“Mwambalenga eby’Okulwanyisa Byonna Ebya Katonda”
“Mwambalenga eby’okulwanyisa byonna ebya Katonda, mulyoke muyinzenga okuyimirira eri enkwe za Setaani.”—ABAEFESO 6:11.
1, 2. Mu bigambo byo, nnyonnyola eby’okulwanyisa Abakristaayo bye beetaaga okwambala.
MU KYASA ekyasooka C.E., Rooma yali ku ntikko yaayo ey’obufuzi. Olw’okuba eggye lya Rooma lyali lya maanyi, lyagisobozesa okufuga ekitundu ekisinga obunene eky’ensi eyali emanyiddwa mu kiseera ekyo. Munnabyafaayo omu yalyogerako ng’agamba nti lye lyali “eggye eryasingayo okutuuka ku buwanguzi mu byafaayo.” Wadde ng’eggye lya Rooma lyalimu abaserikale abeeyisa obulungi era nga batendekeddwa bulungi, obuwanguzi bwe baatuukako bwesigama ne ku by’okulwanyisa byabwe. Omutume Pawulo yakozesa ekyokulabirako ky’eby’okulwanyisa by’omuserikale wa Rooma okunnyonnyola eby’okulwanyisa eby’omwoyo Abakristaayo bye beetaaga okusobola okuwangula Omulyolyomi.
2 Eby’okulwanyisa ebyo eby’omwoyo byogerwako mu Abaefeso 6:14-17. Pawulo yawandiika: “Muyimirirenga nga mwesibye, mu kiwato kyammwe amazima, era nga mwambadde eky’omu kifuba obutuukirivu, era nga munaanise mu bigere okweteekateeka okw’enjiri ey’emirembe; era ku ebyo byonna nga mukwatiddeko engabo ey’okukkiriza, eneebayinzisanga okuzikiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi. Muweebwe ne sseppewo ey’obuloko[zi], n’ekitala eky’[o]mwoyo kye kigambo kya Katonda.” Bw’obirowoozaako, eby’okulwanyisa ebyo Pawulo bye yayogerako byawanga omuserikale wa Rooma obukuumi obw’amaanyi. Omuserikale yakozesanga ekitala ng’eky’okulwanyisa kye ekikulu.
3. Lwaki tusaanidde okugondera obulagirizi bwa Yesu Kristo era n’okugoberera ekyokulabirako kye?
3 Ng’oggyeko eby’okulwanyisa n’okutendekebwa, obuwanguzi bw’amagye ga Rooma bwesigama nnyo ku baserikale okugondera omudduumizi waabwe. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo bateekwa okugondera Yesu Kristo, Baibuli gw’eyogerako ‘ng’omugabe eri amawanga.’ (Isaaya 55:4) Ate era ‘gwe mutwe gw’ekibiina.’ (Abaefeso 5:23) Yesu atuwa obulagirizi obukwata ku lutalo lwaffe era n’atuteerawo ekyokulabirako ekirungi ku ngeri y’okukozesaamu eby’okulwanyisa eby’omwoyo. (1 Peetero 2:21) Okuva engeri za Kristo bwe zeefaanaanyirizaako n’eby’okulwanyisa eby’omwoyo, Ebyawandiikibwa bitukubiriza okubeera n’endowooza ya Kristo. (1 Peetero 4:1) Nga twekenneenya buli kimu ku by’okulwanyisa byaffe eby’omwoyo, tugenda kukozesa ekyokulabirako kya Yesu okulaga obukulu bw’eky’okulwanyisa ekyo n’omugaso gwe kirina.
Okukuuma Ekiwato, Ekifuba n’Ebigere
4. Mu ngeri ki omusipi gye gwali ogw’omugaso mu byambalo by’omuserikale, era tuguyigirako ki?
4 Ng’ekiwato kyammwe kikuumibwa amazima. Mu biseera Baibuli we yawandiikirwa, abaserikale beesibanga omusipi omunene ogw’eddiba nga gulina obugazi obuli wakati wa inci bbiri n’omukaaga. Abavvuunuzi abamu bagamba nti olunyiriri olwo lusaanidde kusoma bwe luti: “Nga mwesibye amazima ng’omusipi ogunywezezza ekiwato.” Omusipi gw’omuserikale gwakuumanga ekiwato kye era ne guwanirira ekitala kye. Omuserikale bwe yeesibanga ekiwato, yalinga yeeteekerateekera kugenda mu lutalo. Pawulo yakozesa ekyokulabirako ky’omusipi gw’omuserikale okulaga engeri amazima g’omu Byawandiikibwa gye gasaanidde okukwata ku bulamu bwaffe. Tusaanidde okugeesibira ddala mu kiwato, kwe kugamba, nga tutuukanya obulamu bwaffe n’amazima era nga tugalwanirira mu buli mbeera. (Zabbuli 43:3; 1 Peetero 3:15) Okusobola okukola ekyo, twetaaga okunyiikira okusoma Baibuli n’okufumiitiriza ku bye tusoma. Yesu yalina amateeka ga Katonda ‘munda mu mutima gwe.’ (Zabbuli 40:8) Abaamuwakanya bwe baamubuuzanga ebibuuzo, yalinga asobola okubaddamu ng’ajuliza Ebyawandiikibwa.—Matayo 19:3-6; 22:23-32.
5. Nnyonnyola engeri okubuulirira kw’omu Byawandiikibwa gye kuyinza okutuyamba mu biseera eby’okugezesebwa.
5 Bwe tuleka amazima g’omu Baibuli okutuwa obulagirizi, gasobola okutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Bwe tukemebwa oba bwe tugezesebwa, obulagirizi bwa Baibuli bujja kutuyamba okunywerera ku kukola ekituufu. Tujja kuba ng’abalaba Yakuwa Omuyigiriza waffe omukulu, era tujja kuwulira ekigambo ekiva ennyuma waffe nga kyogera nti: “Lino lye kkubo, mulitambuliremu.”—Isaaya 30:20, 21.
6. Lwaki omutima gwaffe ogw’akabonero gwetaaga okukuumibwa, era obutuukirivu busobola butya okugukuuma obulungi?
6 Eky’omu kifuba eky’obutuukirivu. Ekyambalo ky’omuserikale eky’omu kifuba kyakuumanga mutima, ekitundu ky’omubiri ekikulu ennyo. Omutima gwaffe ogw’akabonero, kwe kugamba, ekyo kye tuli munda, gwetaaga okukuumibwa mu ngeri ey’enjawulo kubanga gwekubiira ku kukola kibi. (Olubereberye 8:21) N’olwekyo, tuteekwa okumanya era n’okwagala emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu. (Zabbuli 119:97, 105) Okwagala obutuukirivu kutuyamba okwewala endowooza y’ensi esuula omuguluka obulagirizi bwa Yakuwa. Ate era, bwe twagala ekirungi ne tukyawa ekibi, twewala okweyisa mu ngeri eyinza okwonoona obulamu bwaffe. (Zabbuli 119:99-101; Amosi 5:15) Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ku bikwata ku nsonga eno, kubanga Ebyawandiikibwa bimwogerako bwe biti: “Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu.”—Abaebbulaniya 1:9.a
7. Lwaki omuserikale wa Rooma yali yeetaaga okwambala engatto engumu, era ekyo kituyigiriza ki?
7 Ebigere nga binaanikiddwa enjiri ey’emirembe. Abaserikale ba Rooma baali beetaaga engatto oba lugabire engumu, okuva bwe baatambulanga mayilo 20 buli lunaku nga bali ku lutabaalo ng’ate eno basitudde eby’okulwanyisa ebiweza kilo 27. Nga kituukirawo, Pawulo yakozesa engatto okulaga engeri gye tusaanidde okubeera abeetegefu okubuulira amawulire g’Obwakabaka eri buli muntu ayagala okuwuliriza. Kino kikulu nnyo kubanga abantu tebasobola kumanya Yakuwa okuggyako nga tubabuulidde ebimukwatako.—Abaruumi 10:13-15.
8. Tusobola tutya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu eky’okubuulira amawulire amalungi?
8 Mulimu ki ogwali gusinga obukulu mu bulamu bwa Yesu? Bw’ati bwe yagamba Pontiyo Piraato, Gavana Omuruumi: ‘Nnajja mu nsi ntegeeze amazima.’ Yesu yabuuliranga abo bonna abaalinga baagala okuwuliriza era yayagala nnyo obuweereza bwe ne kiba nti bwe yakulembezanga mu kifo ky’ebyetaago bye eby’omubiri. (Yokaana 4:5-34; 18:37) Okufaananako Yesu, naffe bwe tunaafuba okulangirira amawulire amalungi, tujja kutuuka ku bantu bangi. Ate era, bwe tunyiikirira obuweereza bwaffe, kijja kutuyamba okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo.—Ebikolwa 18:5.
Engabo, Sseppewo, n’Ekitala
9. Bukuumi ki engabo ennene bwe yawanga omuserikale wa Rooma?
9 Engabo ennene ey’okukkiriza. Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunuddwa “engabo” kitegeeza engabo eyalinga ennene obulungi nga kyenkana esobola okubikka omuntu yenna. Yalinga esobola okukuuma omuntu n’atafumitibwa ‘busaale obw’omuliro’ obwogerwako mu Abaefeso 6:16. Mu biseera Baibuli we yawandiikirwa, abaserikale baakozesanga obusaale obwakolebwanga mu mmuli ez’emiwulenge nga ziteekeddwamu akasanduuko akaabeerangamu amafuta agaaka. Omwekenneenya omu ayogera ku busaale buno nga “ekimu ku by’okulwanyisa ebyasingayo okuba eby’akabi mu ntalo ez’edda.” Omuserikale bw’ataabanga na ngabo nnene okwekuuma eri obusaale ng’obwo, yalinga asobola okutuusibwako ebisago eby’amaanyi oba okuttibwa.
10, 11. (a) ‘Busaale ki obw’omuliro’ Setaani bw’akozesa obuyinza okunafuya okukkiriza kwaffe? (b) Ekyokulabirako kya Yesu kiraga kitya obukulu bw’okuba n’okukkiriza mu biseera eby’okugezesebwa?
10 ‘Busaale ki obw’omuliro’ Setaani bw’akozesa okunafuya okukkiriza kwaffe? Ayinza okukozesa okuyigganyizibwa oba okuziyizibwa okuva mu b’omu maka, ku mulimu, oba ku ssomero. Okuluubirira okufuna ebintu ebingi n’okusikirizibwa okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu nabyo biviiriddeko Abakristaayo abamu okuddirira mu by’omwoyo. Okusobola okwekuuma, ‘tuteekwa okukwata engabo ey’okukkiriza.’ Tufuna okukkiriza bwe tuyiga ebikwata ku Yakuwa, bwe twogera naye obutayosa nga tuyitira mu kusaba, era bwe tutegeera engeri gy’atukuumamu ne gy’atuwamu emikisa gye.—Yoswa 23:14; Lukka 17:5; Abaruumi 10:17.
11 Yesu bwe yali ku nsi, yalaga obukulu bw’okubeera n’okukkiriza okw’amaanyi mu biseera ebizibu. Yassa obwesige mu kusalawo kwa Kitaawe era yayagala nnyo okukola Katonda by’ayagala. (Matayo 26:42, 53, 54; Yokaana 6:38) Ne bwe yali mu kunyolwa okw’amaanyi ng’ali mu nnimiro y’e Gesusemane, yagamba Kitaawe: “Si nga nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.” (Matayo 26:39) Yesu teyeerabira bukulu bwa kusigala mu kkubo eggolokofu era n’okusanyusa Kitaawe. (Engero 27:11) Naffe bwe twesiga Yakuwa, okukkiriza kwaffe tekujja kunafuwa wadde nga tuvumirirwa oba tuyigganyizibwa. Mu kifo ky’ekyo, okukkiriza kwaffe kujja kunywera bwe tuneesiga Yakuwa, ne tulaga nti tumwagala, era ne tukwata ebiragiro bye. (Zabbuli 19:7-11; 1 Yokaana 5:3) Tewaliiwo bya bugagga oba essanyu ery’akaseera obuseera ebiyinza okugeraageranyizibwa ku mikisa Yakuwa gy’ajja okuwa abo abamwagala.—Engero 10:22.
12. Kintu ki ekikulu ekikuumibwa sseppewo yaffe ey’akabonero, era lwaki obukuumi obwo bwetaagisa?
12 Sseppewo ey’obulokozi. Sseppewo yakuumanga omutwe gw’omuserikale n’obwongo—era ng’ebitundu bino ye nsibuko y’okutegeera. Essuubi lyaffe ery’Ekikristaayo ligeraageranyizibwa ku sseppewo kubanga likuuma endowooza yaffe. (1 Abasessaloniika 5:8) Wadde ng’endowooza yaffe yakyuka oluvannyuma lw’okufuna okumanya okutuufu okw’Ekigambo kya Katonda, tukyali bantu abatatuukiridde. Kyangu nnyo endowooza yaffe okwonooneka. Tusobola okuwugulibwa endowooza y’ensi oba okugikulembeza mu kifo ky’essuubi Katonda ly’atuwa. (Abaruumi 7:18; 12:2) Omulyolyomi yagezaako okuwugula Yesu ng’amuwa “ensi za bakabaka bonna abali mu nsi n’ekitiibwa kyazo.” (Matayo 4:8) Yesu yagaanira ddala ekyo Setaani kye yali amuwa, era Pawulo yamwogerako bw’ati: “Olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge, Yesu yagumiikiriza [omuti] ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda.”—Abaebbulaniya 12:2.
13. Tusobola tutya okusigala nga tulina essuubi ekkakafu ery’ebiseera eby’omu maaso?
13 Obwesige Yesu bwe yalina tebwajjawo bwokka. Singa ebirowoozo byaffe tubimalira ku biruubirirwa by’ensi mu kifo ky’okubikuumira ku ssuubi ery’omu maaso, obwesige bwe tulina mu bisuubizo bya Katonda bujja kuddirira. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, tuyinza okuggweeramu ddala essuubi. Ku luuyi olulala, bwe tutayosa kufumiitiriza ku bisuubizo bya Katonda, tujja kweyongera okusanyukira mu ssuubi lye tulina.—Abaruumi 12:12.
14, 15. (a) Ekitala kyaffe eky’akabonero kye kiki, era tuyinza tutya okukikozesa? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri ekitala eky’omwoyo gye kiyinza okutuyamba okuziyiza ebikemo.
14 Ekitala eky’omwoyo. Ekigambo kya Katonda oba obubaka bwe obuli mu Baibuli bwa maanyi nnyo ng’ekitala ekisobola okusalaasala obulimba bw’amadiini ne kiyamba abantu ab’emitima emirungi okufuna eddembe ery’eby’omwoyo. (Yokaana 8:32; Abaebbulaniya 4:12) Ate era ekitala kino eky’omwoyo kisobola okutukuuma nga twolekaganye n’ebikemo, oba singa bakyewaggula bagezaako okusaanyaawo okukkiriza kwaffe. (2 Abakkolinso 10:4, 5) Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti ‘Ebyawandiikibwa byonna byaluŋŋamizibwa Katonda era bituwa byonna bye twetaaga olwa buli mulimu omulungi’!—2 Timoseewo 3:16, 17.
15 Bwe yakemebwa Setaani mu ddungu, Yesu yakozesa bulungi ekitala eky’omwoyo okusobola okuziyiza obulimba bwa Setaani. Mu buli kikemo, Yesu yaddamu Setaani nti: “Kyawandiikibwa.” (Matayo 4:1-11) David, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa abeera mu Spain naye yakisanga nti Ebyawandiikibwa byamuyamba okuvvuunuka ebikemo. Bwe yali ng’aweza emyaka 19, omuwala alabika obulungi gwe yali akola naye mu kitongole ekikola ku by’okuyonja yaleeta ekirowoozo nti bagende ‘bakyakalireko wamu.’ David yagaana ekirowoozo ekyo era n’asaba mukama we amukyuse amusse mu kifo ekirala obuzibu obwo buleme kuddamu kubaawo. Agamba: “Nnajjukira ekyokulabirako kya Yusufu. Yagaana okwenyigira mu by’obugwenyufu, era n’ava mu kifo ekyo bunnambiro. Nnakola ekintu kye kimu.”—Olubereberye 39:10-12.
16. Nnyonnyola ensonga lwaki twetaaga okutendekebwa okusobola ‘okukozesa obulungi ekigambo eky’amazima.’
16 Ate era Yesu yakozesa ekitala eky’omwoyo okusobola okuyamba abalala okuva wansi w’obuyinza bwa Setaani. Yagamba: “Okuyigiriza kwange si kwange, naye kw’oli eyantuma.” (Yokaana 7:16) Okusobola okukoppa engeri ey’obukugu Yesu gye yayigirizaamu, twetaaga okutendekebwa. Josephus munnabyafaayo Omuyudaaya yayogera bw’ati ku baserikale ba Rooma: “Buli lunaku omuserikale atendekebwa n’obunyiikivu ng’alinga ali mu lutalo, era eno y’ensonga lwaki balwawo okukoowa nga bali mu lutalo.” Mu lutalo lwaffe olw’eby’omwoyo, twetaaga okukozesa Baibuli. Ate era, tulina ‘okufuba okulaba nti tusiimibwa Katonda, nga tuli abakozi abatakwatibwa nsonyi, abakozesa obulungi ekigambo eky’amazima.’ (2 Timoseewo 2:15) Nga kitusanyusa nnyo bwe tukozesa Ebyawandiikibwa okuddamu ekibuuzo ky’omuntu abuuzizza mu bwesimbu!
Musabenga Buli Kiseera
17, 18. (a) Okusaba kuyamba kutya mu kuziyiza Setaani? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga obukulu bw’okusaba.
17 Oluvannyuma lw’okwogera ku by’okulwanyisa byonna eby’omwoyo, Pawulo agattako okubuulirira okulala okukulu. Okusobola okuziyiza Setaani, Abakristaayo basaanidde okunyiikirira ‘okusaba n’okwegayirira.’ Basaanidde kusaba emirundi emeka? Pawulo yawandiika: “Nga musabanga buli kiseera mu [m]woyo.” (Abaefeso 6:18) Bwe twolekagana n’ebikemo, ebigezo, oba bwe tuggwaamu amaanyi, okusaba kusobola okutunyweza. (Matayo 26:41) Yesu “yawaayo okwegayirira n’okusaba eri oyo eyayinza okumulokola mu kufa n’okukaaba ennyo n’amaziga, era [n’awulirwa] Katonda.”—Abaebbulaniya 5:7.
18 Milagros amaze emyaka 15 ng’alabirira bbaawe eyalwala obulwadde obw’olukonvuba, agamba: “Bwe mpulira nga mpeddemu amaanyi, ntuukirira Yakuwa mu kusaba. Tewali asobola kunnyamba okusinga Yakuwa. Kyo kituufu nti waliwo ebiseera lwe mpulira nga sikyasobola kugumiikiriza. Naye enfunda n’enfunda, buli lwe mmala okusaba Yakuwa, nziramu amaanyi era mpulira bulungi nnyo.”
19, 20. Kiki kye twetaaga okusobola okuwangula olutalo lwe tulwana ne Setaani?
19 Omulyolyomi akimanyi nti ekiseera kye kiyimpawadde, era afuba nnyo okulaba nti atuwangula. (Okubikkulirwa 12:12, 17) Tulina okuziyiza omulabe ono ow’amaanyi era ‘n’okulwana okulwana okulungi.’ (1 Timoseewo 6:12) Kino kitwetaagisa okuba n’amaanyi agatali ga bulijjo. (2 Abakkolinso 4:7) Ate era twetaaga obuyambi bw’omwoyo gwa Katonda era tusaanidde okugumusaba. Yesu yagamba: “Oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa [o]mwoyo omutukuvu abamusaba.”—Lukka 11:13.
20 Mazima ddala, kikulu nnyo okwambala eby’okulwanyisa byonna Yakuwa bw’atuwa. Okwambala eby’okulwanyisa bino kitwetaagisa okukulaakulanya engeri ezisanyusa Katonda, gamba ng’okukkiriza n’obutuukirivu. Kitwetaagisa okwagala amazima nga tulinga abageesibye, okubeeranga abeetegefu okubuulira amawulire amalungi, era n’okukuumira ebirowoozo byaffe ku ssuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. Tuteekwa okuyiga okukozesa ekitala eky’omwoyo mu ngeri ey’obukugu. Singa twambala eby’okulwanyisa byonna Katonda by’atuwa, tusobola okuwangula olutalo lwe tulwana n’emyoyo emibi, era kino kisobola okuleetera erinnya lya Yakuwa ettendo.—Abaruumi 8:37-39.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu bunnabbi bwa Isaaya, Yakuwa ayogerwako ‘ng’ayambadde obutuukirivu ng’eky’omu kifuba.’ N’olwekyo, yeetaagisa abalabirizi b’ekibiina okwoleka obwenkanya n’obutuukirivu.—Isaaya 59:14, 15, 17.
Wandizzeemu Otya?
• Ani atuteereddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi eky’okukozesa eby’okulwanyisa eby’omwoyo, era lwaki tusaanidde okukirowoozaako?
• Tusobola tutya okukuuma endowooza yaffe n’omutima gwaffe ogw’akabonero?
• Tusobola tutya okukuguka mu kukozesa ekitala eky’omwoyo?
• Lwaki tusaanidde okusaba buli kiseera?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 19]
Okunyiikirira okusoma Baibuli kisobola okutukubiriza okubuulira amawulire amalungi buli kiseera
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]
Essuubi lyaffe ekkakafu lituyamba okwaŋŋanga ebigezo
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]
Okozesa “ekitala eky’omwoyo” mu buweereza?