ESSOMO 33
Ebyo Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola
Obwakabaka bwa Katonda bwatandika okufuga. Mangu ddala bujja kuleeta enkyukakyuka ez’amaanyi ku nsi. Ka tulabeyo ebimu ku bintu Obwakabaka bwa Katonda bye bugenda okutukolera.
1. Obwakabaka bwa Katonda bunaaleeta butya emirembe n’obwenkanya ku nsi?
Ku lutalo Amagedoni, Yesu, Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, ajja kuzikiriza abantu ababi ne gavumenti z’abantu. (Okubikkulirwa 16:14, 16) Mu kiseera ekyo, ebigambo bino ebiri mu Bayibuli bijja kutuukirizibwa mu bujjuvu: “Mu kaseera katono, ababi tebalibaawo.” (Zabbuli 37:10) Mu bufuzi bw’Obwakabaka bwa Katonda, Yesu ajja kuleeta emirembe n’obwenkanya mu nsi yonna.—Soma Isaaya 11:4.
2. Obulamu buliba butya nga Katonda by’ayagala bikolebwa ku nsi?
Ng’Obwakabaka bwa Katonda bufuga, abantu “abatuukirivu balisikira ensi, era baligibeeramu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:29) Kuba akafaananyi ng’abantu abali ku nsi bonna batuukirivu, baagala Yakuwa, baagalana, tewali n’omu alwala, era nga bonna ba kubeerawo emirembe gyonna!
3. Biki Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakola ng’abantu ababi bamaze okuzikirizibwa?
Oluvannyuma lw’ababi okuzikirizibwa, Yesu ajja kufuga nga Kabaka okumala emyaka 1,000. Mu kiseera ekyo, Yesu n’abo 144,000 abajja okufuga naye, bajja kuyamba abantu abanaabeera ku nsi okufuuka abatuukiridde. Ku nkomerero y’emyaka 1,000, ensi yonna ejja kuba erabika bulungi nnyo ng’efuuliddwa olusuku lwa Katonda. Era abantu bonna bajja kuba basanyufu olw’okuba bajja kuba bagondera amateeka ga Yakuwa. Oluvannyuma Yesu ajja kuwaayo Obwakabaka eri Kitaawe, Yakuwa. ‘Erinnya lya Yakuwa lijja kutukuzibwa’ ku kigero ekitabangawo. (Matayo 6:9, 10) Kijja kuba kyeyolese bulungi nti Yakuwa Mufuzi mulungi era nti afaayo ku abo b’afuga. Ekinaddirira, Yakuwa ajja kuzikiriza Sitaani ne badayimooni n’abo bonna abaliba basazeewo okujeemera obufuzi bwe. (Okubikkulirwa 20:7-10) Ebintu ebirungi Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakola bijja kubeerawo emirembe gyonna.
YIGA EBISINGAWO
Laba ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti Katonda ajja kukozesa Obwakabaka bwe okutuukiriza ebyo byonna by’atusuubizza okuyitira mu Bayibuli.
4. Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo gavumenti z’abantu
‘Omuntu abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi.’ (Omubuulizi 8:9) Yakuwa ajja kukozesa Obwakabaka bwe okumalawo obutali bwenkanya.
Soma Danyeri 2:44 ne 2 Abassessalonika 1:6-8, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:
Kiki Yakuwa n’Omwana we Yesu kye bajja okukola obufuzi bw’abantu n’abo ababuwagira?
Ebyo by’oyize ku Yakuwa ne Yesu bikukakasa bitya nti ebyo bye bajja okukola bijja kuba bya bwenkanya?
5. Yesu ye Kabaka asingayo obulungi
Nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, Yesu ajja kukolera abantu abanaabeera ku nsi ebintu ebirungi bingi. Ssaako VIDIYO olabe engeri Yesu gye yakiraga nti ayagala nnyo okuyamba abantu, era nti Katonda yamuwa obusobozi okubayamba.
Ebyo Yesu bye yakola ng’ali ku nsi bitulaga ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bunaakola. Ku ebyo ebiragiddwa wammanga, biruwa by’osinga okwesunga? Soma ebyawandiikibwa ebiweereddwa ebyogera ku bintu ebyo ebirungi.
YESU BWE YALI KU NSI . . . |
NG’ASINZIIRA MU GGULU, YESU . . . |
---|---|
|
|
|
|
|
|
|
|
6. Obwakabaka bwa Katonda bujja kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda
Obwakabaka bwa Katonda bujja kutuukiriza mu bujjuvu ekigendererwa Yakuwa kye yalina ng’atonda abantu. Abantu bajja kubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. Ssaako VIDIYO olabe engeri Yakuwa gy’akozesaamu Omwana we Yesu, okutuukiriza ekigendererwa kye.
Soma Zabbuli 145:16, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:
Okukimanya nti Yakuwa ajja ‘kuwa buli kiramu bye kyagala,’ kikuleetera kuwulira otya?
ABAMU BAGAMBA NTI: “Ffenna bwe tukolera awamu, tusobola okumalawo ebizibu ebiri mu nsi.”
Bizibu ki Obwakabaka bwa Katonda bye bujja okumalawo, gavumenti z’abantu bye zitasobola kumalawo?
MU BUFUNZE
Obwakabaka bwa Katonda bujja kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda. Bujja kufuula ensi olusuku lwa Katonda, omujja okuba abantu abalungi era abajja okusinza Yakuwa emirembe gyonna.
Okwejjukanya
Obwakabaka bwa Katonda bunaatukuza butya erinnya lya Yakuwa?
Lwaki tusobola okuba abakakafu nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kutuukiriza ebyo byonna Katonda bye yatusuubiza mu Bayibuli?
Ku bintu byonna ebirungi Katonda by’ajja okutukolera ng’Obwakabaka bwe tutandise okufuga ensi, kiruwa ky’osinga okwesunga?
LABA EBISINGAWO
Manya Amagedoni kye kitegeeza.
Manya ebijja okubaawo mu kiseera ky’obufuzi bwa Yesu obw’emyaka 1,000 n’oluvannyuma lw’ekiseera ekyo.
“Kiki Ekinaabaawo ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango?” (Omunaala gw’Omukuumi, Okitobba 1, 2012)
Laba engeri ab’omu maka gye bayinza okufumiitiriza ku ngeri obulamu gye bulibeeramu mu nsi empya.
Mu kitundu “Nnalina Ebibuuzo Bingi Ebyali Bimbobbya Omutwe,” laba engeri omusajja omu eyali awakanya gavumenti gye yafuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye yali yeebuuza.
“Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” (Watchtower, Jjanwali 1, 2012)