ESSUULA 19
‘Amagezi ga Katonda Agali mu Kyama Kye Ekitukuvu’
1, 2. ‘Kyama ki ekitukuvu’ kye twandyagadde okumanya era lwaki?
EBYAMA! Olw’okuba bisikiriza era nga biwuniikiriza, abantu batera okuzibuwalirwa okubisirikira. Kyokka, Baibuli egamba: “Okukisa ekigambo kitiibwa kya Katonda.” (Engero 25:2) Yee, Yakuwa, Omufuzi w’Obutonde Bwonna era Omutonzi, akuuma ebintu ebimu nga bya kyama okutuusa ng’ekiseera eky’okubibikkula kituuse.
2 Kyokka, waliwo ekyama ekiwuniikiriza era ekyewuunyisa, Yakuwa ky’abikkudde mu Kigambo kye. Kiyitibwa ‘ekyama ekitukuvu eky’okwagala kwa Katonda.’ (Abeefeso 1:9) Tekijja kukusanyusa busanyusa kyokka ng’okiyizeeko, naye era kiyinza okukuviirako okufuna obulokozi n’okutegeera ebintu ebimu ebikwata ku magezi ga Yakuwa agatakoma.
Kibikkulwa Mpolampola
3, 4. Obunnabbi obuli mu Olubereberye 3:15 bwawa butya essuubi, era bwalimu ‘kyama ki ekitukuvu’?
3 Adamu ne Kaawa bwe baayonoona, kiyinza okuba nga kyalabika nti ekigendererwa kya Yakuwa eky’okufuula ensi olusuku lwe olulimu abantu abatuukiridde kyali kiremeseddwa. Kyokka, amangu ago Katonda yakola ku nsonga! Yagamba: “Obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.”—Olubereberye 3:15.
4 Ebigambo ebyo byalimu amakulu ameekusifu. Omukazi ono ye yali ani? Omusota gwali gukiikirira ani? “Ezzadde” eryandibetense omutwe gw’omusota, lyali ani? Adamu ne Kaawa baali tebamanyi. Kyokka, ebyo Katonda bye yayogera byawa essuubi abaana abandibadde abeesigwa ab’abafumbo abo. Ekigendererwa kya Katonda kyali kirina okutuukirizibwa. Mu ngeri ki? Ekyo kyali kyama! Baibuli ekiyita “amagezi ga Katonda mu kyama, gali aga[a]kisibwa.”—1 Abakkolinso 2:7.
5. Waayo ekyokulabirako ekiraga lwaki Yakuwa yabikkula mpolampola ekyama kye.
5 Ng’Oyo “abikkula ebyama,” ddaaki Yakuwa yandibikkudde kalonda yenna akwata ku kutuukirizibwa kw’ekyama kino. (Danyeri 2:28) Kyokka, ekyo yandikikoze mpolampola. Okuwaayo ekyokulabirako, oyinza okulowooza ku ngeri taata gye yandizzeemu ng’omwana we amubuuzizza nti “Taata, nnazaalibwa ntya?” Taata ow’amagezi ategeeza omwana we ebyo byokka omwana oyo by’ayinza okutegeera. Omwana bw’agenda akula, taata yeeyongera okumutegeeza ebirala. Mu ngeri y’emu, Yakuwa asalawo ddi lw’alina okutegeeza abantu by’ayagala n’ekigendererwa kye.—Engero 4:18; Danyeri 12:4.
6. (a) Endagaano eba na kigendererwa ki? (b) Lwaki Yakuwa akola endagaano n’abantu?
6 Yakuwa yabikkula atya ekyama kye? Yakozesa endagaano ezitali zimu okubikkula bingi ebikwata ku kyama kye ekitukuvu. Oyinza okuba nga wali okozeeko endagaano, oboolyawo okugula ennyumba oba okwewola ssente. Endagaano ng’eyo ewa obukakafu nti ebikkiriziganyiziddwako bijja kutuukirizibwa. Naye, lwaki kyali kyetaagisa Yakuwa okukola endagaano n’abantu? Kya lwatu, ekigambo kye kiwa obukakafu nti ebisuubizo bye bijja kutuukirizibwa. Ekyo kituufu, naye emirundi mingi, Katonda by’ayogera abikakasa ng’akola endagaano. Eri ffe abantu abatatuukiridde, endagaano zino zinyweza obwesige bwe tulina mu bisuubizo bya Yakuwa.—Abebbulaniya 6:16-18.
Endagaano Eyakolebwa ne Ibulayimu
7, 8. (a) Ndagaano ki Yakuwa gye yakola ne Ibulayimu, era yatangaaza etya ku kyama ekitukuvu? (b) Yakuwa yalaga atya olunyiriri lw’obuzaale Ezzadde essuubize mwe lyandiyitidde?
7 Emyaka egisoba mu nkumi bbiri ng’omuntu amaze okugobebwa mu Lusuku Adeni, Yakuwa yategeeza Ibulayimu omuweereza we omwesigwa nti: “Naakwongerangako ezzadde lyo ng’emmunyeenye ez’omu ggulu, . . . era mu zzadde lyo amawanga gonna ag’omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange.” (Olubereberye 22:17, 18) Kino tekyali kisuubizo busuubizo; Yakuwa yakikola mu ngeri ey’endagaano era n’akikakasa n’ekirayiro kye. (Olubereberye 17:1, 2; Abebbulaniya 6:13-15) Nga kyewuunyisa nnyo nti Mukama Afuga Byonna yakola endagaano ey’okuwa abantu omukisa!
‘Nnaakwongerako ezzadde lyo ng’emmunyeenye z’omu ggulu’
8 Endagaano gye yakola ne Ibulayimu yakiraga nti Ezzadde eryasuubizibwa lyandibadde muntu, kubanga yandibadde muzzukulu wa Ibulayimu. Yandibadde ani? Ekiseera bwe kyayitawo, Yakuwa yakibikkula nti ezzadde lyandiyitidde mu Isaaka, mutabani wa Ibulayimu. Ku batabani ba Isaaka ababiri, Yakobo ye yalondebwa okuyitiramu ezzadde. (Olubereberye 21:12; 28:13, 14) Oluvannyuma, Yakobo yayogera ebigambo bino eby’obunnabbi eri omu ku batabani be 12: “Effumu lya kabaka teriivenga ku Yuda, newakubadde omuggo gw’oyo afuga teguuvenga wakati mu bigere bye, okutuusa Siiro [“Nnanyini Lyo”] lw’alijja; n’oyo abantu gwe banaawuliranga.” (Olubereberye 49:10) Kati kyali kitegeerekese nti Ezzadde lyandibadde kabaka, okuva mu lunyiriri lwa Yuda!
Endagaano Eyakolebwa ne Isiraeri
9, 10. (a) Yakuwa yakola ndagaano ki n’eggwanga lya Isiraeri, era endagaano eyo yawa bukuumi ki? (b) Amateeka gaalaga gatya nti abantu beetaaga ekinunulo?
9 Mu 1513 B.C.E., Yakuwa yakola enteekateeka eyandisobozesezza okubikkula ebirala ebikwata ku kyama kye ekitukuvu. Yakola endagaano ne bazzukulu ba Ibulayimu, eggwanga lya Isiraeri. Wadde nga kati tekyagobererwa, endagaano y’Amateeka ga Musa yalina ekifo kikulu nnyo mu kigendererwa kya Yakuwa eky’okuleeta Ezzadde eryasuubizibwa. Mu ngeri ki? Lowooza ku ngeri ssatu. Okusooka, endagaano y’Amateeka yalinga ekisenge ekiwa obukuumi. (Abeefeso 2:14) Amateeka ag’obutuukirivu agaagirimu gaalinga ekisenge ekyawula Abayudaaya n’Ab’Amawanga. Bwe kityo, Amateeka ago gaayamba okukuuma olunyiriri omwandiyitidde Ezzadde eryasuubizibwa. Olw’obukuumi ng’obwo, eggwanga lya Isiraeri lyali likyaliwo, ekiseera Katonda kye yali ateeseteese Masiya okuzaalibwa mu kika kya Yuda bwe kyatuuka.
10 Eky’okubiri, Amateeka gaalaga bulungi nti abantu beetaaga ekinunulo. Olw’okuba gaali matuukirivu, gaalaga nti abantu aboonoonyi tebasobola kugatuukiriza mu bujjuvu. Bwe kityo, ‘gassibwawo okwoleka okwonoona okutuusa w’alijjira omuzzukulu eyasuubizibwa.’ (Abaggalatiya 3:19) Olw’enteekateeka eyagalimu ey’okuwangayo ebiweebwayo eby’ensolo, Amateeka gaasobozesa okutangirira ebibi. Naye, okuva Pawulo bwe yagamba nti “tekiyinzika omusaayi gw’ente ennume n’embuzi okuggya[w]o ebibi,” ebiweebwayo ebyo byali bisonga ku ssaddaaka ya Kristo ey’ekinunulo. (Abebbulaniya 10:1-4) N’olwekyo, eri Abayudaaya abeesigwa, endagaano eyo ey’amateeka yafuuka ‘mutwazi ow’okubatuusa ku Kristo.’—Abaggalatiya 3:24.
11. Endagaano y’Amateeka yawa Isiraeri ssuubi ki ery’ekitalo, naye lwaki eggwanga eryo okutwalira awamu lyafiirwa essuubi eryo?
11 Eky’okusatu, endagaano yawa eggwanga lya Isiraeri essuubi ery’ekitalo. Yakuwa yabagamba nti bwe bandikutte endagaano, bandifuuse “obwakabaka bwa bakabona, n’eggwanga ettukuvu.” (Okuva 19:5, 6) Era Isiraeri ow’omubiri ye yavaamu abaasooka okubeera bakabona mu bwakabaka obw’omu ggulu. Kyokka, okutwalira awamu, Isiraeri yajeemera endagaano y’Amateeka, ne bagaana Ezzadde eryafuuka Masiya, era bwe kityo ne bafiirwa enkizo eyo gye baalina ey’okubeera bakabona mu bwakabaka obw’omu ggulu. Kati olwo baani abandijjuzizza omuwendo gwa bakabona bw’obwakabaka? Era eggwanga eryo ery’omukisa lyandibadde na kakwate ki n’Ezzadde eryasuubizibwa? Ebintu ng’ebyo ebikwata ku kyama byandibikkuliddwa mu kiseera Katonda kye yali ategese.
Endagaano y’Obwakabaka Eyakolebwa ne Dawudi
12. Yakuwa yakola ndagaano ki ne Dawudi, era endagaano eyo yatangaaza etya ku kyama kye ekitukuvu?
12 Mu kyasa 11, B.C.E., Yakuwa yayongera okutangaaza ku kyama kye ekitukuvu bwe yakola endagaano endala. Yasuubiza Kabaka Dawudi omwesigwa: “Ndissaawo ezzadde lyo eririddawo, . . . era ndinyweza obwakabaka bwe. . . . era ndinyweza entebe ey’obwakabaka bwe ennaku zonna.” (2 Samwiri 7:12, 13; Zabbuli 89:3) Kati kyategeerekeka nti Ezzadde eryasuubizibwa lyali lya kuva mu nnyumba ya Dawudi. Naye omuntu obuntu owa bulijjo ye yandifuze “ennaku zonna”? (Zabbuli 89:20, 29, 34-36) Era kabaka ng’oyo yandisobodde okununula olulyo lw’omuntu okuva mu kibi n’okufa?
13, 14. (a) Okusinziira ku Zabbuli 110, Yakuwa asuubiza ki Kabaka gwe yafukako amafuta? (b) Bannabbi ba Yakuwa baabikkula bintu ki ebirala ebikwata ku Zzadde eryasuubizibwa?
13 Ng’alina obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda, Dawudi yawandiika bw’ati: “Mukama agamba mukama wange nti tuula ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo. Mukama yalayira, so talyejjusa, nti ggwe oli kabona emirembe gyonna ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.” (Zabbuli 110:1, 4) Ebigambo bya Dawudi byali bikwata butereevu ku Zzadde eryasuubizibwa, oba Masiya. (Ebikolwa 2:35, 36) Kabaka yandifuze, si okuva mu Yerusaalemi, wabula okuva mu ggulu ku ‘mukono ogwa ddyo’ ogwa Yakuwa. Ekyo kyandimusobozesezza okuba n’obuyinza, si ku Isiraeri yokka, naye ku nsi yonna. (Zabbuli 2:6-8) Wano era waliwo ekirala ekyabikkulwa. Weetegereze nti Yakuwa yalayira nti Masiya yandibadde ‘kabona mu ngeri ya Merukizeddeeki.’ Okufaananako Merukizeddeeki, eyaweereza nga kabaka era kabona mu kiseera kya Ibulayimu, Ezzadde eryasuubizibwa lyandirondeddwa Katonda okuweereza nga Kabaka era Kabona!—Olubereberye 14:17-20.
14 Mu myaka egyaddirira, Yakuwa yakozesa bannabbi be okubikkula ebirala ebikwata ku kyama kye ekitukuvu. Ng’ekyokulabirako, Isaaya yakibikkula nti Ezzadde lyandiwaddeyo obulamu bwalyo nga ssaddaaka. (Isaaya 53:3-12) Mikka yalagula ekifo Masiya gye yandizaaliddwa. (Mikka 5:2) Danyeri yalagula ekiseera kyennyini Ezzadde we lyandirabikidde ne we lyandifiiridde.—Danyeri 9:24-27.
Ekyama Ekitukuvu Kibikkulwa!
15, 16. (a) Omwana wa Yakuwa yajja atya ‘okuzaalibwa omukazi’? (b) Kiki Yesu kye yali asobola okubeera olw’olunyiriri lwa bazadde be, era yalabika ddi ng’Ezzadde eryasuubizibwa?
15 Engeri obunnabbi obwo gye bwandituukiriziddwamu kyasigala nga kyama okutuusa ng’Ezzadde limaze okujja. Abaggalatiya 4:4 lugamba: “Okutuukirira kw’ebiro bwe kwatuuka, Katonda n’atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi.” Mu mwaka 2 B.C.E., malayika yagamba Malyamu, Omuyudaaya, embeerera: “Laba, oliba olubuto, olizaala omwana ow’obulenzi, olimutuuma erinnya Yesu. Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w’Oyo Ali waggulu ennyo. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe. . . . Omwoyo omutukuvu alikujjira, n’amaanyi g’Oyo Ali waggulu ennyo galikusiikiriza: era ekyo ekirizaalibwa kye kiriva kiyitibwa ekitukuvu, Omwana wa Katonda.”—Lukka 1:31, 32, 35.
16 Oluvannyuma, Yakuwa yaggya obulamu bw’Omwana we mu ggulu n’abuteeka mu lubuto lwa Malyamu, n’asobola okuzaalibwa omukazi. Malyamu yali tatuukiridde. Kyokka, Yesu teyasikira butali butuukirivu, kubanga yali ‘Mwana wa Katonda.’ Ate era, olw’okuba bazadde ba Yesu, baali bazzukulu ba Dawudi, Yesu yali asobola okubeera omusika wa Dawudi. (Ebikolwa 13:22, 23) Ku kubatizibwa kwa Yesu mu 29 C.E., Yakuwa yamufukako omwoyo omutukuvu n’agamba: “Oyo ye Mwana wange, gwe njagala.” (Matayo 3:16, 17) Kulwaddaaki, Ezzadde lyalabika! (Abaggalatiya 3:16) Ekiseera kyali kituuse okubikkula ebirala ebikwata ku kyama ekitukuvu.—2 Timoseewo 1:10.
17. Amakulu ga Olubereberye 3:15, gaatangaazibwako gatya?
17 Mu buweereza bwe ku nsi, Yesu yakiraga nti omusota ogwogerwako mu Olubereberye 3:15, ye Setaani, era nti n’ezzadde ly’omusota be bagoberezi ba Setaani. (Matayo 23:33; Yokaana 8:44) Oluvannyuma, kyabikkulwa engeri abo bonna gye bandizikiriziddwa ddala. (Okubikkulirwa 20:1-3, 10, 15) Ate omukazi yalagibwa okuba ‘Yerusaalemi ekiri waggulu,’ entegeka ya Yakuwa ey’omu ggulu, ey’ebitonde eby’omwoyo.a—Abaggalatiya 4:26; Okubikkulirwa 12:1-6.
Endagaano Empya
18. ‘Endagaano empya’ erina kigendererwa ki?
18 Oboolyawo ekintu ekyasingirayo ddala okwewuunyisa kyekyo ekyabikkulwa mu kiro ekyasembayo nga Yesu tannattibwa, bwe yategeeza abayigirizwa be abeesigwa ku ‘ndagaano empya.’ (Lukka 22:20) Okufaananako Endagaano y’Amateeka eyasookawo, endagaano eno empya yandiviiriddeko okufuna ‘bakabona b’obwakabaka.’ (Okuva 19:6; 1 Peetero 2:9) Kyokka, endagaano eno teyanditonzeewo ggwanga ery’omubiri, wabula ery’omwoyo, ‘Isiraeri wa Katonda,’ nga lirimu abagoberezi ba Yesu abeesigwa abaafukibwako amafuta. (Abaggalatiya 6:16) Bano abali mu ndagaano empya baali ba kukolera wamu ne Yesu okuwa abantu emikisa!
19. (a) Lwaki endagaano empya esobozesezza okufuna ‘bakabona b’obwakabaka’? (b) Lwaki Abakristaayo abaafukibwako amafuta bayitibwa “ekitonde ekiggya,” era bameka abaliweereza ne Kristo mu ggulu?
19 Naye, lwaki endagaano empya esobozesezza okufuna ‘bakabona b’obwakabaka’ ab’okuwa abantu omukisa? Kubanga, mu kifo ky’okusalira abayigirizwa ba Yesu omusango, esobozesa ebibi byabwe okusonyiyibwa okuyitira mu ssaddaaka ye. (Yeremiya 31:31-34) Bwe bafuna enkolagana ennungi ne Yakuwa, abafuula ab’omu maka ge mu ggulu era n’abafukako omwoyo omutukuvu. (Abaruumi 8:15-17; 2 Abakkolinso 1:21) Mu ngeri eyo, ‘bazaalibwa omulundi ogw’okubiri ne babeera n’essuubi eddamu, eryabaterekerwa mu ggulu.’ (1 Peetero 1:3, 4) Okuva embeera eyo ey’ekitiibwa bw’eri empya eri abantu, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bayitibwa “ekitonde ekiggya.’ (2 Abakkolinso 5:17) Baibuli ebikkula nti 144,000 bajja kufuga abantu abanunuddwa nga basinziira mu ggulu.—Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1-4.
20. (a) Kiki ekyabikkulwa ku kyama mu 36 C.E.? (b) Baani abanaafuna emikisa egyasuubizibwa Ibulayimu?
20 Yesu, n’abaafukibwako amafuta bano, lye “ezzadde lya Ibulayimu.”b (Abaggalatiya 3:29) Abaasooka okulondebwa baali Bayudaaya ab’omubiri. Naye mu 36 C.E., waliwo ekirala ekyabikkulwa ekikwata ku kyama kino ekitukuvu: Ab’Amawanga, oba abatali Bayudaaya, nabo bandibadde n’essuubi ery’okugenda mu ggulu. (Abaruumi 9:6-8; 11:25, 26; Abeefeso 3:5, 6) Abakristaayo abaafukibwako amafuta be bokka abandifunye emikisa egyasuubizibwa Ibulayimu? Nedda, kubanga ssaddaaka ya Yesu eganyula ensi yonna. (1 Yokaana 2:2) Ekiseera bwe kyayitawo, Yakuwa yakibikkula nti ‘ekibiina ekinene’ omuntu yenna ky’atayinza kubala kyandiwonyewo ng’embeera zino eza Setaani zizikiriziddwa. (Okubikkulirwa 7:9, 14) Abantu abalala bangi nnyo bajja kuzuukizibwa babeere mu Lusuku lwa Katonda emirembe gyonna!—Lukka 23:43; Yokaana 5:28, 29; Okubikkulirwa 20:11-15; 21:3, 4.
Amagezi ga Katonda n’Ekyama Kye Ekitukuvu
21, 22. Mu ngeri ki ekyama kya Yakuwa gye kyolekamu amagezi ge?
21 Ekyama kya Katonda ekitukuvu kyoleka ‘amagezi ge amangi.’ (Abeefeso 3:8-10) Nga Yakuwa yayoleka amagezi mangi nnyo mu kuteekawo ekyama kino, ate oluvannyuma n’akibikkula mpolampola! Yamanya ekkomo ly’abantu, era n’abaleka okwoleka embeera eri mu mitima gyabwe.—Zabbuli 103:14.
22 Era Yakuwa yayoleka amagezi ge amangi ennyo bwe yalonda Yesu nga Kabaka. Omwana wa Yakuwa yeesigika okusinga ebitonde ebirala byonna. Olw’okuba yaliko omuntu alina omusaayi n’omubiri, Yesu yayita mu buzibu bungi nnyo. Amanyi bulungi ebizibu by’abantu. (Abebbulaniya 5:7-9) Ate abo abanaafuga ne Yesu? Mu byasa bingi ebizze biyitawo, abasajja n’abakazi, okuva mu bika, ennimi n’ebifo eby’enjawulo, bafukiddwako amafuta. Okutwalira awamu, abantu abo tebalina kizibu kyonna kye batayolekaganye nakyo. (Abeefeso 4:22-24) Okubeera wansi w’obufuzi bwa bakabaka bano era bakabona abasaasizi, kijja kuba kya ssanyu nnyo!
23. Nkizo ki Abakristaayo gye balina ku bikwata ku kyama kya Yakuwa?
23 Omutume Pawulo yawandiika: “Ekyama [ekitukuvu] ekyakwekebwa okuva edda n’edda n’emirembe n’emirembe: . . . kyolesebbwa eri abatukuvu be.” (Abakkolosaayi 1:26) Yee, abatukuvu ba Yakuwa bategedde bingi ebikwata ku kyama kye, era babibuuliddeko obukadde n’obukadde bw’abantu abalala. Nga ffenna tulina enkizo ya maanyi nnyo! Yakuwa ‘atubuulidde ekyama kye ekitukuvu.’ (Abeefeso 1:9) Ka tubuulire abalala ekyama kino nga tubayamba okutegeera amagezi ga Yakuwa Katonda agatakoma!
a ‘Ekyama ky’okwemalira ku Katonda,’ kyabikkulwa mu Yesu. (1 Timoseewo 3:16, NW) Okumala ekiseera kiwanvu, kyali tekinnamanyika obanga omuntu yenna yandisobodde okubeera omugolokofu eri Yakuwa. Yesu yabikkula eky’okuddamu. Mu kugezesebwa kwonna Setaani kwe yamuleetako, yasigala nga mugolokofu.—Matayo 4:1-11; 27:26-50.
b Era Yesu yakola ‘endagaano y’obwakabaka’ n’ekibiina kye kimu. (Lukka 22:29, 30) Kwe kugamba, Yesu yakola endagaano ‘n’akasibo ako akatono’ bafuge naye mu ggulu ng’ekitundu eky’okubiri eky’ezzadde lya Ibulayimu.—Lukka 12:32.