EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ZEFFANIYA 1-KAGGAYI 2
Munoonye Yakuwa ng’Olunaku lw’Obusungu Bwe Terunnatuuka
Yakuwa bw’aba ow’okutuwonyaawo ku lunaku olw’obusungu bwe, tulina okukola ekisingawo ku kwewaayo gy’ali. Tulina okugondera ekiragiro Zeffaniya kye yawa Abayisirayiri.
Munooye Yakuwa: Tusaanidde okukuŋŋaananga awamu tusobole okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa
Munoonye obutuukirivu: Tulina okugoberera emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu
Munoonye obuwombeefu: Kikulu okuba abawombeefu tusobole okukola Yakuwa by’ayagala era n’okukkiriza okukangavvulwa
Nnyinza ntya okweyongera okunoonya Yakuwa, okunoonya obutuukirivu, n’okunoonya obuwombeefu?