Oluyimba 10
‘Nzuuno! Tuma Nze’
1. Leero bantu bajolonga,
Nnyo erinnya lya Katonda.
Abamu nti mukambwe nnyo;
Abalala nti “Taliiyo!”
Ani anaalitukuza?
Ani anaamutendanga?
“Mukama wange, tuma nze.
Nze nnaakutenderezanga.
(CHORUS)
Teri nkizo esinga eyo.
Nze nzuuno! Ntuma ntuma.”
2. Bantu bavuma Katonda
Nti aludde; tebamutya.
Basinza ebifaananyi;
Abamu ne Kayisaali.
Ani anaabalabula?
Ku lutalo lwa Katonda?
“Mukama wange, tuma nze.
Nze nja kubalabulanga.
(CHORUS)
Teri nkizo esinga eyo.
Nze nzuuno! Ntuma ntuma.”
3. Bawombeefu banyiikadde
Lw’obubi obweyongedde.
N’emitima emyesigwa
Banoonyereza ’mazima.
Ani anaabayambanga?
’Kituufu okukimanya?
“Mukama wange, tuma nze.
Nze nja kubasomesanga.
(CHORUS)
Teri nkizo esinga eyo.
Nze nzuuno! Ntuma ntuma.”
(Era laba Zab. 10:4; Ez. 9:4.)