-
Okubatizibwa—Kiruubirirwa Kirungi Nnyo!Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
-
-
3. Omuntu ayinza atya okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa?
Osobola okutuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa ng’oyiga ebikwata ku Yakuwa era nga weeyongera okunyweza okukkiriza kwo. (Soma Abebbulaniya 11:6.) Bwe weeyongera okumanya ebikwata ku Yakuwa era n’okunyweza okukkiriza kwo, weeyongera okumwagala. Ekyo kikuleetera okwagala okubuulira abalala ebimukwatako era n’okugoberera emitindo gye. (2 Timoseewo 4:2; 1 Yokaana 5:3) Omuntu bw’atandika “okutambula nga bwe kisaanira mu maaso ga Yakuwa okusobola okumusanyusiza ddala,” aba asobola okusalawo okwewaayo gy’ali era n’abatizibwa.—Abakkolosaayi 1:9, 10.a
-
-
Okubatizibwa—Kiruubirirwa Kirungi Nnyo!Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
-
-
a Omuntu bw’aba nga yabatizibwa mu ddiini endala, kiba kimwetaagisa okuddamu okubatizibwa. Lwaki? Kubanga eddiini eyo teyigiriza mazima agali mu Bayibuli.—Laba Ebikolwa 19:1-5 n’Essomo 13.
-
-
Otuuse Okubatizibwa?Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
-
-
1. Bintu byenkana wa bye weetaaga okumanya nga tonnabatizibwa?
Okusobola okubatizibwa, weetaaga ‘okutegeerera ddala amazima.’ (1 Timoseewo 2:4) Naye ekyo tekitegeeza nti nga tonnaba kubatizibwa, olina okuba ngʼosobola okuddamu buli kibuuzo abantu kye bayinza okukubuuza ekikwata ku Bayibuli. N’Abakristaayo abamaze emyaka emingi nga babatize bakyeyongera okuyiga. (Abakkolosaayi 1:9, 10) Naye weetaaga okuba ng’omanyi enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako. Abakadde mu kibiina bajja kukuyamba okumanya obanga otegeera enjigiriza ezo.
-