Engeri Katonda gy’Anaatuukirizaamu Ebigendererwa Bye
“[Katonda akola ebintu] byonna nga bw’ayagala mu kuteesa kwe.”—ABAEFESO 1:11.
1. Lwaki ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa byonna bijja kukuŋŋaana nga 12 mu mwezi gwa Apuli, 2006?
KU LWOKUSATU akawungeezi nga 12, mu mwezi gwa Apuli 2006, abantu ng’obukadde 16 mu nsi yonna bajja kukuŋŋaana okukwata eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Buli awanaabeera omukolo ogwo, wajja kubaawo emmeeza eriko omugaati ogutali muzimbulukuse, ogukiikirira omubiri gwa Kristo, n’envinnyo, ekiikirira omusaayi gwe ogwayiibwa ku lwaffe. Ng’emboozi ennyonnyola amakulu g’Ekijjukizo enaatera okuggwa, obubonero bujja kuyisibwa. Omugaati gwe gujja okusooka okuyisibwa, oluvannyuma n’enviinyo eyisibwe. Mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa byonna, wajja kubaawo abantu batono nnyo abajja okulya ku bubonero obwo. Lwaki abatono ennyo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu be bokka abajja okulya, ate abasinga obungi abalina essuubi ery’okubeera ku nsi baleme kulya?
2, 3. (a) Yakuwa atuukiriza atya ebigendererwa bye? (b) Yakuwa yalina kigendererwa ki mu kutonda ensi n’abantu?
2 Yakuwa ye Katonda ow’ebigendererwa. Mu kutuukiriza ebigendererwa bye, “[akola ebintu byonna] nga bw’ayagala mu kuteesa kwe.” (Abaefeso 1:11) Ng’ekyokulabirako, yasooka kutonda Mwana we omu yekka. (Yokaana 1:1, 14; Okubikkulirwa 3:14) Oluvannyuma yakozesa Omwana oyo okutonda bamalayika, ensi, n’abantu abagiriko.—Yobu 38:4, 7; Zabbuli 103:19-21; Yokaana 1:2, 3; Abakkolosaayi 1:15, 16.
3 Okwawukana ku ekyo amakanisa ga Kristendomu kye gayigiriza, Yakuwa bwe yatonda ensi teyalina kigendererwa kya kuteekamu bantu bagezesebwe, asobole okulaba obanga basaanira okugenda mu ggulu. Yagitonda ‘kutuulwamu.’ (Isaaya 45:18) Katonda bwe yatonda ensi yali ayagala abantu bagibeeremu era baginyumirwe. (Zabbuli 115:16) Yali ayagala ensi yonna efuulibwe ekifo ekirabika obulungi ennyo, ng’erimu abantu abatuukirivu abandigirimye era ne bagirabirira. Yakuwa teyasuubiza abantu ababiri abaasooka nti ekiseera kyandituuse ne bagenda mu ggulu.—Olubereberye 1:26-28; 2:7, 8, 15.
Ekigendererwa kya Yakuwa Kitaataaganyizibwa
4. Mu ngeri ki obufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna gye bwasoomoozebwa okuviira ddala ku ntandikwa y’olulyo lw’omuntu?
4 Omu ku baana ba Katonda ab’omwoyo teyakozesa bulungi ddembe lye eryamuweebwa. Yeewaggula era n’agezaako okulemesa ebigendererwa bya Yakuwa okutuukirizibwa. Mu kukola kino, yatabangula emirembe gy’abo abaagala obufuzi bwa Yakuwa. Setaani yaleetera abantu abaasooka okujeemera obufuzi bwa Katonda ne kibaviirako okufuna omwoyo gwa kyetwala. (Olubereberye 3:1-6) Setaani teyagamba nti Yakuwa talina maanyi, wabula bye yayogera byalaga nti engeri Katonda gy’afugamu abantu si ya bwenkanya. Bwe kityo, ensonga enkulu Setaani gye yaleetawo okuviira ddala ku ntandikwa y’olulyo lw’omuntu, yali ekwata ku bufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna.
5. Nsonga ki endala Setaani gye yaleetawo, era yali ezingiramu baani?
5 Mu biseera bya Yobu, Setaani alina ensonga endala gye yaleetawo erina akakwate n’ensonga enkulu ekwata ku bufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna. Alina bye yayogera ebyali biraga nti abantu baweereza Yakuwa lwa kuba balina bye bamufunako. Yalaga nti singa bagezesebwa tebasobola kusigala nga beesigwa eri Katonda. Bwe kityo yaleetawo okubuusabuusa obanga ddala abantu baweereza Yakuwa n’ekiruubirirwa ekituufu. (Yobu 1:7-11; 2:4, 5) Wadde ng’ebyo Setaani bye yayogera byali bikwata ku muweereza wa Yakuwa, Yobu, naye era byali bikwata ne ku baana ba Katonda ab’omwoyo nga mw’otwalidde n’Omwana we omu yekka, Yesu Kristo.
6. Yakuwa yanywerera atya ku bigendererwa bye n’amakulu g’erinnya lye?
6 Ng’ayagala okutuukiriza ebigendererwa bye n’okutuukana n’amakulu g’erinnya lye, Yakuwa yakola nga Nnabbi era ng’Omununuzi.a Yagamba Setaani nti: “Nange obulabe n’abuteekanga wakati wo n’omukazi, era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Olubereberye 3:15) Ng’ayitira mu zzadde ‘ly’omukazi’ oba entegeka ye ey’omu ggulu, Yakuwa yali ajja kugonjoola ensonga Setaani ze yaleetawo era bazzukulu ba Adamu bandifunye essuubi ery’obulamu obutaggwaawo.—Abaruumi 5:21; Abaggalatiya 4:26, 31.
“Ekyama ky’Okwagala Kwe”
7. Ng’ayitira mu mutume Pawulo kiki Yakuwa kye yamanyisa abantu?
7 Mu bbaluwa ye eri Abakristaayo b’omu Efeso, omutume Pawulo yannyonnyola bulungi engeri Yakuwa gy’atuukirizaamu ebigendererwa bye. Yawandiika nti: “Yatumanyisa ekyama ky’okwagala kwe, kye yali yategeka edda okutuukiriza mu Kristo. Entegeka ye gy’alituukiriza ng’ekiseera kyayo kituuse, kwe kugatta awamu mu Kristo ebintu byonna, ebiri mu ggulu n’ebiri ku nsi.” (Abaefeso 1:9, 10, Baibuli y’Oluganda eya 2003) Yakuwa alina ekigendererwa eky’okugatta awamu ebitonde byonna ebyagala okuba wansi w’obufuzi bwe. (Okubikkulirwa 4:11) Ekyo bw’anaakikola, erinnya lye lijja kutukuzibwa, kyeyoleke nti Setaani mulimba, era Katonda by’ayagala “bikolebwe mu nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.”—Matayo 6:10.
8. Ekigambo ekivvuunuddwa “entegeka” kirina makulu ki?
8 Ekyo Yakuwa kye “yasiima,” oba ekigendererwa kye, yandikituukirizza ng’ayitira mu ‘ntegeka’ ye. Wano ekigambo Pawulo kye yakozesa ekivuunuddwa “entegeka,” obutereevu kitegeeza “enteekateeka y’amaka.” Ekigambo ekyo kitegeeza engeri ebintu gye biddukanyizibwamu. Entegeka Yakuwa mwe yandiyitidde okutuukiriza ebigendererwa bye, yandibaddemu ‘ekyama’ kye yandigenze abikkulira abantu be.—Abaefeso 1:10; 3:9.
9. Yakuwa yabikkulira atya abantu be ekyama ekikwata ku kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bye?
9 Ng’ayitira mu ndagaano ez’enjawulo, Yakuwa yagenda abikkulira abantu be engeri gye yandituukirizzaamu ebigendererwa bye ebikwata ku Zzadde eryasuubizibwa lye yayogerako mu Adeni. Ng’ekyokulabirako, mu ndagaano gye yakola ne Ibulayimu, Yakuwa yalaga nti Ezzadde eryasuubizibwa lyandiyitidde mu lunyiriri lwa Ibulayimu era nti mu zzadde eryo “amawanga gonna ag’omu nsi” mwe gandiweereddwa omukisa. Ate era mu ndagaano eyo, Yakuwa yalaga nti wandibaddewo abantu abajja okufuga n’ezzadde eryo. (Olubereberye 22:17, 18) Ate mu ndagaano y’Amateeka gye yakola n’eggwanga lya Isiraeri, Yakuwa yalaga nti alina ekigendererwa eky’okussaawo “o[b]wakabaka bwa bakabona.” (Okuva 19:5, 6) Mu ndagaano gye yakola ne Dawudi, yalaga nti Ezzadde eryo lye lyandibadde Kabaka w’Obwakabaka ow’emirembe n’emirembe. (2 Samwiri 7:12, 13; Zabbuli 89:3, 4) Endagaano y’Amateeka bwe yamala okutuusa Abayudaaya ku Masiya, Yakuwa alina ebintu ebirala bye yabikkula ebyali bizingirwa mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bye. (Abaggalatiya 3:19, 24) Yakyoleka nti, abo abandifugidde awamu n’Ezzadde eryo be bandikoze “obwakabaka bwa bakabona” obwalagulwako era yandikoze nabo “endagaano empya” ne bafuuka eggwanga eppya, “Isiraeri” ow’omwoyo.—Yeremiya 31:31-34; Abaebbulaniya 8:7-9.b
10, 11. (a) Yakuwa yabikkulira atya abantu be ekyama ekikwata ku Zzadde eryasuubizibwa? (b) Lwaki Omwana wa Katonda omu yekka yajja ku nsi?
10 Nga kituukagana n’entegeka ya Katonda, ekiseera kyatuuka Ezzadde eryasuubizibwa ne lijja ku nsi. Yakuwa yatuma malayika Gabulyeri okubuulira Malyamu nti yali agenda kuzaala omwana ow’obulenzi eyandituumiddwa erinnya Yesu. Malayika oyo yagamba Malyamu nti: “Oyo aliba mukulu, aliyitibwa Mwana w’Oyo Ali waggulu ennyo. Era Mukama Katonda alimuwa entebe ya Dawudi jjajjaawe: era anaafuganga ennyumba ya Yakobo emirembe n’emirembe, so obwakabaka bwe tebuliggwaawo.” (Lukka 1:32, 33) Bwe kityo, Ezzadde eryasuubizibwa lyategeerekeka bulungi.—Abaggalatiya 3:16; 4:4.
11 Ate era, Omwana wa Yakuwa omu yekka yalina okujja ku nsi agezesebwe. Okusobola okulaga nti ebyo Setaani bye yayogera byali bya bulimba, kyandisinzidde ku ngeri Yesu gye yandyeyisizzaamu ng’ayolekaganye n’okugezesebwa. Ddala yandisobodde okusigala nga mwesigwa eri Kitaawe? Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kye kimu ku bintu ebyali bizingirwa mu kyama ekyali kigenda okubikkulwa. Oluvannyuma omutume Pawulo yayogera ku ebyo ebyatuuka ku Yesu ng’agamba nti: “Era awatali kubuusabuusa ekyama eky’okutya Katonda kye kikulu; oyo eyalabisibwa mu mubiri, n’aweebwa obutuukirivu mu mwoyo, n’alabibwa bamalayika, n’abuulirwa mu mawanga, n’akkirizibwa mu nsi, n’atwalibwa mu kitiibwa.” (1 Timoseewo 3:16) Yee, Yesu bwe yakuuma obugolokofu okutuusa okufa, kyalaga nti ebyo Setaani bye yali ayogedde byali bya bulimba. Kyokka, waliwo n’ekintu ekirala ekizingirwa mu kyama ekikusike ekyali kitannabikkulwa.
“Ekyama eky’Obwakabaka bwa Katonda”
12, 13. (a) Ekimu ku ebyo ebizingirwa mu “bigambo eby’ekyama eby’obwakabaka bwa Katonda” kye kiruwa? (b) Kiki Yakuwa ky’akola ku abo b’alonda okugenda mu ggulu?
12 Lumu Yesu bwe yali abuulira mu Ggaliraaya, yalaga nti ekyama ekikusike kyalina akakwate n’Obwakabaka bwa Masiya. Yagamba abayigirizwa be nti: “Mmwe muweereddwa okumanya ebigambo eby’ekyama eby’obwakabaka obw’omu ggulu [‘obwakabaka bwa Katonda,’ Makko 4:11].” (Matayo 13:11) Ekimu ku ebyo ebyali bizingirwa mu bigambo eby’ekyama kwe kuba nti Yakuwa yandironze “ekisibo ekitono,” nga bano be bantu 144,000 abandibadde ekitundu ky’ezzadde eryasuubizibwa, bafugire wamu n’Omwana we mu ggulu.—Lukka 12:32; Okubikkulirwa 14:1, 4.
13 Okuva bwe kiri nti abantu baatondebwa kubeera ku nsi, Yakuwa yalina kusooka kubafuula ‘bitonde biggya,’ balyoke basobole okugenda mu ggulu. (2 Abakkolinso 5:17) Ng’omu ku abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu, omutume Peetero yawandiika bw’ati: “Yeebazibwe Katonda era kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, eyatuzaala omulundi ogw’okubiri ng’okusaasira kwe okungi bwe kuli, tubeerenga n’essuubi eddamu, olw’okuzuukira kwa Yesu Kristo mu bafu, tuyingire mu busika obutaggwaawo, obutalina kko, obutawotoka, obwabaterekerwa mmwe mu ggulu.”—1 Peetero 1:3, 4.
14. (a) Mu ngeri ki abo abatali Bayudaaya gye bazingirwa mu ‘kyama eky’Obwakabaka bwa Katonda’? (b) Lwaki ffe tusobola okutegeera ‘ebitategeerekeka ebya Katonda’?
14 Ekintu ekirala ekizingirwa mu kyama ky’Obwakabaka obwali bugenda okujja, kwe kuba nti Katonda yali agenda kulonda abantu abataali Bayudaaya bafugire wamu ne Kristo mu ggulu. Pawulo yannyonnyola ensonga eyo ekwata ku ‘ntegeka’ ya Yakuwa oba engeri gy’atuukirizaamu ebigendererwa bye ng’agamba nti: “Ekitaategeezebwa mu mirembe egy’edda abaana b’abantu, nga kaakano bwe kibikkuliddwa abatume be abatukuvu ne bannabbi mu Mwoyo; ab’amawanga okubeera abasikira awamu, era ab’omubiri ogumu, era abassa ekimu ekyasuubizibwa mu Kristo Yesu olw’enjiri.” (Abaefeso 3:5, 6) Yakuwa yasobozesa ‘abatume abatukuvu’ okutegeera ebimu ku bikwata ku kyama ekyo. Mu ngeri y’emu leero, naffe omwoyo omutukuvu gwe gutuyamba okutegeera obulungi ‘ebitategeerekeka ebya Katonda.’—1 Abakkolinso 2:10; 4:1; Abakkolosaayi 1:26, 27.
15, 16. Lwaki abo abanaafugira awamu ne Kristo Yakuwa yabalonda kuva mu nsi?
15 Abantu “akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya” abaalabibwa nga bali wamu ‘n’Omwana gw’endiga’ ku lusozi Sayuuni olw’omu ggulu, kigambibwa nti “baagulibwa mu nsi,” era nti “baagulibwa mu bantu okuba ebibala eby’olubereberye eri Katonda n’eri Omwana gw’endiga,” Yesu Kristo. (Okubikkulirwa 14:1-4) Yakuwa yalonda omwana we gwe yasooka okutonda okuba ezzadde eryayogerwako mu Edeni. Naye ate lwaki abo abagenda okufugira awamu ne Kristo yabalonda mu nsi? Omutume Pawulo agamba nti, abantu abo ‘baayitibwa ng’okuteesa kwa Yakuwa bwe kuli’ era “nga bwe yasiima olw’okwagala kwe.”—Abaruumi 8:17, 28-30; Abaefeso 1:5, 11; 2 Timoseewo 1:9.
16 Yakuwa yalina ekigendererwa eky’okutukuza erinnya lye n’okulaga nti y’agwanidde okufuga obutonde bwonna. Ng’ayitira mu ‘ntegeka’ ye oba engeri gy’atuukirizaamu ebigendererwa bye, Yakuwa yatuma Omwana we omu yekka ku nsi, eyagezesebwa okutuukira ddala ku kufa. Ate era, Yakuwa yasalawo nti wabeewo abantu abandifugidde awamu n’Omwana we mu Bwakabaka bwa Masiya. Abantu bano nabo bandiwagidde obufuzi bwe okutuusa okufa.—Abaefeso 1:8-12; Okubikkulirwa 2:10, 11.
17. Lwaki kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Kristo n’abo b’anaafuga nabo baali babaddeko ku nsi?
17 Yakuwa yalaga bazzukulu ba Adamu okwagala ng’atuma Omwana we ku nsi ate era ng’awa abantu abamu enkizo ey’okufugira awamu n’Omwana we mu Bwakabaka. Kino kyandiganyudde kitya abo ababadde abeesigwa eri Yakuwa gamba nga Abeeri n’abalala? Olw’okuba abantu baasikira ekibi n’okufa, beetaaga okuwonyezebwa mu by’omubiri ne mu by’omwoyo basobole okuddamu okuba abatuukirivu ng’ekigendererwa kya Yakuwa ekyasooka eri abantu bwe kyali. (Abaruumi 5:12) Abo bonna abeesunga okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi kibazzaamu amaanyi okukimanya nti Kabaka waabwe ajja kubalaga okwagala n’ekisa nga bwe yakola eri abayigirizwa be ng’akyali ku nsi. (Matayo 11:28, 29; Abaebbulaniya 2:17, 18; 4:15; 7:25, 26) Ate era kibazzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti abo abanaafugira awamu ne Kristo mu ggulu baayita mu bizibu bye bimu ng’ebyo bye boolekagana nabyo!—Abaruumi 7:21-25.
Ekigendererwa kya Yakuwa Kijja Kutuukirizibwa
18, 19. Kiki ky’oyize mu bigambo bya Pawulo ebiri mu Abaefeso 1:8-11, era kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
18 Okusinziira ku bye tulabye, kati tusobola bulungi okutegeera ebigambo Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta ebisangibwa mu Abaefeso 1:8-11. Yabagamba nti Yakuwa yabategeeza “ekyama eky’okwagala kwe,” nti baali balondeddwa ‘okuba abasika’ wamu ne Kristo, era nti baali ‘baayawulibwawo dda mu kumalirira kw’oyo akoza byonna nga bw’ayagala mu kuteesa kwe.’ Kati tukitegeera bulungi nti ebyo byonna bikwatagana ‘n’entegeka’ ya Yakuwa ey’okutuukiriza ebigendererwa bye. Ate era kino kituyamba okutegeera ensonga lwaki batono nnyo be balya ku bubonero ku mukolo ogw’okujjukira okufa kwa Mukama waffe.
19 Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba ensonga lwaki Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo kikulu nnyo eri Abakristaayo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu. Ate era tujja kulaba n’ensonga lwaki obukadde n’obukadde bw’abantu abalina essuubi ery’okubeera ku nsi bandifuddeyo nnyo okumanya amakulu g’Ekijjukizo.
[Obugambo obuli wansi]
a Erinnya lya Katonda bwe livvuunulwa obutereevu litegeeza nti “Asobozesa Ebintu Okubaawo.” Yakuwa asobola okufuuka kyonna ky’ayagala okutuukiriza ebigendererwa bye.—Okuva 3:14.
b Okusobola okumanya ebisingawo ku ndagaano Yakuwa ze yakola okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye, laba The Watchtower aka Febwali 1, 1989, empapula 10-15.
Okwejjukanya
• Lwaki Yakuwa yatonda ensi n’agiteekamu abantu?
• Lwaki kyali kyetaagisa Omwana wa Katonda omu yekka okujja ku nsi agezesebwe?
• Lwaki Yakuwa yawa abantu abamu enkizo ey’okufugira awamu ne Kristo?