OLUYIMBA 8
Yakuwa Kye Kiddukiro Kyaffe
Printed Edition
1. Yakuwa kiddukiro;
Y’oyo gwe twesiga.
Ekisiikirize kye
Ffe mwe twewogoma.
Y’oyo atulwanirira;
Ye yekka ffe gwe twesiga.
Yakuwa kigo kyaffe;
Ye Katonda omwesigwa.
2. Wadde abantu bangi
Balizikirira,
Bo abatuukirivu
Balitalizibwa.
Tuliba bagumu ddala;
Tetulibaako kye tutya.
Ffe tulirokolebwa;
Katonda y’alitukuuma.
3. Mu buli mbeera yonna
Ajja kutukuuma.
Ebintu ebitiisa
Tebiritukanga.
Tetulikwatibwa ntiisa
Wadd’o kweraliikirira.
Yakuwa kiddukiro;
Buli lukya y’atukuuma.
(Laba ne Zab. 97:10; 121:3, 5; Is. 52:12.)