“Yakuwa Amanyi Ababe”
“Omuntu yenna bw’aba ng’ayagala Katonda, Katonda aba amanyi omuntu oyo.”—1 KOL. 8:3.
1. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri abamu ku baweereza ba Katonda mu biseera by’edda gye beerimbalimba n’endowooza enkyamu. (Laba ekifaananyi waggulu.)
LUMU ku makya, Kabona Asinga Obukulu Alooni yayimirira ku mulyango gwa weema ya Yakuwa entukuvu ng’akute ekyoterezo. Ku mabbali awo, waaliwo Koola n’abasajja abalala 250 nga nabo bootereza obubaane eri Yakuwa, buli omu ng’akutte ekyoterezo kye. (Kubal. 16:16-18) Mu ndaba ey’obuntu, abasajja abo bonna baali balabika ng’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa. Kyokka obutafaananako Alooni, Koola n’abasajja be baali ba malala, nga bajeemu, nga beefaako bokka, era nga baagala n’okuwamba obwakabona okuva ku Alooni. (Kubal. 16:1-11) Baali beerimbalimba nga balowooza nti bajja kusiimibwa mu maaso ga Katonda. Naye ekyo kye baakola kyanyiiza nnyo Yakuwa, oyo akebera emitima. Yakuwa yakiraba nti baali bannanfuusi.—Yer. 17:10.
2. Kiki Musa kye yayogera, era ebigambo bye byatuukirira bitya?
2 Musa yali agambye nti: “Enkya, Mukama anaalaga ababe bwe bali.” (Kubal. 16:5) Era bwe kityo bwe kyali. Yakuwa yalaga enjawulo wakati w’abaweereza be abeesigwa n’abo abataali beesigwa, bwe yaleeta ‘omuliro ne gwokya Koola n’abasajja ebibiri mu ataano abaali bawaayo obubaane.’ (Kubal. 16:35; 26:10) Mu kiseera kye kimu, Yakuwa yawonyaawo Alooni, ne kyeyoleka bulungi nti Alooni ye yali kabona omutuufu era nti yali muweereza wa Katonda ow’amazima.—Soma 1 Abakkolinso 8:3.
3. (a) Mbeera ki eyajjawo mu kiseera ky’omutume Pawulo? (b) Kiki kye tuyigira ku ekyo Yakuwa kye yakola bakyewaggula mu kiseera kya Musa?
3 Embeera efaananako ng’eyo yaliwo mu kiseera kya Pawulo. Waliwo abantu abaali beeyita Abakristaayo abaali bayigiriza ebintu ebikyamu kyokka ne beeyongera okubeera mu kibiina. Bakyewaggula abo baali balabika ng’abaweereza ba Yakuwa ab’amazima. Naye bakyewaggula abo baali ba bulabe nnyo eri Abakristaayo abeesigwa. Emisege egyo egyali gyeyambazza amaliba g’endiga gyatandika ‘okusaanyaawo okukkiriza kw’abamu.’ (2 Tim. 2:16-18) Ekyo Yakuwa yali akiraba? Yee. Pawulo yali amanyi bulungi ekyo Yakuwa kye yakola Koola n’abawagizi be abaali beewaggudde, era nga mukakafu nti Yakuwa yali amanyi bulungi byonna ebyali bigenda mu maaso. Naffe tusaanidde okwesiga Yakuwa. Kati ka tulabe bye tuyigira mu bigambo Pawulo bye yagamba Timoseewo.
“NZE YAKUWA, SIKYUKA”
4. Pawulo yali mukakafu ku ki, era ekyo kyeyolekera kitya mu bigambo bye yakozesa ng’awandiikira Timoseewo ebbaluwa?
4 Pawulo yali mukakafu nti Yakuwa asobola okutegeera bannanfuusi n’abo abamugondera. Kino kyeyolekera bulungi mu bigambo bye yakozesa ng’aluŋŋamiziddwa okuwandiikira Timoseewo ebbaluwa. Oluvannyuma lw’okwogera ku kabi bakyewaggula ke baali batuusizza ku bantu abamu mu kibiina, Pawulo yagamba nti: “Omusingi gwa Katonda omugumu gusigala nga munywevu nga guliko akabonero kano: ‘Yakuwa amanyi ababe,’ era nti: ‘Buli akoowoola erinnya lya Yakuwa alekeyo obutali butuukirivu.’”—2 Tim. 2:18, 19.
5, 6. Kiki ekyewuunyisa ku bigambo “omusingi gwa Katonda omugumu” Pawulo bye yakozesa, era ebigambo ebyo byakwata bitya ku Timoseewo?
5 Bayibuli ekozesa ekigambo “omusingi” ng’eyogera ku bintu ebitali bimu. Mu bintu ebyo mwe muli ekibuga ekikulu ekya Isiraeri eky’edda, Yerusaalemi, awamu n’ekifo Yesu ky’alina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. (Zab. 87:1, 2; 1 Kol. 3:11; 1 Peet. 2:6) Kyokka ekyewuunyisa kiri nti ebigambo “omusingi gwa Katonda omugumu” bikozesebwa omulundi gumu gwokka mu Bayibuli. Kiki Pawulo kye yali ategeeza bwe yayogera ku ‘musingi gwa Katonda omugumu’?
6 Pawulo yayogera ku ‘musingi gwa Katonda omugumu’ bwe yali ajuliza ebigambo ebiri mu Okubala 16:5, Musa bye yakozesa ng’ayogera ku Koola n’abawagizi be. Pawulo yayogera ku bintu ebyaliwo mu kiseera kya Musa ng’ayagala okuzzaamu Timoseewo amaanyi n’okumuyamba okukijjukira nti Yakuwa asobola okulaba bakyewaggula era n’abalemesa okwonoona ekibiina. Nga Koola bw’ataasobola kukyusa kigendererwa kya Katonda, ne bakyewaggula abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali tebasobola kukikyusa. Pawulo teyannyonnyola mu bujjuvu ekyo “omusingi gwa Katonda omugumu” kye gutegeeza. Wadde kiri kityo, ebyo bye yayogera biteekwa okuba nga byayamba Timoseewo okwongera okwesiga Yakuwa.
7. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kwoleka obutuukirivu bwe n’obwesigwa bwe emirembe gyonna?
7 Emisingi gya Yakuwa tegikyuka. Zabbuli 33:11 wagamba nti: “Okuteesa kwa Mukama kunywerera ennaku zonna, n’ebirowoozo by’omutima gwe okutuusa emirembe gyonna.” Ebyawandiikibwa ebirala byogera ku bufuzi bwa Yakuwa, ku kwagala kwe okutajjulukuka, ku butuukirivu bwe, ne ku bwesigwa bwe, ne biraga nti bibeerawo emirembe gyonna. (Kuv. 15:18; Zab. 106:1; 112:9; 117:2) Malaki 3:6 (NW) wagamba nti: “Nze Yakuwa, sikyuka.” Mu ngeri y’emu, Yakobo 1:17 wagamba nti Yakuwa “takyukakyuka ng’ekisiikirize.”
“AKABONERO” AKANYWEZA OKUKKIRIZA KWAFFE MU YAKUWA
8, 9. Kiki kye tuyigira ku ‘kabonero’ Pawulo ke yayogerako?
8 Mu 2 Timoseewo 2:19 Pawulo yayogera ku musingi oguliko obubaka, nga buteekeddwako ng’akabonero. Mu biseera by’edda, abantu baateranga okuwandiika ebigambo ku misingi gy’ebizimbe, oboolyawo nga biraga bannannyini byo oba abo abaabanga babizimbye. Pawulo ye muwandiisi wa Bayibuli eyasooka okukozesa ekyokulabirako ekyo.a Akabonero akali ku ‘musingi gwa Katonda omugumu’ kalimu obubaka bwa mirundi ebiri. Obusooka, “Yakuwa amanyi ababe” ate obw’okubiri, “Buli akoowoola erinnya lya Yakuwa alekeyo obutali butuukirivu.” Ekyo kitujjukiza ebyo ebiri mu Okubala 16:5. (Soma.)
9 Kiki kye tuyigira ku ‘kabonero’ Pawulo ke yayogerako? Akabonero ako katuyigiriza nti emitindo gya Yakuwa n’emisingi gye byesigamiziddwa ku bintu ebikulu bibiri: (1) Yakuwa ayagala abo abeesigwa gy’ali, ne (2) Yakuwa akyawa obutali butuukirivu. Ebintu ebyo bikwata bitya ku ngeri gye tusaanidde okutwalamu obwakyewaggula mu kibiina?
10. Ebyo bakyewaggula bye baali bakola byayisanga bitya Abakristaayo abeesigwa abaaliwo mu kiseera kya Pawulo?
10 Timoseewo awamu n’Abakristaayo abalala abeesigwa bateekwa okuba nga baali bayisibwa bubi olw’ebyo bakyewaggula bye baali bakola. Abakristaayo abamu bayinza okuba nga baali beebuuza ensonga lwaki bakyewaggula baali balekeddwa mu kibiina. Abantu ba Katonda abeesigwa bayinza okuba nga baali beebuuza obanga ddala Yakuwa yali alaba enjawulo wakati w’abaweereza be abeesigwa ne bakyewaggula abaali bannanfuusi.—Bik. 20:29, 30.
11, 12. Ebbaluwa ya Pawulo yanyweza etya okukkiriza kwa Timoseewo?
11 Ebbaluwa Pawulo gye yawandiika eteekwa okuba nga yanyweza nnyo okukkiriza kwa Timoseewo. Yayamba Timoseewo okukijjukira nti mu kiseera kya Musa, Yakuwa yakiraga lwatu nti yali asiima Alooni, omuweereza we omwesigwa. Ku luuyi olulala Yakuwa yakiraga nti Koola ne banne baali bannanfuusi era n’abazikiriza. Mu ngeri endala, Pawulo yali agamba nti wadde nga waaliwo abo abaali beeyita Abakristaayo, Yakuwa yali ajja kulaga abo ababe, nga bwe yakola mu kiseera kya Musa.
12 Yakuwa takyuka, era bulijjo tusaanidde okumwesiga. Akyawa obutali butuukirivu, era mu kiseera kye ekituufu abonereza abantu abakola ebintu ebibi. Ng’omu ku abo abaali ‘bakoowoola erinnya lya Yakuwa,’ Timoseewo yakubirizibwa okwewala okutwalirizibwa Abakristaayo ab’obulimba.b
ABAWEEREZA BA YAKUWA ABEESIGWA TEBAWEEREREZA BWEREERE
13. Tuli bakakafu ku ki?
13 Naffe ebigambo bya Pawulo bisobola okutuzzaamu amaanyi. Okusookera ddala, kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa amanyi bulungi engeri gye tufuba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Yakuwa takoma ku kumanya bumanya abo abeesigwa gy’ali, naye era abafaako nnyo. Bayibuli egamba nti: “Amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” (2 Byom. 16:9) N’olwekyo, tusaanidde okuba abakakafu nti ebyo byonna bye tukolera Yakuwa ‘n’omutima omulongoofu,’ tetubikolera bwereere.—1 Tim. 1:5; 1 Kol. 15:58.
14. Bantu ba ngeri ki Yakuwa b’akyawa?
14 Yakuwa akyayira ddala abo abooleka obunnanfuusi nga bamusinza. Amaaso ge bwe gaba “gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna,” asobola okulaba abo abalina omutima ogutatuukiridde gy’ali. Engero 3:32 (NW) walaga nti “Yakuwa akyayira ddala omuntu omukuusa,” gamba ng’oyo eyeefuula okuba omuwulize gy’ali naye ng’akola ebibi mu nkukutu. Wadde ng’omuntu ng’oyo asobola okulimbalimba abantu abalala okumala ekiseera, Yakuwa Omuyinza w’Ebintu Byonna era omutuukirivu agamba nti: “[Oyo] abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa.”—Nge. 28:13; soma 1 Timoseewo 5:24; Abebbulaniya 4:13.
15. Kiki kye tusaanidde okwewala, era lwaki?
15 Abantu ba Yakuwa abasinga obungi baweereza Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna. Si kya bulijjo okusanga omuntu mu kibiina kya Yakuwa agezaako okwefuula nti aweereza Yakuwa mu bwesimbu naye nga ddala si mwesigwa gy’ali. Kyokka, okuva bwe kiri nti ekintu ng’ekyo kyaliwo mu kiseera kya Musa ne mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka, kisobola n’okubaawo mu kiseera kyaffe. (2 Tim. 3:1, 5) Naye ekyo kyandituleetedde okutandika okwekengera bakkiriza bannaffe, oboolyawo ne tutandika n’okubuusabuusa obanga ddala beesigwa eri Yakuwa? Nedda! Mu butuufu, kiba kikyamu okutandika okubuusabuusa bakkiriza bannaffe nga tetulina bukakafu bwonna. (Soma Abaruumi 14:10-12; 1 Abakkolinso 13:7.) Ate era, bwe tuba n’omuze ogw’obuteesiga bakkiriza bannaffe, kiyinza okuleetera enkolagana yaffe ne Yakuwa okwonooneka.
16. (a) Kiki buli omu ku ffe ky’asaanidde okukola okusobola okwewala obunnanfuusi? (b) Bya kuyiga ki ebiri mu kasanduuko akalina omutwe “Mwekeberenga . . . Mwegezese . . .”?
16 Buli Mukristaayo asaanidde ‘okugezesa omulimu gwe bwe guli.’ (Bag. 6:4) Olw’okuba tetutuukiridde, tuyinza okwesanga nga tutandise okuweereza Yakuwa nga tulina ebiruubirirwa ebikyamu. (Beb. 3:12, 13) N’olwekyo, tusaanidde okwekebera buli kiseera okulaba ensonga lwaki tuweereza Yakuwa. Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Mpeereza Yakuwa olw’okuba mwagala era olw’okuba njagala obufuzi bwe? Oba kyandiba nti ensonga enkulu endeetera okumuweereza kwe kuba nti njagala bwagazi kubeera mu Lusuku lwe?’ (Kub. 4:11) Okwekebera mu bwesimbu kisobola okutuyamba okweggyamu obunnanfuusi bwonna.
OKUBA ABEESIGWA KIREETA ESSANYU
17, 18. Lwaki tusaanidde okuba abeesimbu nga tuweereza Yakuwa?
17 Bwe tufuba okuba abeesigwa era abeesimbu nga tuweereza Yakuwa Katonda, tufuna emikisa mingi. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Aweereddwa omukisa Mukama gw’atabalira butali butuukirivu, ne mu mwoyo gwe temuli bukuusa.” (Zab. 32:2) Mu butuufu, abo abafuba okweggiramu ddala obunnanfuusi bafuna essanyu lingi mu kiseera kino era bajja kufuna essanyu erya nnamaddala mu biseera eby’omu maaso.
18 Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kwanika abo bonna abakola ebintu ebibi oba abo abatambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri, bw’atyo alage ‘enjawulo wakati w’omutuukirivu n’omubi, era wakati w’oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.’ (Mal. 3:18) Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, kikulu okukijjukira nti “amaaso ga Yakuwa gali ku batuukirivu n’amatu ge gali eri okwegayirira kwabwe.”—1 Peet. 3:12.
a Ekyokulabirako ekifaananako ng’ekyo kisangibwa ne mu Okubikkulirwa 21:14, awoogera ku ‘mayinja’ 12 ‘ag’omusingi’ agawandiikiddwako amannya g’abatume 12.
b Mu kitundu ekinnaddako, tujja kulaba engeri gye tuyinza okukoppa Yakuwa nga twewala obutali butuukirivu.