ESSUULA 2
Oyinza Otya Okuba n’Omuntu ow’Omunda Omulungi?
“Mubeerenga n’omuntu ow’omunda omulungi.”—1 PEETERO 3:16.
1, 2. Lwaki kikulu omuntu okuba ne tooki ng’atambula ekiro era eyinza etya okugeraageranyizibwa ku muntu ow’omunda?
KUBA akafaananyi ng’obudde buzibye. Okyali mu kkubo otambula era tonnatuuka gy’olaga. Kiki ekinaakuyamba okulaba gy’ogenda n’oteekona oba n’otatuukibwako kabi konna. Weetaaga tooki okumulisa ekkubo ly’otambuliramu osobole okutuuka emirembe gy’olaga.
2 Bw’otaba na tooki, tosobola kulaba gy’ogenda, oyinza okugwa oba ekintu ekibi kiyinza okukutuukako. Tooki emulisa ekkubo ly’otambuliramu era ekyo kiyinza okuwonya obulamu bwo. Mu ngeri emu, tooki eyinza okugeraageranyizibwa ku kirabo eky’omuwendo Yakuwa kye yatuwa, kwe kugamba, omuntu ow’omunda. (Yakobo 1:17) Singa tetwalina muntu ow’omunda, tetwandibadde na bulagirizi bwonna. Bwe tukozesa obulungi omuntu waffe ow’omunda, asobola okutuyamba okumanya ekkubo ettuufu era n’okulitambuliramu. N’olwekyo, ka tulabe engeri Bayibuli gy’ennyonnyolamu omuntu ow’omunda n’engeri gy’akolamu. Oluvannyuma tujja kwekenneenya ensonga zino: (1) Engeri omuntu ow’omunda gy’ayinza okutendekebwamu, (2) ensonga lwaki tulina okufaayo ku muntu w’omunda ow’abalala, (3) n’engeri omuntu ow’omunda omulungi gy’asobola okutuganyula.
OMUNTU OW’OMUNDA KYE KI?
3. Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “omuntu ow’omunda” kitegeeza ki, era kiraga nti omuntu alina busobozi ki obw’enjawulo?
3 Mu Bayibuli, ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “omuntu ow’omunda” kitegeeza “okumanya ekyo ky’oli.” Okwawukana ku bitonde ebirala ebiri ku nsi, ffe Katonda yatuwa obusobozi obw’okumanya ekyo kye tuli. Mu ngeri ey’akabonero, tusobola okwekebera era ne tulaba obanga empisa zaffe nnungi. Olw’okuba omuntu waffe ow’omunda akola ng’omujulizi oba omulamuzi, asobola okukebera enneeyisa yaffe, endowooza zaffe, awamu n’ebyo bye tusalawo. Asobola okutuyamba okusalawo obulungi oba n’atulabula ne tutasalawo bubi. Ate era ayinza okutuleetera okuwulira obulungi nga tusazeewo mu ngeri ey’amagezi oba okutulumiriza nga tusazeewo bubi.
4, 5. (a) Tumanya tutya nti Adamu ne Kaawa baalina omuntu ow’omunda, era kiki ekyavaamu bwe baamenya etteeka lya Katonda? (b) Byakulabirako ki ebiraga nti abasajja abeesigwa abaaliwo ng’Obukristaayo tebunnatandika baawulirizanga omuntu waabwe ow’omunda?
4 Omusajja n’omukazi abaasooka, Adamu ne Kaawa, baatondebwa nga balina omuntu ow’omunda. Kino kirabikira ku ngeri gye baakwatibwamu ensonyi nga bamaze okwonoona. (Olubereberye 3:7, 8) Eky’ennaku, omuntu waabwe ow’omunda mu kiseera ekyo yali takyasobola kubayamba. Baali bamenye etteeka lya Katonda mu bugenderevu. Mu ngeri eyo, baasalawo okufuuka bakyewaggula, abalabe ba Yakuwa Katonda. Olw’okuba baali batuukiridde, baali bamanyi bulungi ekyo kye baali bakola, era baali tebakyasobola kudda eri Katonda.
5 Okwawukana ku Adamu ne Kaawa, abantu bangi abatatuukiridde bawulirizza omuntu waabwe ow’omunda. Ng’ekyokulabirako, omusajja omwesigwa Yobu yagamba nti: “Nja kukuuma obutuukirivu bwange era siribuleka; omutima gwange tegujja kunvunaana obulamu bwange bwonna.”a (Yobu 27:6) Mazima ddala Yobu yagobereranga obulagirizi bw’omuntu we ow’omunda mu byonna bye yakolanga. Eyo ye nsonga lwaki yagamba nti omuntu we ow’omunda yali tamulumiriza. Ku luuyi olulala, Dawudi bwe yalemererwa okussa ekitiibwa mu Sawulo, kabaka Yakuwa gwe yali afuseeko amafuta, ‘oluvannyuma Dawudi omutima gwamulumiriza.’ (1 Samwiri 24:5) Dawudi yaganyulwa nnyo bwe yalumirizibwa omuntu we ow’omunda era ekyo kyamuyamba okwewala okuddamu okukola ekikolwa ng’ekyo.
6. Kiki ekiraga nti omuntu ow’omunda kirabo ekyaweebwa abantu bonna?
6 Abaweereza ba Yakuwa be bokka abalina ekirabo kino eky’omuntu ow’omunda? Weetegereze ebigambo bino eby’omutume Pawulo: “Ab’amawanga abatalina mateeka bwe bakola ebintu ebiri mu mateeka, abantu abo, wadde nga tebalina mateeka, bo bennyini beebeerera mateeka. Era balaga nti ebiri mu mateeka biwandiikiddwa mu mitima gyabwe, ng’omuntu waabwe ow’omunda awa nabo obujulirwa era nga mu birowoozo byabwe bavunaanibwa omusango oba bejjeerezebwa.” (Abaruumi 2:14, 15) Oluusi omuntu ow’omunda ow’abo abatamanyiddeeko ddala mateeka ga Yakuwa ayinza okubaleetera okukolera mu mateeka ga Katonda.
7. Lwaki oluusi omuntu waffe ow’omunda aba mukyamu?
7 Wadde kiri kityo, ebiseera ebimu omuntu waffe ow’omunda aba mukyamu. Lwaki? Lowooza ku kyokulabirako ekya tooki. Amanda gaayo bwe gakendeera amaanyi eba tekyasobola kumulisa kkubo ly’otambuliramu. Ekintu kye kimu kiyinza okutuuka ku muntu waffe ow’omunda singa tetusoma Kigambo kya Katonda. Tuyinza obutasobola kwawulawo ekituufu n’ekikyamu. Mu ngeri y’emu singa tutwalirizibwa ebyo emitima gyaffe bye gyegomba, omuntu waffe ow’omunda ayinza okutuwabya. Mu butuufu, omuntu waffe ow’omunda okusobola okukola obulungi, twetaaga obulagirizi bw’omwoyo gwa Yakuwa. Pawulo yagamba nti: “Omuntu wange ow’omunda awa obujulirwa okuyitira mu mwoyo omutukuvu.” (Abaruumi 9:1) Kati olwo tuyinza tutya okukakasa nti omuntu waffe ow’omunda atuukana n’obulagirizi bw’omwoyo gwa Yakuwa? Twetaaga okumutendeka.
ENGERI OMUNTU OW’OMUNDA GY’AYINZA OKUTENDEKEBWAMU
8. (a) Omutima gwaffe guyinza gutya okuwabya omuntu waffe ow’omunda, era kiki kye tusaanidde okulowoozaako ennyo nga tulina bye tusalawo? (b) Lwaki Omukristaayo teyandimaze gagoberera omuntu we ow’omunda olw’okuba tamulumiriza? (Laba obugambo obutono obuli wansi.)
8 Oyinza otya okusalawo ng’osinziira ku muntu wo ow’omunda? Kirabika abamu basalawo nga basinziira ku nneewulira zaabwe. Bayinza okugamba nti: “Nze omuntu wange ow’omunda tannumiriza.” Okwegomba kw’omu mitima gyaffe kusobola okuba okw’amaanyi ennyo ne kiviirako omuntu waffe ow’omunda okuwaba. Bayibuli egamba nti: “Omutima mukuusa okusinga ekintu ekirala kyonna era gwa kabi nnyo. Ani ayinza okugumanya?” (Yeremiya 17:9) N’olwekyo, ebyo omutima gwaffe bye gwegomba si bye tusaanidde okutwala ng’ebisingayo obukulu wabula, tusaanidde okusooka okulowooza ku ekyo ekinaasanyusa Yakuwa Katonda.b
9. Okutya Katonda kye ki, era kuyinza kukola ki ku muntu waffe ow’omunda?
9 Bwe tunaasalawo nga tusinziira ku muntu waffe ow’omunda atendekeddwa obulungi, kijja kulaga nti tutya Katonda era nti tetukola ebyo ffe bye twagala. Lowooza ku kyokulabirako kino. Nekkemiya eyali gavana omwesigwa yalina eddembe okusolooza omusolo ku bantu b’omu Yerusaalemi, naye ekyo teyakikola. Lwaki? Teyayagala kunyigiriza bantu kubanga kino kyandinyiizizza Yakuwa. Yagamba nti: “Saakola bwe ntyo olw’okuba ntya Katonda.” (Nekkemiya 5:15) Okutya Katonda, kwe kutya okunyiiza Kitaffe ow’omu ggulu. Okutya okw’engeri eyo kujja kutuleetera okunoonya obulagirizi mu Kigambo kye nga tulina bye twagala okusalawo.
10, 11. Misingi ki egya Bayibuli egikwata ku kunywa omwenge, era tuyinza tutya okufuna obulagirizi bwa Katonda obunaatuyamba okugissa mu nkola?
10 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku nsonga y’okunywa omwenge. Bangi ku ffe bwe tuba ku bubaga tulina okusalawo obanga tunaanywa omwenge oba nedda. Okusookera ddala, twetaaga okutegeera ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eyo. Misingi ki egiri mu Bayibuli egikwata ku nsonga eyo? Bayibuli tevumirira kunywa mwenge ogw’ekigero. Etendereza Yakuwa olw’okutuwa omwenge ogutusanyusa. (Zabbuli 104:14, 15) Wadde kiri kityo, Bayibuli evumirira ebinyumu n’okwekamirira omwenge. (Lukka 21:34; Abaruumi 13:13) Ate era obutamiivu Bayibuli ebussa mu kiti kimu n’ebibi eby’amaanyi, gamba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu.c—1 Abakkolinso 6:9, 10.
11 Emisingi ng’egyo gye giyamba Omukristaayo okutendeka omuntu we ow’omunda. N’olwekyo, bwe tuba tusalawo oba nga tunaanywa omwenge oba tetunywe ku kabaga ke tuteekateeka okugendako, tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Kabaga ka ngeri ki akategekeddwa? Kyandiba nti abantu abanaaba ku kabaga ako bayinza okulemererwa okwefuga? Ndi ntya ku nsonga y’okunywa omwenge? Njagala nnyo okunywa omwenge era bwe sigunywa mpulira nga siri bulungi? Nsobola okwefuga ne sinywa mwenge mungi?’ Bwe tufumiitiriza ku misingi egiri mu Bayibuli ne ku bibuuzo ebiyinza okujjawo, kiba kirungi ne tusaba Yakuwa atuwe obulagirizi. (Soma Zabbuli 139:23, 24.) Mu ngeri eyo, tuba tutendeka omuntu waffe ow’omunda asobole okutuukana n’emisingi gya Katonda. Kyokka waliwo n’ensonga endala erina okulowoozebwako ennyo bwe tuba tulina bye tusalawo.
LWAKI TWANDIFUDDEYO KU MUNTU W’OMUNDA OW’ABALALA?
12, 13. Ezimu ku nsonga ezireetera Abakristaayo okuba n’endowooza ez’enjawulo ze ziruwa, era ekyo twandikitutte tutya?
12 Oluusi kiyinza okukwewuunyisa okulaba engeri omuntu ow’omunda ow’Omukristaayo omu gy’ayawukana ku w’omulala. Omuntu omu ayinza okulaba ng’enneeyisa emu tesaanira, ate omulala n’alaba ng’esaanira. Ng’ekyokulabirako, omuntu omu ayinza okuba ng’anyumirwa okunywa omwenge ne mikwano gye mu biseera eby’akawungeezi, ate ng’omulala ekyo kimwesittaza. Lwaki tuba n’endowooza ng’ezo ez’enjawulo era ekyo kikwata kitya ku ebyo bye tusalawo?
13 Waliwo ensonga eziwerako ezireetera abantu okuba n’endowooza ez’enjawulo. Abantu bayise mu mbeera za njawulo. Ng’ekyokulabirako, abamu emabega bayinza okuba nga baakisanga nga kizibu nnyo okuvvuunuka obunafu bwe baalina. (1 Bassekabaka 8:38, 39) Bwe kituuka ku kunywa omwenge, abantu ng’abo bayinza okuwulira nti balina okuba abeegendereza ennyo. Singa omuntu ng’oyo akukyalira, omuntu we ow’omunda ayinza obutamuganya kunywako ku mwenge. Ekyo kinaakuyisa bubi? Onoomuwaliriza okugunywa? Nedda. K’obe ng’omanyi ensonga emugaanye okunywa oba nga togimanyi, okwagala kw’olina eri omuntu oyo kujja kukuleetera obutamuwaliriza kunywa mwenge.
14, 15. Nsonga ki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka gye baalinako endowooza ez’enjawulo, era kiki Pawulo kye yagamba?
14 Omutume Pawulo yakiraba nti endowooza z’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka zaali zaawukana. Mu kiseera ekyo, Abakristaayo abamu beesittalanga olw’emmere eyaweebwangayo eri ebifaananyi. (1 Abakkolinso 10:25) Omuntu ow’omunda owa Pawulo yali tamugaana kulya mmere ng’eyo eyatundibwanga mu butale. Ebifaananyi yali abitwala ng’ekintu ekitaliimu nsa; si bye byatonda emmere wabula Yakuwa ye yagitonda era yiye. Kyokka Pawulo yali akimanyi nti abalala baalina endowooza ya njawulo ku nsonga eno. Kiyinzika okuba ng’abamu baasinzanga ebifaananyi nga tebannafuuka Bakristaayo, era ng’ekintu kyonna ekyekuusa ku kusinza ebifaananyi bakitwala okuba ekibi. Ekizibu kino kyagonjoolebwa kitya?
15 Pawulo yagamba nti: “Ffe ab’amaanyi tusaanidde okwetikka obunafu bw’abo abatali ba maanyi, n’obuteesanyusa ffekka. Kubanga ne Kristo teyeesanyusanga yekka.” (Abaruumi 15:1, 3) Pawulo yagamba nti tusaanidde okukoppa Kristo nga tukulembeza ebyo baganda baffe bye baagala so si ffe bye twagala. Ku nsonga efaananako n’eno, Pawulo yagamba nti waakiri taalyenga nnyama aleme okwesittaza muganda we Kristo gwe yafiirira.—Soma 1 Abakkolinso 8:13; 10:23, 24, 31-33.
16. Lwaki abo abalina omuntu ow’omunda abakugira ennyo tebasaanidde kusalira musango abo abalina omuntu ow’omunda ayawukana ku waabwe?
16 Ku luuyi olulala, abo abalina omuntu ow’omunda abakugira ennyo tebasaanidde kuvumirira balala, nga bagamba nti abalala basaanidde okuba n’endowooza ng’eyaabwe. (Soma Abaruumi 14:10.) Mu butuufu, tusaanidde okukozesa omuntu waffe ow’omunda okwekebera so si kusalira balala musango. Jjukira ebigambo bya Yesu bino: “Mulekere awo okusalira abalala omusango nammwe muleme kusalirwa musango.” (Matayo 7:1) Ffenna tusaanidde okwewala okuwakana ku nsonga ezeetaagisa buli omu okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda. Mu kifo ky’ekyo, twandifubye okuzimbagana n’okukulaakulanya okwagala n’obumu mu kibiina, so si okumalamu abalala amaanyi.—Abaruumi 14:19.
EMIGANYULO EGIRI MU KUBA N’OMUNTU OW’OMUNDA OMULUNGI
17. Kiki ekituuse ku muntu ow’omunda ow’abantu bangi leero?
17 Omutume Peetero yagamba nti: “Mubeerenga n’omuntu ow’omunda omulungi.” (1 Peetero 3:16) Omuntu ow’omunda omuyonjo mu maaso ga Yakuwa Katonda kirabo kya muwendo nnyo. Talinga omuntu ow’omunda abangi leero gwe balina. Pawulo yayogera ku abo “abalina omuntu ow’omunda alinga enkovu ey’oku mubiri ogwayokebwa ekyuma.” (1 Timoseewo 4:2) Ekyuma ekyokya bwe kiteekebwa ku mubiri kigwokya ne wajjawo enkovu etasobola kuwulira bulumi bwonna. Bangi balina omuntu ow’omunda omufu—alinga enkovu etawulira bulumi ne kiba nti takyasobola kubalabula, kubawakanya, oba okubalumiriza nga balina ekibi kye bakoze. Bangi leero kibasanyusa okuba n’omuntu ow’omunda ow’engeri eyo.
18, 19. (a) Miganyulo ki egiri mu kulumirizibwa omuntu ow’omunda? (b) Kiki kye tuyinza okukola singa omuntu waffe ow’omunda yeeyongera okutulumiriza olw’ebibi bye twakola emabega kyokka ne tubyenenya?
18 Ekituufu kiri nti omuntu waffe ow’omunda bw’atulumiriza, aba atutegeeza nti waliwo ekikyamu kye tukoze. Enneewulira ng’eyo bw’ereetera omwonoonyi okwenenya, ayinza n’okusonyiyibwa ebibi eby’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Dawudi bwe yakola ekibi eky’amaanyi, yasonyiyibwa olw’okuba yeenenya mu bwesimbu. Okunakuwalira ekibi kye yali akoze era n’okuba omumalirivu obutaddamu kumenya mateeka ga Yakuwa kyamuyamba okukitegeera nti Yakuwa ‘mulungi era mwetegefu okusonyiwa.’ (Zabbuli 51:1-19; 86:5) Watya singa omuntu waffe ow’omunda yeeyongera okutulumiriza wadde nga twenenya era ne tusonyiyibwa?
19 Oluusi omuntu waffe ow’omunda ayinza okweyongera okutulumiriza wadde nga twenenya. Mu mbeera ng’ezo, kiyinza okutwetaagisa okukakasa omutima gwaffe ogutulumiriza nti Yakuwa asingira wala enneewulira zaffe zonna. Tusaanidde okukimanya nti Yakuwa atwagala era asonyiwa, era ne tuyamba n’abalala okutegeera ensonga eyo. (Soma 1 Yokaana 3:19, 20.) Ku luuyi olulala, bwe tuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo, kituleetera okuwulira emirembe mu mutima awamu n’essanyu eritasangikasangika mu nsi eno. Bangi abaakola ebibi eby’amaanyi bafunye emirembe n’essanyu, era kati baweereza Yakuwa Katonda nga balina omuntu ow’omunda omulungi.—1 Abakkolinso 6:11.
20, 21. (a) Akatabo kano kanaakuyamba katya? (b) Ddembe ki Abakristaayo lye tulina, era tusaanidde kulikozesa tutya?
20 Akatabo kano kajja kukuyamba okufuna essanyu ng’eryo era n’okuba n’omuntu ow’omunda omulungi mu nnaku zino embi ez’enkomerero y’ensi ya Sitaani. Kya lwatu tekoogera ku mateeka gonna n’emisingi egiri mu Bayibuli gye weetaaga okulowoozaako n’okussa mu nkola. Ate era, tetusuubira kuweebwa kalonda yenna ku mbeera zonna ezitwetaagisa okukozesa omuntu waffe ow’omunda. Ekigendererwa ky’akatabo kano kwe kukuyamba okutendeka omuntu wo ow’omunda ng’oyiga engeri gy’oyinza okukolera ku Kigambo kya Katonda buli lunaku. Obutafaananako Mateeka agaaweebwa Musa, “etteeka lya Kristo” likubiriza abo abaligoberera okukolera ku bulagirizi bw’omuntu waabwe ow’omunda ne ku misingi egiri mu Kigambo kya Katonda, mu kifo ky’okukolera ku mateeka. (Abaggalatiya 6:2) Bwe kityo, Yakuwa awa Abakristaayo eddembe lya maanyi nnyo. Wadde kiri kityo, Ekigambo kye kitukubiriza obutakozesa ddembe eryo “ng’ekyekwaso okukola ebintu ebibi.” (1 Peetero 2:16) Wabula, twandirikozesezza okwoleka okwagala kwe tulina eri Yakuwa.
21 Bw’onoofuba okukolera ku misingi egiri mu Bayibuli, ojja kweyongera okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, era ‘obusobozi bwo obw’okutegeera’ bujja kutendekebwa ‘ng’obukozesa.’ (Abebbulaniya 5:14) Omuntu wo ow’omunda atendekeddwa Bayibuli ajja kukuganyula nnyo buli lunaku. Okufaananako tooki eyinza okumulisa mu kkubo ly’otambuliramu, n’omuntu wo ow’omunda ajja kukuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Kitaawo ow’omu ggulu. Kino kye kijja okukusobozesa okusigala mu kwagala kwa Katonda.
a Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya temuliimu kigambo “omuntu ow’omunda.” Kyokka, eky’okulabirako kino, kiraga nti abaweereza ba Katonda ab’edda baawulirizanga omuntu waabwe ow’omunda. Okutwalira awamu, ekigambo “omutima” kye kikozesebwa okutegeeza omuntu ow’omunda. Mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, ekigambo ekivvuunulwa “omuntu ow’omunda” kirabika emirundi nga 30.
b Bayibuli eraga nti okuba n’omuntu ow’omunda atatulumiriza tekimala. Ng’ekyokulabirako, Pawulo yagamba nti: “Simanyiiyo kintu kyonna kinvunaanibwa. Kyokka ekyo tekitegeeza nti ndi mutuukirivu; ansalira omusango ye Yakuwa.” (1 Abakkolinso 4:4) Omuntu ow’omunda ow’abo abayigganya Abakristaayo, nga Pawulo bwe yakola, ayinza okuba tabalumiriza olw’okuba balowooza nti ekyo kye bakola kisanyusa Katonda. N’olwekyo, ng’oggyeko obutatulumiriza omuntu ow’omunda omulungi alina okuba nga muyonjo mu maaso ga Katonda.—Ebikolwa 23:1; 2 Timoseewo 1:3.
c Abasawo bangi bagamba nti si kyangu abanywi lujuuju okunywa omwenge “ogw’ekigero.” Abantu ng’abo bwe banywa omwenge ogw’ekigero baba ng’abatanywereddeeko ddala.