-
Amagombe (Sheol ne Hades) Kye Ki?Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
-
-
kya Katonda kiraga nti abagenda emagombe bajja kuzuukira.a (Yobu 14:13; Ebikolwa 2:31; Okubikkulirwa 20:13) Era Ekigambo kya Katonda kiraga nti emagombe eriyo abaaweereza Yakuwa era n’abo abataamuweereza. (Olubereberye 37:35; Zabbuli 55:15, Baibuli y’Oluganda eya 2003) Baibuli ky’eva eyigiriza nti walibaawo “okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.”—Ebikolwa 24:15.
-
-
Olunaku olw’Okusalirako Omusango—Luzingiramu Ki?Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
-
-
Olunaku olw’Okusalirako Omusango—Luzingiramu Ki?
KIKI ky’olowooza ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango? Abantu bangi balowooza nti obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu bajja kutwalibwa kinnoomu mu maaso g’entebe ya Katonda basalirwe omusango. Abamu bajja kufuna empeera ey’okubeera mu ggulu, abalala bagende mu kubonaabona okw’emirembe n’emirembe. Kyokka, yo Baibuli ewa ekifaananyi kirala ku kiseera kino. Ekigambo kya Katonda kinnyonnyola nti ekiseera ekyo si kya ntiisa, wabula kya ssanyu n’okuzza ebintu obuggya.
Mu Okubikkulirwa 20:11, 12, tusoma ku Yokaana ng’annyonnyola Olunaku lw’Okusalirako Omusango: “Ne ndaba entebe ey’obwakabaka ennene enjeru, n’oyo eyali agituddeko, eggulu n’ensi ne bidduka mu maaso ge; era tebyazuulirwa na kifo. Ne ndaba abafu, abakulu n’abato, nga bayimiridde mu maaso g’entebe; ebitabo ne bibikkulwa: n’ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky’obulamu: abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo, ng’ebikolwa byabwe bwe byali.” Mulamuzi ki ayogerwako wano?
Yakuwa Katonda ye Mulamuzi ow’oku ntikko. Naye omulimu guno ogw’okulamula yagukwasa muntu mulala. Okusinziira ku Ebikolwa by’Abatume 17:31, omutume Pawulo yagamba nti Katonda ‘yateekawo olunaku, omuntu gwe yalonda, lw’agenda okusalirako ensi yonna omusango mu bwenkanya.’ Omulamuzi ono gwe yalonda ye Yesu Kristo. (Yokaana 5:22) Olunaku olw’Okusalirako Omusango lutandika ddi? Lunaatwala bbanga ki?
Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti Olunaku olw’Okusalirako Omusango lutandika oluvannyuma lwa Kalumagedoni, ng’enteekateeka ya Setaani emaze okuzikirizibwa.a (Okubikkulirwa 16:14, 16; 19:19–20:3) Oluvannyuma lwa Kalumagedoni, Setaani ne badayimooni be bajja kusibibwa mu bunnya obutakoma okumala emyaka lukumi. Mu kiseera ekyo, abantu 144,000 abanaasikira obulamu obw’omu ggulu bajja kuweereza ng’abalamuzi era bajja kufugira “wamu ne Kristo emyaka lukumi.” (Okubikkulirwa 14:1-3; 20:1-4; Abaruumi 8:17) N’olwekyo, Olunaku olw’Okusalirako Omusango terujja kumala ssaawa 24 zokka. Lujja kutwala emyaka lukumi.
Mu kiseera ekyo eky’emyaka olukumi, Yesu Kristo ajja ‘kusalira abalamu n’abafu omusango.’ (2 Timoseewo 4:1) “Abalamu” beebo ‘ab’ekibiina ekinene’ abanaawonawo ku Kalumagedoni. (Okubikkulirwa 7:9-17) Omutume Yokaana naye yalaba “abafu . . . nga bayimiridde mu maaso g’entebe” ey’okusalirako omusango. Nga Yesu bwe yasuubiza, ‘abali mu ntaana ezijjukirwa baliwulira eddoboozi lya Kristo ne bavaamu.’ (Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15) Kiki ekinaasinziirwako okusalira abantu bonna omusango?
Okusinziira ku kwolesebwa kw’omutume Yokaana, ‘ebitabo byabikkulwa,’ “abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo, ng’ebikolwa byabwe bwe byali.” Ebitabo bino byawandiikibwamu ebintu abantu bye baakola mu biseera ebyayita? Nedda, abantu tebajja kusalirwa musango okusinziira ku bye baakola nga tebannafa. Kino tukimanya tutya? Baibuli egamba: “Kubanga afa nga takyaliko musango eri ekibi.” (Abaruumi 6:7) N’olwekyo, abantu abanaazuukizibwa, ebibi bye baakolanga tebijja kujjukirwa. Bwe kityo, ebitabo ebinaabikkulwa biteekwa okuba nga bikiikirira ebintu ebirala Katonda by’atwetaagisa. Okusobola okubeerawo emirembe gyonna, abo abanaawonawo ku Kalumagedoni n’abo abanaazuukizibwa balina okugondera amateeka ga Katonda nga mw’otwalidde n’ebintu ebirala Yakuwa by’aliba atwetaagisa mu kiseera eky’emyaka olukumi. N’olwekyo, abantu bajja kusalirwa omusango okusinziira ku ebyo bye banaakola mu kiseera eky’Olunaku olw’Okusalirako Omusango.
Ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu bajja kufuna akakisa okuyiga ku ebyo Katonda by’ayagala era babikolereko. Kino kitegeeza nti wajja kubaawo omulimu munene ogw’okuyigiriza. Mazima ddala, ‘abanaatuula mu nsi bajja kuyiga obutuukirivu.’ (Isaaya 26:9) Naye, tekiri nti buli muntu ajja kuba mwetegefu okukolera ku ebyo Katonda by’ayagala. Isaaya 26:10 lugamba: “Omubi ne bwe bamulaga ekisa, era taliyiga butuukirivu: mu nsi ey’obugolokofu mw’anaakoleranga ebitali bya nsonga, so taliraba bukulu bwa Mukama.” Ababi abo bajja kuzikirizibwa ddala ku Lunaku olw’Okusalirako Omusango.—Isaaya 65:20.
Ku nkomerero y’Olunaku olw’Okusalirako Omusango, abantu abanaawonawo bajja kuba “balamu” mu bujjuvu ng’abantu abatuukiridde. (Okubikkulirwa 20:5) N’olwekyo, mu kiseera eky’Olunaku olw’Okusalirako Omusango abantu bajja kuddamu okuba abatuukirivu. (1 Abakkolinso 15:24-28) Oluvannyuma, okugezesebwa okusembayo kujja kubaawo. Setaani ajja kusumululwa era ajja kukyamya abantu omulundi ogunaasembayo. (Okubikkulirwa 20:3, 7-10) Abantu abataamugoberere bajja kubeera mu mbeera eno eyogerwako mu Baibuli: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” (Zabbuli 37:29) Yee, Olunaku olw’Okusalirako Omusango lujja kuganyula abantu abeesigwa!
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebirala ebikwata ku Kalumagedoni laba Insight on the Scriptures, Omuzingo 1, empapula 594-5, 1037-8, n’essuula 20 ey’akatabo Sinza Katonda Omu Ow’Amazima, ebyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
-
-
1914—Omwaka Omukulu Ennyo mu Bunnabbi bwa BaibuliKiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
-
-
1914—Omwaka Omukulu Ennyo mu Bunnabbi bwa Baibuli
NG’EKYABULAYO emyaka nga 40, abayizi ba Baibuli baalangirira nti wandibaddewo ebintu ebikulu mu mwaka 1914. Bintu ki ebyo, era bukakafu ki obulaga nti 1914 mwaka gwa njawulo?
Nga bwe kiragibwa mu Lukka 21:24, Yesu yagamba: “Yerusaalemi kiririnnyirirwa ab’amawanga okutuusa ebiro by’ab’amawanga lwe
-