OLUYIMBA 20
Wawaayo Omwana Wo gw’Oyagala Ennyo
Printed Edition
1. Yakuwa Kitaffe,
Twali mu mbeera mbi
N’otuwa essuubi
’Kkakafu ddala.
Obulamu bwaffe
Twabuwaayo gy’oli.
Tuyamba ’balala
Bakole kye kimu.
(CHORUS)
Wawaayo ’Mwana wo;
Tukutendereza
Era tunaakutenda
emirembe n’emirembe.
2. Ekisa ky’olaga
Kitukutteko nnyo.
Teriiyo kirabo
Kisinga kino.
Wawaayo ’Mwana wo
Gw’osing’o kwagala.
Wamutuma ku nsi
Okutufiirira.
(CHORUS)
Wawaayo ’Mwana wo;
Tukutendereza
Era tunaakutenda
emirembe n’emirembe.
(EBIFUNDIKIRA)
Yakuwa Kitaffe, tusiima nnyo ddala.
Wawaayo Omwana wo gw’oyagala ennyo.
(Laba ne Yok. 3:16; 15:13.)