Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Wadde nga Yakuwa asonyiwa ebibi byaffe okusinziira ku ssaddaaka y’ekinunulo, lwaki kyetaagisa Abakristaayo okutegeeza abakadde mu kibiina nga basobezza?
Nga bwe kyali ku bikwata ku Dawudi ne Basuseba, Yakuwa yasonyiwa Dawudi ekibi kye wadde nga kyali ky’amaanyi nnyo, olw’okuba Dawudi yeenenya. Nnabbi Nasani bwe yamutuukirira, Dawudi yagamba: “Nnyonoonye [eri] Mukama.”—2 Samwiri 12:13.
Kyokka, Yakuwa takkiriza bukkiriza kwenenya kwa mwonoonyi era n’amusonyiwa kyokka, naye era akola enteekateeka ez’okwagala okuyamba oyo ayonoonye okutereera mu by’omwoyo. Ku bikwata ku Dawudi, obuyambi bwayitira mu nnabbi Nasani. Leero, mu kibiina Ekikristaayo, waliwo abakadde, abasajja abakuze mu by’omwoyo. Omuyigirizwa Yakobo annyonnyola: “Waliwo mu mmwe omuntu alwadde [mu by’omwoyo]? [A]yitenga abakadde b’ekkanisa; bamusabirenga, nga bamusiigako amafuta mu linnya lya [Yakuwa]: n’okusaba kw’okukkiriza kulirokola omulwadde, ne [Yakuwa] alimuyimusa: era oba nga yakola ebibi birimuggibwako.”—Yakobo 5:14, 15.
Abakadde abalina obumanyirivu balina kinene nnyo kye bayinza okukola okukendeeza ku nnaku y’omwonoonyi eyeenenyezza. Bafuba okukoppa Yakuwa mu ngeri gye bakolaganamu n’omwonoonyi. Tebandibadde bakambwe, wadde nga kiyinza okwetaagisa okukangavvula okw’amaanyi. Okuleka ekyo, mu ngeri ey’okusaasira, bafuba okutegeera obuyambi omwonoonyi bwe yeetaaga mu bwangu. Mu bugumiikiriza, bafuba okutereeza endowooza y’omwonoonyi nga bakozesa Ekigambo kya Katonda. (Abaggalatiya 6:1) Wadde ng’omuntu ayinza obutabategeeza kisobyo kye kyeyagalire, ayinza okukubirizibwa okwenenya singa atuukirirwa abakadde, nga Dawudi bwe yeenenya ng’atuukiriddwa Nasani. Bwe kityo, obuyambi abakadde bwe bawa omwonoonyi bumuyamba obutaddamu kisobyo ekyo, era n’okwebalama akabi akayinza okuva mu kubeera omwonoonyi agugubira ku kibi.—Abaebbulaniya 10:26-31.
Awatali kubuusabuusa, si kyangu okutegeeza abalala ebikolwa omuntu by’awulira nga bimukwasa ensonyi era n’okusaba okusonyiyibwa. Kyetaagisa obuvumu. Naye lowooza ku kiyinza okubaawo singa tobuulira bakadde kisobyo kyo. Omusajja omu eyalemererwa okubuulira abakadde b’omu kibiina ekisobyo eky’amaanyi kye yali akoze agamba: “Nnalina ennaku ey’amaanyi mu mutima gwange. Nnayongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira, naye okulumwa okwo kwasigalawo.” Yalowooza nti okwenenya eri Katonda mu kusaba kyali kimala, naye si bwe kyali, kuba yawulira okulumizibwa nga bwe kyali eri Kabaka Dawudi. (Zabbuli 51:8, 11) Nga kiba kisingawo nnyo obulungi okukkiriza obuyambi obw’okwagala Yakuwa bw’awa okuyitira mu bakadde!