OLUYIMBA 139
Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya
1. Weerabe ggwe, wamu nange,
Nga ffenna tutuuse mu nsi empya.
Lowoozaamu bwe kiriba,
Nga tuli mu ddembe lyennyini.
Ababi nga bavuddewo;
’Mirembe gyokka gye giriwo;
Ng’olwo byonna mu nsi bizziddwa buggya.
Tunaatendereza
Yakuwa Katonda:
(CHORUS)
“Ai Yakuwa, ffe tukwebaza;
Ebintu byonn’o bizzizza buggya!
Olw’essanyu kyetuva tukuyimbira;
Ogwanidde ’ttendo lyonna n’ekitiibwa.”
2. Weerabe ggwe, wamu nange;
Weesunge nnyo ddala ensi empya.
Teribaayo kintu kyonna
Kikanga oba ekitiisa.
Bye yagamba bye biriwo;
Abisse ku bantu weema ye.
Anaazuukusa ’beebase ’magombe;
Banaatwegattako
’kumutendereza:
(CHORUS)
“Ai Yakuwa, ffe tukwebaza;
Ebintu byonn’o bizzizza buggya!
Olw’essanyu kyetuva tukuyimbira;
Ogwanidde ’ttendo lyonna n’ekitiibwa.”
(Laba ne Zab. 37:10, 11; Is. 65:17; Yok. 5:28; 2 Peet. 3:13.)