuwa?