Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Mu bbaluwa gye yawandiikira Abaebbulaniya, omutume Pawulo yayogera ku ‘kuteekako emikono.’ Yali ayogera ku kulondebwa kwa bakadde oba ku kintu kirala?—Beb. 6:2.
Ekituufu kyennyini tekimanyiddwa, naye kirabika Pawulo yali ayogera ku kuteeka mikono ku muntu afune ebirabo by’omwoyo.
Baibuli eyogera ku kuteeka emikono ku muntu ng’alondebwa okukola omulimu gwa Katonda. Musa ‘yateeka emikono’ ku Yoswa ng’amulonda okumuddira mu bigere. (Ma. 34:9) Mu kibiina Ekikristaayo, abasajja abamu abaalina ebisaanyizo by’okuweereza baateekebwangako emikono nga balondebwa. (Bik. 6:6; 1 Tim. 4:14) Bw’atyo Pawulo yagamba nti tekyali kya magezi kwanguyiriza kuteeka mikono ku muntu.—1 Tim. 5:22.
Kyokka, Pawulo yakubiriza Abakristaayo Abaebbulaniya ‘bafube okukula’ olw’okuba kati baali balese “enjigiriza ezisookerwako.” Olwamala ekyo n’ayogera ku “kwenenya ebikolwa ebifu, okukkiririza mu Katonda, okuyigiriza okukwata ku kubatiza, n’okussaako emikono.” (Beb. 6:1, 2, NW) Okulonda abakadde kiba kintu ekisookerwako Abakristaayo kye balina okufuba okukula baleke? Nedda. Okufuuka omukadde mu kibiina eba nkizo Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo gye balina okufuba okutuukako, era ekyo tekiyinza kutwalibwa nga kintu ekisookerwako.—1 Tim. 3:1.
Naye waalingawo okuteekako emikono olw’ensonga endala. Mu kyasa ekyasooka, Yakuwa yakomya enkolagana gye yalina n’eggwanga lya Isiraeri era n’atandika okukolagana n’ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta. (Mat. 21:43; Bik. 15:14; Bag. 6:16) Ebirabo by’omwoyo, gamba ng’okwogera ennimi, byalaga nti waali wazzeewo enkyukakyuka eyo. (1 Kol. 12:4-11) Koluneeriyo n’ab’omu maka ge baatandika ‘okwogera ennimi’ bwe baafuuka abakkiriza, ng’ekyo kyali kiraga nti bafunye omwoyo omutukuvu.—Bik. 10:44-46.
Emirundi egimu, abantu baateekebwangako emikono okufuna ebirabo by’omwoyo. Firipo bwe yabuulira amawulire amalungi mu Samaliya, bangi baabatizibwa. Akakiiko akafuzi kaasindikayo omutume Peetero ne Yokaana. Lwaki? Tusoma nti: “Awo [abaali babatiziddwa] ne babassaako emikono, ne baweebwa [o]mwoyo [o]mutukuvu.” Ekyo kitegeeza nti baafuna ebirabo by’omwoyo, era ng’ekyo buli omu yasobola bulungi okukiraba. Tugamba tutyo kubanga Simooni, emabegako eyali akola eby’obufuusa, yalaba engeri omwoyo gye gwali gukolamu n’ayagala agulirire gumuweebwe, asobole okuteekanga emikono ku bantu bagufune wamu n’ebirabo byagwo. (Bik. 8:5-20) Oluvannyuma, abantu 12 mu Efeso baabatizibwa. Tusoma nti: “Pawulo bwe yabassaako emikono, [o]mwoyo [o]mutukuvu [gw]ajja ku bo, ne boogera ennimi ne balagula.”—Bik. 19:1-7; geraageranya 2 Timoseewo 1:6.
N’olwekyo, mu Abaebbulaniya 6:2, kirabika Pawulo yali ayogera ku kussa mikono ku bakkiriza abapya bafune ebirabo by’omwoyo.