Oluyimba 139
Mubayigirize Basobole Okuba Abanywevu
Printed Edition
Wanula:
Kya ssanyu okuyigiriza
Endiga za Yakuwa.
Laba bwe bakulaakulanye
Ne banyweza ‘mazima.
(CHORUS)
Yakuwa, ffe tukusaba
Obakuume ng’endiga zo.
Era tukwegayirira: Obayambe;
Beeyongere okunywera.
Bwe twali tubayigiriza,
Twabasabiranga nnyo,
Banywere nga bagezesebwa;
Era kati banywevu.
(CHORUS)
Yakuwa, ffe tukusaba
Obakuume ng’endiga zo.
Era tukwegayirira: Obayambe;
Beeyongere okunywera.
Bwe banaagumiikirizanga,
Mu mbiro z’obulamu,
Era ne baba bawulize,
Bajja kusiimibwa nnyo.
(CHORUS)
Yakuwa, ffe tukusaba
Obakuume ng’endiga zo.
Era tukwegayirira: Obayambe;
Beeyongere okunywera.
(Era laba Luk. 6:48; Bik. 5:42; Baf. 4:1.)