Abakadde n’Abaweereza Muyigire ku Timoseewo
OMWAKA oguwedde, abasajja bangi nnyo mu kibiina kya Yakuwa baalondebwa okuweereza ng’abakadde n’abaweereza. Bw’oba oli omu ku abo abaalondebwa oteekwa okuba ng’osiima nnyo enkizo eyo eyakuweebwa.
Kyokka era ekyo kiyinza okuba nga kyakuleetamu okweraliikirira. Omukadde omu ayitibwa Jason, agamba nti, “Bwe nnali nnaakalondebwa okuba omukadde, nnawulira ng’obuvunaanyizibwa obwo bumpitiriddeko.” Musa ne Yeremiya nabo baawulira nga tebasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa Yakuwa bwe yali abawadde. (Kuv. 4:10; Yer. 1:6) Bw’oba nga naawe bw’otyo bw’owulira, kiki ekiyinza okukuyamba okuggwaamu okutya weeyongere okuweereza? Lowooza ku Timoseewo.—Bik. 16:1-3.
KOPPA TIMOSEEWO
Timoseewo ayinza okuba nga yali anaatera okuweza emyaka 20 oba nga yaakagiyingira Pawulo we yamulondera okutambulanga naye. Olw’okuba Timoseewo yali akyali muto, ayinza okuba nga mu kusooka yali yeetya era nga takakasa obanga yandisobodde okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo obwali bumuweereddwa. (1 Tim. 4:11, 12; 2 Tim. 1:1, 2, 7) Wadde kyali kityo, nga wayise emyaka nga kkumi, Pawulo yagamba ab’omu kibiina ky’e Firipi nti: “Nsuubira mu Mukama waffe Yesu okubatumira amangu Timoseewo . . . Kubanga sirina mulala alina ndowooza ng’eyiye.”—Baf. 2:19, 20.
Kiki ekyaleetera Timoseewo okuba omukadde omulungi bw’atyo? Weetegereze ebintu mukaaga by’osobola okumuyigirako.
1. Yali afaayo ku bantu. Pawulo yagamba ab’oluganda mu Firipi nti: “[Timoseewo] ajja okubafaako mu bwesimbu.” (Baf. 2:20) Mu butuufu Timoseewo yali afaayo nnyo ku bantu. Yali ayagala babeere n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, era yakola butaweera okubayamba.
Weewale okuba ng’omuvuzi wa bbaasi asinga okufaayo ku kutuuka mu budde ku buli siteegi w’alina okusimba mu kifo ky’okufaayo ku kutikka abasaabaze. Ow’oluganda ayitibwa William eyaakamala emyaka 20 ng’aweereza ng’omukadde awa amagezi gano abo abaakalondebwa okuba abakadde oba abaweereza mu kibiina: “Mwagale ab’oluganda. Okusingira ddala mufeeyo ku byetaago byabwe mu kifo ky’okussa essira ku ngeri ebintu gye birina okuddukanyizibwamu.”
2. Yakulembezanga ebintu eby’omwoyo. Ng’alaga enjawulo eyaliwo wakati wa Timoseewo n’abalala, Pawulo yagamba nti: “Abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe so si bya Yesu Kristo.” (Baf. 2:21) Ebbaluwa y’Abafiripi omuli ebigambo ebyo Pawulo yagiwandiika ali mu Rooma. Yakiraba nti ab’oluganda mu Rooma baali beemalidde ku bintu ebyabwe ku bwabwe. Baali beesaasira nga si banyiikivu mu bintu eby’omwoyo. Naye Timoseewo teyali bw’atyo. Akakisa bwe kajjawo ak’okwongera okugaziya omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi, Timoseewo yalina endowooza ng’eya Isaaya eyagamba nti: “Nzuuno! Ntuma!”—Is. 6:8.
Oyinza otya okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo obw’eby’omwoyo, ate n’okola n’ebintu ebibyo ku bubwo nga togudde lubege? Okusookera ddala, kulembeza ebisinga obukulu. Pawulo yagamba nti: ‘Mumanye ebintu ebisinga obukulu.’ (Baf. 1:10) Kulembeza ebintu eby’omwoyo. Eky’okubiri, weggyeeko ebintu ebyonoona ebiseera n’amaanyi. Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Ddukanga okwegomba okw’omu buvubuka, naye luubiriranga obutuukirivu, okukkiriza, okwagala, emirembe.”—2 Tim. 2:22.
3. Yakola nnyo mu buweereza obutukuvu. Pawulo yagamba Abafiripi nti: “Mumanyi engeri [Timoseewo] gye yalagamu nti agwanidde; okufaananako omwana ne kitaawe, yakolera wamu nange okubunyisa amawulire amalungi.” (Baf. 2:22) Timoseewo teyali mugayaavu. Yakoleranga wamu ne Pawulo era kino kyayongera okunyweza enkolagana yaabwe.
Ekibiina kya Yakuwa kirimu emirimu mingi leero. Emirimu egyo gireeta essanyu era gisobola okukuyamba okweyongera okunyweza enkolagana yo ne bakkiriza banno. N’olwekyo, kifuule kiruubirirwa kyo okuba “n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe.”—1 Kol. 15:58.
4. Yakoleranga ku bye yali ayiga. Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Ogoberedde butiribiri okuyigiriza kwange, empisa zange, ekiruubirirwa kyange, okukkiriza kwange, obugumiikiriza bwange.” (2 Tim. 3:10) Olw’okuba Timoseewo yali akolera ku bye yali ayiga, yatuukiriza ebisaanyizo ebyamusobozesa okwetikka obuvunaanyizibwa obusingawo.—1 Kol. 4:17.
Olina omuntu omukulu mu by’omwoyo gw’otunuulira ng’ekyokulabirako era gw’osobola okukoppa? Bw’oba tomulina, funayo omu. Ow’oluganda Tom, amaze emyaka mingi ng’aweereza ng’omukadde agamba nti: “Omukadde omu eyalina obumanyirivu yeewaayo okunnyamba era yantendeka mu bintu bingi. Nnateranga okumwebuuzaako era nnakoleranga ku bulagirizi bwe yampanga. Ekyo kyannyamba okuggwaamu okutya.”
5. Yeetendekanga. Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Beera n’ekiruubirirwa eky’okwetendeka mu kwemalira ku Katonda.” (1 Tim. 4:7) Omuddusi abeera n’amutendeka, kyokka naye kennyini aba alina okwetendeka. Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Nyiikiriranga okusoma mu lujjudde, okubuuliriranga, n’okuyigirizanga. . . . Ebintu bino bifumiitirizengako, byemalireko, okukulaakulana kwo kweyoleke eri abantu bonna.”—1 Tim. 4:13-15.
Naawe olina okweyongera okwetendeka. Tokkiriza kuddirira mu bya mwoyo, era fubanga okumanya engeri ebintu gye birina okukolebwamu mu kibiina. Ate era weewale okwekakasa ekisukkiridde, oboolyawo ng’olowooza nti olw’okuba olina obumanyirivu bungi osobola okukola ku nsonga z’ekibiina nga tosoose kunoonyereza. Okufaananako Timoseewo, “ssangayo omwoyo ku bintu ebikukwatako ne ku kuyigiriza kwo.”—1 Tim. 4:16.
6. Yakoleranga ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Yakuwa. Pawulo yagamba Timoseewo nti: “Ekintu kino eky’omuwendo ekyakukwasibwa kikuume okuyitira mu mwoyo omutukuvu oguli mu ffe.” (2 Tim. 1:14) Okusobola okukuuma obuweereza bwe, Timoseewo yalina okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda.
Ow’oluganda Donald, amaze emyaka mingi ng’aweereza ng’omukadde agamba nti: “Abakadde n’abaweereza basaanidde okutwala enkolagana yaabwe ne Katonda nga ya muwendo. Abo abatwala enkolagana eyo nga ya muwendo beeyongera okuba abanywevu. Bwe basaba Katonda abawe omwoyo omutukuvu era ne bafuba okwoleka engeri eziri mu kibala ky’omwoyo, baganyula nnyo bakkiriza bannaabwe.”—Zab. 84:7; 1 Peet. 4:11.
ENKIZO GY’OLINA GITWALE NGA YA MUWENDO
Kisanyusa nnyo okulaba ab’oluganda bangi abalondeddwa okuweereza ng’abakadde oba abaweereza nga beeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Jason, ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Ekiseera kye mmaze nga mpeereza ng’omukadde njize ebintu bingi era nneeyongedde okuggwaamu okutya. Kati nnyumirwa nnyo obuweereza bwange era mbutwala nga bwa muwendo nnyo!”
Naawe oneeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo? Ekyo okusobola okukikola, fuba okukoppa Timoseewo. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuganyula nnyo ekibiina.