Abakuumi ba Empula Baaweebwa Obujulirwa
Mu mwaka gwa 59 E.E., omudduumizi w’ekibinja ky’abakuumi ba empula ayitibwa Julius awamu n’abasirikale be abaali bakooye ennyo baatuusa abasibe e Rooma. Baayingira Rooma nga bayitira mu mulyango oguyitibwa Porta Capena. Bwe baali bayingira, bateekwa okuba nga baalengera olubiri lwa Empula Nero olwali ku Lusozi Palatine.a Omukulu w’ekibinja ky’abasirikale yayisa abasibe ku katale n’abatwala ku Lusozi Viminal. Baayita ku kibangirizi omwali ebyoto bya bakatonda b’Abaruumi era ne bayita ne ku kibangirizi abasirikale we baatendekerwanga.
Omutume Pawulo yali omu ku basibe abo. Emabegako Pawulo bwe yali ku lyato eryali lisuukundibwa ennyo omuyaga, malayika wa Katonda yamugamba nti: “Oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaali.” (Bik. 27:24) Kyandiba nti Pawulo yali anaatera okulaba ebigambo ebyo nga bituukirira? Pawulo bwe yalaba ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwa Rooma, ayinza okuba nga yajjukira ebigambo Yesu bye yamugamba ng’ali mu nkambi y’abasirikale ey’omu Yerusaalemi eyitibwa Antonia. Yamugamba nti: “Beera mugumu! Nga bw’obadde ompaako obujulirwa mu Yerusaalemi, era bw’otyo bw’oteekwa okumpaako obujulirwa mu Rooma.”—Bik. 23:10, 11.
Bwe baali batambula, Pawulo ayinza okuba nga yeetegereza enkambi y’abakuumi ba empula eyitibwa Castra Praetoria, eyali yeetooloddwa ekisenge ekigulumivu ekyaliko eminaala. Enkambi eyo yali esuza ebibinjab by’abakuumi ba empula 12 n’ebibinja by’abapoliisi ebiwerako awamu n’ebibinja by’abasirikale abaalwaniranga ku mbalaasi. Abantu abaalabanga ku nkambi eyo, bateekwa okuba nga baategeeranga ensonga lwaki obwakabaka bwa Rooma bwali bwa maanyi nnyo. Okuva bwe kiri nti abakuumi ba empula era be baavunaanyizibwanga ku basibe mu matwale ga Rooma gonna, abasibe Julius be yali nabo yabatwala Rooma. Oluvannyuma lw’okumala emyezi egiwerako nga batambula, kya ddaaki Julius yatuusa abasibe abo e Rooma.—Bik. 27:1-3, 43, 44.
PAWULO YABUULIRA “AWATALI KUZIYIZIBWA”
Waliwo ebintu ebyewuunyisa ebyaliwo ng’abasibe abo batwalibwa e Rooma. Omuyaga bwe gwali gusuukunda eryato mwe baali, Pawulo yafuna okwolesebwa n’akitegeera nti abantu bonna abaali mu lyato baali ba kutuuka mirembe. Omusota ogw’obusagwa gwaluma Pawulo naye n’atatuukibwako kabi konna. Pawulo aliko abantu abalwadde be yawonya ku kizinga Merita, era abantu baayo ne batandika okugamba nti yali katonda. Ebintu ebyo abakuumi ba empula abalala bayinza okuba nga baabitegeerako era nga baabyogerangako.
Waliwo ab’oluganda ab’omu Rooma ‘abaasisinkana Pawulo mu Katale ka Apiyo ne mu kifo ekiyitibwa Ebisulo Ebisatu.’ (Bik. 28:15) Pawulo yali ayagala okubuulira amawulire amalungi mu Rooma. Naye ekyo yandisobodde atya okukikola ng’ate musibe? (Bar. 1:14, 15) Abamu bagamba nti abasibe bwe baatwalibwanga e Rooma, baasookanga kutwalibwa eri omukulu w’abakuumi. Bwe kiba bwe kityo, Pawulo yasooka kutwalibwa eri Afranius Burrus, eyali omukulu w’abakuumi ba empula, oboolyawo nga ye yali addirira empula obukulu.c Ka kibe kityo oba nedda, kati Pawulo yali akuumibwa mukuumi wa empula omu owa bulijjo mu kifo ky’okukuumibwa abaduumizi b’ebibinja. Pawulo yali akkirizibwa okwefunira aw’okusula, okukyaza abagenyi, n’okubabuulira amawulire amalungi “awatali kuziyizibwa.”—Bik. 28:16, 30, 31.
PAWULO YAWA ABANTU ABA WANSI N’ABA WAGGULU OBUJULIRWA
Bwe yali tannatwala Pawulo eri Nero, Burrus ayinza okuba nga yasooka kumuwozesa ng’ali mu nkambi y’abakuumi ba empula oba ng’ali mu lubiri lwa empula. Pawulo yakozesa akakisa ako okuwa “abantu aba wansi n’aba waggulu obujulirwa.” (Bik. 26:19-23) Ka kibe ki Burrus kye yawunzika nakyo, Pawulo teyasibibwa mu kkomera eryali mu nkambi y’abakuumi ba empula.d
Ennyumba Pawulo gye yali apangisa yali nnene ekimala ne kiba nti yasobolanga okukyaza “abakulu b’Abayudaaya” awamu n’abantu abalala ‘abajjanga mu bungi mu kifo we yali asula’ n’abawa obujulirwa. Ate era n’abakuumi ba empula baamuwuliranga ‘ng’awa Abayudaaya obujulirwa’ obukwata ku Bwakabaka ne ku Yesu, “okuva ku makya okutuukira ddala akawungeezi.”—Bik. 28:17, 23.
Buli lunaku, ku ssaawa ey’omunaana, ekibinja ky’abakuumi ba empula kyakyusibwanga. N’omusirikale eyabanga akuuma Pawulo ayinza okuba nga naye yakyusibwanga buli lunaku. Emyaka ebiri Pawulo gye yamala ng’asibiddwa, abasirikale bangi baamuwuliranga ng’aliko baabuulira ebigambo eby’okuwandiikira Abeefeso, Abafiripi, Abakkolosaayi, n’Abebbulaniya, era baamulaba ng’awandiikira Firemooni ebbaluwa. Bwe yali mu kkomera, Pawulo yayamba, Onesimo, omuddu eyadduka ku mukama we. Pawulo yali atwala Onesimo ng’omwana ‘gwe yazaalira mu busibe’ era yamugamba okuddayo eri mukama we. (Fir. 10) Pawulo ateekwa okuba nga yanyumyangako n’abasirikale abaali bamukuuma. (1 Kol. 9:22) Ng’ekyokulabirako, Pawulo ayinza okuba ng’aliko omusirikale gwe yabuuza ebikwata ku by’okulwanyisa ebitali bimu Abaruumi bye baakozesanga era oluvannyuma n’akozesa ebyo omusirikale oyo bye yamugamba ng’awandiikira Abeefeso ebbaluwa.—Bef. 6:13-17.
‘BUULIRA EKIGAMBO KYA KATONDA AWATALI KUTYA’
Abakuumi ba empula baakolagananga n’abantu bangi mu bitundu ebitali bimu eby’obwakabaka bwa Rooma, nga mw’otwalidde empula, ab’omu maka ge, abaweereza be, n’abaddu be. N’olwekyo, okusibibwa kwa Pawulo kwaviirako “amawulire amalungi okubunyisibwa” mu bakuumi ba empula ne mu bantu abalala bangi, era abamu ku bo baafuuka Abakristaayo. (Baf. 1:12, 13; 4:22) Obuvumu Pawulo bwe yayoleka bwaleetera ab’oluganda mu Rooma okubuulira “ekigambo kya Katonda awatali kutya.”—Baf. 1:14.
Ebyo bye tusoma ku ngeri Pawulo gye yawaamu obujulirwa mu Rooma bituzzaamu nnyo amaanyi ne tusobola ‘okubuulira ekigambo mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu.’ (2 Tim. 4:2) Ng’ekyokulabirako, abamu ku ffe tuyinza okuba nga tetukyasobola kuva waka, nga tuli mu ddwaliro, oba nga tusibiddwa mu makomera olw’okukkiriza kwaffe. Ka tube mu mbeera ki, tusobola okuwa obujulirwa abo ababa bazze okutulabako oba abo abatukolera emirimu egitali gimu. Bwe tufuba okukozesa buli kakisa ke tufuna okuwa obujulirwa, naffe tujja kukiraba nti “ekigambo kya Katonda tekisibiddwa.”—2 Tim. 2:8, 9.
a Laba akasanduuko “Abakuumi ba Empula mu Kiseera kya Nero.”
b Buli kibinja ky’abasirikale ba Rooma kyabangamu abasirikale abatasukka 1,000.
c Laba akasanduuko “Sextus Afranius Burrus.”