Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Bbaluwa za Yokaana n’Eya Yuda
EBBALUWA za Yokaana essatu zirabika zaawandiikirwa mu Efeso mu 98 E.E., era ze zimu ku bitabo ebisembayo mu Byawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa. Ebbiri ezisooka zikubiriza Abakristaayo okwongera okutambulira mu kitangaala n’okufuba okuziyiza obwakyewaggula obuyingidde mu kibiina. Mu y’okusatu, Yokaana ayogera ku kutambulira mu mazima era akubiriza Abakristaayo okukolera awamu.
Ng’ali mu Palesitayini, Yuda muganda wa Yesu awandiika ebbaluwa awo nga mu 65 E.E., n’alabula Bakristaayo banne ku bantu ababi abaali bayingidde mu kibiina, era abawa amagezi ku ngeri y’okwewalamu okutwalirizibwa empisa z’abantu abo embi. Bwe tussaayo omwoyo ku bubaka obuli mu bbaluwa za Yokaana essatu n’eya Yuda kituyamba okunywerera mu kukkiriza wadde nga waliwo ebizibu.—Beb. 4:12.
TAMBULIRANGA MU KITANGAALA, MU KWAGALA, NE MU KUKKIRIZA
Ebbaluwa ya Yokaana esooka yawandiikirwa abo bonna abali obumu mu Kristo era eraga engeri Abakristaayo gye bayinza okulwanyisa obwakyewaggula n’okunywerera ku mazima n’obutuukirivu. Yokaana abakuutira okutambuliranga mu kitangaala, mu kwagala, ne mu kukkiriza.
Agamba nti: “Bwe tuba nga tutambulira mu kitangaala nga naye bw’atambulira mu kitangaala, ffenna tuba tussa kimu.” Era olw’okuba Katonda ye Nsibuko y’okwagala, omutume agamba nti: “Twagalanenga.” Wadde ‘ng’okwagala kwa Katonda’ kutuleetera ‘okukwata ebiragiro bye,’ ‘okukkiriza kwe tulina’ mu Yakuwa Katonda, mu Kigambo kye, ne mu Mwana we kwe kutuyamba okuwangula ensi.—1 Yok. 1:7, NW; 4:7; 5:3, 4.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
2:7, 8—Ekiragiro “eky’edda” era “ekiggya” Yokaana ky’ayogerako kye kiruwa? Yokaana ayogera ku kiragiro eky’okwoleka okwagala okulimu okwefiiriza. (Yok. 13:34) Akiyita “eky’edda” kubanga yagenda okuwandiika ebbaluwa ye esooka nga wayise emyaka egisukka mu 60 bukya Yesu akiwa. N’olwekyo, ekiragiro ekyo abakkiriza baakirina “okuva ku lubereberye” we baafuukira Abakristaayo. Ekiragiro ekyo ‘kiggya’ mu ngeri nti tekikoma ku kulagira muntu ‘kwagala muliraanwa we nga bwe yeeyagala yekka,’ naye kimulagira okumwagala mu ngeri eraga okwefiiriza.—Leev. 19:18; Yok. 15:12, 13.
3:2—Kiki ‘ekitannalabisibwa’ eri Abakristaayo abaafukibwako amafuta, era ani gwe bajja ‘okulaba nga bw’ali’? Ekitannalabisibwa gye bali ye ngeri gye balifaananamu nga bazuukiziddwa ne bagenda mu ggulu ng’ebitonde eby’omwoyo. (Baf. 3:20, 21) Naye kye bamanyi kiri nti ‘Katonda bw’alirabisibwa bagenda kufaanana nga ye kubanga bajja kumulaba nga bw’ali,’ “Omwoyo.”—2 Kol. 3:17, 18.
5:5-8—Amazzi, omusaayi, n’omwoyo byawa bitya obujulirwa nti “Yesu ye Mwana wa Katonda”? Amazzi gaawa obujulirwa mu ngeri nti Yesu bwe yabatizibwa mu mazzi, Yakuwa yennyini yalaga nti asiima Omwana We. (Mat. 3:17) Omusaayi gwa Yesu, oba obulamu bwe, obwaweebwayo ‘ng’omutango olwa bonna,’ nagwo gwalaga nti Yesu Mwana wa Katonda. (1 Tim. 2:5, 6) Omwoyo omutukuvu nagwo gwawa obujulirwa nti Yesu Omwana wa Katonda bwe gwamukkaako ng’abatiziddwa, ne gumusobozesa okutambula wonna “ng’akola bulungi, ng’awonya bonna abaajoogebwanga Setaani.”—Yok. 1:29-34; Bik. 10:38.
Bye Tuyigamu:
2:9-11; 3:15. Omukristaayo bw’akkiriza ekintukyonna oba omuntu yenna okumulemesa okwagala baganda be, aba atambulira mu kizikiza, era aba tamanyi gy’agenda.
WEEYONGERE ‘OKUTAMBULIRA MU MAZIMA’
Yokaana atandika bw’ati ebbaluwa ye ey’okubiri: “Nze omukadde mpandiikira omukyala omulonde n’abaana be.” Agamba nti musanyufu olw’okusanga “abamu ku baana [b’omukyala oyo] nga batambulira mu mazima.”—2 Yok. 1, 4.
Bw’amala okubakubiriza okukulaakulanya okwagala, Yokaana agamba: “Kuno kwe kwagala okutambuliranga mu biragiro bye.” Yokaana era alabula ku ‘mulimba era omulabe wa Kristo.’—2 Yok. 5-7.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1, 13—“Omukyala omulonde” y’ani? Yokaana yandiba ng’alina omukazi gwe yali ayogerako gwe yayita Kyria, ng’ekigambo ekyo kitegeeza “omukyala” mu Luyonaani. Oba ayinza okuba ng’alina ab’oluganda mu kibiina ekimu be yali awandiikira, naye n’akozesa olulimi olw’akabonero asobole okubuzaabuza abalabe baabwe. Bwe kiba kityo, abaana b’omukyala oyo be Bakristaayo abaali mu kibiina ekyo, ate “abaana ba muganda [we],” Bakristaayo ab’omu kibiina ekirala.
7—‘Okujja’ kwa Yesu Yokaana kw’ayogerako wano kwe kuluwa, era mu ngeri ki abalimba gye ‘batayatula’ kujja okwo? Yali tayogera ku ‘kujja’ kwa Yesu mu biseera eby’omu maaso. Yali ayogera ku kujja kwe mu mubiri ne ku kufukibwako amafuta nga Kristo. (1 Yok. 4:2) Abalimba tebaatula nti Yesu yajja mu mubiri. Oboolyawo tebakkiriza nti Yesu yajja ku nsi oba nti yafukibwako omwoyo omutukuvu.
Bye Tuyigamu:
2, 4. Bwe tuba ab’okulokolebwa, tulina okumanya “amazima”—enjigiriza zonna ez’Ekikristaayo eziri mu Baibuli—n’okuganywererako.—3 Yok. 3, 4.
8-11. Bwe tuba tetwagala kufiirwa ‘kisa, busaasizi, na mirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Yesu Kristo,’ era n’enkolagana ne bakkiriza bannaffe, tulina ‘okwekuuma’ n’okwewala abantu ‘abatanywerera mu kuyigiriza kwa Kristo.’—2 Yok. 3.
‘MUKOLERERE WAMU MU MAZIMA’
Ebbaluwa ey’okusatu Yokaana agiwandiikira mukwano gwe Gayo. Agamba nti: “Ssirina ssanyu lingi erisinga lino, okuwulira abaana bange nga batambulira mu mazima.”—3 Yok. 4.
Yokaana yeebaza Gayo olw’ebyo ‘byonna by’akola’ okuyamba ab’oluganda abagenyi. Omutume agamba: “Tuvunaanyizibwa okusembeza abantu ng’abo tulyoke tukolere wamu nabo mu mazima.”—3 Yok. 5-8, NW.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
11—Lwaki abantu abamu beeyisa bubi? Olw’okuba abamu banafu mu by’omwoyo, tebasobola kulaba Katonda na maaso gaabwe ag’okutegeera. Olw’okuba tebasobola kumulaba na maaso gaabwe gennyini, beeyisa nga gy’obeera nti Katonda naye tabalaba.—Ez. 9:9.
14—“Ab’omukwano” be baani? “Ab’omukwano” aboogerwako wano si beebo bokka abakolagana obulungi ne bannaabwe. Yokaana ayogera ku bakkiriza banne bonna awamu.
Bye Tuyigamu:
4. Ab’oluganda abakuze mu by’omwoyo basanyuka nnyo bwe balaba abo abakyali abato nga beeyongera ‘okutambulira mu mazima.’ N’abazadde bawulira essanyu lya nsusso bwe bayamba abaana baabwe okufuuka abaweereza ba Yakuwa.
5-8. Mu abo abaweereza n’obunyiikivu olw’okwagala kwe balina eri Yakuwa n’eri baganda baabwe mwe muli abalabirizi abatambula, abaminsani, Ababeseri ne bapayoniya. Tusaanidde okubawagira n’okukoppa okukkiriza kwabwe.
9-12. Tusaanidde okukoppa ekyokulabirako kya Demeteriyo, so si ekya Diyotuleefe eyayogeranga obubi ku banne.
‘MWEKUUMIRENGA MU KWAGALA KWA KATONDA’
Yuda ayogera ku abo abeerimbise mu kibiina ‘abatolotooma, abeemulugunya olw’embeera gye balimu, abakola ng’okwegomba kwabwe bwe kuli.’ ‘Boogera ebigambo eby’okwewaana ng’eno bwe bawaanawaana abalala.’—Yuda 4, 16, NW.
Abakristaayo bayinza batya okwewala okutwalirizibwa empisa embi? Yuda agamba: “Abaagalwa, mujjukirenga ebigambo ebyayogerwa edda abatume ba Mukama waffe Yesu Kristo.” Agattako nti: ‘Mwekuumirenga mu kwagala kwa Katonda.’—Yuda 17-21.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
3, 4(NW)—Lwaki Yuda yakubiriza Abakristaayo “okulwanirira ennyo okukkiriza”? Kubanga ‘abantu abatatya Katonda baali bebbiridde ne bayingira mu kibiina.’ Abasajja abo baali “bafuula ekisa kya Katonda eky’ensusso okuba ekyekwaso eky’okwenyigira mu by’obugwenyufu.”
20, 21—Tuyinza tutya ‘okwekuumira mu kwagala kwa Katonda’? Tuyinza okukikola mu ngeri ssatu: (1) nga twezimbira ku ‘kukkiriza kwaffe okutukuvu ennyo’ okuyitira mu kusoma Ekigambo kya Katonda n’okubuulira n’obunyiikivu; (2) nga tusaba ‘mu mwoyo omutukuvu,’ oba ng’omwoyo bwe gutukubiriza; era (3) nga tukkiririza mu ekyo ekitusobozesa okufuna obulamu obutaggwawo—ssaddaaka ya Yesu Kristo.—Yok. 3:16, 36.
Bye Tuyigamu:
5-7. Abantu ababi basobola okusimattuka ekibonerezo kya Yakuwa? Yuda awa ebyokulabirako bisatu ebiraga nti ekyo tekisoboka.
8-10. Tusaanidde okukoppa ekyokulabirako kya Mikayiri malayika omukulu nga tussa ekitiibwa mu abo Yakuwa be yawa obuyinza.
12. Bakyewaggula abeefuula abalina okwagala baba ba kabi eri okukkiriza kwaffe, ng’enjazi eziri wansi mu mazzi bwe ziba eri emmeeri oba eri bawuzi. Wadde nga abayigiriza ab’obulimba bayinza okulabika ng’abagabi ennyo, balinga ebire ebitaleeta nkuba kubanga tebalina kalungi kabavaamu mu by’omwoyo. Abantu ng’abo balinga emiti egitabala bibala. Boolekedde okuzikirizibwa nga bwe kiba ku miti egisiguukuluddwa. Tusaanidde okwewala bakyewaggula.
22, 23. Abakristaayo ab’amazima bakyawa obubi. Ab’oluganda abakuze mu by’omwoyo—naddala abakadde—bafuba okuwonya abamu “ababuusabuusa” okuva mu kuzikirira okw’emirembe n’emirembe nga babayamba mu by’omwoyo.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 28]
Amazzi, omwoyo, n’omusaayi byawa obujulirwa nti “Yesu ye mwana wa Katonda”