‘Tuukiriza Obuweereza Bwo’
‘Tuukiriza obuweereza bwo.’—2 TIMOSEEWO 4:5.
1, 2. Wadde ng’Abakristaayo bonna babuulizi b’amawulire amalungi, kiki Ebyawandiikibwa kye byetaagisa abakadde okukola?
OLI mulangirizi w’Obwakabaka? Bwe kiba bwe kityo, weebaze Yakuwa olw’enkizo eno ey’ekitalo. Oli mukadde mu kibiina? Eyo nayo nkizo ndala Yakuwa gy’akuwadde. Naye tukijjukire nti obuyigirize oba okwogera obulungi si bye bitusobozesa okubeera n’ebisaanyizo by’okwenyigira mu buweereza oba okubeera abalabirizi mu kibiina. Yakuwa y’atusobozesa okufuna ebisaanyizo by’okwenyigira mu buweereza, era olw’okuba abamu mu ffe batuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa, baweebwa enkizo ey’okuweereza ng’abalabirizi.—2 Abakkolinso 3:5, 6; 1 Timoseewo 3:1-7.
2 Abakristaayo abeewaayo eri Yakuwa bonna beenyigira mu mulimu gw’okubuulira, naye okusingira ddala abakadde balina okuteekawo ekyokulabirako ekirungi mu buweereza. Abakadde ‘abakola ennyo mu kwogera ne mu kuyigiriza,’ balabibwa Katonda ne Kristo era ne Bajulirwa bannaabwe. (1 Timoseewo 5:17; Abaefeso 5:23; Abaebbulaniya 6:10-12) Mu buli ngeri yonna, okuyigiriza kw’omukadde kulina okuba nga kuganyula abalala mu by’omwoyo, kubanga omutume Pawulo yagamba bw’ati Timoseewo: “Ebiro birijja lwe batalikkiriza kuwulira kuyigiriza kwa bulamu; naye, amatu nga gabasiiwa, balikuŋŋaanya abayigiriza ng’okwegomba kwabwe bo bwe kuli. Baliziba amatu okulekanga amazima, balikyama okugobereranga enfumo obufumo. Naye ggwe tamiirukukanga mu byonna, bonaabonanga, kolanga omulimu ogw’omubuulizi w’enjiri, tuukirizanga okuweereza kwo.”—2 Timoseewo 4:3-5.
3. Kiki ekirina okukolebwa enjigiriza ez’obulimba zireme okusensera ekibiina?
3 Okusobola okukakasa nti enjigiriza ez’obulimba tezisensera kibiina, omukadde alina okugoberera okubuulira kwa Pawulo kuno: ‘Tamiirukukanga mu byonna, tuukirizanga obuweereza bwo.’ (2 Timoseewo 4:5) Mazima ddala, omukadde alina ‘okutuukiriza obuweereza bwe.’ Alina okubwenyigiramu mu bujjuvu. Omukadde atuukiriza obuweereza bwe, assaayo nnyo omwoyo ku buvunaanyizibwa bwe bwonna, nga talina ky’abuusa maaso oba obutakikola mu bujjuvu. Omusajja ng’oyo aba mwesigwa ne mu bintu ebitono.—Lukka 12:48; 16:10.
4. Kiki ekisobola okutuyamba okutuukiriza obuweereza bwaffe?
4 Okusobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe tekitegeeza nti tuteekwa buteekwa okuwaayo ebiseera bingi, naye kitwetaagisa okubikozesa obulungi. Okubeera n’enteekateeka ennungi, kisobola okuyamba Abakristaayo bonna okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe. Okusobola okumala ebiseera ebiwerako mu buweereza bw’ennimiro, omukadde alina okuba n’enteekateeka ennungi era n’okumanya buvunaanyizibwa ki bw’alina okuwa abalala era n’engeri y’okukikolamu. (Abaebbulaniya 13:17) Kya lwatu, omukadde assibwamu ekitiibwa naye kennyini alina okubaako ky’akola, okufaananako Nekkemiya eyeenyigira mu mulimu gw’okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi. (Nekkemiya 5:16) Era abaweereza ba Yakuwa bonna basaanidde okwenyigira obutayosa mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka.—1 Abakkolinso 9:16-18.
5. Ndowooza ki gye twandibadde nayo ku buweereza?
5 Nga tulina omulimu ogusanyusa ennyo ogw’okulangirira Obwakabaka obwassibwawo mu ggulu! Mazima ddala enkizo gye tulina ey’okwenyigira mu kubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna ng’enkomerero tennaba kujja, tugitwala nga ya muwendo nnyo. (Matayo 24:14) Wadde tetutuukiridde, tusobola okuzzibwamu amaanyi ebigambo bya Pawulo: “Obugagga obwo [obw’obuweereza] tuli nabwo mu bibya eby’ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe.” (2 Abakkolinso 4:7) Yee, tusobola okwenyigira mu buweereza obusiimibwa olw’okuba tuweereddwa amaanyi n’amagezi okuva eri Katonda.—1 Abakkolinso 1:26-31.
Okwoleka Ekitiibwa kya Katonda
6. Njawulo ki eyeeyoleka wakati wa Isiraeri ey’omubiri ne Isiraeri ey’omwoyo?
6 Ng’ayogera ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta, Pawulo agamba nti Katonda ‘y’atusaanyiza okubeera abaweereza b’endagaano empya.’ Omutume alaga enjawulo eri wakati w’endagaano empya eyakolebwa ne Isiraeri ey’omwoyo okuyitira mu Yesu Kristo n’endagaano enkadde eyakolebwa ne Isiraeri ey’omubiri okuyitira mu Musa. Pawulo ayongera n’agamba nti, Musa bwe yakka okuva ku Lusozi Sinaayi ng’alina ebipande ebiriko Amateeka Ekkumi, yali amasamasa mu maaso ne kiba nti Abaisiraeri baali tebasobola na kumutunuulira mu maaso. Naye, nga wayiseewo ekiseera, ekintu ekikulu ennyo ekisinga n’ekyo kyaliwo kubanga ‘okutegeera kwabwe kwakendeera’ era emitima gyabwe ne gibikkibwako. Kyokka, emitima gyabwe bwe gyadda eri Yakuwa, ekyali kibisseeko kyaggibwawo. Ng’ayogera ku buweereza obwaweebwa abo abali mu ndagaano empya, Pawulo agamba: “Ffe [f]fenna, . . . tumasamasa [“twoleka,” NW] ng’endabirwamu ekitiibwa kya Mukama waffe amaaso gaffe nga gaggiddwako eky’okubikkako.” (2 Abakkolinso 3:6-8, 14-18; Okuva 34:29-35) “Endiga endala” eza Yesu abaliwo mu kiseera kino, nabo balina enkizo ey’okwoleka ekitiibwa kya Yakuwa.—Yokaana 10:16.
7. Abantu basobola batya okwoleka ekitiibwa kya Katonda?
7 Abantu abatatuukiridde basobola batya okwoleka ekitiibwa kya Katonda, ng’ate tewali muntu n’omu ayinza kumulaba n’asigala nga mulamu? (Okuva 33:20) Ng’oggyeko okuba nti Yakuwa wa kitiibwa, ate era waliwo n’ekigendererwa kye eky’ekitiibwa ekikwata ku kulaga obutuufu bw’obufuzi bwe okuyitira mu Bwakabaka bwe. Amazima agakwata ku Bwakabaka, bye bimu ku ‘bintu eby’ekitalo ebya Katonda’ ebyatandika okulangirirwa abo abaafukibwako amafuta ku Pentekoote 33 C.E. (Ebikolwa 2:11) Nga bakulemberwa omwoyo omutukuvu, baali basobola okutuukiriza obuweereza obwabakwasibwa.—Ebikolwa 1:8.
8. Pawulo yali mumalirivu kukola ki ku bikwata ku buweereza?
8 Pawulo yali mumalirivu obutakkiriza kintu kyonna kumulemesa kutuukiriza buweereza bwe. Yawandiika bw’ati: “Kubanga tulina okuweereza okwo, nga bwe twasaasirwa, tetuddirira: naye twagaana eby’ensonyi ebikisibwa, nga tetutambulira mu bukuusa, so tetukyamya kigambo kya Katonda; naye olw’okulabisa amazima nga twetendereza eri omwoyo gwa buli muntu mu maaso ga Katonda.” (2 Abakkolinso 4:1, 2) Okuyitira mu ekyo Pawulo ky’ayita “okuweereza okwo,” amazima goolesezebwa era n’ekitangaala eky’eb’omwoyo ne kibuna wonna.
9, 10. Kisoboka kitya okwoleka ekitiibwa kya Yakuwa?
9 Pawulo agamba bw’ati ku bikwata ku Nsibuko y’ekitangaala ekya bulijjo n’eky’eby’omwoyo: “Katonda ye yayogera nti Omusana gulyaka mu kizikiza, eyayaka mu mitima gyaffe, okuleeta omusana ogw’okutegeera ekitiibwa kya Katonda mu maaso ga Yesu Kristo.” (2 Abakkolinso 4:6; Olubereberye 1:2-5) Olw’okuba tuweereddwa enkizo ey’ekitalo ey’okubeera abaweereza ba Katonda, ka twekuume nga tuli bayonjo tusobole okwoleka ekitiibwa kya Yakuwa ng’endabirwamu.
10 Abantu abali mu kizikiza eky’eby’omwoyo, tebasobola kulaba kitiibwa kya Yakuwa oba engeri gye kyeyolekera mu Yesu Kristo, Musa Asinga Obukulu. Naye ng’abaweereza ba Yakuwa, ffe tufuna ekitangaala ekyo okuva mu Byawandiikibwa era ne tukimulisiza abalala. Abo abali mu kizikiza eky’eby’omwoyo bwe baba nga ba kuwona okuzikirizibwa, beetaaga okufuna ekitangaala ekiva eri Katonda. N’olwekyo, nga tuli basanyufu era nga tuli banyiikivu, tugondera ekiragiro kya Katonda eky’okumulisa ekitangaala tumuweese ekitiibwa.
Leka Ekitangaala Kyo Kyake ng’Oyigiriza Abantu Baibuli
11. Kiki Yesu kye yayogera ekikwata ku kubunyisa ekitangaala, era engeri emu ey’okukikolamu mu buweereza bwaffe y’eruwa?
11 Yesu yagamba abagoberezi be: “Mmwe muli musana gwa nsi. Ekibuga bwe kikubibwa ku lusozi, tekiyinzika kukisibwa. So tebakoleeza ttabaaza okugivuunikira mu kibbo; wabula okugiteeka waggulu ku kikondo kyayo; nayo ebaakira bonna abali mu nju. Kale omusana gwammwe gwakenga bwe gutyo mu maaso g’abantu, balabenga ebigambo ebirungi bye mukola, balyoke bagulumizenga Kitammwe ali mu ggulu.” (Matayo 5:14-16) Empisa zaffe ennungi zisobola okuleetera abalala okutendereza Katonda. (1 Peetero 2:12) Era engeri ez’enjawulo omulimu gwaffe ogw’okubuulira gye gukolebwamu zitusobozesa okubunyisa ekitangaala. Ekimu ku biruubirirwa byaffe ebikulu kwe kubunyisa ekitangaala eky’eby’omwoyo ekiri mu Kigambo kya Katonda nga tuyigiriza abantu Baibuli. Eno ngeri nkulu nnyo ey’okutuukirizaamu obuweereza bwaffe. Biki ebiyinza okutuyamba okuyigiriza Baibuli abantu abaagala amazima mu ngeri ebatuuka ku mitima?
12. Okusaba kulina kakwate ki n’omulimu gw’okuyigiriza abantu Baibuli?
12 Bwe tusaba Yakuwa ku nsonga eno, kiba kiraga nti twagala nnyo okuyigiriza abantu Baibuli. Era kiraga nti tutegeera obukulu bw’okuyamba abalala okufuna okumanya okukwata ku Katonda. (Ezeekyeri 33:7-9) Mazima ddala, Yakuwa ajja kuddamu okusaba kwaffe era awe omukisa bye tukola mu buweereza. (1 Yokaana 5:14, 15) Naye tetusaba kufuna bufunyi muntu gwe tunaayigiriza Baibuli. Oluvannyuma lw’okufuna gwe tuyigiriza, okusaba n’okufumiitiriza ku byetaago by’omuyizi oyo bijja kutuyamba okukubiriza buli ssomo mu ngeri ennungi.—Abaruumi 12:12.
13. Kiki ekiyinza okutuyamba okuyigiriza obulungi abantu Baibuli?
13 Okusobola okuyigiriza obulungi abantu Baibuli, tuteekwa okutegeka obulungi buli ssomo. Singa tuwulira nga tetulina bulungi busobozi, kiyinza okuba eky’omuganyulo okwetegereza engeri omulabirizi akubiriza Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina gy’akubirizaamu okusoma okwa buli wiiki. Emirundi egimu, tuyinza okubuulira awamu n’ababuulizi b’Obwakabaka abafunye ebibala ebirungi mu kuyigiriza abantu Baibuli. Kya lwatu, tulina okwekenneenya ennyo endowooza Yesu Kristo gye yalina n’engeri gye yayigirizangamu.
14. Tusobola tutya okutuuka ku mutima gw’omuyizi wa Baibuli?
14 Yesu yasanyukanga okukola Kitaawe ow’omu ggulu by’ayagala era n’okutegeeza abalala ebikwata ku Katonda. (Zabbuli 40:8) Yali muwombeefu era yasobola okutuuka ku mitima gy’abantu abaamuwuliriza. (Matayo 11:28-30) N’olwekyo, ka tufube okutuuka ku mitima gy’abo be tuyigiriza Baibuli. Okusobola okukola ekyo, tulina okutegeka buli ssomo nga tulowooza ku mbeera y’omuyizi. Ng’ekyokulabirako, bw’aba ng’ava mu bantu abatakkiririza mu Baibuli, kiyinza okutwetaagisa okumumatiza nti Baibuli ya mazima. Era ekyo kijja kutwetaagisa okusoma ebyawandiikibwa bingi era n’okubinnyonnyola.
Yamba Abayizi Okutegeera Ebyokulabirako
15, 16. (a) Tusobola tutya okuyamba omuyizi atategeera byakulabirako bikozesebwa mu Baibuli? (b) Kiki kye tusobola okukola singa ekimu ku bitabo byaffe kikozesa ekyokulabirako ekizibuwalira omuyizi wa Baibuli okutegeera?
15 Omuyizi wa Baibuli ayinza okuba nga tategeera bulungi byakulabirako ebimu ebigirimu. Ng’ekyokulabirako, ayinza okuba nga tategeera Yesu kye yali ategeeza bwe yayogera ku kuteeka ettabaaza waggulu ku kikondo. (Makko 4:21, 22) Yesu yali ayogera ku ttabaaza ey’amafuta ekozesa olutambi. Ettabaaza ng’eyo yateekebwanga ku kikondo era mu ngeri eyo, n’esobola okumulisa mu nnyumba. Okusobola okutegeerera ddala obulungi ekyokulabirako kya Yesu, kiyinza okukwetaagisa okukola okunoonyereza ku mitwe gamba nga “Ettabaaza” (“Lamp”) ne “Ekikondo ky’Ettabaaza” (“Lampstand”) mu bitabo nga Insight on the Scriptures.a Naye nga kisanyusa nnyo okunnyonnyola omuyizi wa Baibuli ensonga n’agitegeera bulungi era n’asiima!
16 Ekitabo ekiyamba okutegeera Baibuli kiyinza okubaamu ekyokulabirako ekiyinza okuzibuwalira omuyizi okutegeera. Twala ekiseera okukinnyonnyola, oba kozesa ekyokulabirako ekirala ekiggyayo ensonga eyo yennyini. Oboolyawo, ekitabo kiyinza okuba nga kiggumiza nti okukolera awamu era n’okuyambagana bikulu nnyo mu bufumbo. Nga kinnyonnyola ekyo, kiyinza okukozesa ekyokulabirako eky’omusajja eyeewuubira ku muguwa, n’aguta ng’ali mu bbanga nga yeesiga omuntu omulala okumubaka. Ekyokulabirako ekirala ekikwata ku nsonga y’emu, kye ky’abakozi abakolera awamu nga baweerezagana ebibokisi bye batikkula okuva mu lyato.
17. Kiki kye tusobola okuyigira ku Yesu ku bikwata ku kukozesa ebyokulabirako?
17 Okusobola okukozesa ekyokulabirako ekirala kiyinza okukwetaagisa okukiteekateeka nga bukyali. Era eyo eba ngeri nnungi ey’okulagamu nti tufaayo ku muyizi wa Baibuli. Yesu yakozesanga ebyokulabirako ebyangu okusobola okuggyayo obulungi ensonga. Okubuulira kwe okw’Oku Lusozi kulaga engeri gye yakolamu ekyo era Baibuli eraga nti bye yayigiriza birina kye byakola ku baali bamuwuliriza. (Matayo 5:1–7:29) Yesu yannyonnyolanga ebintu kubanga yali afaayo nnyo ku bantu abalala.—Matayo 16:5-12.
18. Magezi ki agaweereddwa ku byawandiikibwa ebisangibwa mu bitabo byaffe?
18 Okufaayo kwe tulina eri abantu abalala kujja kutukubiriza ‘okubannyonnyola nga tweyambisa Ebyawandiikibwa.’ (Ebikolwa 17:2, 3) Okukola ekyo, kitwetaagisa okusoma n’okusaba mu bwesimbu era n’okukozesa obulungi ebitabo ebituweebwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Lukka 12:42-44) Ng’ekyokulabirako, akatabo Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo kajuliza ebyawandiikibwa bingi.b Naye ebimu biragibwa bulagibwa we biggiddwa. Ng’oyigiriza omuntu Baibuli, kikulu nnyo okusoma n’okunnyonnyola ebimu ku byawandiikibwa ebyo ebiragiddwa obulagibwa. Kiri kityo kubanga okuyigiriza kwaffe kwonna kwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda, era kirina amaanyi mangi nnyo. (Abaebbulaniya 4:12) Weeyambise Baibuli ebbanga lyonna ng’oyiga n’omuntu, ng’okozesa nnyo ebyawandiikibwa ebiri mu butundu. Yamba omuyizi okulaba Baibuli ky’eyogera ku nsonga eyogerwako oba ku ngeri emu ekwata ku nneeyisa. Fuba okumuyamba okulaba engeri gy’ajja okuganyulwa singa agondera Katonda.—Isaaya 48:17, 18.
Buuza Ebibuuzo Ebiyamba Omuntu Okulowooza
19, 20. (a) Lwaki tulina okukozesa ebibuuzo ebiyamba okumanya endowooza y’oyo gwe tuyigiriza Baibuli? (b) Kiki ekiyinza okukolebwa singa wabaawo ensonga eyeetaaga okweyongera okwogerwako?
19 Engeri ey’amagezi Yesu gye yakozesaamu ebibuuzo, yayamba abantu okulowooza. (Matayo 17:24-27) Singa tubuuza ebibuuzo ebituyamba okumanya endowooza y’omuyizi era nga tebimuweebula, by’addamu biyinza okwoleka ky’alowooza ku nsonga emu. Tuyinza okukizuula nti akyalina endowooza ezikontana n’ebyawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, ayinza okuba akyakkiririza mu Tiriniti. Mu ssuula 3, akatabo Okumanya kalaga nti ekigambo “Tiriniti” tekiriimu mu Baibuli. Akatabo ako kajuliza ebyawandiikibwa ebiraga nti Yakuwa wa njawulo ku Yesu era nti omwoyo omutukuvu maanyi ga Katonda agakola, so si muntu. Okusoma n’okunnyonnyola ebyawandiikibwa ebyo, kiyinza okuba nga kimala okukakasa ensonga eyo. Naye kiba kitya singa obukakafu obulala bwetaagisa? Oboolyawo oluvannyuma lw’okuyiga okuddako, tuyinza okuwaayo ebiseera ne tukubaganya naye ebirowoozo ku nsonga eyo mu kitabo ekirala eky’Abajulirwa ba Yakuwa, gamba nga brocuwa Should You Believe in the Trinity? Oluvannyuma lw’ekyo, tusobola okweyongera okusoma naye nga tukozesa akatabo Okumanya.
20 Kiba kitya singa omuyizi ky’addamu mu kibuuzo kye twabuuzizza nga twagala okumanya endowooza ye kiba kyewuunyisa oba kimalamu amaanyi? Singa ekyogerwako kiba kintu ekyetaagisa okukwata n’obwegendereza gamba ng’ekizibu ky’okunywa ttaaba oba ekirala kyonna, tuyinza okusalawo okweyongera mu maaso n’okuyiga, ekintu ekyo ne tuddamu okukyogerako mu kiseera ekirala. Bwe tuba tukimanyi nti omuyizi oyo akyanywa ttaaba, tusobola okufunayo ebintu ebirala okuva mu bitabo by’ekibiina ebiyinza okumuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo. Nga tufuba okutuuka ku mutima gw’omuyizi oyo, tuyinza okusaba Yakuwa amuyambe okukulaakulana mu by’omwoyo.
21. Kiki ekiyinza okubaawo singa tukwataganya bulungi bye tuyigiriza n’ebyetaago by’omuntu oyo gwe tuyigiriza Baibuli?
21 Bwe tutegeka obulungi era nga tuyambibwako Yakuwa, awatali kubuusabuusa, engeri ze tukozesa okuyigiriza omuyizi wa Baibuli, zijja kutuukagana n’ebyetaago bye. Ebiseera nga bigenda biyitawo, tujja kusobola okumuyamba okutandika okwagala ennyo Katonda. Era tuyinza n’okumuyamba okusiima ennyo ekibiina kye. Era nga kireeta essanyu lingi nnyo abayizi ba Baibuli bwe bamanya nti ddala ‘Katonda ali naffe’! (1 Abakkolinso 14:24, 25) N’olwekyo, ka tuyigirize bulungi abantu Baibuli era tukole kyonna ekisoboka okuyamba abalala okufuuka abayigirizwa ba Yesu.
Eky’Obugagga kye Tulina
22, 23. Kiki ekyetaagisa bwe tuba ab’okutuukiriza obuweereza bwaffe?
22 Okusobola okutuukiriza obuweereza bwaffe, tulina okwesigama ku maanyi Katonda g’atuwa. Bwe yali ayogera ku buweereza, Pawulo yawandiikira bw’ati Bakristaayo banne: “Obugagga obwo tuli nabwo mu bibya eby’ebbumba, amaanyi amangi ennyo galyoke gavenga eri Katonda, so si eri ffe.”—2 Abakkolinso 4:7.
23 Ka tube nga twafukibwako amafuta oba nga tuli ba ‘ndiga ndala,’ tulinga ebibya eby’ebbumba. (Yokaana 10:16) Kyokka, Yakuwa asobola okutuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okutuukiriza omulimu gwaffe ka tube nga tunyigirizibwa kwenkana wa. (Yokaana 16:13; Abafiripi 4:13) N’olwekyo, ka twesigire ddala Yakuwa, obuweereza bwaffe tubutwale ng’eky’obugagga era tubutuukirize.
[Obugambo obuli wansi]
a Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
b Kaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Wandizzeemu Otya?
• Kiki abakadde kye bayinza okukola okusobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe?
• Tusobola tutya okulongoosaamu mu ngeri gye tuyigirizaamu abantu Baibuli?
• Kiki kye wandikoze singa omuyizi wa Baibuli alemererwa okutegeera ekyokulabirako oba nga yeetaaga okumanya ebisingawo ku nsonga eyo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]
Abakadde Abakristaayo bayigiriza mu kibiina era batendeka bakkiriza bannaabwe mu buweereza
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]
Okuyigiriza obulungi abantu Baibuli ngeri emu gye tubunyisaamu ekitangaala