“Basookenga Okugezesebwa”—Mu Ngeri Ki?
1 Olw’okukulaakulana okweyongera mu ntegeka ya Yakuwa, waliwo obwetaavu obugenda bweyongera obw’ab’oluganda abalina ebisaanyizo okukola ng’abaweereza mu kibiina. Ab’oluganda abasinga obungi abatannalondebwa, nga mw’otwalidde n’abatiini, baagala okuweereza mu kibiina. Bwe baweebwayo emirimu egy’enjawulo egy’okukola, bawulira nga ba mugaso era nti balina kye batuukiriza. Okweyongera kwabwe okukulaakulana kwesigama ku kubeera nti ‘basooka okugezesebwa.’ (1 Tim. 3:10, NW) Kino kikolebwa kitya?
2 Obuvunaanyizibwa bw’Abakadde: Okusobola okwetegereza obanga ow’oluganda atuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa eby’abaweereza mu kibiina ebisangibwa mu 1 Timoseewo 3:8-13, abakadde bajja kusooka okugezesa ow’oluganda okulaba obanga asobola okwetikka obuvunaanyizibwa obwo. Bayinza okumuwa obuvunaanyizibwa obw’okukola ku magazini n’ebitabo, okutereeza obuzindaalo obwogererwako, okulabirira Kingdom Hall, n’emirimu emirala. Abakadde bajja kwetegereza engeri gy’atuukirizaamu obuvunaanyizibwa obumuweereddwa. Bajja kwetegereza obanga yeesigika, akuuma ebiseera, munyiikivu, mwetoowaze, akola n’okwagala, era akolagana bulungi n’abalala. (Baf. 2:20) Ataddewo ekyokulabirako ekirungi mu nnyambala ye n’okwekolako? Alaga obuvunaanyizibwa? Baagala okulaba mu “nneeyisa ye ennungi ebintu by’akola n’obwetoowaze n’amagezi.” (Yak. 3:13, NW) Mazima ddala, aluubirira okubaako ky’ayamba mu kibiina? Atuukiriza ekiragiro kya Yesu ‘eky’okufuula abantu abayigirizwa’ ng’anyiikirira obuweereza bw’omu nnimiro?—Mat. 28:19; laba Watchtower aka Ssebutemba 1, 1990, empapula 18-28.
3 Wadde nga Baibuli terina myaka gy’essaawo omuntu gy’alina okuba nagyo okusobola okulondebwa ng’omuweereza, eyogera ku b’oluganda ng’abo nga “abasajja abaweereza.” Tetwandibasuubidde kubeera nga baakayingira emyaka gy’obutiini oba nga baakagituuka wakati, naddala okuva bwe kyogerwa nti bayinza n’okubeera n’omukyala n’abaana. (1 Tim. 3:12, 13, NW) Abasajja ng’abo bandibadde tebatwalirizibwa ‘kwegomba okw’omu buvubuka’ naye bandibadde beeyisa mu ngeri ey’ekitiibwa, nga balina ennyimirira ennungi era nga balina omuntu ow’omunda omulungi mu maaso ga Katonda n’abantu.—2 Tim. 2:22.
4 Wadde ng’obusobozi obw’omu buzaale bwa mugaso, endowooza n’omwoyo omuntu by’alaga bye bisingira ddala obukulu. Mu bwetoowaze ow’oluganda ayagala okutendereza Katonda n’okuyamba baganda be? Bwe kiba bwe kityo, Yakuwa ajja kuwa emikisa okufuba kwe okw’okukulaakulana mu kibiina.