Essuula 14
Buyinza bw’Ani bw’Osaanidde Okukkiriza?
1, 2. Obuyinza bwonna buba bubi? Nnyonnyola.
EKIGAMBO “obuyinza” kyesisiwaza bangi. Kino kitegeerekeka, kubanga obuyinza emirundi mingi bukozesebwa bubi—ku mirimu, mu maka, era ne zigavumenti. Baibuli ntuufu bw’egamba nti: “Omuntu abadde n’obuyinza ku muntu munne olw’okumukola obubi.” (Omubuulizi 8:9, NW ) Yee, bangi bakozesezza bubi obuyinza nga beeyisa mu ngeri enyigiriza abalala era ey’okwefaako bokka.
2 Naye obuyinza bwonna tebubeera bubi. Ng’ekyokulabirako, kiyinza okugambibwa nti omubiri gwaffe gutulinako obuyinza. “Gutulagira” okussa omukka, okulya, okunywa, n’okwebaka. Kuno kubeera kunyigiriza? Nedda. Okugondera ebiragiro bino kya mugaso gye tuli. Wadde ng’okugondera ebyetaago by’omubiri gwaffe kuyinza obutaba kwa kyeyagalire, waliwo engeri endala ez’obuyinza ezitwetaagisa obuwulize obwa kyeyagalire. Lowooza ku byokulabirako bino.
OW’OBUYINZA ASINGIRAYO DDALA
3. Lwaki kituufu Yakuwa okuyitibwa “Mukama Afuga Byonna?”
3 Emirundi egisukka 300 mu Baibuli, Yakuwa ayitibwa “Mukama Afuga Byonna.” Omuntu afuga byonna y’aba n’obuyinza obusingirayo ddala. Kiki ekireetera Yakuwa okuba n’obwannanyini ku buyinza obwo? Okubikkulirwa 4:11 luddamu: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.”
4. Yakuwa obuyinza bwe alondawo kubukozesa atya?
4 Ng’Omutonzi waffe, Yakuwa alina obwannanyini okukozesa obuyinza bwe nga bw’aba alonzeewo. Kino kiyinza okulabika ng’ekitiisa, naddala bwe tukirowoozaako nti Katonda wa ‘maanyi mangi nnyo.’ Ayitibwa “Katonda Omuyinza w’ebintu byonna”—ekigambo mu Lwebbulaniya ekiwa ekirowoozo eky’amaanyi ag’ensusso. (Isaaya 40:26; Olubereberye 17:1) Kyokka, Yakuwa akozesa amaanyi ge mu ngeri nnungi nnyo, kubanga engeri ye esingira ddala obukulu kwe kwagala.—1 Yokaana 4:16.
5. Lwaki si kizibu okugondera obuyinza bwa Yakuwa?
5 Newakubadde Yakuwa yalabula nti yali wa kubonereza aboonoonyi abatenenya, Musa okusingira ddala yali amumanyi nga “Katonda [ow’amazima], Katonda omwesigwa, akwata endagaano n’okusaasira eri abo abamwagala ne beekuuma ebiragiro bye.” (Ekyamateeka 7:9) Kiteeberezemu! Ow’Obuyinza Asingirayo Ddala mu butonde bwonna tatuwaliriza kumuweereza. Wabula, tusikirizibwa gy’ali olw’okwagala kw’alina. (Abaruumi 2:4; 5:8) Okugondera obuyinza bwa Yakuwa kiba na kya ssanyu, kuba amateeka ge bulijjo gatuviiramu miganyulo.—Zabbuli 19:7, 8.
6. Ensonga ekwata ku buyinza yabalukawo etya mu lusuku Adeni, era kiki ekyavaamu?
6 Bazadde baffe abaasooka baagaana obufuzi bwa Katonda. Baayagala beesalirengawo bokka ekirungi n’ekibi. (Olubereberye 3:4-6) Ekyavaamu, baagobebwa mu maka gaabwe ag’omu Lusuku lwa Katonda. Oluvannyuma lw’ekyo Yakuwa yaleka abantu okussaawo enteekateeka z’obuyinza ezandibasobozesezza okubeera awamu mu ngeri entegeke, wadde nga tetuukiridde. Ezimu ku nteekateeka zino ez’obuyinza ze ziruwa, era Katonda atusuubira kuzigondera kutuuka wa?
“AB’OBUYINZA ABAFUGA”
7. “Ab’obuyinza abafuga” be baluwa, era balina kifo ki bw’ogeraageranya n’obuyinza bwa Katonda?
7 Omutume Pawulo yawandiika: “Buli muntu agonderenga ab’obuyinza abafuga: kubanga tewali buyinza butava eri Katonda.” “Ab’obuyinza abafuga” be baani? Ebigambo bya Pawulo mu nnyiriri eziddako biraga nti ze zigavumenti ezifuga abantu. (Abaruumi 13:1-7, NW; Tito 3:1) Yakuwa si ye yateekawo zigavumenti ezifuga abantu, naye yazikkiriza okubeerawo. Pawulo kyeyava awandiika nti: “Ab’obuyinza abaliwo bali mu bifo byabwe eby’ekiseera ebyabalagirwa Katonda.” Kino kiraga ki ku bikwata ku buyinza obwo obw’oku nsi? Kiraga nti essa lyabwo lya wansi ku buyinza bwa Katonda. (Yokaana 19:10, 11) N’olwekyo, bwe wabaawo okukontana wakati w’amateeka g’abantu n’amateeka ga Katonda, Abakristaayo bateekwa okugoberera ekyo ekibagambibwa omuntu waabwe ow’omunda eyatendekebwa Baibuli. Bateekwa “okugondera Katonda ng’omufuzi okusinga abantu.”—Ebikolwa 5:29, NW.
8. Oganyulwa otya mu b’obuyinza abafuga, era oyinza otya okubalaga obuwulize?
8 Kyokka, ebiseera ebisinga obungi, ab’obuyinza abafuga bakola nga ‘omuweereza wa Katonda gye tuli ku lw’obulungi bwaffe.’ (Abaruumi 13:4) Mu ngeri ki? Lowooza ku mirimu enfaafa ab’obuyinza abafuga gye batukolera, gamba ng’okutambuza amabaluwa, obukuumi bwa poliisi n’okututaakiriza omuliro, eby’obuyonjo, n’eby’enjigiriza. “Era kyemuva muwa omusolo,” bw’atyo Pawulo bwe yawandiika, “kubanga be baweereza ba Katonda [“eri abantu,” NW ], nga banyiikirira mu mulimu guno.” (Abaruumi 13:6) Ku bikwata ku musolo oba ebitubanjibwa ebirala mu mateeka, tusaanidde ‘okulaga obwesigwa.’—Abaebbulaniya 13:18, NW.
9, 10. (a) Ab’obuyinza abafuga bagya batya mu nteekateeka ya Katonda? (b) Lwaki kyandibadde kikyamu okuwakanya ab’obuyinza abafuga?
9 Ebiseera ebimu, ab’obuyinza abafuga bakozesa bubi obuyinza bwabwe. Kino kituggyako obuvunaanyizibwa obw’okubagondera? Nedda, tekituggyako buvunaanyizibwa. Yakuwa alaba ebikolwa ebikyamu eby’ab’obuyinza bano. (Engero 15:3) Olw’okuba akyaleseewo obufuzi bw’omuntu tekitegeeza nti asemba ebikolwa byabwo ebibi; era tatusuubira kubisemba. Ddala ddala, mangu Katonda ajja ‘kumenyaamenya era azikirize obwakabaka obwo bwonna,’ era mu kifo kyabwo ateekewo obufuzi bwa gavumenti ye ey’obutuukirivu. (Danyeri 2:44) Naye okutuusa ng’ekyo kibaddewo, ab’obuyinza abafuga, bakola omulimu ogw’omugaso.
10 Pawulo yannyonnyola: “Awakanya ab’obuyinza aba awakanyizza enteekateeka ya Katonda.” (Abaruumi 13:2, NW ) Ab’obuyinza abafuga ‘nteekateeka’ ya Katonda kubanga bakuuma obutebenkevu, awatali ekyo nga wandibaddewo omuvuyo gwa maanyi nnyo. Okubawakanya kiba kikontana n’ebyawandiikibwa era si kya magezi. Okuwa ekyokulabirako: Ka tugambe nti ova kulongoosebwa era olina ewuuzi mu kiwundu. Wadde ng’ewuuzi ezo si kitundu kya mubiri gwo, ziba n’omulimu ogw’omugaso okumala ekiseera. Singa oziggyamu ng’ekiseera tekinnaba kiyinza okuba eky’akabi. Mu ngeri y’emu, gavumenti z’abantu tezaali mu kigendererwa kya Katonda eky’olubereberye. Kyokka, okutuusa ku kiseera ekyo Obwakabaka bwe we bunaafugira ensi yonna, gavumenti z’abantu zikyakumyekumye wamu abantu, nga zikola omulimu ogukwatagana ne Katonda ky’ayagala mu kiseera kino. Bwe kityo tusaanidde okugondera ab’obuyinza abafuga, nga tukulembeza amateeka ga Katonda n’obuyinza bwe.
OBUYINZA MU MAKA
11. Omusingi gw’obukulembeze oyinza kugunnyonnyola otya?
11 Amaka ye nteekateeka esookerwako ddala mu kibiina ky’abantu. Mu go, omwami n’omukyala basobola okuba n’omukwano ogw’omuwendo ennyo, era n’abaana basobola okukuumibwa n’okutendekebwa basobole okukula obulungi. (Engero 5:15-21; Abaefeso 6:1-4) Enteekateeka enkulu ng’eyo yeetaaga okuteekebwateekebwa mu ngeri eyinza okusobozesa abali mu maka ago okubeera awamu mu mirembe n’okutegeeragana. Kino Yakuwa akikola ng’ayitira mu musingi ogw’obukulembeze, oguwumbibwawumbibwa mu bigambo bino, ebiri mu 1 Abakkolinso 11:3: “Omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n’omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.”
12, 13. Ani mutwe gw’amaka, era kiki ekiyinza okuyigibwa okuva ku ngeri Yesu gy’akozesaamu obukulembeze?
12 Omwami gwe mutwe gw’amaka. Kyokka, naye alina omutwe—Yesu Kristo. Pawulo yawandiika: “Abasajja, mwagalenga bakazi bammwe, era nga Kristo bwe yayagala ekkanisa, ne yeewaayo ku lwayo.” (Aeaefeso 5:25) Omwami alaga nti awulira Kristo singa ayisa mukazi we mu ngeri Yesu gy’ayisamu ekibiina bulijjo. (1 Yokaana 2:6) Yesu aweereddwa obuyinza bungi nnyo, naye abukozesa n’eggonjebwa ery’ensusso, okwagala, era n’okutegeera. (Matayo 20:25-28) Ng’omuntu, Yesu teyakozesaako bubi buyinza bwe. Yali “muteefu era omuwombeefu mu mutima,” era abagoberezi be yabayitanga “ba mukwano” so si “baddu.” “Nnaabawummuza,” bw’atyo bwe yabasuubiza, era bw’atyo bwe yakola.—Matayo 11:28, 29; Yokaana 15:15.
13 Ekyokulabirako kya Yesu kiyigiriza abaami nti obukulembeze bw’Ekikristaayo si kifo kya ffugabbi. Wabula, kye kifo omulagirwa ekitiibwa n’okwagala okw’okwefiiriza. Ddala kino kiba tekimukkiriza kuyisa mukyala we bubi ng’amukuba oba ng’amuvuma. (Abeefeso 4:29, 31, 32; 5:28, 29; Abakkolosaayi 3:19) Singa omusajja Omukristaayo ayisa bubi bw’atyo mukazi we, ebikolwa bye ebirala ebirungi byandibadde tebikyagasa, era n’okusaba kwe kwandiziyiziddwa.—1 Abakkolinso 13:1-3; 1 Peetero 3:7.
14, 15. Okumanya Katonda kuyamba kutya omukazi okuba omuwulize eri bbaawe?
14 Omwami bw’akoppa ekyokulabirako kya Kristo, kiba kyangu mukazi we okugoberera ebigambo ebiri mu Abeefeso 5:22, 23: “Abakazi muwulirenga babbammwe, nga bwe muwulira Mukama waffe. Kubanga omusajja gwe mutwe gwa mukazi we, era nga Kristo bw’ali omutwe gw’ekkanisa.” Ng’omwami bw’alina okuwulira Kristo, n’omukyala ateekwa okuwulira omwami we. Era Baibuli ekiraga bulungi nti abakazi ab’obuvunaanyizibwa bagwana okuweebwa ekitiibwa n’okutenderezebwa olw’amagezi gaabwe ag’okutya Katonda n’obukozi bwabwe.—Engero 31:10-31.
15 Obuwulize bw’omukyala Omukristaayo eri omwami we buliko we bukoma. Kino kitegeeza nti Katonda y’ateekwa okugonderwa so si musajja bwe kiba nti obuwulize mu nsonga eba eriwo bunaavaamu okumenya etteeka lya Katonda. Wadde kiri kityo, omukyala yandiraze obunywevu bwe awamu ne ‘omwoyo omuwombeefu era omuteefu.’ Kyandibadde kyeyoleka lwatu nti okumanya Katonda kumufudde omukyala asingako obulungi. (1 Peetero 3:1-4) Era bwe kyandibadde eri omusajja Omukristaayo alina omukyala atali mukkiriza. Okugoberera emisingi gya Baibuli kwandimufudde omwami asingako obulungi.
16. Abaana bayinza batya okukoppa ekyokulabirako Yesu kye yassaawo bwe yali omuvubuka?
16 Abeefeso 6:1 luttottola obuvunaanyizibwa bw’abaana, nga lugamba: “Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi.” Abaana Abakristaayo bagoberera ekyokulabirako kya Yesu, eyasigala nga muwulize eri bazadde be nga bwe yeeyongera okukula. Ng’omulenzi omuwulize, “yeeyongera okukula mu magezi ne mu mubiri era n’okusiimibwa Katonda n’abantu.”—Lukka 2:51, 52, NW.
17. Engeri abazadde gye bakozesaamu obuyinza eyinza kukola ki ku baana baabwe?
17 Engeri abazadde gye bakwatamu obuvunaanyizibwa bwabwe eyinza okubaako ky’ekola ku baana baabwe obanga banassa ekitiibwa mu b’obuyinza oba banaabujeemera. (Engero 22:6) N’olwekyo abazadde basaanidde okwebuuza, ‘Obuyinza bwe nnina mbukozesa mu ngeri ya kwagala oba ya bukambwe? Nnekkiriranya?’ Omuzadde atya Katonda alina okuba omwagazi era omusaasizi, ate nga munywevu mu kukolera ku misingi gya Katonda. Nga kituukirawo bulungi, Pawulo yawandiika: “Bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe [obutereevu, ‘temubasosonkereza’]: naye mubalerenga mu kukangavvulanga kwa Mukama waffe [“Yakuwa,” NW ].”—Abeefeso 6:4; Abakkolosaayi 3:21.
18. Okukangavvula kw’ekizadde kwandiweereddwa kutya?
18 Abazadde basaanidde okwekenneenya enkola gye beeyambisa nga batendeka abaana, naddala bwe baba baagala abaana baabwe okuba abawulize babaleetere essanyu. (Engero 23:24, 25) Mu Baibuli, okukangavvula okusingira ddala eba ngeri ya kuyigiriza. (Engero 4:1; 8:33) Kukwataganyizibwa na kwagala n’obuteefu, so si busungu na bukambwe. N’olwekyo, abazadde Abakristaayo beetaaga okukozesa amagezi bafugenga obusungu bwabwe nga bakangavvula abaana baabwe.—Engero 1:7.
AB’OBUYINZA MU KIBIINA
19. Katonda ataddewo atya enteekateeka ennungi mu kibiina Ekikristaayo?
19 Okuva Yakuwa bw’ali Katonda ow’entegeka, twandisuubidde nti yanditeereddewo abantu be obukulembeze obutongole era obutegeke obulungi. Bw’atyo, alonze Yesu okuba Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo. (1 Abakkolinso 14:33, 40; Abeefeso 1:20-23) Wansi w’obukulembeze bwa Kristo obutalabika, Katonda ataddewo enteekateeka ey’okuba nti abakadde mu buli kibiina balunda ekisibo n’obujjumbize era n’okwagala. (1 Peetero 5:2, 3) Abaweereza babayambako mu ngeri ezitali zimu era bakola omulimu gwa mugaso nnyo mu kibiina.—Abafiripi 1:1.
20. Lwaki tusaanidde okugondera abakadde Abakristaayo, era lwaki kino kya mugaso?
20 Ku bikwata ku bakadde Abakristaayo, Pawulo yawandiika: “Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw’obulamu bwammwe, ng’abaliwoza bwe baakola balyoke bakolenga bwe batyo n’essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.” (Abaebbulaniya 13:17) Mu magezi ge, Katonda awadde abalabirizi Abakristaayo obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ebyetaago eby’eby’omwoyo eby’abo abali mu kibiina. Abakadde bano si kibinja ky’abakulu ba ddiini. Baweereza era baddu ba Katonda, abaweereza olw’ebyetaago bya basinza bannaabwe, nga Mukama waffe, Yesu Kristo, bwe yakola. (Yokaana 10:14, 15) Bwe tukimanya nti abasajja abalina ebisaanyizo eby’omu Byawandiikibwa bafaayo nnyo ku kukulaakulana kwaffe era n’okukula kwaffe mu by’omwoyo kituzzaamu amaanyi okukolaganira awamu nabo obulungi era n’okubagondera.—1 Abakkolinso 16:16.
21. Abakadde abaalondebwa bayamba batya Bakristaayo bannaabwe mu by’omwoyo?
21 Ebiseera ebimu, endiga ziyinza okuwaba oba okuba mu kabi eri eby’ensi. Wansi w’obukulembeze bw’Omusumba Omukulu, abakadde ng’abasumba abato banguwa okwetegereza n’okukola ku byetaago by’abo be balabirira era babafaako kinnoomu. (1 Peetero 5:4) Bakyalira ab’oluganda mu kibiina era babazzaamu amaanyi. Nga bakimanyi nti Omulyolyomi anoonya okutabangula emirembe gy’abantu ba Katonda, abakadde beeyambisa amagezi agava waggulu mu kukola ku bizibu byonna ebigwawo. (Yakobo 3:17, 18) Balafuubana okukuuma obumu bw’ekibiina n’obumu mu kukkiriza, ekintu Yesu kennyini kye yasaba.—Yokaana 17:20-22; 1 Abakkolinso 1:10.
22. Buyambi ki abakadde bwe bawa abo aboonoonye?
22 Kitya singa Omukristaayo agwa mu kibi oba aggwaamu amaanyi olw’okukola ekibi? Okubuulirira kwa Baibuli okuweweeza era n’okusaba kw’abakadde okuviira ddala mu mutima kuyinza okumuyamba okukomawo mu bulamu obulungi obw’eby’omwoyo. (Yakobo 5:13-15) Abasajja bano, abaalondebwa omwoyo omutukuvu, era baaweebwa obuyinza okukangavvula n’okunenya abo abagoberera ekkubo ery’obukozi bw’obubi oba abo abaleetawo akabi ku buyonjo bw’ekibiina mu by’omwoyo n’empisa. (Ebikolwa 20:28; Tito 1:9; 2:15) Okusobola okukuuma ekibiina nga kiyonjo, kiyinza okwetaagisa abakirimu okuloopa abo abakoze ebibi eby’amaanyi. (Eby’Abaleevi 5:1) Singa Omukristaayo akoze ekibi eky’amaanyi akkiriza okukangavvulwa n’okunenyezebwa okuva mu Byawandiikibwa era n’alaga okwenenya okw’amazima, ajja kuyambibwa. Kya lwatu, abo abamenya amateeka ga Katonda olutentezi era abatenenya bagobebwa.—1 Abakkolinso 5:9-13.
23. Abalabirizi Abakristaayo bakola ki ku lw’obulungi bw’ekibiina?
23 Baibuli yalagula nti wansi wa Yesu Kristo nga Kabaka, abasajja abakulu mu by’omwoyo baali ba kulondebwa basobole okubudaabuda, okuwa obukuumi, era n’okuzzaamu abantu ba Katonda amaanyi. (Isaaya 32:1, 2) Bandikulembedde ng’ababuulizi b’amawulire amalungi, abasumba, era abasomesa basobole okutumbula okukulaakulana mu by’omwoyo. (Abeefeso 4:11, 12, 16) Newakubadde abalabirizi Abakristaayo oluusi banenya, bakalaatira, era n’okubuulirira bakkiriza bannaabwe, okugoberera okuyigiriza kw’abakadde okw’obulamu okwesigamiziddwa ku Kigambo kya Katonda kuyamba okukuumira bonna mu kkubo erigenda mu bulamu.—Engero 3:11, 12; 6:23; Tito 2:1.
KKIRIZA ENGERI YAKUWA GY’ATUNUULIRAMU OBUYINZA
24. Nsonga ki gye tugezesebwako buli lunaku?
24 Omusajja n’omukazi ababereberye baagezesebwa ku nsonga y’obuwulize eri ab’obuyinza. Tekyewuunyisa n’akamu okuba nti buli lunaku twolekagana n’ekigezo bwe kityo. Setaani Omulyolyomi atumbudde omwoyo gw’obujeemu mu bantu. (Abeefeso 2:2) Ekkubo erya kyetwala lirabisibwa okuba nga lisikiriza nnyo okusinga ery’obuwulize.
25. Miganyulo ki egiri mu kwesamba omwoyo gw’ensi ogw’obujeemu n’okubeera abawulize eri obuyinza Katonda bw’ataddewo oba obwo bw’akyaleseewo?
25 Naye, tuteekwa okwesamba omwoyo gw’ensi ogw’obujeemu. Bwe tukola ekyo, tujja kukizuula nti obuwulize obw’okutya Katonda buleeta emiganyulo mingi. Ng’ekyokulabirako, tujja kwewala obweraliikirivu n’emitawaana egitera okujjira abo abasosonkereza ab’obuyinza abafuga. Tujja kukendeeza ku bukuubagano obusangibwa mu maka mangi. Era tujja kufuna emiganyulo egy’okubeera n’enkolagana ennungi, ey’okwagalana ne bakkiriza bannaffe Abakristaayo. N’ekisinga byonna, obuwulize bwaffe obw’okutya Katonda bujja kutuviiramu enkolagana ennungi ne Yakuwa, ow’Obuyinza Asingirayo Ddala.
GEZESA OKUMANYA KWO
Yakuwa akozesa atya obuyinza bwe?
“Ab’obuyinza abafuga,” be baluwa, era tubagondera tutya?
Omusingi gw’obukulembeze guteeka buvunaanyizibwa ki ku buli omu mu maka?
Tuyinza tutya okulaga obuwulize mu kibiina Ekikristaayo?
[Akasanduuko akali ku lupapula 134]
BAWULIZE, SI BASEKEETEREZI
Okuyitira mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira abantu bonna, Abajulirwa ba Yakuwa basonga ku Bwakabaka bwa Katonda ng’essuubi ly’abantu lyokka ery’okufuna emirembe n’obutebenkevu eby’amazima. Naye abalangirizi bano abanyiikivu ab’Obwakabaka bwa Katonda tebabangako basekeeterezi ba gavumenti ezibafuga. Wabula, abajulirwa be bamu ku batuuze abasingayo okuba abawulize n’okukuuma amateeka. “Singa ebibiina by’eddiini byonna byalinga eky’abajulirwa ba Yakuwa,” omukungu ow’omu nsi emu ey’omu Afirika bw’atyo bwe yayogera, “tetwandibadde na butemu, bunyazi, bujeemu, basibe na zibbomu ez’amaanyi ga atomu. Enzigi tezandisibiddwanga.”
Olw’okutegeera kino, abakungu mu nsi nnyingi bakkirizza omulimu gw’Abajulirwa ogw’okubuulira okweyongera mu maaso awatali kuziyizibwa kwonna. Mu nsi endala, okuwerebwa oba okuziyizibwa kuggiddwawo ab’obuyinza bwe bakitegedde nti Abajulirwa ba Yakuwa bakola omulimu ogw’omuganyulo. Kiri ng’omutume Pawulo bwe yawandiika ng’ayogera ku kugondera ab’obuyinza abafuga: “Kola bulungi, alikusiima.”—Abaruumi 13:1, 3.