Essuula ey’Ekkumi
Ebitonde eby’Omwoyo—Engeri Gye Bitukwatako
Bamalayika bayamba abantu?
Emyoyo emibi gikoze ki ku bantu?
Twanditidde emyoyo emibi?
1. Lwaki twandyagadde okumanya ebikwata ku bamalayika?
OKUSOBOLA okumanya omuntu obulungi, kiba kikwetaagisa okumanya ebikwata ku b’omu maka ge. Mu ngeri y’emu, okusobola okumanya Yakuwa Katonda obulungi, kikwetaagisa okumanya ebikwata ku bamalayika b’abeera nabo mu ggulu. Bamalayika Baibuli ebayita “abaana ba Katonda.” (Yobu 38:7) Kati olwo, balina kifo ki mu nteekateeka ya Katonda? Balina bye bakoze mu byafaayo by’omuntu? Bamalayika balinawo engeri yonna gye bakwata ku bulamu bwo? Bwe kiba bwe kityo, batya?
2. Bamalayika baava wa, era bali bameka?
2 Bamalayika Baibuli eboogerako emirundi mingi. Ka twekenneenye ebimu ku byawandiikibwa ebiboogerako tusobole okumanya ebibakwatako. Bamalayika baava wa? Abakkolosaayi 1:16 wagamba: “Mu oyo [Yesu Kristo] ebintu byonna mwe byatonderwa, mu ggulu ne ku nsi.” N’olwekyo, bamalayika bonna Yakuwa Katonda ye yabatonda ng’ayitira mu Mwana we omubereberye. Bamalayika bali bameka? Baibuli eraga nti Katonda yatonda bamalayika bukadde na bukadde era nga bonna ba maanyi.—Zabbuli 103:20.a
3. Yobu 38:4-7 watutegeeza ki ku bamalayika?
3 Ekigambo kya Katonda, Baibuli, kitutegeeza nti ensi bwe yatondebwa, ‘abaana ba Katonda bonna baayogerera waggulu olw’essanyu.’ (Yobu 38:4-7) N’olwekyo, bamalayika baaliwo dda ng’abantu tebannatondebwa, era nga n’ensi tennatondebwa. Ate era, olunyiriri olwo lulaga nti bamalayika basobola okwoleka enneewulira, kubanga lugamba nti ‘baayogerera waggulu olw’essanyu.’ Weetegereze nti ‘abaana ba Katonda bonna’ baasanyukira wamu. Mu kiseera ekyo, bamalayika bonna baali bali bumu nga baweereza Yakuwa Katonda.
OBUYAMBI N’OBUKUUMI BWA BAMALAYIKA
4. Baibuli ekiraga etya nti bamalayika abeesigwa bafaayo ku bantu?
4 Okuviira ddala mu kiseera lwe baalaba ng’abantu abaasooka batondebwa, bamalayika abeesigwa babadde bafaayo nnyo ku bikwata ku bantu era ne ku kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda. (Engero 8:30, 31; 1 Peetero 1:11, 12) Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, bamalayika baakiraba nti abantu abasinga obungi baalekera awo okuweereza Omutonzi waabwe. Awatali kubuusabuusa kino kyanakuwaza nnyo bamalayika abo abeesigwa. Ku luuyi olulala, omuntu ne bw’aba omu eyeenenyezza n’adda eri Yakuwa, ‘bamalayika basanyuka.’ (Lukka 15:10) Okuva bamalayika bwe bafaayo ennyo ku baweereza ba Katonda, tekyewuunyisa nti enfunda n’enfunda Yakuwa abakozesezza okuzzaamu amaanyi n’okukuuma abaweereza be abeesigwa ab’oku nsi. (Abebbulaniya 1:7, 14) Weetegereze ebimu ku byokulabirako ebikakasa ekyo.
5. Byakulabirako ki ebiri mu Baibuli ebyoleka obuyambi bwa bamalayika?
5 Bamalayika babiri baayamba Lutti omutuukirivu ne bawala be okuwonawo ng’ebibuga ebibi, Sodomu ne Ggomola, bizikirizibwa. (Olubereberye 19:15, 16) Nga wayiseewo ebyasa bingi, nnabbi Danyeri yasuulibwa mu bunnya bw’empologoma, naye teyatuukibwako kabi era yagamba: “Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma.” (Danyeri 6:22) Mu kyasa ekyasooka, malayika yasumulula omutume Peetero okuva mu kkomera. (Ebikolwa 12:6-11) Era, bamalayika bazzaamu Yesu amaanyi ng’atandika obuweereza bwe ku nsi. (Makko 1:13) Ate era, nga Yesu anaatera okuttibwa, malayika yamulabikira ‘n’amuzzaamu amaanyi.’ (Lukka 22:43) Nga Yesu ateekwa okuba nga yabudaabudibwa nnyo mu biseera ebyo ebyali ebikulu ennyo mu bulamu bwe!
6. (a) Bamalayika bakuuma batya abantu ba Katonda leero? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?
6 Leero, bamalayika tebakyalabikira bantu ba Katonda. Wadde nga tetusobola kubalaba, bamalayika ba Katonda ab’amaanyi bakyakuuma abantu be, era ng’okusingira ddala babakuuma obutatuukibwako kabi mu by’omwoyo. Baibuli egamba: “Malayika wa Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, n’abalokola.” (Zabbuli 34:7) Lwaki ebigambo ebyo byandituzizzaamu nnyo amaanyi? Olw’okuba waliwo ebitonde eby’omwoyo ebibi ebyagala okutusaanyawo! Bye biruwa ebyo? Byava wa? Bigezaako bitya okututuusaako akabi? Okufuna eby’okuddamu, ka twetegeerezeeyo ekintu kimu ekyaliwo ku ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu.
EBITONDE EBY’OMWOYO EBY’OBULABE GYE TULI
7. Abantu benkana wa Setaani be yasobola okuggya ku Katonda?
7 Nga bwe twayiga mu Ssuula 3 mu katabo kano, omu ku bamalayika yeegomba okubeera omufuzi era bw’atyo ne yeewaggula okuva ku Katonda. Oluvannyuma malayika ono yamanyibwa nga Setaani Omulyolyomi. (Okubikkulirwa 12:9) Mu byasa 16 ebyaddirira ng’amaze okulimba Kaawa, kyenkana Setaani yasobola okuggya abantu bonna ku Katonda ng’oggyeko abeesigwa abatono ennyo, gamba nga Abeeri, Enoka, ne Nuuwa.—Abebbulaniya 11:4, 5, 7.
8. (a) Bamalayika abamu baafuuka batya badayimooni? (b) Badayimooni baawalirizibwa kukola ki mu Mataba g’omu kiseera kya Nuuwa?
8 Mu biseera bya Nuuwa, bamalayika abalala baajeemera Yakuwa. Baava mu ggulu gye baali balina okubeera, ne bajja ku nsi, ne beeyambaza emibiri gy’abantu. Lwaki? Tusoma bwe tuti mu Olubereberye 6:2: “Abaana ba Katonda ne balaba abawala b’abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda.” Naye, Yakuwa Katonda teyakkiriza bikolwa bya bamalayika bano ebibi ebyaviirako abantu okwonooneka, okweyongera mu maaso. Yaleeta amataba ku nsi yonna agaasaanyawo abantu bonna ababi era n’awonyawo abaweereza be abeesigwa bokka. (Olubereberye 7:17, 23) Bwe kityo, bamalayika abajeemu, oba badayimooni, baawalirizibwa okweyambulako emibiri gye baali beeyambazza ne baddayo mu ggulu ng’ebitonde eby’omwoyo. Baakolaganira wamu n’Omulyolyomi, eyafuuka “omukulu wa badayimooni.”—Matayo 9:34.
9. (a) Kiki ekyatuuka ku badayimooni bwe baddayo mu ggulu? (b) Kiki kye tugenda okwekenneenya ku bikwata ku badayimooni?
9 Bwe baddayo mu ggulu, bamalayika bano abajeemu baaboolebwa awamu n’omufuzi waabwe Setaani. (2 Peetero 2:4) Wadde nga kati tebakyasobola kweyambaza mibiri gy’abantu, bakyasendasenda abantu okukola ebikyamu. Mu butuufu, ng’ayambibwako badayimooni bano, Setaani ‘abuzaabuza ensi yonna.’ (Okubikkulirwa 12:9; 1 Yokaana 5:19) Mu ngeri ki? Okuyitira mu badayimooni bano, akozesa engeri ez’enjawulo okubuzaabuza abantu. (2 Abakkolinso 2:11) Ka twekenneenye ezimu ku ngeri ezo.
ENGERI BADAYIMOONI GYE BABUZAABUZAAMU ABANTU
10. Obusamize kye ki?
10 Badayimooni beeyambisa obusamize okusobola okubuzaabuza abantu. Obusamize kwe kukolagana ne badayimooni butereevu oba okuyitira mu mulubaale. Baibuli evumirira obusamize era etukubiriza okwewala ekintu kyonna ekibwekuusaako. (Abaggalatiya 5:19-21) Badayimooni bakozesa obusamize okukwasa abantu ng’abavubi bwe bakozesa ebintu ebisikiriza okukwasa ebyennyanja. Omuvubi akozesa ebintu ebisikiriza ebitali bimu okusobola okukwasa ebyennyanja. Mu ngeri y’emu, bamalayika ababi bakozesa obusamize obw’engeri ezitali zimu okusobola okuteeka abantu wansi w’obuyinza bwabwe.
11. Obulaguzi kye ki, era lwaki twandibwewaze?
11 Emu ku ngeri ez’obusamize badayimooni ze bakozesa bwe bulaguzi. Obulaguzi kye ki? Kwe kugezaako okumanya ebikwata ku biseera eby’omu maaso oba ebintu ebitamanyiddwa. Muno mwe muli okulaguzisa emmunyeenye, bukaadi, endabirwamu, ebibatu oba okulootolola ebirooto. Wadde ng’abantu bangi balowooza nti okwenyigira mu bulaguzi temuliimu kabi konna, Baibuli ekyoleka kaati nti abalaguzi bakolagana n’emyoyo emibi. Ng’ekyokulabirako, Ebikolwa by’Abatume 16:16-18 woogera ku “dayimooni alagula” eyasobozesanga omuwala “okulagula.” Omuwala oyo yalekera awo okulagula bwe baamugobako dayimooni.
12. Lwaki kya kabi nnyo okugezaako okwogera n’abafu?
12 Engeri endala badayimooni gye babuzaabuzaamu abantu kwe kubaleetera okwagala okwogera n’abafu. Abantu abafiiriddwa omwagalwa waabwe batera okutwalirizibwa endowooza enkyamu eziriwo ezikwata ku bafu. Omulubaale ayinza okubawa obubaka obw’enjawulo oba okwogerera mu ddoboozi eriringa ery’omufu. N’ekivaamu, abantu bangi batandika okulowooza nti abafu gyebali balamu, era nti okwogera nabo kijja kubayamba okugumira ennaku. Naye “okubudaabudibwa” okw’engeri ng’eyo, kuba kukyamu era kwa kabi. Lwaki? Kubanga badayimooni basobola okugeegeenya eddoboozi ly’omufu era ne babuulira omulubaale ebintu ebikwata ku muntu eyafa. (1 Samwiri 28:3-19) Kyokka, nga bwe twayiga mu Ssuula 6, omuntu bw’afa aba takyaliwo. (Zabbuli 115:17) N’olwekyo, ‘omuntu yenna ayogera n’abafu’ aba alimbibwalimbibwa emyoyo emibi era aba akola ekintu ekikontana n’amateeka ga Katonda. (Ekyamateeka 18:10, 11; Isaaya 8:19) Kale nno, weegendereze oleme kugwa mu mutego guno ogw’akabi badayimooni gwe bakozesa.
13. Kiki bangi abaali babonyaabonyezebwa emyoyo emibi kye basobodde okukola?
13 Emyoyo emibi tegikoma ku kulimba bulimbi bantu, naye era gigezaako okubatiisa. Leero, Setaani ne badayimooni be bamanyi nti basigazzaayo “akaseera katono” basibibwe, era kati bakambwe nnyo n’okusinga bwe kyali kibadde. (Okubikkulirwa 12:12, 17) Wadde kiri kityo, enkumi n’enkumi z’abantu abaali babonyaabonyezebwa emyoyo emibi basobodde okugyekutulako. Kino bakikoze batya? Kiki omuntu ky’ayinza okukola bw’aba ng’abadde akolagana n’emyoyo emibi?
ENGERI Y’OKUZIYIZAAMU EMYOYO EMIBI
14. Okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ab’omu Efeso, tusobola tutya okwekutula ku myoyo emibi?
14 Baibuli etubuulira engeri gye tuyinza okuziyizaamu emyoyo emibi n’okugyekutulako. Lowooza ku kyokulabirako ky’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ab’omu kibuga ky’e Efeso. Abamu ku bo baali beenyigira mu by’obusamize nga tebannafuuka Bakristaayo. Bwe baasalawo okwekutula ku by’obusamize, baakola ki? Baibuli egamba bw’eti: “Bangi ku bo abaakolanga eby’obufumu ne bakuŋŋaanya ebitabo byabwe, ne babyokera mu maaso gaabwe bonna.” (Ebikolwa 19:19) Mu kwokya ebitabo byabwe ebyali bikwata ku by’obufumu, Abakristaayo abo baateekawo ekyokulabirako ekirungi eri abo bonna abaagala okuziyiza emyoyo emibi leero. Abantu abaagala okuweereza Yakuwa kibeetaagisa okweggyako buli kintu kyonna ekirina akakwate n’eby’obusamize. Bino bisobola okuba ebitabo, magazini, firimu, ebipande, n’ennyimba, ebikubiriza okwenyigira mu by’obusamize era nga biyinza okulabika ng’ebisikiriza era ebisanyusa. Ate era, muzingiramu yirizi oba ebintu ebirala abantu bye bambala okusobola okukuumibwa obutatuukibwako kabi.—1 Abakkolinso 10:21.
15. Kiki kye twetaaga okukola okusobola okuziyiza emyoyo emibi?
15 Nga wayiseewo emyaka egiwera oluvannyuma lw’Abakristaayo ab’omu Efeso okwokya ebitabo byabwe ebikwata ku by’obufumu, omutume Pawulo yabawandiikira bw’ati: ‘Tumeggana n’emyoyo emibi.’ (Abeefeso 6:12) Badayimooni baali tebannalekulira. Baali bakyalwanyisa Abakristaayo abo. Kati olwo kiki ekirala Abakristaayo abo kye baali beetaaga okukola? Pawulo yagamba: ‘Ku ebyo byonna, mukwatireeko engabo ey’okukkiriza eneebayinzisa okuziyiza obusaale bwonna obw’omuliro obw’omubi Setaani.’ (Abeefeso 6:16) Engabo yaffe ey’okukkiriza gy’ekoma okuba ey’amaanyi, gye tukoma okuba n’obusobozi bw’okuziyiza emyoyo emibi.—Matayo 17:20.
16. Tusobola tutya okunyweza okukkiriza kwaffe?
16 Kati olwo tusobola tutya okunyweza okukkiriza kwaffe? Nga twesomesa Baibuli. Obugumu bw’ekisenge businziira ku bunywevu bw’omusingi. Mu ngeri y’emu, obunywevu bw’okukkiriza kwaffe businziira ku musingi omunywevu gwe tuteekawo, nga kuno kwe kufuna okutegeera okutuufu okw’Ekigambo kya Katonda, Baibuli. Bwe twesomesa Baibuli buli lunaku, okukkiriza kwaffe kujja kweyongera okunywera. Okufaananako ekisenge ekigumu, okukkiriza ng’okwo kujja kutukuuma obutatwalirizibwa myoyo mibi.—1 Yokaana 5:5.
17. Kiki kye twetaaga okukola okusobola okuziyiza emyoyo emibi?
17 Kiki ekirala Abakristaayo ab’omu Efeso kye baali beetaaga? Baali beetaaga okweyongera okufuna obukuumi olw’okuba ekibuga kye baalimu kyali kijjudde eby’obusamize. Pawulo kye yava abawandiikira bw’ati: ‘Musabenga buli kiseera mu mwoyo n’okwegayirira kwonna.’ (Abeefeso 6:18) Okuva naffe bwe tuli mu nsi ejjudde eby’obusamize, kikulu nnyo okunyikira okusaba Yakuwa atuyambe tusobole okuziyiza emyoyo emibi. Kya lwatu, twetaaga okukozesa erinnya lya Yakuwa mu kusaba kwaffe. (Engero 18:10) Tusaanidde okusabanga Katonda ‘okutulokola okuva eri omubi,’ Setaani Omulyolyomi. (Matayo 6:13) Yakuwa ajja kuddamu okusaba ng’okwo.—Zabbuli 145:19.
18, 19. (a) Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti tusobola okutuuka ku buwanguzi mu kulwanyisa emyoyo emibi? (b) Kibuuzo ki ekigenda okuddibwamu mu ssuula eddako?
18 Emyoyo emibi gya kabi, kyokka bwe tuba nga tuziyiza Omulyolyomi ne tunyweza enkolagana yaffe ne Katonda nga tukola by’ayagala, tekitwetaagisa kugitya. (Yakobo 4:7, 8) Amaanyi g’emyoyo emibi galiko ekkomo. Gyabonerezebwa mu biseera bya Nuuwa, era ginaatera okuzikirizibwa. (Yuda 6) Ate era jjukira nti tulina obukuumi bwa bamalayika ba Yakuwa ab’amaanyi. (2 Bassekabaka 6:15-17) Bamalayika abo baagala nnyo okulaba nga tutuuka ku buwanguzi mu kuziyiza emyoyo emibi era batuzzaamu amaanyi. N’olwekyo, ka tweyongere okubeera okumpi ne Yakuwa awamu n’ebitonde bye ebyesigwa eby’omwoyo. Ate era, ka tuziyize engeri yonna ey’obusamize era bulijjo tusse mu nkola okubuulirira okuli mu Kigambo kya Katonda. (1 Peetero 5:6, 7; 2 Peetero 2:9) Mu ngeri eyo, tusobola okuba abakakafu nti tujja kutuuka ku buwanguzi mu kulwanyisa emyoyo emibi.
19 Naye lwaki Katonda aleseewo emyoyo emibi n’obubi, ebiviiriddeko abantu okubonaabona ennyo? Ekibuuzo ekyo kijja kuddibwamu mu ssuula eddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Nga lwogera ku bamalayika abatuukirivu, Okubikkulirwa 5:11 lugamba nti: “Omuwendo gwabwe [guli] obukumi, emirundi obukumi,” oba “enkumi emirundi enkumi.” N’olwekyo, Baibuli ekyoleka bulungi nti bamalayika bukadde na bukadde be baatondebwa.
BAIBULI KY’EYIGIRIZA
▪ Bamalayika abeesigwa bayamba abaweereza ba Yakuwa.—Abebbulaniya 1:7, 14.
▪ Setaani ne badayimooni balimbalimba abantu baleme okuweereza Katonda.—Okubikkulirwa 12:9.
▪ Setaani Omulyolyomi ajja kukudduka singa omuziyiza era n’okola Katonda by’ayagala.—Yakobo 4:7, 8.
[Akasanduuko/Ebifaananyi ku lupapula 102]
ENGERI Y’OKUZIYIZAAMU EMYOYO EMIBI
▪ Weggyeko buli kintu kyonna ekirina akakwate n’eby’obusamize
▪ Weesomese Baibuli
▪ Saba Katonda
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 99]
“Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma.—Danyeri 6:22
[Ebifaanany ebiri ku empapula 101]
Badayimooni balimbalimba abantu mu ngeri nnyingi