Lwaki Abantu Bafa?
Bayibiuli ky’egamba
Kya bulijjo okwebuuza ensonga lwaki abantu bafa, naddala bwe tufiirwa omuntu gwe twagala ennyo. Bayibuli egamba nti: “Obulumi obuleeta okufa kye kibi.”—1 Abakkolinso 15:56.
Lwaki abantu bonna boonoona era ne bafa?
Abantu abaasooka, Adamu ne Kaawa, baafa olw’okuba baayonoona mu maaso ga Katonda. (Olubereberye 3:17-19) Baalina okufa kubanga baajeemera Katonda ‘ensibuko y’obulamu.’—Zabbuli 36:9; Olubereberye 2:17.
Bazzukulu ba Adamu bonna baasikira ekibi kye. Bayibuli egamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Abantu bonna bafa kubanga bonna boonoonyi.—Abaruumi 3:23.
Engeri okufa gye kujja okuggibwawo
Katonda yasuubiza nti ekiseera kijja kutuuka ‘amirire ddala okufa emirembe gyonna.’ (Isaaya 25:8) Okuggyawo okufa, alina kusooka kuggyawo ensibuko yaakwo, nga kye kibi. Kino Katonda ajja kukituukiriza ng’ayitira mu Yesu Kristo, “aggyawo ebibi by’ensi.”—Yokaana 1:29; 1 Yokaana 1:7.