Yakuwa Afaayo ku Baweereza Be Abakaddiye
“Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye.”—BEB. 6:10.
1, 2. (a) Bw’olaba omuntu ow’envi kikujjukiza ki? (b) Yakuwa atunuulira atya Abakristaayo abakaddiye?
BW’OLABA bannamukadde mu kibiina abalina envi, kirina kye kikujjukiza mu kitabo kya Danyeri? Mu kwolesebwa eri Danyeri, Yakuwa Katonda alabibwa ng’alina envi. Danyeri yawandiika nti: “Ne ndaba okutuusa entebe lwe zaateekebwawo, n’omukadde eyaakamala ennaku ennyingi n’atuula; ebyambalo bye byali bitukula ng’omuzira, n’enviiri ez’oku mutwe gwe ng’ebyoya by’endiga ebirungi.”—Dan. 7:9.
2 Emirundi egisinga ebyoya by’endiga biba byeru. Bwe kityo, okuba n’envi n’okuyitibwa “omukadde eyaakamala ennaku ennyingi” biraga nti Katonda alina emyaka butabalika n’amagezi mayitirivu, era bino byombi bituleetera okumuwa ekitiibwa eky’ensusso. Kati olwo Yakuwa, omukadde oyo eyaakamala ennaku ennyingi, atunuulira atya abasajja n’abakazi abakaddiye? Ekigambo kya Katonda kigamba nti “omutwe oguliko envi ngule ya kitiibwa, [bwe] gunaalabikanga mu kkubo ery’obutuukirivu.” (Nge. 16:31) Yee, Omukristaayo aweerezza n’obwesigwa bw’aba n’envi, aba alabika bulungi mu maaso ga Katonda. Naawe otunuulira baganda baffe ne bannyinaffe abakaddiye nga Yakuwa bw’abatunuulira?
Lwaki Ba Muwendo Nnyo?
3. Lwaki bakkiriza bannaffe abakaddiye ba muwendo?
3 Mu baweereza ba Katonda abakaddiye ab’omuwendo mwe muli abo abali ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa, abalabirizi abatambula n’abo abaaliko mu buweereza obwo, bapayoniya, n’ababuulizi b’Obwakabaka abanyiikivu—baganda baffe ne bannyinnaffe abaweereza n’obwesigwa mu bibiina byaffe. Oyinza okuba ng’olina b’omanyi abamaze emyaka emingi nga babuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu era ng’ekyokulabirako kyabwe kiyambye nnyo abavubuka okukozesa obulungi obulamu bwabwe. Bakkiriza bannaffe abamu abakaddiye babadde n’obuvunaanyizibwa bwa maanyi era bagumidde okuyigganyizibwa olw’amawulire amalungi. Yakuwa awamu ‘n’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ basiima nnyo byonna bannamukadde bano bye baakola mu biseera eby’emabega n’ebyo bye bakola kati mu mulimu gw’Obwakabaka.—Mat. 24:45.
4. Lwaki tusaanidde okussa ekitiibwa mu Bakristaayo abakaddiye n’okubasabira?
4 Bannamukadde bano abaweerezza n’obwesigwa bagwanidde okuweebwa ekitiibwa n’okusiimibwa abaweereza ba Yakuwa abalala bonna. Mu butuufu, Amateeka Katonda ge yakwasa Musa galaga nti okutya Yakuwa kizingiramu okufaayo ku bannamukadde n’okubawa ekitiibwa. (Leev. 19:32) Tusaanidde okusabiranga abaweereza bano abeesigwa n’okwebaza Katonda olw’obuweereza bwabwe obwoleka okwagala. Omutume Pawulo yasabira baweereza banne abaagalwa, abakulu n’abato.—Soma 1 Abasessaloniika 1:2, 3.
5. Tuyinza tutya okuganyulwa mu kukola omukwano n’abasinza ba Yakuwa abakaddiye?
5 Ng’oggyeko ekyo, ab’omu kibiina bonna basobola okuganyulwa mu kukola omukwano n’Abakristaayo abakaddiye. Olw’okuba bamaze ebbanga ddene nga beesomesa era nga bayise mu bintu bingi, abasinza ba Yakuwa bano abeesigwa balina bingi eby’omuwendo bye bamanyi. Bayize okuba abagumiikiriza n’okulumirirwa abalala, era bye bamanyi bwe babiyigiriza abo abakyali abato kibawa essanyu. (Zab. 71:18) Abavubuka, mufube nnyo okuganyulwa mu nsibuko y’amagezi eno nga bwe mwandifubye okusena amazzi mu luzzi oluwanvu.—Nge. 20:5.
6. Oyinza otya okulaga ab’oluganda abakaddiye nti ddala ba muwendo?
6 Ofaayo okulaga ab’oluganda abakaddiye nti ba muwendo nga Yakuwa bw’akola? Balage nti obaagala nnyo olw’okuba baweerezza n’obwesigwa era balage nti bye boogera obitwala nga bikulu. Laga nti obawa ekitiibwa ng’okolera ku magezi ge bakuwa. Abakristaayo abakaddiye bangi bakyajjukira amagezi agaabaweebwa Abakristaayo abakaddiye n’engeri amagezi ago gye gabaganyudde obulamu bwabwe bwonna.a
Kirage nti Obafaako
7. Baani abavunaanyizibwa okulabirira omuntu akaddiye?
7 Mu maaso ga Katonda, ab’eŋŋanda z’omuntu akaddiye be bavunaanyizibwa okumulabirira. (Soma 1 Timoseewo 5:4, 8.) Yakuwa asanyuka okulaba ab’eŋŋanda z’abo abakaddiye nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okubalabirira. Abantu abo Katonda abawa emikisa olw’okufuba n’okwefiiriza ne bayamba abakaddiye.b
8. Lwaki ebibiina bisaanidde okufaayo ku Bakristaayo abakaddiye?
8 Yakuwa era asanyuka nnyo ekibiina bwe kiyamba bannamukadde abaweerezza n’obwesigwa abatalina baŋŋanda babalabirira. (1 Tim. 5:3, 5, 9, 10) Ekibiina bwe kikola kityo kiba kiraga ‘okusaasira, okwagala kw’ab’oluganda, n’ekisa’ eri abakaddiye. (1 Peet. 3:8) Eky’okuba nti ab’oluganda abakaddiye balina okufiibwako kyeyolekera bulungi mu kyokulabirako Pawulo kye yakozesa ng’alaga nti ekitundu ky’omubiri ekimu bwe kiba mu bulumi, ebirala “byonna bibonerabonera wamu nakyo.” (1 Kol. 12:26) Bwe tulaga abakaddiye ekisa nga tubakolera ebibayamba, tuba tugoberera omusingi guno Pawulo gw’ayogerako: “Mubeeraganenga emigugu mwekka na mwekka, mutuukirizenga bwe mutyo etteeka lya Kristo.”—Bag. 6:2.
9. Bizibu ki ebiyinza okujjira omuntu olw’okukaddiwa?
9 Bizibu ki abakaddiye bye baba nabyo? Bangi bakoowa mangu. Oluusi bazibuwalirwa n’okukola ebintu ebimu gamba ng’okulongoosa awaka, okufumba oba okugenda okulaba omusawo. Abantu abakaddiye tebatera kwagala kulya na kunywa nga bwe kisaana, era kino bayinza okukiragajjalira. Emirundi egimu bwe kityo bwe kiba ne ku by’omwoyo. Amaaso bwe gagenda gayimbaala nga n’amatu tegakyawulira bulungi, bayinza okukaluubirirwa okusoma oba okuwuliriza nga bali mu nkuŋŋaana, era n’okwetegeka okuzigendamu kiyinza okubazibuwalira. Kiki abalala kye bayinza okukola okuyamba bannamukadde abo?
Engeri gy’Oyinza Okubayamba
10. Abakadde bayinza kukola ki okulaba nti ab’oluganda abakaddiye bafuna obuyambi bwe beetaaga?
10 Mu bibiina bingi, ab’oluganda abakaddiye balabirirwa bulungi. Baganda baffe ne bannyinnaffe babayamba mu kugenda okugula bye beetaaga, babafumbira, babooleza era babalongooseza awaka. Babayamba okwesomesa, okwetegeka okugenda mu nkuŋŋaana, n’okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro obutayosa. Abajulirwa abakyalina amaanyi babawerekerako era babayamba mu by’entambula. Ab’oluganda abakaddiye bwe baba tebakyasobola kuva waka, babakolera enteekateeka ne bawuliriza ebiba mu nkuŋŋaana nga bakozesa essimu oba babibateera ku ntambi. Bwe kiba kisoboka, abakadde bakola enteekateeka okulaba nti ebyetaago by’ab’oluganda abakaddiye abali mu kibiina kyabwe bikolebwako.c
11. Ab’omu maka agamu baayamba batya ow’oluganda akaddiye.
11 Abakristaayo kinnoomu nabo basobola okuyamba nga balaga omutima omugabi. Ow’oluganda omu akaddiye bwe yafiirwa mukyala we, yali takyasobola kusasulira nnyumba awatali pensoni ya mukyala we. Ye ne mukyala we baali baasoma Baibuli n’ab’omu maka agamu—omwami, mukyala we , ne bawala baabwe abatiini babiri—abaalina ennyumba ennene. Baamuwako ebisenge bibiri abeeremu. Okumalira ddala emyaka 15, baalyanga naye, banyumyanga naye, era baamulaga okwagala. Olw’okuba yali alina okukkiriza okw’amaanyi era ng’amanyi bingi, abaana balina bingi bye baamuyigirako, era naye yaganyulwa mu mukwano gwe baamulaga. Ow’oluganda ono yabeera nabo okutuusiza ddala lwe yafa ng’aweza emyaka 89. Ab’omu maka ago beebaza nnyo Katonda olw’emikisa emingi gye baafuna mu kubeera n’ow’oluganda oyo. Baafuna ‘empeera yaabwe’ olw’okuyamba munnaabwe ono omugoberezi wa Yesu Kristo.—Mat. 10:42.d
12. Kiki ky’oyinza okukola okulaga nti ofaayo ku b’oluganda abakaddiye?
12 Oyinza okuba nga tosobola kulabirira wa luganda akaddiye ng’ab’omu maka ago bwe baakola, naye oyinza okuba ng’osobola okumuyamba okugenda mu nkuŋŋaana oba mu buweereza bw’ennimiro. Osobola n’okukyaza ab’oluganda abakaddiye mu maka go oba okubatwala ng’ogenda okwesanyusaamu n’ab’omu maka go. Osobola okubakyalira, naddala nga balwadde oba nga tebakyasobola kuva waka. Ate era, kiba kirungi okubawa ekitiibwa ekibasaanira. Bwe baba bakyategeera bulungi, Abakristaayo abakaddiye balina okwebuuzibwako nga waliwo ekibakwatako ekirina okusalibwawo. N’abo abatakyategeera bulungi oluusi bakimanya bwe baba tebaweereddwa kitiibwa kyabwe.
Yakuwa Tajja Kwerabira Mulimu Gwo
13. Lwaki kikulu okufaayo ku ngeri Abakristaayo abakaddiye gye bawuliramu?
13 Kikulu nnyo okufaayo ku ngeri bannamukadde gye bawuliramu. Bannamukadde batera okwennyamira olw’okuba bye baakolanga nga bakyalina amaanyi tebabisobola. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe eyali payoniya owa bulijjo era eyaweereza Yakuwa n’obunyiikivu okumala emyaka nga 50 yakwatibwa obulwadde obw’amaanyi n’aba ng’azibuwalirwa nnyo okugenda mu nkuŋŋaana. Lumu yakaaba amaziga bwe yageraageranya ekitono ennyo kye yali akola mu buweereza n’ebyo bye yakolanga mu biseera eby’emabega. Yakoteka omutwe ng’eno amaziga bwe gakulukuta n’agamba nti, “Sikyalina kya mugaso kye nkola.”
14. Kubudaabudibwa ki abaweereza ba Yakuwa abakaddiye kwe basobola okufuna mu zabbuli?
14 Bw’oba oli nnamukadde, wali owuliddeko obubi bw’otyo? Ebiseera ebimu owulira nti Yakuwa akwabulidde? Omuwandiisi wa zabbuli ayinza okuba nga naye yawulira bw’atyo ng’akaddiye, kubanga yasaba Yakuwa nti: “Tonsuula mu biro eby’obukadde; tondekanga amaanyi gange bwe galimbula. . . . Bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga.” (Zab. 71:9, 18) Kya lwatu nti omuwandiisi wa zabbuli ono Yakuwa yali tagenda kumulekulira, era naawe taggya ku kulekulira. Mu zabbuli endala, Dawudi yali mukakafu nti Katonda amuyamba. (Soma Zabbuli 68:19.) Bw’oba ng’oli Mukristaayo mwesigwa akaddiye, naawe ba mukakafu nti Yakuwa ali naawe era ajja kwongera okukulabirira buli lunaku.
15. Kiki ekinaayamba abo abakaddiye obutaggwamu maanyi?
15 Yakuwa tasobola kwerabira ebyo mwe Abajulirwa be abakaddiye bye mwakola emabega ne bye mukola kati olw’ekitiibwa kye. Baibuli egamba nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye.” (Beb. 6:10) N’olwekyo, si kirungi kulowooza nti tokyalina mugaso mu maaso ga Yakuwa olw’okuba okaddiye. Fuba okweggyamu endowooza eyo ng’ofumiitiriza ku mikisa gy’ofunye, ne ku ssuubi ly’omu biseera eby’omu maaso. Omutonzi waffe ‘yatusuubiza’ ebintu eby’ekitalo mu biseera eby’omu maaso era ajja kubituukiriza. (Yer. 29:11, 12; Bik. 17:31; 1 Tim. 6:19) Lowooza ku ssuubi ly’olina, fuba okulaba nti tokaddiwa mu mutima ne mu birowoozo, era ba mukakafu nti oli wa mugaso nnyo mu kibiina!e
16. Lwaki ow’oluganda omu akaddiye yalowooza nti yali takyasaanira kuweereza nga omukadde, naye bakadde banne baamuzzaamu batya amaanyi?
16 Lowooza ku Johan ow’emyaka 80 alina okulabirira mukyala we Sannief atakyesobola. Bannyinaffe basigala ne Sannie mu mpalo, Johan n’asobola okugenda mu nkuŋŋaana ne mu buweereza bw’ennimiro. Kyokka gye buvuddeko awo, Johan yawulira ng’eby’okukola bimuyitiriddeko era yalowooza nti yali takyasaanira kuweereza nga mukadde mu kibiina. Ng’ajjudde ebiyengeyenge mu maaso yagamba nti, “Siraba nsonga yonna lwaki nkyaweereza ng’omukadde. Sikyalina kintu kyonna kya mugaso kye nsobola kukola mu kibiina.” Bakadde banne baamugumya ne bamukakasa nti yali akyali wa mugaso nnyo olw’obumanyirivu bwe n’ebirowoozo bye ebizimba. Baamusaba yeeyongere okuweereza ng’omukadde, wadde nga yali takyasobola kukola nnyo. Olw’okuba yazzibwamu amaanyi, Johan na kati akyaweereza ng’omukadde era ekibiina kye kiganyuddwa nnyo.
Yakuwa Afaayo Nnyo
17. Baibuli egumya etya Abakristaayo abakaddiye?
17 Ebyawandiikibwa biraga nti abo abakaddiye basobola okweyongera okuweereza Yakuwa wadde ng’omubiri gwabwe gweyongera kunafuwa. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “[Abo] abasimbirwa mu nnyumba ya Mukama . . . baliba nga bakyabala ebibala nga bakaddiye; balijjula amazzi, baligejja.” (Zab. 92:13, 14) Wadde ng’omutume Pawulo alabika nga yalina obulwadde obwali bumutawaanya, ‘teyaddirira ng’omuntu we ow’okungulu agenda aggwawo.’—Soma 2 Abakkolinso 4:16-18.
18. Lwaki bakkiriza bannaffe abakaddiye n’abo ababalabirira beetaaga okuyambibwa?
18 Waliwo ebyokulabirako bingi mu kiseera kino ebiraga nti ddala abakaddiye basobola okweyongera ‘okubala ebibala.’ Naye okulwala n’okukaddiwa biyinza okuleetera omuntu okuggwamu amaanyi ne bw’aba ng’aliko ab’eŋŋanda abamulabirira obulungi. Abo abalabirira omuntu akaddiye nabo bayinza okukoowa. Ab’omu kibiina bavunaanyizibwa okulaga okwagala kwabwe mu bikolwa nga bayamba ab’oluganda abakaddiye n’abo ababalabirira. (Bag. 6:10) Bwe bakola batyo, baba beewaze okubagamba nti “mubugume, mukutte,” ate nga tebalina kye bakoze kubayamba.—Yak. 2:15-17.
19. Lwaki Abakristaayo abakaddiye nga beesigwa banditunuulidde ebiseera eby’omu maaso nga tebaliimu kutya?
19 Omuntu bw’akaddiwa, by’abadde akola mu buweereza bw’Ekikristaayo bikendeera, naye okwagala kwa Yakuwa eri abaweereza be abakaddiye tekukendeera. Mu kifo ky’ekyo, Abakristaayo bano abaweerezza n’obwesigwa bonna basigala nga ba muwendo nnyo mu maaso ge, era tayinza kubalekulira. (Zab. 37:28; Is. 46:4) Yakuwa ajja kubalabirira era ajja kubawa obulagirizi mu myaka gyabwe gyonna egy’obukadde.—Zab. 48:14.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba ekitundu “Abakaddiye Ba Muganyulo Nnyo eri Abato,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 1, 2007.
b Laba Awake! eya Febwali 8, 1994, olupapula 3-10.
c Mu nsi ezimu, kino kiyinza okuzingiramu okubayamba okufuna obuyambi gavumenti bw’ewa abakaddiye. Laba ekitundu ekirina omutwe, “Katonda Afaayo ku Bannamukadde,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 1, 2006.
d Laba ekitundu “Yakuwa Atufaako Bulijjo,” mu Watchtower eya Ssebutemba 1, 2003.
e Laba ekitundu “Ekitiibwa ky’Omutwe Ogulimu Envi,” mu Watchtower eya Maaki 15, 1993.
f Amannya gakyusiddwa.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki Abakristaayo abeesigwa abakaddiye obatwala nga ba muwendo?
• Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku bakkiriza bannaffe abakaddiye?
• Kiki ekiyinza okuyamba abaweereza ba Yakuwa abakaddiye obutaggwamu maanyi?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]
Ab’oluganda abakaddiye batwalibwa nga ba muwendo nnyo mu kibiina