Abakristaayo Bafuna Essanyu mu Kuweereza
“Mu kugaba mulimu essanyu okusinga mu kuweebwa.”—EBIKOLWA 20:35, NW.
1. Ndowooza ki enkyamu ecaase leero, era lwaki ya kabi?
MU MAKUMI g’emyaka egisembyeyo mu 1900, ekigambo “nsooka kwerowoozaako” kyawulikikanga buli kiseera. “Nsooka kwerowoozaako” kitegeeza, “nze nkulembera” era kiraga endowooza erimu okwerowoozaako n’obutafaayo ku balala. Tusobola okuba abakakafu nti mu mwaka 2000, endowooza ya nsooka kwerowoozaako ekyaliwo. Emirundi emeka ng’owulira ebibuuzo nga, “Kiki kye naafunamu?” Endowooza ng’eyo ey’okwerowoozaako tevaamu ssanyu. Eyawukanira ddala okuva ku musingi Yesu gwe yayogerako: “Mu kugaba mulimu essanyu okusinga mu kuweebwa.”—Ebikolwa 20:35, NW.
2. Kirabibwa kitya nti okugaba kuleeta essanyu?
2 Kituufu nti okugaba kuleeta essanyu okusinga okuweebwa? Yee. Lowooza ku Yakuwa Katonda. Ye ‘nsibuko y’obulamu.’ (Zabbuli 36:9, NW) Atuwa byonna bye twetaaga okutufuula abasanyufu. Mazima ddala, ye Nsibuko eya ‘buli kirabo ekirungi era ekituukirivu.’ (Yakobo 1:17) Yakuwa, “Katonda wa ssanyu,” agaba buli kiseera. (1 Timoseewo 1:11, NW) Ayagala abantu be yatonda, baagabira ennyo. (Yokaana 3:16) Era lowooza ku maka g’abantu. Bw’oba oli muzadde, omanyi okwerekereza n’okugaba okwetaagisa okusobola okukuza omwana. Era okumala emyaka mingi omwana tamanya ngeri gye weerekerezaamu. Asuubira nti oba olina okwerekereza. Kyokka, kikusanyusa okulaba omwana wo ng’akula bulungi olw’okugaba kwo okutali kwa kwerowoozaako. Lwaki? Kubanga omwagala.
3. Lwaki kya ssanyu okuweereza Yakuwa ne bakkiriza bannaffe?
3 Mu ngeri y’emu, okusinza okw’amazima kubaamu okugaba okwesigamiziddwa ku kwagala. Okuva bwe twagala Yakuwa ne basinza bannaffe, kiba kya ssanyu okubaweereza, okwewaayo ku lwabwe. (Matayo 22:37-39) Omuntu yenna asinza ng’alina ebiruubirirwa eby’okwerowoozaako afuna essanyu ttono nnyo. Naye abo abaweereza awatali kwerowoozaako, nga bafaayo nnyo ku kye basobola okugaba okusinga ekyo kye basuubira okufuna, mazima ddala bafuna essanyu. Amazima gano gategeerwa bwe twekenneenya engeri ebigambo ebimu mu Baibuli ebikwataganyizibwa n’okusinza kwaffe bwe bikozesebwa mu Byawandiikibwa. Tujja kwogera ku bisatu ku bigambo ebyo mu kitundu kino ne mu kitundu ekinaddako.
Obuweereza bwa Yesu eri Abantu Bonna
4. “Obuweereza eri abantu bonna” mu Kristendomu buzingiramu ki?
4 Mu Luyonaani olwasooka, ekigambo ekimu ekikulu ennyo ekikwata ku kusinza kiri lei·tour·giʹa, ekivvuunulwa “obuweereza eri abantu bonna” mu New World Translation. Mu Kristendomu ekigambo lei·tour·giʹa kivuddemu ekigambo ekitegeeza ‘emikolo egy’okusinza.’a Kyokka, emikolo gya Kristendomu egy’okusinza si buweereza eri abantu bonna obuganyula.
5, 6. (a) Buweereza ki eri abantu bonna obwenyigirwamu mu Isiraeri, era bwavaamu miganyulo ki? (b) Buweereza ki obw’abantu bonna obusingira ewala obwadda mu kifo ky’obwo obwenyigirwamu Isiraeri, era lwaki?
5 Omutume Pawulo yakozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekikwatagana ne lei·tour·giʹa ng’ayogera ku bakabona Abaisiraeri. Yagamba: “Buli kabona yenyigira mu buweereza eri abantu bonna [engeri ya lei·tour·giʹa] buli lunaku n’okuwaayo ssaddaaka y’emu emirundi mingi.” (Abaebbulaniya 10:11, NW) Bakabona Abaleevi beenyigiranga mu buweereza obw’omuwendo ennyo eri abantu bonna mu Isiraeri. Baayigirizanga Amateeka ga Katonda era baawangayo ssaddaaka ezasobozesanga ebibi by’abantu okusonyiyibwa. (2 Ebyomumirembe 15:3; Malaki 2:7) Bakabona n’abantu bwe baagobereranga Amateeka ga Yakuwa, eggwanga lyabanga n’ensonga okusanyuka.—Ekyamateeka 16:15.
6 Okwenyigira mu buweereza eri abantu bonna wansi w’Amateeka yali nkizo ya maanyi eri bakabona Abaisiraeri, naye obuweereza bwabwe bwalekera awo okuba obw’omuwendo Isiraeri bwe yagaanibwa olw’obutali bwesigwa. (Matayo 21:43) Yakuwa yateekateeka ekintu ekisingira ewala okuba eky’omuwendo—obuweereza eri abantu bonna, Kabona Asinga Obukulu Yesu bwe yenyigiramu. Ku bimukwatako tusoma: “Naye oyo, kubanga abeerera okutuusa emirembe gyonna, alina obwakabona obutavaawo. Era kyava ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe, kubanga abeera mulamu ennaku zonna okubawolerezanga.”—Abaebbulaniya 7:24, 25.
7. Lwaki obuweereza bwa Yesu eri abantu bonna buleeta emiganyulo egitageraageranyizika?
7 Yesu yeeyongera okubeera kabona emirembe gyonna, awatali kumusikira. Bwe kityo, ye yekka asobola okulokola abantu mu bujjuvu. Yenyigira mu buweereza obwo eri abantu bonna obutageraageranyizika, si mu yeekaalu eyakolebwa abantu, naye mu yeekaalu ey’akabonero, enteekateeka ya Yakuwa enkulu ey’okusinza eyatandika mu 29 C.E. Yesu kati aweereza mu Awasingayo Obutukuvu mu yeekaalu eyo, mu ggulu. Ye “muweereza eri abantu bonna [lei·tour·gos] mu kifo ekitukuvu, era mu weema ey’amazima, eyateekebwawo Yakuwa so si omuntu.” (Abaebbulaniya 8:2, NW; 9:11, 12) Wadde ng’ekifo Yesu ky’alina kikulu nnyo, akyali “muweereza eri abantu bonna.” Akozesa obuyinza bwe obw’amaanyi okugaba, so si okutwala. Era okugaba ng’okwo kumuleetera essanyu. Lye limu ku ‘ssanyu eryateekebwa mu maaso ge’ era eryamusobozesa okugumiikiriza mu bulamu bwe bwonna obw’oku nsi.—Abaebbulaniya 12:2.
8. Yesu yenyigira atya mu buweereza eri abantu bonna obwali obw’okudda mu kifo ky’endagaano y’Amateeka?
8 Waliwo ekintu ekirala mu buweereza bwa Yesu eri abantu bonna. Pawulo yawandiika: “Naye kaakano aweereddwa okuweereza [“obuweereza eri abantu bonna,” NW] okusinga okuwooma, era nga bw’ali omubaka [“omutabaganya,” NW] w’endagaano esinga obulungi, kubanga yalagaanyizibwa olw’ebyasuubizibwa ebisinga obulungi.” (Abaebbulaniya 8:6) Musa yali mutabaganya mu ndagaano eyasinziirwako Abaisiraeri okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Okuva 19:4, 5) Yesu yali mutabaganya mu ndagaano empya, eyasobozesa okuzaalibwa kw’eggwanga erijja, “Isiraeri wa Katonda,” omuli Abakristaayo abaafukibwako amafuta okuva mu mawanga mangi. (Abaggalatiya 6:16; Abaebbulaniya 8:8, 13; Okubikkulirwa 5:9, 10) Obwo nga bwali buweereza bulungi nnyo eri abantu bonna! Nga tuli basanyufu nnyo okumanya Yesu, omuweereza eri abantu bonna mwe tuyitira okwenyigira mu buweereza obukkirizibwa Yakuwa!—Yokaana 14:6.
Abakristaayo Nabo Benyigira mu Buweereza eri Abantu Bonna
9, 10. Ngeri ki ezimu ez’obuweereza eri abantu bonna obwenyigirwamu Abakristaayo?
9 Tewali muntu n’omu yenyigira mu buweereza eri abantu bonna obwa waggulu ennyo ng’obwa Yesu. Kyokka, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bwe bafuna empeera yaabwe ey’omu ggulu, babeera wamu ne Yesu era ne benyigira mu buweereza bwe eri abantu bonna nga bakabaka era bakabona mu ggulu. (Okubikkulirwa 20:6; 22:1-5) Kyokka, Abakristaayo abali ku nsi benyigira mu buweereza eri abantu bonna, era bafuna essanyu lingi mu kukola ekyo. Ng’ekyokulabirako, bwe waaliwo enjala mu Palesitayini, omutume Pawulo yatwala ebintu ebyali biweereddwa okuva mu b’oluganda mu Bulaaya okuyamba okukendeeza ku kubonaabona okw’Abakristaayo Abayudaaya mu Buyudaaya. Obwo bwali buweereza eri abantu bonna. (Abaruumi 15:27; 2 Abakkolinso 9:12) Leero, Abakristaayo basanyufu okwenyigira mu buweereza obufaanagana n’obwo, nga bawaayo obuyambi obw’amangu baganda baabwe bwe baba babonaabona, olw’obutyabaga, oba emitawaana emirala.—Engero 14:21.
10 Pawulo yayogera ku buweereza obulala eri abantu bonna bwe yawandiika: “Naye newakubadde nga nfukibwa ku ssaddaaka n’okuweereza [“obuweereza eri abantu bonna,” NW] okw’okukkiriza kwammwe, nsanyuka era nsanyukira wamu nammwe mwenna.” (Abafiripi 2:17) Omulimu gwa Pawulo ogw’amaanyi ku lwa Abafiripi gwali buweereza eri abantu bonna bwe yenyigiramu n’okwagala era n’obunyiikivu. Obuweereza eri abantu bonna obufaanagana n’obwo bwenyigirwamu leero, nnaddala Abakristaayo abaafukibwako amafuta, abaweereza nga ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ abagaba emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu. (Matayo 24:45-47) Okwongereza ku ekyo, ng’ekibiina, bano be “bakabona abatukuvu,” abaweereddwa omulimu ‘ogw’okuwangayo ssaddaaka ez’omwoyo, ezisiimibwa Katonda ku bwa Yesu Kristo’ era ‘n’okubuuliranga ebirungi by’oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kutangaala kwe okw’ekitalo.’ (1 Peetero 2:5, 9) Okufaananako Pawulo, basanyukira mu nkizo ng’ezo wadde nga ‘bafukibwa’ mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Era ne bannaabwe, “endiga endala,” babeegattako era ne babawagira mu mulimu gw’okubuulira abantu ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye.b (Yokaana 10:16; Matayo 24:14) Ng’o’buweereza obwo eri abantu bonna bukulu nnyo ate nga bwa ssanyu!—Zabbuli 107:21, 22.
Wenyigire mu Buweereza Obutukuvu
11. Nnabbi omukazi, Ana, yateerawo atya Abakristaayo ekyokulabirako ekirungi?
11 Ekigambo ekirala eky’Oluyonaani ekikwata ku kusinza kwaffe kiri la·treiʹa, ekivvuunulwa “obuweereza obutukuvu” mu New World Translation. Obuweereza obutukuvu bukwata ku bikolwa eby’okusinza. Ng’ekyokulabirako, Ana, nnamwandu ow’emyaka 84 egy’obukulu era nga nnabbi omukazi ayogerwako nga “ataavanga mu yeekaalu, nga yenyigira mu buweereza obutukuvu [ekigambo ky’Oluyonaani ekikwatagana n’ekigambo la·treiʹa] n’okusiibanga n’okwegayiriranga ekiro n’emisana.” (Lukka 2:36, 37, NW) Ana yasinzanga Yakuwa obutayosa. Ana kyakulabirako kirungi gye tuli ffenna—abato n’abakulu, abasajja n’abakazi. Era nga Ana bwe yasabanga Yakuwa n’obunnyiikivu era n’amusinzanga obutayosa mu yeekaalu, obuweereza bwaffe obutukuvu butwaliramu okusaba n’okubawo mu nkuŋŋaana.—Abaruumi 12:12; Abaebbulaniya 10:24, 25.
12. Kintu ki ekikulu ennyo eky’obuweereza bwaffe obutukuvu, era ekyo nakyo kiri kitya obuweereza eri abantu bonna?
12 Omutume Pawulo yayogera ku kintu ekikulu eky’obuweereza bwaffe obutukuvu bwe yawandiika: “Katonda, gwe mpa obuweereza obutukuvu n’omwoyo gwange ku bikwata ku mawulire amalungi agakwata ku Mwana we, ye mujulirwa wange, ku ngeri gye mboogerako buli kiseera mu ssaala zange.” (Abaruumi 1:9, NW) Yee, okubuulira amawulire amalungi si buweereza buweereza bw’abantu bonna eri abo abawuliriza kyokka naye era kikolwa eky’okusinza Yakuwa Katonda. Ka kibe nti tufuna abatuwuliriza oba nedda, omulimu ogw’okubuulira buweereza butukuvu eri Yakuwa. Bwe tufuba okubuulira abalala ebikwata ku ngeri ennungi era n’ebigendererwa eby’omuganyulo ebya Kitaffe omwagalwa ow’omu ggulu mazima ddala kituleetera essanyu lingi.—Zabbuli 71:23.
Obuweereza Obutukuvu Tubwenyigiramu Wa?
13. Abo abenyigira mu buweereza obutukuvu mu lujja olw’omunda olwa yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo balina ssuubi ki, era baani abasanyukira awamu nabo?
13 Pawulo yawandiika bw’ati eri Abakristaayo abaafukibwako amafuta: “Kale bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubeerenga n’ekisa, kituweerezese okuweereza [“twenyigirenga mu buweereza obutukuvu,” NW] okusiimibwa Katonda n’okwegendereza n’okutya.” (Abaebbulaniya 12:28) Nga basuubira okusikira Obwakabaka, abaafukibwako amafuta banywevu mu kukkiriza nga basinza oyo ali Waggulu Ennyo. Be bokka abasobola okwenyigira mu buweereza bwe obutukuvu nga bali Awatukuvu ne mu lujja olw’omunda olwa yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo, era beesunga okuweereza awamu ne Yesu mu kifo Awasinga Obutukuvu, mu ggulu mwennyini. Bannaabwe ab’ekibiina ky’endiga endala, basanyukira wamu nabo mu ssuubi lyabwe ery’ekitalo.—Abaebbulaniya 6:19, 20; 10:19-22.
14. Ekibiina ekinene kiganyulwa kitya okuva mu buweereza bwa Yesu eri abantu bonna?
14 Naye ate bo eb’endiga endala wa gye baweerereza? Ng’omutume Yokaana bwe yalaba, ekibiina ekinene eky’endiga endala kirabise mu biseera bino eby’enkomerero, era “bayoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga.” (Okubikulirwa 7:14) Kino kitegeeza nti, nga basinza bannaabwe abaafukibwako amafuta, bakkiririza mu buweereza bwa Yesu eri abantu bonna, ne mu kuwaayo obulamu bwe obutuukiridde ku lw’abantu. Ab’endiga endala nabo baganyulwa mu buweereza bwa Yesu obw’abantu bonna mu ngeri nti ‘banyweza endagaano ya Yakuwa.’ (Isaaya 56:6) Tebali mu ndagaano empya, naye baginyweza mu ngeri nti bagondera amateeka agagikwatako era ne bakolera wamu n’enteekateeka eyakolebwa okuyitira mu yo. Bakolagana ne Isiraeri wa Katonda, nga baliira ku mmeeza emu ey’eby’omwoyo era nga bakolera wamu n’abali mu Isiraeri wa Katonda, nga batendereza Katonda era nga bawaayo ssaddaaka ez’eby’omwoyo ezimusanyusa.—Abaebbulaniya 13:15.
15. Wa ab’ekibiina ekinene gye benyigira mu buweereza obutukuvu, era kino kibakolako ki?
15 Bwe kityo, ekibiina ekinene balabibwa nga “bayimiridde mu maaso g’entebe ne mu maaso g’Omwana gw’endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru.” Okwongereza ku ekyo, ‘bali mu maaso g’entebe ya Katonda; era‘benyigira mu buweereza obutukuvu,’ emisana n’ekiro mu yeekaalu ye; n’Oyo atudde ku ntebe alitimba eweema ye ku bo.’ (Okubikulirwa 7:9, 15, NW) Mu Isiraeri, abakyufu baasinzizanga mu lujja olw’ebweru olwa yeekaalu ya Sulemaani. Mu ngeri y’emu, ekibiina ekinene kisinza Yakuwa mu lujja olw’ebweru olwa yeekaalu ye ey’eby’omwoyo. Kibaleetera essanyu okuweereza omwo. (Zabbuli 122:1) Wadde nga munnaabwe asembayo ali kw’abo abaafukibwako amafuta amaze okufuna obusika bwe obw’omu ggulu, bajja kweyongera okwenyigira mu buweereza bwa Yakuwa obutukuvu ng’abantu be.—Okubikulirwa 21:3.
Obuweereza Obutukuvu Obutakkirizibwa
16. Kulabula ki okuweebwa okukwata ku buweereza obutukuvu?
16 Mu biseera bya Isiraeri ey’edda, obuweereza obutukuvu bwali bulina okwenyigirwamu mu ngeri ekkiriziganya n’amateeka ga Yakuwa. (Okuva 30:9; Abaleevi 10:1, 2) Mu ngeri y’emu leero, waliwo ebyetaagisa okutuukirizibwa singa obuweereza bwaffe obutukuvu bwa kukkirizibwa Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki Pawulo yawandiikira Abakkolosaayi nti: “Kyetuva tetulekaayo . . . okubasabira n’okubeegayirira mulyoke mujjuzibwe okutegeeranga by’ayagala mu magezi gonna n’okutegeera eby’Omwoyo, okutambulanga nga bwe kisaanira Mukama waffe olw’okusiimibwa kwonna, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mukuliranga mu kutegeera Katonda.” (Abakkolosaayi 1:9, 10) Tekiri gye tuli okwesalirawo engeri entuufu ey’okusinzamu Katonda. Okumanya okutuufu okw’omu Byawandiikibwa, okutegeera okw’eby’omwoyo, n’amagezi agava eri Katonda bikulu nnyo. Bwe kitaba bwe kityo, ebivaamu biyinza okuba ebibi ennyo.
17. (a) Obuweereza obutukuvu bwayonoonebwa butya mu biseera bya Musa? (b) Obuweereza obutukuvu buyinza butya okwonoonebwa leero?
17 Jjukira Abaisiraeri ab’omu kiseera kya Musa. Tusoma: “Katonda n’akyuka, n’abawaayo‘okwenyigiranga mu buweereza obutukuvu eri eggye ery’omu ggulu.” (Ebikolwa 7:42, NW) Abaisiraeri abo baali balabye ebikolwa bya Yakuwa eby’amaanyi bye yakolanga ku lwabwe. Kyokka, beesiganga bakatonda abalala bwe baalowooza nti bandiganyuddwa. Tebaali beesigwa, ate nga tuteekwa okubeera abeesigwa, obuweereza bwaffe obutukuvu bwe bubeera obw’okusanyusa Katonda. (Zabbuli 18:25) Kituufu nti batono leero abandivudde ku Yakuwa ne basinza emmunyeenye oba obuyana obwa zaabu, naye waliwo engeri endala ez’okusinza ebifaananyi. Yesu yalabula ku ky’okuweereza ‘eby’Obugagga,’ ate Pawulo okwegomba yakuyita okusinza ebifaananyi. (Matayo 6:24, NW; Abakkolosaayi 3:5) Setaani yeetwala okubeera katonda. (2 Abakkolinso 4:4) Okusinza ebifaananyi okw’engeri eyo kucaase ate nga kyambika. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku muntu eyeeyita omugoberezi wa Yesu naye ng’ebiruubirirwa bye mu bulamu kwe kufuuka omugagga oba nga yeesiga maanyi ge n’endowooza ye. Ddala ani gw’aweereza? Ayawukana atya okuva ku Bayudaaya ab’omu kiseera kya Isaaya abalayiriranga mu linnya lya Yakuwa naye ne bagamba nti ebikolwa bye eby’ekitalo byakolebwa ebifaananyi byabwe eby’omuzizo?—Isaaya 48:1, 5.
18. Obuweereza obutukuvu bwayonoonebwa butya mu biseera ebyayita era ne leero?
18 Yesu era yalabula: “Ekiseera kijja, buli anaabattanga anaalowoozanga ng’aweerezza Katonda.” (Yokaana 16:2) Sawulo, eyafuuka omutume Pawulo, awatali kubuusabuusa yalowooza nti yali aweereza Katonda bwe ‘yasiima okuttibwa kwa Suteefano’ era ‘n’akanga okutta abaweereza ba Mukama.’ (Ebikolwa 8:1; 9:1) Leero abamu abenyigira mu kulongoosa amawanga n’okutta okw’ekikungo nabo beetwala okuba abasinza Katonda. Waliwo abantu bangi abeetwala okuba abasinza Katonda, naye okusinza kwabwe mazima ddala kwolekezebwa eri bakatonda ab’omwoyo gwa ggwanga, ow’okusosola mu mawanga, ow’obugagga, ow’okwerowoozaako, oba ekintu kyonna ekisinzibwa.
19. (a) Obuweereza bwaffe obutukuvu tubutunuulira tutya? (b) Buweereza bwa ngeri ki obutukuvu obunaatuleetera essanyu?
19 Yesu yagamba: “Osinzanga Mukama Katonda wo, era omuweerezanga yekka.” (Matayo 4:10) Yali agamba Setaani, naye nga kikulu nnyo ffenna okugoberera ebigambo bye! Okwenyigira mu buweereza obutukuvu obwa Mukama Afuga Byonna nkizo ya maanyi nnyo, ey’ekitalo. Era kiki ekiyinza okwogerwa ku kwenyigira mu buweereza eri abantu bonna obulina akakwate n’okusinza kwaffe? Okukola kino ku lw’abantu bannaffe gwe mulimu oguleeta essanyu eppitirivu. (Zabbuli 41:1, 2; 59:16) Kyokka era, obuweereza ng’obwo buleeta essanyu erya nnamaddala singa bwenyigirwamu n’omutima gwonna era mu ngeri entuufu. Ddala baani abaweereza Katonda mu ngeri entuufu? Buweereza bw’ani obutukuvu Yakuwa bw’akkiriza? Tuyinza okuddamu ebibuuzo ng’ebyo singa twekenneenya ekigambo eky’okusatu eky’omu Baibuli ekikwatagana n’okusinza kwaffe. Kino kye tujja okukola mu kitundu ekiddako.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu kutwalira awamu emikolo gya Kristendomu egy’okusinza gibeera ngeri emu ey’okusinza ng’omukolo ogw’Okusembera mu Eklezia Enkatolika.
b Mu Ebikolwa 13:2, NW, kigambibwa nti bannabbi n’abayigiriza mu Antiyokiya baali “baweereza eri abantu bonna” (mu kuvvuunula ekigambo ky’Oluyonaani ekikwatagana n’ekigambo lei·tour·giʹa) mu maaso ga Yakuwa. Kirabika, okuweereza okwo eri abantu bonna kwatwaliramu okubuulira abantu.
Wandizzeemu Otya?
• Buweereza ki obw’ekitalo eri abantu bonna Yesu bwe yenyigiramu?
• Buweereza ki eri abantu bonna Abakristaayo bwe benyigiddemu?
• Obuweereza obw’Ekikristaayo obutukuvu bwe buluwa, era wa gye bwenyigirwamu?
• Kiki kye tuteekwa okufuna singa obuweereza bwaffe obutukuvu bunaasanyusa Katonda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Abazadde bafuna essanyu pittirivu mu kugaba
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 11]
Abakristaayo benyigira mu buweereza eri abantu bonna bwe bayamba abalala era bwe balangirira amawulire amalungi
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Twetaaga okumanya okutuufu n’okutegeera okubeera abakakafu nti obuweereza bwaffe obutukuvu bukkirizibwa Katonda