ESSUULA 5
Abalabirizi ab’Okulunda Ekisibo
YESU bwe yali ku nsi, yali ‘musumba mulungi.’ (Yok. 10:11) Bwe yalaba abantu abangi abaali bamugoberera, yabasaasira, “kubanga baali babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.” (Mat. 9:36) Peetero n’abatume abalala baakiraba nti Yesu yali afaayo nnyo ku bantu. Yesu teyali ng’abasumba b’omu Isirayiri abataafangayo ku ndiga ne bazireka ne zisaasaana era ne ziba mu mbeera mbi nnyo mu by’omwoyo. (Ezk. 34:7, 8) Yesu yatuuka n’okuwaayo obulamu bwe ku lw’endiga. Ekyokulabirako ekirungi Yesu kye yateekawo kyayamba abatume okumanya engeri y’okuyambamu abantu abalina okukkiriza okudda eri Yakuwa, ‘omusumba era omulabirizi w’obulamu bwabwe.’—1 Peet. 2:25.
2 Lumu Yesu bwe yali ayogera ne Peetero, yalaga nti kikulu nnyo okulunda endiga ze n’okuziriisa. (Yok. 21:15-17) Awatali kubuusabuusa, kino Peetero kyamukwatako nnyo, era oluvannyuma yagamba abakadde b’omu kibiina Ekikristaayo nti: “Mulundenga ekisibo kya Katonda ekyabakwasibwa, nga mukola ng’abalabirizi, si lwa buwaze, wabula nga mukikola kyeyagalire mu maaso ga Katonda; era si lwa kwagala kubaako bye mwefunira, naye lwa kwagala kuweereza; era nga temukajjala ku abo Katonda b’alinako obwannannyini, naye nga muba byakulabirako eri ekisibo.” (1 Peet. 5:1-3) Ebigambo bya Peetero ebyo bikwata ne ku bakadde ab’omu kiseera kino. Abakadde bakoppa Yesu ne baweereza kyeyagalire, bwe batyo ne baba kyakulabirako eri ekisibo.—Beb. 13:7.
Abakadde bakoppa Yesu ne baweereza kyeyagalire, bwe batyo ne baba kyakulabirako eri ekisibo
3 Tusaanidde okwebaza Yakuwa olw’abakadde abali mu kibiina abalondebwa omwoyo omutukuvu kubanga tuganyulwa nnyo mu ebyo bye bakola. Ng’ekyokulabirako, abakadde bazzaamu amaanyi abo abali mu kibiina era bafaayo ku buli omu mu kibiina. Bakubiriza enkuŋŋaana z’ekibiina buli wiiki, bwe batyo ne bazzaamu amaanyi bonna abali mu kukkiriza. (Bar. 12:8) Olw’okuba bafuba okukuuma ekisibo kireme kutuukibwako kabi mu by’omwoyo, gamba ng’okwonoonebwa abantu ababi, kituleetera okuwulira nga tulina obukuumi. (Is. 32:2; Tit. 1:9-11) Ate era olw’okuba banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira, kituzzaamu amaanyi ne tweyongera okubuulira n’obunyiikivu. (Beb. 13:15-17) Yakuwa awadde ekibiina “abantu ng’ebirabo,” basobole okukizimba mu by’omwoyo.—Bef. 4:8, 11, 12.
EBISAANYIZO BY’OKUFUUKA OMUKADDE
4 Ekibiina okusobola okulabirirwa obulungi, abasajja abalondebwa okuweereza ng’abakadde bateekwa okuba nga batuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Kigambo kya Katonda. Bwe baba batuukirizza ebisaanyizo ebyo, kiba kiyinza okugambibwa nti balondeddwa omwoyo omutukuvu. (Bik. 20:28) Olw’okuba okubeera omukadde buvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo, n’ebisaanyizo ebiri mu Bayibuli abakadde bye balina okutuukiriza bya waggulu nnyo. Wadde ng’ebisaanyizo ebyo bya waggulu nnyo, abasajja Abakristaayo abaagala ennyo Yakuwa era abaagala okuweereza tebayinza kulemererwa kubituukiriza. Kirina okuba nga kyeyoleka bulungi nti oyo alondeddwa okuba omukadde akolera ku misingi gya Bayibuli mu mbeera zonna ez’obulamu bwe.
Ekibiina okusobola okulabirirwa obulungi, abasajja abalondebwa okuweereza ng’abakadde bateekwa okuba nga batuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Kigambo kya Katonda
5 Mu bbaluwa gye yasooka okuwandiikira Timoseewo ne mu bbaluwa gye yawandiikira Tito, omutume Pawulo yalaga ebisaanyizo abo abaagala okufuuka abakadde bye balina okutuukiriza. Mu 1 Timoseewo 3:1-7, yagamba nti: “Singa omusajja yenna aluubirira okuba omulabirizi, aba yeegomba omulimu omulungi. Omulabirizi asaanidde okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, ng’alina omukazi omu, ng’alina empisa ezisaana, ng’alina endowooza ennuŋŋamu, ng’obulamu bwe abutambuliza ku nteekateeka ennungi, ng’asembeza abagenyi, ng’asobola okuyigiriza, nga si mutamiivu, nga talwana, nga si mukakanyavu, nga si muyombi, nga si mwagazi wa ssente, ng’afuga bulungi amaka ge, ng’alina abaana abawulize era ab’empisa ennungi; (mazima ddala omuntu bw’aba nga tamanyi ngeri ya kufugamu ba mu maka ge, anaalabirira atya ekibiina kya Katonda?) talina kuba oyo eyaakafuuka omukkiriza, kubanga ayinza okufuna amalala n’asalirwa omusango ogwasalirwa Omulyolyomi. Ate era, asaanidde okuba ng’ayogerwako bulungi abantu ab’ebweru, aleme okuvumirirwa n’okugwa mu mutego gw’Omulyolyomi.”
6 Pawulo yagamba Tito nti: “Nnakuleka mu Kuleete osobole okutereeza ebintu ebitaatereera, era osobole okulonda abakadde mu buli kibuga nga bwe nnakulagira: omukadde ateekwa okuba omusajja ataliiko kya kunenyezebwa, ng’alina omukazi omu, ng’alina abaana abali mu kukkiriza, abatayogerwako ng’ab’empisa embi oba ng’abajeemu. Ng’omuwanika wa Katonda, omulabirizi ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga teyeefaako yekka, nga tasunguwala mangu, nga si mutamiivu, nga talwana, nga talulunkana kufuna bintu mu makubo makyamu; naye alina okuba ng’asembeza abagenyi, ng’ayagala ebirungi, ng’alina endowooza ennuŋŋamu, nga mutuukirivu, nga mwesigwa, nga yeefuga, ng’anywerera ku kigambo ekyesigwa bw’aba ayigiriza, asobole okuzzaamu abalala amaanyi ng’abayigiriza ebintu eby’omuganyulo, n’okunenya abo abawakanya okuyigiriza okwo.”—Tit. 1:5-9.
7 Wadde ng’ebisaanyizo ebyo biyinza okulabika ng’ebitali byangu kutuukiriza, abasajja Abakristaayo tebasaanidde kutya kuluubirira nkizo ey’okuweereza ng’abakadde. Abakadde bwe booleka engeri ennungi ez’Ekikristaayo ezibasuubirwamu, kikubiriza abalala mu kibiina okukola kye kimu. Pawulo yagamba nti abasajja abo baweebwa ekibiina ng’ebirabo “olw’okutereeza abatukuvu, okukola omulimu gw’obuweereza, n’okuzimba omubiri gwa Kristo, okutuusa ffenna lwe tuliba obumu mu kukkiriza ne mu kutegeerera ddala Omwana wa Katonda, nga tulinga omuntu omukulu, ne tuba nga tutuuse ku kigero eky’obukulu bwa Kristo.”—Bef. 4:8, 12, 13.
8 Abakadde tebalina kuba bavubuka bato oba abasajja abaakafuuka abakkiriza, wabula balina okuba nga bamaze emyaka egiwerako nga baweereza Yakuwa, nga bategeera obulungi Ebyawandiikibwa, era nga baagala nnyo ekibiina. Balina okuba nga tebatya kuwabula oba okunenya aboonoonyi, endiga zireme kwonoonebwa bantu babi. (Is. 32:2) Ab’oluganda bonna mu kibiina balina okuba nga bakiraba nti abakadde basajja abakuze mu by’omwoyo era abafaayo ennyo ku kisibo kya Katonda.
9 Abo abalondebwa okuba abakadde balina okuba nga byonna bye bakola byoleka amagezi. Omukadde bw’aba nga mufumbo, alina okuba n’omukazi omu era ng’afuga bulungi amaka ge. Omukadde bw’aba alina abaana abali mu kukkiriza, abawulize era abatayogerwako ng’ab’empisa embi oba ng’abajeemu, ab’oluganda mu kibiina baba basobola okumutuukirira nga tebalina nkenyera yonna okubawabula n’okubawa amagezi ku bikwata ku bulamu bw’amaka oba ku nsonga endala yonna. Ate era omukadde alina okuba nga taliiko kya kunenyezebwa era ng’ayogerwako bulungi abantu ab’ebweru. Tewalina kubaawo amuvunaana nti yeenyingira mu mpisa mbi, ekintu ekiyinza okwonoona erinnya ly’ekibiina. Talina kuba nga yaakakangavvulwa olw’okwenyigira mu mpisa embi. Ebyo bw’aba ng’abituukiriza, ab’oluganda mu kibiina baba basobola okumukoppa, era baba bakakafu nti asobola okubalabirira mu by’omwoyo.—1 Kol. 11:1; 16:15, 16.
10 Abasajja abatuukiriza ebisaanyizo ne basobola okuweereza ekibiina, bafaananako abakadde mu Isirayiri abaali abasajja ‘ab’amagezi, abategeevu, era abaalina obumanyirivu.’ (Ma. 1:13) Abakadde tebatuukiridde, naye bamanyiddwa mu kibiina ne mu bitundu gye babeera ng’abasajja ab’empisa ennungi era abatya Katonda. Ate era bakyolese okumala ebbanga ddene nti obulamu bwabwe babutambuliza ku misingi gya Bayibuli. Olw’okuba tebabaako kya kunenyezebwa, basobola okwogera eri ekibiina nga tebalina kibalumiriza.—Bar. 3:23.
11 Abasajja abalondebwa okuba abakadde bateekwa okuba n’empisa ezisaana era nga bakolagana bulungi n’abalala. Tebaba bakakanyavu, wabula baba beegendereza, era beefuga. Engeri ezo zeeyolekera mu bintu bye bakola, gamba ng’okulya, okunywa, okwesanyusaamu, n’ebintu ebirala bye batera okukola mu biseera byabwe eby’eddembe. Tebanywa mwenge mungi, abalala baleme okubatwala okuba abatamiivu. Omuntu bw’aba omutamiivu aba tasobola kwefuga wadde okulowooza obulungi, era aba tasobola kulabirira kibiina mu by’omwoyo.
12 Okusobola okulabirira obulungi ekibiina, omukadde alina okuba ng’akola ebintu mu ngeri entegeke obulungi. Kino kyeyolekera mu ndabika ye, endabika y’amaka ge, ne mu bintu ebirala by’akola mu bulamu bwe obwa bulijjo. Yeewala okulwawo okukola ebintu ebirina okukolebwa; alaba ekiba kyetaagisa okukolebwa, n’akikola mu bwangu. Anywerera ku misingi egiri mu Bayibuli.
13 Omukadde alina okuba nga si mukakanyavu. Alina okuba ng’asobola okukolera awamu n’abakadde abalala. Alina okuba nga teyeetwala nti wa waggulu ku balala era nga tasuubira balala kukola ebyo bye batasobola. Omukadde takalambira ku ndowooza ye, era takitwala nti endowooza ye buli kiseera y’eba esinga ez’abakadde abalala. Abalala bayinza okuba nga balina engeri ennungi n’obusobozi ye by’atalina. Omukadde akiraga nti si mukakanyavu singa endowooza ye agyesigamya ku Byawandiikibwa era n’afuba okukoppa Yesu Kristo. (Baf. 2:2-8) Omukadde talina kuba muyombi era talina kulwana, naye alina okuba ng’awa abalala ekitiibwa, ng’akitwala nti bamusinga. Talina kuba nga buli kiseera ayagala ekikye kye kiba kikolebwa oba kye kiba kitwalibwa nti kye kituufu. Talina kuba ng’asunguwala mangu, wabula alina okuba ng’akolagana bulungi n’abalala.
14 Ate era, omukadde alina okuba ng’alina endowooza ennuŋŋamu. Kino kitegeeza nti mukkakkamu, era tayanguyiriza kusalawo. Alina okuba ng’ategeera bulungi emisingi egiri mu Bayibuli n’engeri gye giyinza okussibwa mu nkola. Omuntu alina endowooza ennuŋŋamu akkiriza okuwabulwa. Taba munnanfuusi.
15 Pawulo yajjukiza Tito nti omukadde alina okuba ng’ayagala ebirungi. Asaanidde okuba nga mutuukirivu era nga mwesigwa. Kino kyeyolekera mu ngeri gy’akolaganamu n’abalala ne mu kuba nti anywerera ku kituufu. Alina okuba omuntu eyeemalidde ku Yakuwa era anywerera ku misingi gye egy’obutuukirivu. Alina okuba ng’akuuma ebyama. Ate era alina okuba ng’asembeza abagenyi era nga akozesa ebiseera bye n’ebintu bye okuyamba abalala.—Bik. 20:33-35.
16 Omukadde okusobola okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwe, alina okuba ng’asobola okuyigiriza. Ate era, omukadde alina okuba ‘ng’anywerera ku kigambo ekyesigwa ng’ayigiriza, asobole okuzzaamu abalala amaanyi ng’abayigiriza ebintu eby’omuganyulo, n’okunenya abo ababiwakanya.’ (Tit. 1:9) Alina okuba ng’asobola okunnyonnyola obulungi ensonga, okuwa obukakafu obumatiza, okukwata obulungi abo abawakanya amazima, n’okunnyonnyola Ebyawandiikibwa mu ngeri ematiza n’asobola okunyweza okukkiriza kw’abalala. Omukadde alina okuba ng’ayigiriza bw’atyo mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu. (2 Tim. 4:2) Alina okuba nga mugumiikiriza era ekyo kimusobozesa okunenya n’obukkakkamu abo ababa bakoze ensobi, n’okunyweza okukkiriza kw’abo ababuusabuusa. Omukadde bw’aba ng’asobola okuyigiriza obulungi ekibiina oba omuntu kinnoomu, kiba kiraga nti atuukiriza ekisaanyizo ekyo ekikulu ennyo.
17 Kikulu nnyo abakadde okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Bwe bakola bwe batyo, baba bakoppa Yesu eyakulembezanga omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Yesu yafuba nnyo okutendeka abayigirizwa be basobole okubeera ababuulizi abalungi. (Mak. 1:38; Luk. 8:1) Abakadde bwe babeera abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira wadde nga balina eby’okukola bingi, ekyo kireetera n’abalala mu kibiina okuba abanyiikivu. Ate era abakadde bwe babuulira n’ab’omu maka gaabwe oba n’abalala mu kibiina, wabaawo ‘okuzziŋŋanamu amaanyi’.—Bar. 1:11, 12.
18 Omuntu ayinza okulowooza nti ebisaanyizo ebyo tewali ayinza kubituukiriza. Kyo kituufu nti tewali mukadde asobola kubituukiriza mu bujjuvu. Naye tewali mukadde mu kibiina asaanidde kulemererwa kutuukiriza buli kimu ku bisaanyizo ebyo ku kigero ekisaana. Abakadde abamu bayinza okuba nga balina bye basinzaako bannaabwe, ate nga ne bannaabwe balina bye babasinzaako. Naye abakadde bonna awamu ng’akakiiko baba balina engeri zonna ezeetaagisa okusobola okulabirira obulungi ekibiina kya Katonda.
19 Abali ku kakiiko k’abakadde bwe kaba basemba ow’oluganda okufuuka omukadde, basaanidde okulowooza ku bigambo by’omutume Pawulo bino: “Ntegeeza buli omu ku mmwe obuteetwala nti wa waggulu nnyo, naye alage nti alina endowooza ennuŋŋamu, okusinziira ku kukkiriza Katonda kw’amuwadde.” (Bar. 12:3) Buli mukadde asaanidde okwetwala ng’owa wansi ku balala. Abakadde bwe baba beekenneenya ebisaanyizo by’oyo gwe baagala okusemba, tewali n’omu ku bo asaanidde ‘kwetwala nti mutuukirivu nnyo.’ (Mub. 7:16) Nga bamaze okwekenneenya obulungi ebisaanyizo ebiri mu Byawandiikibwa, abakadde basaanidde okukakasa nti oyo gwe baagala okusemba okufuuka omukadde atuukiriza ebisaanyizo ebyo ku kigero ekisaana. Balina okukijjukira nti ow’oluganda gwe baagala okusemba tatuukiridde, era tebasaanidde kubaamu kyekubiira yenna. Bwe baba basemba ow’oluganda, basaanidde okukiraga nti bassa ekitiibwa mu mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu era nti bakikola ku lw’obulungi bw’ekibiina. Ate era basaba Yakuwa abawe obulagirizi bw’omwoyo gwe omutukuvu nga tebannasemba wa luganda yenna. Obwo bwe bumu ku buvunaanyizibwa obw’amaanyi ennyo abakadde bwe balina, era bwe baba babutuukiriza basaanidde okukolera ku bigambo by’omutume Pawulo ebigamba nti: “Toyanguyirizanga kussa mikono ku muntu yenna.”—1 Tim. 5:21, 22.
EKIBALA KY’OMWOYO
20 Ab’oluganda abatuukiriza ebisaanyizo bakiraga nti bakulemberwa omwoyo omutukuvu, era booleka ekibala ky’omwoyo mu bulamu bwabwe. Pawulo yamenya ebintu mwenda ebiri mu kibala ky’omwoyo, era nga bye bino: ‘Okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, n’okwefuga.’ (Bag. 5:22, 23) Abakadde abooleka engeri ezo mu bulamu bwabwe bazimba ab’oluganda era bayamba ab’oluganda okuweereza Yakuwa nga bali bumu. Engeri gye beeyisaamu n’ebirungi ebiva mu kufuba kwabwe biba biraga nti baalondebwa omwoyo omutukuvu.—Bik. 20:28.
ABAKADDE BATUMBULA OBUMU
21 Kikulu nnyo abakadde okukolera awamu okutumbula obumu mu kibiina. Abakadde bafuba okukuuma obumu bwe balina ng’abakadde nga buli omu awuliriza munne, wadde nga bayinza okuba n’endowooza ez’enjawulo ku kintu kye baba boogerako. Bwe watabaawo musingi gwa Bayibuli gumenyeddwa, buli omu ku bo asaanidde okuba omwetegefu okukkiriza n’okuwagira ekiba kisaliddwawo akakiiko k’abakadde. Omukadde bw’atakalambira ku ndowooza ye kiba kiraga nti alina “amagezi agava waggulu,” kubanga ‘ga mirembe, era si makakanyavu.’ (Yak. 3:17, 18) Tewali mukadde asaanidde kulowooza nti ye asukkulumye ku banne, era tewali asaanidde kugezaako kwegulumiza ku banne. Abakadde bwe baba obumu, baba bakolera wamu ne Yakuwa, era ekyo kiganyula nnyo ekibiina.—1 Kol., sul. 12; Bak. 2:19.
OKULUUBIRIRA OKUBA OMUKADDE
22 Abasajja Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo basaanidde okuluubirira okufuuka abakadde. (1 Tim. 3:1) Kyokka, abakadde mu kibiina baba n’eby’okukola bingi era baba balina okwefiiriza. Omukadde alina okuba omwetegefu okuweereza ab’oluganda n’okukola ku byetaago byabwe eby’eby’omwoyo. Ow’oluganda aluubirira okufuuka omukadde asaanidde okufuba okutuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Byawandiikibwa.
OMUKADDE BW’ABA NGA TAKYASOBOLA KUTUUKIRIZA BUVUNAANYIZIBWA BWE
23 Ow’oluganda amaze ebbanga eddene ng’aweereza ng’omukadde ayinza okutuuka ekiseera n’aba nga takyasobola kutuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bwe. Ayinza okuba nga mulwadde oba ng’akaddiye. Ne bw’aba mu mbeera eyo, asaanidde okussibwamu ekitiibwa n’okuba ng’akyatwalibwa ng’omukadde. Tekimwetaagisa kulekera awo kuweereza ng’omukadde wadde ng’ali mu mbeera eyo. Aba akyagwanira okussibwamu ennyo ekitiibwa ng’abakadde abalala bonna mu kibiina abakola ennyo okulunda ekisibo.
24 Naye singa ow’oluganda aba ayagala okulekera awo okuweereza ng’omukadde olw’embeera gy’aba alimu etamusobozesa kutuukiriza bulungi buvunaanyizibwa bwe, ayinza okusalawo okukola bw’atyo. (1 Peet. 5:2) Kyokka, asaanidde okusigala ng’assibwamu ekitiibwa. Aba akyali wa mugaso nnyo mu kibiina, wadde nga aba takyalina buvunaanyizibwa obuweebwa abakadde.
OBUVUNAANYIZIBWA ABAKADDE BWE BALINA MU KIBIINA
25 Abakadde baba n’obuvunaanyizibwa obutali bumu mu kibiina. Waliwo akwanaganya akakiiko k’abakadde, omuwandiisi w’ekibiina, omulabirizi w’obuweereza, akubiriza Omunaala gw’Omukuumi, n’omulabirizi w’Olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo. Abakadde bangi baweereza ng’abalabirizi b’ebibinja. Omukadde bw’aba aweereddwa obumu ku buvunaanyizibwa obwo, aba nabwo okumala ebbanga eritali ggere. Naye singa omukadde oyo ava mu kibiina ekyo, oba singa aba takyasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe, oba singa aggibwako enkizo ey’okuweereza ng’omukadde olw’okuba takyatuukiriza bisaanyizo ebiri mu Byawandiikibwa, omukadde omulala aweebwa obuvunaanyizibwa bw’abadde nabwo. Mu bibiina omuli abakadde abatono, omukadde omu ayinza okuba n’obuvunaanyizibwa obw’enjawulo okutuusa ab’oluganda abalala mu kibiina lwe batuukiriza ebisaanyizo eby’okuweereza ng’abakadde.
26 Abakadde bwe baba n’olukuŋŋaana, akwanaganya akakiiko k’abakadde y’abeera ssentebe. Akolera wamu n’abakadde abalala okulabirira ekisibo kya Katonda, era emirimu gye agikola n’obwetoowaze. (Bar. 12:10; 1 Peet. 5:2, 3) Asaanidde okuba omuntu ow’entegeka ennungi era ng’asobola bulungi okukubiriza abalala okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.—Bar. 12:8.
27 Omuwandiisi w’ekibiina y’atereka ebiwandiiko by’ekibiina era afuba okutegeeza bakadde banne ku biri mu biwandiiko ebyo bye beetaaga okumanya. Bwe kiba kyetaagisa, omukadde omulala oba omuweereza alina ebisaanyizo ayinza okusabibwa okumuyambako.
28 Omulabirizi w’obuweereza y’akola enteekateeka z’ekibiina ez’okubuulira era y’avunaanyizibwa ku nsonga endala ezikwatagana n’omulimu gw’okubuulira. Akola enteekateeka okukyalira ebibinja by’obuweereza byonna, era buli mwezi abaako ekibinja ky’akyalira omulundi gumu ku wiikendi. Mu bibiina omuli ebibinja by’obuweereza ebitono, buli kibinja ayinza okukikyalira emirundi ebiri mu mwaka. Bw’aba akyalidde ekibinja, y’akubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira, era awerekerako ababuulizi abamu eri abo be balina okuddiŋŋana ne ku bayizi baabwe.
ABALABIRIZI B’EBIBINJA
29 Okuweereza ng’omulabirizi w’ekibinja nkizo ya maanyi. Obuvunaanyizibwa bwe buzingiramu (1) okufaayo ennyo ku mbeera ey’eby’omwoyo eya buli mubuulizi ali mu kibinja kye; (2) okuyamba buli mubuulizi ali mu kibinja kye okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira obutayosa, okugukola obulungi, era n’okugukola n’essanyu; (3) okutendeka n’okuyamba abaweereza abali mu kibinja kye basobole okutuukiriza ebisaanyizo eby’okuweereza ng’abakadde. Akakiiko k’abakadde ke kalonda ab’oluganda abasobola okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa obwo.
30 Olw’ebyo ebizingirwa mu buvunaanyizibwa obwo, abalabirizi b’ebibinja balina kuba bakadde. Ekibiina bwe kiba tekirina bakadde oba bwe baba tebamala, omuweereza ayinza okuweebwa obuvunaanyizibwa obwo okutuusa ng’ekibiina kifunyeeyo omukadde. Omuweereza aba aweereddwa obuvunaanyizibwa obwo ayitibwa omuweereza atwala ekibinja, okuva bwe kiri nti tabeera mukadde mu kibiina. Akolera ku bulagirizi bw’abakadde okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo.
31 Obuvunaanyizibwa obukulu omulabirizi w’ekibinja bw’alina kwe kukulembera ekibinja kye mu mulimu gw’okubuulira. Omulabirizi w’ekibinja bw’aba nga munyiikivu, kireetera abo abali mu kibinja kye okumukoppa. Olw’okuba ababuulizi bwe bakolera awamu bazziŋŋanamu amaanyi era bayambagana, kyandibadde kirungi ne wabaawo enteekateeka ennungi ey’okubuulira esobozesa ababuulizi abasinga obungi okubaawo. (Luk. 10:1-16) Omulabirizi w’ekibinja alina okukakasa nti ekitundu ekiba kigenda okubuulirwamu kimala. Ebiseera ebisinga y’akubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira era y’agaba ababuulizi ababa bagenda okubuulira. Bw’aba tajja kusobola kubaawo, asaanidde okusaba omukadde omulala oba omuweereza akubirize olukuŋŋaana olwo. Abo bwe batabaawo, ayinza okusaba omu ku babuulizi alina ebisaanyizo alukubirize.
32 Omulabirizi w’obuweereza bw’aba anaakyalira ekibinja, omulabirizi w’ekibinja asaanidde okutegeeza ababuulizi abali mu kibinja kye nga bukyali era n’ababuulira n’engeri gye bajja okuganyulwa mu kukyala okwo. Ababuulizi bonna abali mu kibinja bwe bategeezebwa ebikwata ku nteekateeka eyo nga bukyali, baba basobola okugiwagira mu bujjuvu.
33 Ekibinja ky’obuweereza kisaanidde kuba kitonotono. Kino kisobozesa omulabirizi w’ekibinja okumanya obulungi ebikwata ku babuulizi bonna abali mu kibinja kye. Olw’okuba aweereza ng’omusumba, aw’oluganda oyo afaayo nnyo ku buli mubuulizi ali mu kibinja kye. Afuba okuyamba buli mubuulizi asobole okutuukiriza obulungi obuweereza bwe n’okuwagira enkuŋŋaana z’ekibiina. Akola kyonna ekiba kyetaagisa okuyamba buli mubuulizi mu kibinja kye okusigala nga munywevu mu by’omwoyo. Bw’akyalira abalwadde n’abennyamivu, baganyulwa nnyo. Omulabirizi w’ekibinja bw’awa ow’oluganda amagezi oba bw’amulaga we yeetaaga okulongoosaamu, kiyinza okuyamba ow’oluganda oyo okuluubirira enkizo mu kibiina, n’aba ng’asobola okuyamba ab’oluganda mu kibiina mu ngeri esingako. Omulabirizi w’ekibinja asaanidde kusinga kuyamba babuulizi abali mu kibinja kye. Kyokka olw’okuba mukadde mu kibiina, alina okufaayo ku b’oluganda bonna abali mu kibiina, era aba mwetegefu okuyamba ow’oluganda yenna aba ali mu bwetaavu.—Bik. 20:17, 28.
34 Obumu ku buvunaanyizibwa bw’omulabirizi w’ekibinja kwe kukuŋŋaanya lipoota z’obuweereza ez’ababuulizi abali mu kibinja kye n’aziwa omuwandiisi w’ekibiina. Ababuulizi basobola okuwewula ku buvunaanyizibwa bw’omulabirizi w’ekibinja nga bawaayo lipoota zaabwe amangu ddala ng’omwezi gwakaggwaako. Basobola okuzikwasa omulabirizi w’ekibinja oba okuziteeka mu kasanduuko akateekebwamu lipoota akali mu Kizimbe ky’Obwakabaka.
AKAKIIKO K’EKIBIINA AK’OBUWEEREZA
35 Waliwo emirimu nga gyo girina kukolebwa Kakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza. Akwanaganya akakiiko k’abakadde, omuwandiisi w’ekibiina, n’omulabirizi w’obuweereza, be babeera ku kakiiko kano. Ng’ekyokulabirako, akakiiko k’obuweereza ke kawa olukusa ab’oluganda abaagala okugattirwa mu Kizimbe ky’Obwakabaka oba okufuniramu emboozi eweebwa ku mukolo gw’okuziika, era ke kasalawo ekibinja ky’obuweereza buli mubuulizi ky’anaabaamu. Ate era bwe wabaawo ab’oluganda abasabye okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo oba bapayoniya abawagizi, oba okwenyigira mu buweereza obw’engeri endala, akakiiko kano ke kakola ku kusaba kwabwe. Akakiiko k’obuweereza kakolera ku bulagirizi bw’akakiiko k’abakadde.
36 Emirimu egy’enjawulo egikolebwa ab’oluganda abali ku kakiiko k’obuweereza nga kw’otadde n’egy’oyo akubiriza Omunaala gw’Omukuumi, egy’omulabirizi w’Olukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo, n’egy’abakadde abalala mu kibiina girambikibwa ofiisi y’ettabi.
37 Mu buli kibiina, akakiiko k’abakadde kaba n’olukuŋŋaana buli luvannyuma lwa kiseera okwogera ku nsonga ezikwata ku kibiina. Ng’oggyeeko olukuŋŋaana abakadde lwe bafuna ng’omulabirizi w’ekitundu akyalidde ekibiina kyabwe, abakadde baba n’olukuŋŋaana olulala nga wayise emyezi ng’esatu oluvannyuma lw’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu. Kyokka, abakadde basobola okuba n’olukuŋŋaana ekiseera kyonna bwe kiba kyetaagisa.
MUBAGONDERENGA
38 Wadde ng’abakadde tebatuukiridde, ab’oluganda bonna mu kibiina bakubirizibwa okubagondera kubanga Yakuwa y’abalonda. Bavunaanyizibwa eri Yakuwa olw’ebyo bye bakola. Bakiikirira ye n’obufuzi bwe. Abebbulaniya 13:17 wagamba nti: “Muwulirenga abo ababakulembera era mubagonderenga, kubanga batunula ku lwammwe ng’abo abaliwoza; kino balyoke bakikole n’essanyu so si na kusinda, kubanga ekyo kiba kya kabi gye muli.” Yakuwa akozesa omwoyo omutukuvu okulonda ow’oluganda okuba omukadde, era akozesa omwoyo gwe gumu okuggya enkizo ku mukadde atakyayoleka kibala kyagwo era atakyatuukiriza bisaanyizo ebiri mu Byawandiikibwa.
39 Tekitusanyusa okuba n’abakadde abakola ennyo era abassaawo ekyokulabirako ekirungi? Bwe yali awandiikira ekibiina ky’e Ssessalonika, Pawulo yagamba nti: ‘Ab’oluganda, kaakano tubasaba okussa ekitiibwa mu abo abakola ennyo mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira; mubaagale nnyo era mubalage ekisa olw’omulimu gwe bakola.’ (1 Bas. 5:12, 13) Emirimu gy’abakadde egisinga obungi gitusobozesa okuweereza Yakuwa obulungi n’okufuna essanyu mu buweereza bwaffe. Mu bbaluwa gye yasooka okuwandiikira Timoseewo, Pawulo yalaga endowooza ab’oluganda bonna mu kibiina gye basaanidde okuba nayo eri abakadde. Yagamba nti: “Abakadde abakulembera abalala obulungi bassibwengamu nnyo ekitiibwa, naddala abo abakola ennyo mu kwogera ne mu kuyigiriza.”—1 Tim. 5:17.
OBUVUNAANYIZIBWA OBULALA ABAKADDE BWE BALINA MU KIBIINA KYA YAKUWA
40 Abakadde abamu balondebwa okuweereza ng’Abakadde Abakyalira Abalwadde. Abalala baweereza ku Bukiiko Obwogeraganya n’Abasawo era bagenda mu malwaliro ne bakubiriza abasawo okujjanjaba Abajulirwa ba Yakuwa nga tebakozesa musaayi. Abakadde abalala bayambako mu mulimu gw’okuzimba n’okulabirira Ebizimbe by’Obwakabaka n’Ebizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene, ate abalala baweereza ku Bukiiko Obutegeka Enkuŋŋaana Ennene. Tusiima nnyo emirimu ab’oluganda abo gye bakola era n’omwoyo gw’okwefiiriza gwe booleka. Mu butuufu, ‘abantu abalinga abo tubatwala nga ba muwendo nnyo.’—Baf. 2:29.
OMULABIRIZI W’EKITUNDU
41 Akakiiko Akafuzi ke kalonda abakadde abalina ebisaanyizo okuweereza ng’abalabirizi b’ebitundu. Ofiisi y’ettabi etuma buli omu ku balabirizi abo okubaako ebibiina by’akyalira emirundi ebiri buli mwaka. Ebibiina byonna awamu omulabirizi by’akyalira biyitibwa ekitundu (circuit). Ate era buli luvannyuma lwa kiseera abalabirizi abo bakyalira bapayoniya abali mu bitundu ebyesudde. Buli kibiina kye baba bagenda okukyalira bakitegeeza nga bukyali, ab’oluganda basobole okuganyulwa mu kukyala kwabwe.
42 Akwanaganya akakiiko k’abakadde afuba okulaba nti buli kimu ekyetaagisa kikolebwa, ab’oluganda basobole okuganyulwa mu bujjuvu mu kukyala kw’omulabirizi w’ekitundu. (Bar. 1:11, 12) Omulabirizi bw’aba yaakategeeza ekibiina ennaku z’omwezi lw’anaakyala, awamu n’ebyo ye ne mukyala we (bw’aba nga mufumbo) bye bayinza okwetaaga, akwanaganya akakiiko k’abakadde akolera wamu n’ab’oluganda abalala okufunira omulabirizi aw’okusula n’okumutegekera ebintu ebirala bye yeetaaga. Afuba okulaba nti ab’oluganda bonna, nga mw’otwalidde n’omulabirizi w’ekitundu, bategeezebwa enteekateeka eziba zikoleddwa.
43 Omulabirizi w’ekitundu awuliziganya n’oyo akwanaganya akakiiko k’abakadde ku bikwata ku nteekateeka z’enkuŋŋaana, nga mw’otwalidde n’enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira. Ebiseera enkuŋŋaana ezo we zinaabeererawo biyinza okusalibwawo okusinziira ku bulagirizi omulabirizi w’ekitundu bw’aba awadde abakadde awamu n’obwo obuva ku ofiisi y’ettabi. Ab’oluganda bonna mu kibiina balina okutegeezebwa nga bukyali ekiseera n’ekifo awanaabeera enkuŋŋaana z’ekibiina, olukuŋŋaana lwa bapayoniya, olukuŋŋaana lw’abakadde n’abaweereza, awamu n’enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira.
44 Ku Lwokubiri olw’eggulo, omulabirizi w’ekitundu yeekenneenya fayiro omuli Kaadi z’Ababuulizi, kaadi okuwandiikibwa emiwendo gy’ababaawo mu nkuŋŋaana, fayiro omuli ebikwata ku bitundu ebibuulirwamu, ne fayiro y’eby’embalirira. Kino kimuyamba okutegeera ebyetaago by’ekibiina era n’engeri gy’ayinza okuyambamu abo abavunaanyizibwa ku fayiro ezo. Akwanaganya akakiiko k’abakadde alina okukakasa nti omulabirizi w’ekitundu afuna fayiro ezo nga bukyali.
45 Omulabirizi w’ekitundu bw’akyalira ekibiina, afuba okwogerako n’ab’oluganda kinnoomu. Kino akikola ng’ali ku Kizimbe ky’Obwakabaka, oba nga bali mu buweereza, oba nga bali ku ky’emisana, oba mu biseera ebirala. Ate era, aba n’olukuŋŋaana n’abakadde n’abaweereza n’abaako by’ayogera nabo ng’akozesa Ebyawandiikibwa; abawa amagezi ku nsonga ezitali zimu n’okubazzaamu amaanyi, kibasobozese okweyongera okulabirira obulungi ekisibo. (Nge. 27:23; Bik. 20:26-32; 1 Tim. 4:11-16) Ate era aba n’olukuŋŋaana ne bapayoniya okubazzaamu amaanyi n’okuyamba payoniya yenna ayinza okuba n’ekizibu ky’ayolekagana nakyo mu buweereza.
46 Bwe wabaawo ensonga endala ezeetaaga okukolebwako, omulabirizi w’ekitundu akola kyonna ekisoboka okuzikolako mu wiiki eyo gy’aba akyalidde ekibiina. Singa baba tebasobodde kumaliriza nsonga ezo mu wiiki eyo, asobola okuyamba abakadde oba abo abakwatibwako okunoonyereza bafune obulagirizi obuli mu Byawandiikibwa obukwata ku nsonga ezo. Bwe kiba kyetaagisa ofiisi y’ettabi okuyingira mu nsonga ezo, omulabirizi w’ekitundu n’abakadde bawandiikira ofiisi y’ettabi ebbaluwa erimu kalonda yenna akwata ku nsonga ezo.
47 Omulabirizi w’ekitundu bw’aba akyalidde ekibiina, abaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina zonna. Oluusi enkuŋŋaana ezo ziyinza okukyusibwamu okusinziira ku bulagirizi obuba buvudde ku ofiisi y’ettabi. Omulabirizi awa emboozi ez’enjawulo okusobola okuyigiriza ab’oluganda, okubazzaamu amaanyi, era n’okunyweza okukkiriza kwabwe. Afuba okuyamba ab’oluganda okweyongera okwagala Yakuwa ne Yesu Kristo, awamu n’ekibiina kya Yakuwa.
48 Ekimu ku bigendererwa by’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu kwe kuyamba ab’oluganda okweyongera okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira n’okubawa amagezi ku ngeri gye bayinza okukola obulungi omulimu ogwo. Ab’oluganda bangi mu kibiina bayinza okukyusa mu nteekateeka zaabwe basobole okwenyigira mu buweereza wiiki eyo, era bayinza okukola nga bapayoniya abawagizi mu mwezi ogwo. Oyo yenna aba ayagala okubuulirako naye oba ne mukyala we, ayinza okutegeeza abakadde. Omubuulizi bw’atwala omulabirizi w’ekitundu oba mukyala we ku bayizi be oba eri abo b’ayagala okuddira, kivaamu emiganyulo mingi. Abo abafuba okuwagira mu bujjuvu enteekateeka z’okubuulira mu wiiki eyo basiimibwa nnyo.—Nge. 27:17.
49 Buli mwaka, ebibiina ebiri mu kitundu omulabirizi ky’akyalira biba n’enkuŋŋaana ennene bbiri ez’olunaku olumu. Omulabirizi w’ekitundu y’avunaanyizibwa ku nteekateeka zonna ezikwata ku nkuŋŋaana ezo. Y’alonda omulabirizi w’olukuŋŋaana olunene n’omumyuka we, era bakolera wamu naye okulaba nti enteekateeka z’olukuŋŋaana zitambula bulungi. Ekyo kisobozesa omulabirizi w’ekitundu okumalira ebirowoozo bye ku ebyo ebiyigirizibwa mu lukuŋŋaana. Waliwo ab’oluganda abalala omulabirizi w’ekitundu b’akwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ebitongole ebitali bimu. Ate era akakasa nti wabaawo ow’oluganda abalirira ebitabo ng’olukuŋŋaana luwedde. Olumu ku nkuŋŋaana ezo ebbiri ez’olunaku olumu ezibaawo buli mwaka, lubeerako omwogezi aba akiikiridde ofiisi y’ettabi. Olw’okuba ebifo ebimu omubeera enkuŋŋaana ennene biba wala nnyo oba biba bifunda, ekitundu omulabirizi ky’akyalira kiyinza okwawulwamu ebitundu ebitonotono, buli kitundu ne kiba n’olukuŋŋaana olwakyo.
50 Omulabirizi w’ekitundu lipoota ye ey’obuweereza agiweereza butereevu ku ofiisi y’ettabi ku nkomerero y’omwezi. Bwe wabaawo ssente z’asaasaanyizza, gamba nga ku by’entambula, ku by’ensula, okugula emmere, oba ku bintu ebirala ebyetaagisa, ng’ate ekibiina tekisobodde kuzimuddizzaawo, ayinza okusaba ofiisi y’ettabi okuzimuddiza. Abalabirizi abakyalira ebibiina baba bakakafu nti bwe bakulembeza Obwakabaka, ebyetaago byabwe eby’omubiri biba bijja kukolebwako, nga Yesu bwe yasuubiza. (Luk. 12:31) Ab’oluganda mu kibiina bagitwala nga nkizo ya maanyi okusembeza abalabirizi bano abeewaddeyo okubaweereza.—3 Yok. 5-8.
AKAKIIKO K’ETTABI
51 Okwetooloola ensi yonna, ku buli ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa, wabaawo ab’oluganda basatu oba okusingawo, abaweereza ku Kakiiko k’Ettabi. Akakiiko ako kalabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi mwe kali oba mu nsi endala ze kalinako obuvunaanyizibwa. Omu ku b’oluganda abali ku kakiiko ako y’aweereza ng’omukwanaganya waako.
52 Ab’oluganda abali ku Kakiiko k’Ettabi bakola ku nsonga ezikwata ku bibiina byonna ebiri mu kitundu ekirabirirwa ofiisi eyo ey’ettabi. Akakiiko k’Ettabi kalabirira omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu kitundu kye kavunaanyizibwako, era kafuba okulaba nti watandikibwawo ebibiina ebipya, ssaako n’ebitundu ebikyalirwa abalabirizi, omulimu gw’okubuulira gusobole okulabirirwa obulungi. Ate era Akakiiko k’Ettabi kafaayo nnyo okulaba nti abaminsani, bapayoniya ab’enjawulo, bapayoniya aba bulijjo, ne bapayoniya abawagizi batuukiriza bulungi obuweereza bwabwe. Bwe wabaawo enkuŋŋaana ennene, akakiiko k’ettabi kakola enteekateeka ezeetaagisa, ‘ebintu byonna bisobole okukolebwa mu ngeri esaanira era entegeke obulungi.’—1 Kol. 14:40.
53 Mu nsi ezimu wabaayo Akakiiko Akalabirira Omulimu mu Ggwanga, era ng’akakiiko ako kakolera ku bulagirizi bw’Akakiiko k’Ettabi akali mu nsi endala. Kino kiyamba mu kulabirira obulungi omulimu ogukolebwa mu nsi Akakiiko Akalabirira Omulimu mu Ggwanga mwe kali. Akakiiko ako kaddukanya amaka ga Beseri, kakola ku mabaluwa ne lipoota ezitali zimu, era kalabirira n’omulimu gw’okubuulira. Akakiiko ako kakolera wamu n’Akakiiko k’Ettabi okulaba nti omulimu gw’Obwakabaka gugenda mu maaso.
54 Akakiiko Akafuzi ke kalonda ab’oluganda abaweereza ku buli Kakiiko k’Ettabi ne ku buli Kakiiko Akalabirira Omulimu mu Ggwanga.
AB’OLUGANDA ABAKIIKIRIRA EKITEBE EKIKULU
55 Buli luvannyuma lw’ekiseera, Akakiiko Akafuzi kakola enteekateeka ab’oluganda abalina ebisaanyizo ne bakyalira ofiisi zonna ez’amatabi. Ow’oluganda aba akyalidde ofiisi y’ettabi ayitibwa ow’oluganda akiikiridde ekitebe ekikulu. Ensonga esinga obukulu emukyaza ku ofiisi y’ettabi kwe kuzzaamu amaanyi ab’oluganda abaweereza ku Beseri n’okuwa abali ku Kakiiko k’Ettabi amagezi ku ngeri gye bayinza okukola ku bizibu ebitali bimu oba okuddamu ebibuuzo bye bayinza okuba nabyo ebikwata ku mulimu gw’okubuulira. Ow’oluganda oyo era asisinkana n’abamu ku balabirizi abakyalira ebibiina era oluusi asisinkana n’abaminsani. Ayogera nabo asobole okumanya ebyetaago byabwe n’ebizibu bye boolekagana nabyo, n’abazzaamu amaanyi basobole okukola obulungi omulimu omukulu ennyo ogw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa.
56 Ow’oluganda aba akiikiridde ekitebe ekikulu aba ayagala nnyo okumanya ebituukiddwako mu mulimu gw’okubuulira n’emirimu emirala egy’Obwakabaka. Ebiseera bwe bibaawo, ayinza n’okukyalira ofiisi eziri mu bitundu ebirala awavvuunulirwa ebitabo. Ate era ow’oluganda oyo bw’aba akyalidde ettabi, yeenyigira mu mulimu gw’okubuulira nga bw’aba asobodde.
Bwe tweyongera okugondera abalabirizi abaaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ekisibo, tuba tukolera wamu n’Omutwe gw’ekibiina, Yesu Kristo
EKIBIINA KIRABIRIRWA BULUNGI NNYO
57 Tuganyulwa nnyo mu mirimu abasajja Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo gye bakola, ne mu ngeri ennungi gye batulabiriramu. Bwe tweyongera okugondera abalabirizi abaaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ekisibo, tuba tukolera wamu n’Omutwe gw’ekibiina, Yesu Kristo. (1 Kol. 16:15-18; Bef. 1:22, 23) N’ekivaamu, omwoyo gwa Katonda guba mu bibiina byonna okwetooloola ensi, era n’Ekigambo kya Katonda kiba kituwa obulagirizi ku ngeri gye tusaanidde okukolamu omulimu gwe.—Zab. 119:105.