‘Sanyukiranga Yakuwa’
“Sanyukiranga Mukama: naye anaakuwanga omutima gwo bye gusaba.”—ZABBULI 37:4.
1, 2. Ani nsibuko y’essanyu erya nnamaddala era Kabaka Dawudi kino ya kitulaga atya?
‘BASANYUFU abo abalaba obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo, basanyufu abo ab’ekisa, basanyufu abo abatabaganya.’ Awamu n’ennyinnyonnyola endala mukaaga ezikwata ku abo abasanyufu, ebigambo ebyo byanjula bulungi Okubuulira kwa Yesu okw’Oku Lusozi, okuli mu Njiri ya Matayo. (Matayo 5:3-11) Ebigambo bya Yesu ebyo biwa obukakafu nti essanyu liyinza okufunika.
2 Zabbuli eyawandiikibwa Dawudi, Kabaka wa Isiraeri ow’edda etulaga nti ensibuko y’essanyu erya nnamaddala ye Yakuwa. “Sanyukiranga Mukama: naye anaakuwanga omutima gwo bye gusaba,” bwatyo Dawudi bwe yagamba. (Zabbuli 37:4) Naye okumanya Yakuwa n’engeri ze ez’enjawulo biyinza bitya okuleetera omuntu ‘okusanyuka ennyo’? Mu ngeri ki okumanya by’akoze ne by’anaakola ng’atuukiriza ebigendererwa bye gye kuyinza okukukakasa nti ojja kufuna ‘omutima gwo bye gusaba’? Bwe twekenneenya Zabbuli 37, olunyiriri 1 okutuuka ku 11, tufuna eky’okuddamu.
“Tokwatibwanga Buggya”
3, 4. Nga bwe kiri mu Zabbuli 37:1, magezi ki Dawudi gaawa, era lwaki kirungi okugakolerako leero?
3 Tuli mu ‘biro eby’okulaba ennaku,’ era nga n’obubi buyinze obungi. Tulabye okutuukirizibwa kw’ebigambo by’omutume Pawulo: “Abantu ababi n’abeetulinkiriza balyeyongera okuyitiriranga mu bubi, nga balimba era nga balimbibwa.” (2 Timoseewo 3:1, 13) Nga kiba kyangu nnyo okukwatibwa ababi obugya abalabika ng’abatuuse ku buwanguzi era abakulaakulana! Ebyo byonna bisobola okutuwugula, embeera yaffe ey’eby’omwoyo n’esebeengerera. Weetegereze engeri ebigambo ebisooka ebiri mu Zabbuli 37 gye bitulabula ku kabi kano: “Teweeraliikiriranga [“tosunguwalanga,” NW] lw’abo abakola obubi. So tokwatibwanga buggya ku abo abakola ebitali bya butuukirivu.”
4 Emikutu gy’eby’empuliziganya buli lunaku gitutuusaako amawulire mangi nnyo agakwata ku bikolwa eby’obutali bwenkanya. Tewali akuba ku mukono ab’eby’obusuubuzi abatali beesigwa. Abakozi b’obubi bakumpanya abo abatalina bumanyirivu. Abatemu tebakwatibwa oba tebabonerezebwa. Ebikolwa ebyo byonna ebitali bya bwenkanya biyinza okutunyiiza era ne bitumalako emirembe mu mitima gyaffe. Tuyinza okukwatirwa ababi obugya olw’obulamu bwabwe obulabika ng’obulungi. Naye, okukwatirwa ababi obugya kinaalongoosa embeera eyo? Okukwatibwa ababi obuggya olw’okuba ebintu bibagendera bulungi kinaakyusa ekinabaviiramu? N’akatono, n’aketondo! Ate era tewali nsonga yonna yandituleetedde ‘kusunguwala! Lwaki?
5. Lwaki abakozi b’obubi bageraageranyizibwa ku muddo?
5 Omuwandiisi wa Zabbuli awa eky’okuddamu: “Kubanga balisalwa mangu ng’essubi, baliwotoka ng’omuddo ogumera.” (Zabbuli 37:2) Omuddo guyinza okulabika obulungi, naye guwotoka era ne gukala mangu nnyo. Ekyo kyennyini kye kigenda okutuuka ku bakozi b’obubi. Embeera yaabwe ennungi, tegenda kuba ya lubeerera. Bwe bamala okufa, obugagga bwe baafuna mu makubo amakyamu buba tebukyabayamba. Ku nkomerero buli muntu aweebwa ekimugwanira. “Kubanga empeera y’ekibi kwe kufa,” bwatyo Pawulo bwe yawandiika. (Abaruumi. 6:23) Abakola obubi awamu n’abo bonna abatali batuukirivu, ku nkomerero bajja kufuna “empeera,” yaabwe. Ng’obulamu bw’abo abeeyisa mu ngeri eyo tebulina makulu n’akamu!—Zabbuli 37:35, 36; 49:16, 17.
6. Kiki kye tuyiga okuva mu Zabbuli 37:1, 2?
6 Kati olwo twandikkirizza obugagga obw’akaseera obuseera obw’ababi okutabangula emirembe gyaffe? Eky’okuyiga okuva mu nnyiriri ebbiri ezisooka eza Zabbuli 37 kye kino: Tokkiriza embeera ennungi gye balimu kukuleetera kuva ku kkubo ly’olonze ery’okuweereza Yakuwa. Mu kifo kyekyo, teeka ebirowoozo byo ku mikisa gy’oyinza okufuna ne ku biruubirirwa eby’omwoyo.—Engero 23:17.
‘Weesigenga Yakuwa, Okolenga Obulungi’
7. Lwaki twanditadde obwesige bwaffe mu Yakuwa?
7 “Weesige Mukama, okolenga obulungi,” bwatyo omuwandiisi wa Zabbuli bw’atukubiriza. (Zabbuli 37:3a) Bwe tuba tweraliikirira oba nga tubuusabuusa, obwesige bwaffe twandibutadde mu Yakuwa. Ye yekka ayinza okutuwa obukuumi obw’eby’omwoyo. “Atuula mu kifo eky’ekyama eky’Oyo ali waggulu ennyo ye anaabeeranga wansi w’ekisiikirize ky’Omuyinza w’ebintu byonna,” bwatyo Musa bwe yawandiika. (Zabbuli 91:1) Bwe tuyisibwa obubi olw’embeera z’ebintu ezeeyongera okwonooneka, olwo lwe tusinga n’okwetaaga okwesigama ku Yakuwa. Singa tuba tunuuse ekigere, tusanyuka mukwano gwaffe bw’atuwanirira okusobola okutambula. Mu ngeri y’emu, bwe tufuba okuba abeesigwa, tuba twetaaga Yakuwa okutuwanirira.—Isaaya 50:10.
8. Okwenyigira mu buweereza obw’Ekikristaayo kisobola kitya okutuyamba obutakwatibwa buggya bakozi b’obubi olw’embeera zaabwe ezirabika ng’ennungi?
8 Ekintu ekimu ekinaatuyamba obutakwatirwa bakozi ba bubi buggya olw’okuba obulamu bwabwe bulabika ng’obulungi, kwe kufuba ennyo okunoonya n’okuyamba abo abalinga endiga okufuna okuteegera okutuufu ku bigendererwa bya Yakuwa. Nga bwe twolekagana n’obubi obugenda bweyongera, twetaaga okukola ennyo okuyamba abalala. “Okukola obulungi n’okukkaanya tem[uby]erabiranga kubanga ssaddaaka eziringa ezo zisanyusa nnyo Katonda,” bwatyo Pawulo bwe yagamba. Ekisinga “obulungi” kye tuyinza okukola, kwe kubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Okubuulira kwaffe okw’omu lujjudde awatali kubuusabuusa “ssaddaaka ya ttendo.”—Abaebbulaniya 13:15, 16; Abaggalatiya 6:10.
9. Nnyonnyola ekyo Dawudi kye yali ategeeza bwe yagamba “beeranga mu nsi.”
9 Dawudi yeeyongera n’agamba nti ‘beeranga mu nsi obeerenga omwesigwa.’ (Zabbuli 37:3b) “Ensi” ey’omu biseera bya Dawudi kye kitundu Yakuwa kye yali awadde Isiraeri, Ensi Ensuubize. Mu bufuzi bwa Sulemaani ensalo zaayo zaali ziva e Dan mu bukiika kkono okutuuka e Basuseba mu bukiika ddyo. Ekitundu ekyo ye yali ensi ya Isiraeri. (1 Bassekabaka 4:25) Leero, buli wonna gye tubeera, twesunga ekiseera ensi yonna lw’enaafuuka olusuku lwa Katonda mu nsi empya ey’obutuukirivu. Ekiseera ekyo nga tekinnatuuka, tulina obukuumi obw’eby’omwoyo.—Isaaya 65:13, 14.
10. Biki ebivaamu bwe ‘tubeera abeesigwa’?
10 Kiki ekinaavaamu bwe ‘tunaabeeranga abeesigwa’? Olugero olwaluŋŋamizibwa lutujjukiza: “Omuntu ow’obwesigwa aliba n’emikisa mingi.” (Engero 28:20) Bwe tunyiikira okubuulira amawulire amalungi buli gye tubeera n’eri buli gwe tuba tuyinza, tujja kufuna emikisa mingi okuva eri Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Frank ne mukyala we, Rose, baatandika okukola nga bapayoniya mu kibuga ekimu mu Scotland owa bukiika kkono kati emyaka 40 egiyise. Abantu abatono abaali balaze nti baagala okuyiga amazima baddirira. Mu kifo ky’okuggwaamu amaanyi, ba payoniya abo abafumbo baatandika okubuulira n’okufula abayigirizwa. Kaakano waliyo ekibiina ekikola obulungi mu kibuga ekyo. Yakuwa awadde abafumbo bano emikisa mingi olw’obwesigwa bwabwe. Mu buwombeefu, Frank annyonnyola nti, “omukisa ogusingayo gwe tufunye kwe kuba nti tukyali mu mazima era nga tukyali ba mugaso eri Yakuwa.” Kituufu nti, bwe “tubeera abeesigwa,” tufuna emikisa mingi.
‘Sanyukiranga Yakuwa’
11, 12. (a) Tuyinza tutya ‘okusanyukira Yakuwa’? (b) Kiruubirirwa ki ky’osobola okuteekawo mu kwesomesa, era kiki ekiyinza okuvaamu?
11 Okusobola n’okubeeranga abeesigwa eri Yakuwa era n’okunyweza enkolagana yaffe naye, tuteekwa ‘okusanyukiranga Yakuwa.’ (Zabbuli 37:4a) Ekyo tuyinza kukikola tutya? Nga tumalira ebirowoozo byaffe ku Yakuwa mu kifo ky’okubimalira ku bitukwatako byokka, wadde nga kino kiyinza obutaba kyangu. Engeri emu ey’okukola ekyo, kwe kufuna ekiseera okusoma Ekigambo kye. (Zabbuli 1:1, 2) Okusoma Baibuli kukuleetera essanyu? Kujja kukuleetera essanyu bw’onoosoma ng’olina ekigendererwa eky’okuyiga ebisingawo ku Yakuwa. Lwaki tosirikiriramu oluvanyuma lw’okusoma ekitundu era ne weebuuza nti, ‘Ekitundu kino kinjigiriza ki ku Yakuwa?’ Kiba kirungi okuba n’akatabo oba akapapula ng’osoma Baibuli. Buli lw’osiriikiriramu okufumiitiriza ku makulu g’ebyo by’oba omaze okusoma, baako ne by’owandiika ebinakujjukiza emu ku ngeri za Katonda ezisikiriza. Mu Zabbuli endala, Dawudi yagamba: “Ebigambo eby’omu kamwa kange n’okulowooza okw’omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama era Omununuzi.” (Zabbuli 19:14) Bwe tusoma ekigambo kya Katonda mu ngeri eno ‘kisanyusa’ Yakuwa era naffe kitusanyusa.
12 Okwesomesa n’okufumiitiriza biyinza bitya okutuleetera essanyu? Tusobola okukifuula ekiruubirirwa kyaffe okuyiga bingi nga bwe tusobola ku Yakuwa ko n’amakubo ge. Ebitabo nga The Greatest Man Who Ever Lived ne Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwaa birina bingi bye bituyigiriza bye tuyinza okufumiitirizaako mu ngeri ey’omuganyulo. Dawudi naye akakasa abantu abatuukirivu nti, Yakuwa ‘anaabawanga omutima gwabwe bye gusaba.’ (Zabbuli 37:4b) Obukakafu ng’obwo buteekwa okuba nga bwaleetera omutume Yokaana okuwandiika bw’ati: “Buno bwe bugumu bwe tulina eri ye nti, bwe tusaba ekintu nga bwayagala atuwulira. Era bwe tumanya ng’[a]wulira buli ky’etusaba, tumanyi nga tulina ebyo bye tumusabye.”—1 Yokaana 5:14, 15.
13. Mu myaka gye twakakuba amabega, kukulaakulana ki okutuukiddwako mu kubuulira amawulire g’Obwakabaka mu nsi nnyingi?
13 Ng’abantu abagolokofu twegomba nnyo okulaba ng’obufuzi bwa Yakuwa bugulumizibwa. (Engero 27:11) Emitima gyaffe tegibugaana ssanyu bwe tumanya omulimu ogw’amaanyi baganda baffe gwe bakola mu nsi ezaali zifugibwa bannakyemalira? Twesunga okufuna eddembe ly’okubuulira ne mu bitundu ebirala ng’enkomerero y’omulembe guno tennabalukawo. Bangi ku baweereza ba Yakuwa abali mu nsi emirimu gy’Ekikristaayo gye gitakugirwa bafubye okubuulira abayizi, abanoonyi b’obubudamo, n’abalala abali mu nsi ezo abatagenda kubeerayo kiseera kyonna. Kye twandyagadde kiri nti ab’oluganda abo bwe baba bazzeeyo eka, beeyongere okuleka ekitangaala kyabwe eky’amazima okwakayakana ne mu nsi ezo ezitalina ddembe lya kusinza.—Matayo 5:14-16.
‘Weeteekenga mu Mikono gya Yakuwa’
14. Bujulizi ki obuliwo obulaga nti tusobola okwesiga Yakuwa?
14 Nga buweerero bwa maanyi nnyo okumanya nti ebitweraliikiriza byonna n’ebyo ebirabika ng’ebitunyigiriza bijja kutuweewulwako! Kino kinaasoboka kitya? Dawudi yagamba:‘Weetekenga mu mikono gya Mukama, era mwesigenga anaakuyambanga.’ (Zabbuli 37:5) Mu bibiina byaffe, tulinamu obujulizi bungi obukakasa nti Yakuwa asobola okutuwanirira. (Zabbuli 55:22) Bonna abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, gamba nga bapayoniya, abalabirizi abatambula, abaminsani, oba abo abaweereza nga bannakyewa ku Beseri, bakakasa nti Yakuwa abalabiridde bulungi. Lwaki toyogerako n‘abamu ku baweereza ng’abo b’omanyi n’obabuuza engeri Yakuwa gy’abalabiriddemu? Awatali kubuusabuusa ojja kuwulira bingi ku bye bayiseemu ebiraga nti ne mu mbeera enzibu, Yakuwa abayambye. Bulijjo abawa bye beetaaga mu bulamu.—Zabbuli 37:25; Matayo 6:25-34.
15. Obutuukirivu bw’abantu ba Katonda bwaaka butya?
15 Bwe twesiga Yakuwa mu bujjuvu, ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli ebiddirira biyinza okutuukirira gye tuli: “Era anaayolesaanga obutuukirivu bwo ng’omusana, n’omusango gwo ng’ettuntu.” (Zabbuli 37:6) Ffe Abajulirwa ba Yakuwa, emirundi mingi twogerwako ebyakalebule. Naye Yakuwa ayamba abo abeesimbu okukitegeera nti okwagala kwe tulina gy’ali ne baliraanwa baffe, kwe kutukubiriza okubuulira mu lujjudde. Mu kiseera kye kimu, empisa zaffe ennungi wadde nga zoogerwako bubi, zeeyoleka lwatu. Yakuwa atuyamba okuyita mu kuyigganyizibwa okwa buli ngeri. Era n’ekivaamu, obutuukirivu bw’abantu ba Katonda bwakaayakana ng’enjuba mu ttuntu.—1 Peetero 2:12.
‘Sirika era Lindirira n’Okugumiikiriza’
16, 17. Okusinziira ku Zabbuli 37:7, kino kiseera kya kukola ki era lwaki?
16 Ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli ebiddako bye bino: “Sirika eri Mukama omulindirirenga n’okugumiikiriza. Teweeraliikiriranga lw’oyo alaba ebirungi mu kkubo lye, olw’omuntu atuukiriza enkwe ez’obubi.” (Zabbuli 37:7) Wano Dawudi aggumiza obwetaavu bw’okulindirira Yakuwa n’obugumiikiriza okusobola okubaako ky’akolawo. Tetuyinza kwemulugunya olw’okuba enkomerero y’omulembe guno tennajja. Tetukirabye nti ekisa kya Yakuwa ko n’obugumiikiriza bwe bya maanyi nnyo n’okusinga bwe twali tulowooza? Naffe tusobola okulaga nti tulinda n’obugumiikiriza nga tweyongera okwenyigira mu kubuulira amawulire amalungi ng’enkomerero tennatuuka? (Makko13:10) Kaakano kye ekiseera okwewala okukola ebyo ebiyinza okutumalako emirembe awamu n’obukuumi bw’eby’omwoyo. Kati kye kiseera okuziyiza ennyo n’okusinga ne bwe kyali kibadde engeri ezoonoona ez’ensi ya Setaani. Era kati kye ekiseera okukuuma empisa zaffe nga nnyonjo era n’obutateeka nkolagana yaffe nnungi ne Yakuwa mu kabi. Ka tweyongere okukyawa ebirowoozo ebibi era n’okwewala ebikolwa ebitasaana eri abo be tutafanaganya, oba be tufanaganya nabo ekikula.—Abakkolosaayi 3:5.
17 Dawudi atubuulirira nti: “Lekanga obusungu ovenga mu kiruyi. Teweeraliikiriranga, okwagala obwagazi okuleeta obubi. Kubanga abakola obubi balizikirizibwa: naye abo abalindirira Mukama abo be balisikira ensi.” (Zabbuli 37:8, 9) Yee, twesunga nnyo ekiseera—kati ekiri okumpi ennyo—Yakuwa bw’anaamalawo obubi bwonna ku nsi wamu n’abo ababukola.
‘Mu Kaseera Katono’
18, 19. Zabbuli 37:10 ekuzzaamu etya amaanyi?
18 “Kubanga waliba akaseera katono, n’omubi talibeerawo. Weewaawo, ekifo kye olikitunuulira ddala, naye talibeerawo.” (Zabbuli 37:10) Ebigambo ebyo nga bituzzaamu nnyo amaanyi nga tugenda tusemberera enkomerero y’omulembe guno oggwewaggudde ku Yakuwa! Buli gavumenti ekoleddwa abantu eremereddwa ddala. Kati ekiseera kiri kumpi tuddemu okufugibwa Obwakabaka bwa Yakuwa nga buli mu mikono gya Yesu. Bwe bujja okufuga ensi era buggyewo abo bonna ababuwakanya.—Danyeri 2:44.
19 Mu nsi empya, eriba wansi w’Obwakabaka bwa Katonda, ne bw’olinoonya otya, tojja kuzuula ‘mukozi wa bubi’ yenna. Mu butuufu, buli alijeemera Yakuwa mu kiseera ekyo ajja kuzikirizibwa. Tewali n’omu aliwakanya bufuzi bwe alikkirizibwa okubeerayo. Baliraanwa bo bonna bajja kuba bumu nga bakola ebisanyusa Yakuwa. Nga kirituwa obukuumi bwa maanyi nnyo—nga tewakyali makufulu oba enzigi ez’ebyuma, era nga tewali kintu kyonna kireetawo butesigaŋŋana oba okutumalako essanyu!—Isaaya 65:20; Mikka 4:4; 2 Peetero 3:13.
20, 21. (a) “Abawombeefu” ab’omu Zabbuli 37:11 be baluwa” era wa gye bafunira “emirembe emingi”? (b) Mikisa ki gye tunaafuna singa tukoppa Dawudi Omukulu?
20 Olwo nno, “abawombeefu balisikira ensi; era banaasanyukiranga emirembe emingi.” (Zabbuli 37:11a) Naye “abawombeefu” bano be baluwa? Ekigambo ekivvuunulwa “obuwombeefu” kiva mu kigambo ekitegeeza “okubonyaabonya, obwetowaaze, okufeebezebwa.” Yee, “abawombeefu” beebo mu bwetoowaze abalindirira Yakuwa okumalawo obutali bwenkanya bwonna. “Era banaasanyukiranga emirembe emingi.” (Zabbuli 37:11b) Wadde ne kaakati, tulina emirembe mingi mu embeera ennungi eyeby’omwoyo esangibwa mu kibiina Ekikristaayo.
21 Wadde ng’okubonaabona tekunnagibwawo, tuyambagana era ne tubuddabudda abo abennyamivu. N’ekivaamu, emirembe egya nnamaddala girabika mu bantu ba Yakuwa. Ab’oluganda abalondebwa okuba abakadde, mu ngeri ey’okwagala bakola ku byetaago byaffe eby’omwoyo ate era oluusi ne ku by’omubiri ne kitusobozesa okugumira okubonaabona olw’obutuukirivu. (1 Abassessaloniika 2:7, 11; 1 Peetero 5:2, 3) Emirembe gino nga kintu kya muwendo nnyo! Ate era tulina essuubi ery’obulamu obw’emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda olunaatera okutuuka. Kale nno, ka tukoppe Dawudi Omukulu, Kristo Yesu, olw’obunyiikivu, eyaweereza Yakuwa n’obwesigwa okutuukira ddala ku nkomerero. (1 Peetero 2:21) Bwe tunaakola ekyo, tujja kweyongera okuba basanyufu, nga tutendereza oyo gwe tusanyukiramu, Katonda waffe, Yakuwa.
[Obugambo obuli wansi]
a Byakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Osobola Okuddamu?
• Kiki ky’oyize okuva mu Zabbuli 37:1, 2?
• Oyinza otya ‘okusanyukira Yakuwa’?
• Bujulizi ki obuliwo obulaga nti tuyinza okwesiga Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
‘Weesigenga Yakuwa okolenga obulungi’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
“Abawombeefu balisikira ensi”