Kye Nnasalawo Okukola nga Nkyali Muto
Mu 1985, bwe nnali wa myaka kkumi, waliwo abaana abaava mu Cambodia ku ssomero lyaffe mu Columbus, Ohio, Amerika. Omu ku baana abalenzi yali amanyiiyo ebigambo by’Olungereza ebitonotono. Ng’akozesa ebifaananyi, yatandika okunnyumiza ebintu ebitiisa abantu b’omu Cambodia bye baali bayitamu, omwali okutulugunyizibwa, okuttibwa, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Buli lwe nnalowoozanga ku baana abo, nnakaabanga amaziga. Nnayagalanga okubuulira abaana abo ebikwata ku Lusuku lwa Katonda n’essuubi ery’okuzuukira naye nga simanyi lulimi lwabwe. Wadde nga nnali nkyali muto, nnasalawo okuyiga olulimi Olukambodiya nsobole okubabuulira ebikwata ku Yakuwa. Nnali simanyi ngeri ekyo kye nnasalawo okukola gye kyandikutte ku biseera byange eby’omu maaso.
Tekyannyanguyira kuyiga Lukambodiya. Emirundi ebiri nnawulira nga njagala kulekera awo okuyiga olulimi olwo, naye Yakuwa n’anzizaamu amaanyi ng’ayitira mu bazadde bange. Ekiseera bwe kyayitawo, abasomesa bange awamu ne bayizi bannange baagezaako okumpikiriza okusomerera omulimu ogw’ebbeeyi. Naye nnali njagala kuweereza nga payoniya era nnasalawo okusomerera omulimu ogwandisobozesezza okufuna ebiseera ebimala okuweereza nga payoniya. Bwe nnavanga ku ssomero, nnagendanga okubuulira awamu ne bapayoniya. Era waliwo abaana be nnatandika okuyamba okuyiga Olungereza, era ekyo kyannyamba nnyo mu biseera eby’omu maaso.
Bwe nnali wa myaka 16, nnakitegeerako nti waaliwo ekibinja ky’olulimi Olukambodiya ekyali kikuŋŋaanira e Long Beach, California, Amerika. Nnagenda ne mpeererezaako mu kibinja ekyo era ne njiga okusoma Olukambodiya. Bwe nnamala emisomo gyange, nnatandika okuweereza nga payoniya era ne nneeyongera okubuulira abantu aboogera Olukambodiya abaali babeera okumpi n’awaka waffe. Bwe nnali wa myaka 18, nnalowooza ku ky’okusengukira e Cambodia. Wadde ng’ensi eyo yali tennaba kutebenkera bulungi nnali nkimanyi nti mu nsi eyo mwalimu abantu batono nnyo abaali bawulidde ku mawulire amalungi ag’Obwakabaka. Mu kiseera ekyo mu nsi eyo yonna mwalimu ekibiina kimu kyokka nga kirimu ababuulizi 13. We nnasookera okugenda e Cambodia nnali wa myaka 19. Oluvannyuma lw’emyaka ebiri nnasalawo okugenda okubeerera ddala mu nsi eyo. Okusobola okweyimirizaawo, nnafuna omulimu ogutali gwa kiseera kyonna ogw’okuvvuunula n’okusomesa Olungereza. Nga wayiseewo ekiseera, nnawasa omukyala eyalina ebiruubirirwa ng’ebyange. Nze ne mukyala wange tuyambye abantu bangi aboogera Olukambodiya okufuuka abaweereza ba Yakuwa.
Yakuwa ampadde ebyo omutima gwange bye gwagala. (Zab. 37:4) Teri mulimu guleeta ssanyu okusinga omulimu gw’okubuulira. Mu myaka 16 gye mmaze nga mbeera mu Cambodia, kindeetedde essanyu okulaba nti ekitundu ekyalimu ekibiina ekimu kyokka nga mulimu ababuulizi 13, kati kirimu ebibiina 12 n’ebibinja 4!—Byayogerwa Jason Blackwell.