Weeyise ng’Omutuuze w’Obwakabaka!
“Mweyise mu ngeri egwanira amawulire amalungi.”—BAF. 1:27.
WANDIZZEEMU OTYA?
Ani asobola okuba omutuuze w’Obwakabaka?
Kitegeeza ki okuyiga olulimi lw’Obwakabaka, ebyafaayo byabwo, n’amateeka gaabwo?
Abatuuze b’Obwakabaka balaga batya nti baagala nnyo amateeka ga Katonda?
1, 2. Lwaki ebigambo bya Pawulo eri ab’oluganda abaali mu kibiina ky’e Firipi byali bya makulu nnyo gye bali?
OMUTUME Pawulo yakubiriza ab’oluganda mu kibiina ky’e Firipi ‘okweyisa mu ngeri egwanira amawulire amalungi.’ (Soma Abafiripi 1:27.) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “mweyise,” era kisobola okuvvuunulwa nga “mweyise ng’abatuuze.” Ebigambo ebyo byali bya makulu nnyo eri ab’oluganda mu kibiina ky’e Firipi. Lwaki? Kubanga kirabika obwakabaka bwa Rooma bwali buwadde abantu abaali mu Firipi obutuuze bwa Rooma era nga basobola okukuumibwa amateeka ga Rooma. Abantu b’omu Firipi baali beenyumiriza nnyo mu kuba n’obutuuze bwa Rooma kubanga ekyo kyabasobozesanga okufuna enkizo abantu abasinga obungi mu kiseera ekyo ze bataalina.
2 Ab’oluganda mu kibiina ky’e Firipi baalina ensonga ey’amaanyi eyandibaleetedde okwenyumiriza. Pawulo yajjukiza Abakristaayo abo abaafukibwako amafuta nti obutuuze bwabwe bwali “mu ggulu.” (Baf. 3:20) Baali batuuze ba Bwakabaka bwa Katonda obusingira ewala gavumenti z’abantu. Bwe kityo, baalina obukuumi n’enkizo ebitageraageranyizika.—Bef. 2:19-22.
3. (a) Baani abalina enkizo okuba abatuuze b’Obwakabaka? (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Ebigambo bya Pawulo “mweyise ng’abatuuze” okusingira ddala bikwata ku abo abajja okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. (Baf. 3:20) Naye era ebigambo ebyo bisobola n’okukwata ku abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda. Lwaki? Kubanga ffenna tuweereza Kabaka omu, Yakuwa, era ffenna atwetaagisa okutambulira ku mitindo gye gimu. (Bef. 4:4-6) Leero, abantu bafuba nnyo okusobola okufuna obutuuze mu nsi ezaakulaakulana edda. Kati olwo ffe abaagala okuba abatuuze b’Obwakabaka bwa Katonda tetwandifubye nnyo n’okusingawo! Okusobola okweyongera okusiima enkizo eyo ey’ekitalo, tugenda kugeraageranya ebisaanyizo eby’okufuuka omutuuze mu gavumenti z’abantu n’ebyo eby’okufuuka omutuuze mu Bwakabaka bwa Katonda. Era tugenda kulaba ebintu bisatu bye tusaanidde okukola okusobola okusigala nga tuli batuuze b’Obwakabaka.
EBISAANYIZO BY’OKUBA OMUTUUZE
4. Olulimi olulongoofu kye ki, era “tulwogera” tutya?
4 Okuyiga olulimi. Gavumenti ezimu zeetaagisa abo ababa baagala okufuuka abatuuze mu ggwanga okuyiga olulimi olukulu olwogerwa mu ggwanga eryo. Abantu abamu ne bwe baba nga bamaze okufuna obutuuze mu nsi emu, kiyinza okubatwalira emyaka egiwerako okusobola okuyiga obulungi olulimi olwogerwa mu nsi eyo. Kiyinza okubanguyira okuyiga amateeka agafuga olulimi olwo, naye kiyinza okubatwalira ekiseera kiwanvu okuyiga okwatula obulungi ebigambo. Mu ngeri y’emu, abo abaagala okuba abatuuze b’Obwakabaka bwa Katonda kibeetaagisa okuyiga olulimi oluggya, Bayibuli lw’eyita “olulimi olulongoofu.” (Soma Zeffaniya 3:9.) Olulimi olwo kye ki? Ge mazima agakwata ku Katonda awamu n’ebigendererwa bye agasangibwa mu Bayibuli. “Twogera” olulimi olulongoofu nga tweyisa mu ngeri etuukana n’amateeka ga Katonda awamu n’emisingi gye. Ng’abatuuze b’Obwakabaka bwa Katonda kiyinza okutwanguyira okuyiga enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako era ne tubatizibwa. Naye n’oluvannyuma lw’okubatizibwa, tuba tulina okufuba okwongera okuyiga “okwogera” obulungi olulimi olulongoofu. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Buli omu ku ffe alina okufuba okwongera okukolera ku bintu by’ayiga mu Bayibuli.
5. Lwaki tusaanidde okwongera okuyiga ebyafaayo by’ekibiina kya Yakuwa?
5 Okuyiga ebyafaayo. Omuntu ayagala okufuuka omutuuze mu nsi endala kiyinza okumwetaagisa okumanya ebyafaayo by’ensi eyo. Mu ngeri y’emu, abo abaagala okuba abatuuze b’Obwakabaka beetaaga okuyiga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Tusaanidde okukoppa ekyokulabirako kya batabani ba Koola abaali baweereza mu Isiraeri ey’edda. Baali baagala nnyo ekibuga Yerusaalemi n’ekifo gye baasinzizanga Yakuwa era baali baagala nnyo okwogera ku byafaayo by’ekibuga ekyo. Baali baagala nnyo ekibuga ekyo awamu n’ekifo we baasinzizanga Yakuwa si lwa kuba nti byali birabika bulungi naye lwa kuba byali bikiikirira ekintu ekikulu ennyo. Yerusaalemi kye kyali ‘ekibuga kya Kabaka omukulu,’ Yakuwa, kubanga ye yali entabiro y’okusinza okw’amazima. Mu Yerusaalemi abantu gye baayigiranga Amateeka ga Yakuwa. Abo abaafugibwanga kabaka w’omu Yerusaalemi be bantu Yakuwa be yali ayagala era be yali asiima. (Soma Zabbuli 48:1, 2, 9, 12, 13.) Okufaananako batabani ba Koola, naawe oyagala nnyo okuyiga ebyafaayo by’ekibiina kya Yakuwa n’okubyogerako? Bw’oneeyongera okuyiga ebikwata ku kibiina kya Yakuwa n’engeri gy’ayambyemu abantu be, Obwakabaka bwa Katonda bujja kweyongera okuba obwa ddala gy’oli. Ekyo kijja kukukubiriza okwongera okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka.—Yer. 9:24; Luk. 4:43.
6. Lwaki twetaaga okumanya amateeka ga Yakuwa n’emisingi gye?
6 Okumanya amateeka. Gavumenti z’abantu zeetaagisa abantu okumanya amateeka g’ensi n’okugakwata. Mu ngeri y’emu, Yakuwa yeetaagisa abo abaagala okuba abatuuze b’Obwakabaka okumanya amateeka ge n’emisingi gye era babikolereko. (Is. 2:3; Yok. 15:10; 1 Yok. 5:3) Amateeka g’abantu tegatuukiridde era oluusi gabaako be ganyigiriza. Naye amateeka ga Yakuwa go gaatuukirira. (Zab. 19:7) Ofuba okusoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku era oyagala nnyo amateeka ge? (Zab. 1:1, 2) Buli omu ku ffe alina okufuba okuyiga amateeka ga Katonda. Ekyo tewali ayinza kukitukolera.
ABATUUZE B’OBWAKABAKA BAAGALA NNYO AMATEEKA GA YAKUWA
7. Lwaki abatuuze b’Obwakabaka bakwata amateeka ga Katonda?
7 Okusobola okusigala nga tuli batuuze b’Obwakabaka, tulina okumanya amateeka ga Katonda n’okugaagala. Abantu bangi bagamba nti baagala nnyo amateeka g’ensi mwe babeera. Naye bwe wabaawo etteeka lye bawulira nga libanyigiriza, bwe watabaawo abalaba, basalawo okulimenya. Emirundi egisinga abantu bakwata amateeka lwa kwagala kusanyusa balala. (Bak. 3:22) Kyokka abatuuze b’Obwakabaka si bwe batyo bwe bali. Bakwata amateeka ga Katonda ne bwe kiba nti tewali muntu yenna abalaba. Lwaki? Kubanga baagala nnyo Yakuwa, Omuteesi w’amateeka.—Is. 33:22; soma Lukka 10:27.
8, 9. Oyinza otya okumanya obanga ddala oyagala amateeka ga Katonda?
8 Oyinza otya okumanya obanga ddala oyagala amateeka ga Katonda? Lowooza ku ngeri gye weeyisaamu nga bakulaze ekintu ky’olina okutereezaamu. Kiyinza okuba ekintu ky’owulira nti tewali alina kukusalirawo, gamba ng’ennyambala n’okwekolako. Bwe wali tonnafuuka mutuuze wa Bwakabaka, oyinza okuba nga wali oyambala bubi oba nga wali omala geeyambalira. Naye okwagala kw’olina eri Katonda bwe kwagenda kweyongera, wayiga okwambala mu ngeri emuweesa ekitiibwa. (1 Tim. 2:9, 10; 1 Peet. 3:3, 4) Kati oyinza okuba olowooza nti oyambala bulungi. Naye watya singa omukadde akugamba nti ennyambala yo yeesittaza ab’oluganda mu kibiina? Wandyeyisizza otya? Wandyewolerezza, wandimunyiigidde, oba wandigaanye okukyusa mu nnyambala yo? Erimu ku mateeka agasinga obukulu abatuuze b’Obwakabaka ge balina okukwata kwe kukoppa Kristo. (1 Peet. 2:21) Pawulo yagamba nti “ne Kristo teyeesanyusa yekka.” Mu ngeri y’emu, ‘buli omu ku ffe asaanidde okusanyusa munne mu kintu ekirungi olw’okumuzimba.’ (Bar. 15:2, 3) Okusobola okukuuma emirembe mu kibiina, Omukristaayo akuze mu by’omwoyo asaanidde okwewala ekintu kyonna ekiyinza okwesittaza abalala.—Bar. 14:19-21.
9 Ate era lowooza ne ku bintu bino ebibiri: endowooza gy’olina ku bufumbo n’okwegatta. Abantu abatali batuuze ba Bwakabaka ebintu, gamba ng’okulya ebisiyaga, ebifaananyi eby’obugwenyufu, obwenzi, n’okugattululwa mu bufumbo, babitwala ng’ebitalina mutawaana gwonna. Naye abatuuze b’Obwakabaka balowooza ku ebyo ebiyinza okuva mu bikolwa byabwe ebibi n’engeri gye biyinza okukwata ku balala. Wadde ng’Abakristaayo abamu bwe baali tebannayiga mazima baali beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, kati obufumbo n’okwegatta babitwala ng’ebirabo okuva eri Katonda. Baagala nnyo amateeka ga Yakuwa era bakimanyi nti abo abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu tebasobola kuba batuuze ba Bwakabaka. (1 Kol. 6:9-11) Ate era bakimanyi nti omutima mulimba. (Yer. 17:9) Bwe kityo, basiima okulabula okubaweebwa okubayamba okunywerera ku mitindo gya Katonda egy’empisa.
ABATUUZE B’OBWAKABAKA BAKOLERA KU KULABULA OKUBAWEEBWA
10, 11. Kulabula ki Obwakabaka bwa Katonda kwe buwadde abatuuze baabwo, era okulabula okwo okutwala otya?
10 Gavumenti esobola okulabula abantu obutalya mmere oba obutakozesa ddagala eriyinza okuba ery’akabi eri obulamu bwabwe. Kya lwatu nti si buli mmere oba ddagala nti liba lya kabi eri obulamu bw’abantu. Naye singa wabaawo emmere oba eddagala ery’akabi eri obulamu bw’abantu, gavumenti ekuuma abantu baayo ng’ebalabula okubyewala. Singa gavumenti terabula bantu baayo, kiba kiraga nti tebafaako. Mu ngeri y’emu, Obwakabaka bwa Katonda nabwo bulabula abatuuze baabwo ku bintu ebiyinza okuleetera empisa zaabwe okwonooneka n’okubatuusaako akabi mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, abantu bakozesa Intaneeti okuwuliziganya n’abalala, okunoonyereza ku bintu ebitali bimu, n’okwesanyusaamu. Ekibiina kya Yakuwa nakyo kikozesa nnyo Intaneeti mu mulimu gw’Obwakabaka. Kyokka, emikutu gya Intaneeti egisinga obungi gya kabi nnyo eri abatuuze b’Obwakabaka. Emikutu mingi egya Intaneeti giriko ebifaananyi eby’obugwenyufu. Okumala emyaka mingi omuddu omwesigwa abadde atulabula okwewala emikutu ng’egyo. Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti atulabula ku bintu ebiyinza okutuleetera okufiirwa enkolagana yaffe ne Yakuwa!
11 Ennaku zino, waliwo engeri y’okuwuliziganya n’abantu ku Intaneeti (social networking) ecaase ennyo. Okukozesa Intaneeti mu ngeri eyo kisobola okuba eky’omuganyulo oba eky’obulabe gye tuli. N’olwekyo, tusaanidde okuba abeegendereza ennyo bwe tuba ab’okukozesa Intaneeti mu ngeri eyo. Bwe tutakola tutyo, tuyinza okwesanga nga tuwuliziganya n’abantu ababi. (1 Kol. 15:33) Eyo ye nsonga lwaki ekibiina kya Yakuwa kitukubiriza okuba abeegendereza ennyo nga tuwuliziganya n’abantu ku Intaneeti. Ofubye okusoma ebitundu byonna omuddu omwesigwa by’afulumizza ebikwata ku kuwuliziganya n’abantu ku intaneeti? Nga tekiba kya magezi kukozesa Intaneeti mu ngeri eyo nga tosoose kusoma bitundu ebyo!a Ekyo kiba ng’okumira eddagala ery’amaanyi nga tosoose kusoma bulagirizi obuli ku mukebe gwalyo.
12. Lwaki tekiba kya magezi kugaana kukolera ku kulabula okutuweebwa?
12 Abo abagaana okukolera ku kulabula omuddu omwesigwa kw’atuwa beereetera ebizibu era ne babireetera n’abalala. Abamu bagufudde muze okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu oba beenyigidde mu bikolwa eby’obugwenyufu naye ne batandika okwerimbalimba nti Yakuwa talaba ebyo bye bakola. Nga kiba kya busirusiru okulowooza nti tusobola okukweka Yakuwa ebyo bye tukola! (Nge. 15:3; soma Abebbulaniya 4:13.) Katonda ayagala okuyamba abantu ng’abo era akozesa abakadde okubayamba. (Bag. 6:1) Nga gavumenti z’abantu bwe zisobola okusazaamu obutuuze bw’omuntu omumenyi w’amateeka, ne Yakuwa ajja kusazaamu obutuuze bw’abo abamenya amateeka ge naye ne bagaana okwenenya.b (1 Kol. 5:11-13) Kyokka, Yakuwa wa kisa nnyo. Abo abeenenya era ne bakyusa enneeyisa yaabwe basobola okuddamu okuba n’enkolagana ennungi naye era ne basigala nga batuuze ba Bwakabaka. (2 Kol. 2:5-8) Nga twesiimye nnyo okuba nti tuweereza Kabaka oyo ow’okwagala!
ABATUUZE B’OBWAKABAKA BATWALA OBUYIGIRIZE NG’EKINTU EKIKULU
13. Abatuuze b’Obwakabaka balaga batya nti obuyigirize babutwala ng’ekintu ekikulu?
13 Gavumenti z’abantu nnyingi zifuba nnyo okulaba nti abatuuze baazo bafuna obuyigirize. Zizimba amasomero okuyamba abantu baazo okufuna obuyigirize obwetaagisa. Abatuuze b’Obwakabaka basiima enteekateeka eyo kubanga ebasobozesa okuyiga okusoma, okuwandiika, n’okuyiga okukola emirimu egibasobozesa okweyimirizaawo. Naye okusingira ddala basiima obuyigirize bwe bafuna mu kibiina kya Yakuwa. Ekibiina kya Yakuwa kitukubiriza okusoma era kikubiriza n’abazadde okusomera abaana baabwe. Buli mwezi, omuddu omwesigwa akuba magazini ya Watchtower ne Awake! Singa osoma empapula nga ssatu buli lunaku, ku nkomerero y’omwezi magazini ezo ojja kuba omaze okuzisoma. Bw’onookola bw’otyo ojja kweyongera okuganyulwa mu buyigirize Yakuwa bw’atuwa.
14. (a) Tutendekebwa tutya buli wiiki? (b) Magezi ki agakwata ku Kusinza kw’Amaka g’okoleddeko?
14 Buli wiiki, abatuuze b’Obwakabaka batendekebwa mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Ng’ekyokulabirako, Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, kati erimaze emyaka egisukka mu 60, liyambye abo abalibaamu okuyiga okuyigiriza obulungi Ekigambo kya Katonda. Oli mu ssomero eryo? Ate era omuddu omwesigwa atukubiriza okuba n’akawungeezi ak’Okusinza kw’Amaka buli wiiki. Enteekateeka eno eyambye nnyo amaka okuba obumu. Ofubye okukozesa amagezi agali mu bitabo byaffe agakwata ku Kusinza kw’Amaka?c
15. Nkizo ki ey’ekitalo gye tulina?
15 Abatuuze mu nsi nnyingi batera okubaako ebibiina by’obufuzi bye bawagira era bakubiriza n’abalala okubiwagira. Abamu batuuka n’okugenda nnyumba ku nnyumba nga banoonya abawagizi. Abatuuze b’Obwakabaka mu nsi yonna balaga nti bawagira Obwakabaka bwa Katonda nga babuulira nnyumba ku nnyumba ne ku nguudo. Mu butuufu, nga bwe twalaba mu kitundu eky’okusoma ekyayita, magazini ya Watchtower, erangirira Obwakabaka bwa Yakuwa, ye magazini esinga okusaasaanyizibwa mu nsi yonna! Tulina enkizo ya maanyi nnyo okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Ofuba okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu?—Mat. 28:19, 20.
16. Oyinza otya okukiraga nti oli mutuuze mulungi ow’Obwakabaka bwa Katonda?
16 Mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bwa Katonda ye gavumenti yokka ejja okuba ng’efuga ensi yonna. Amateeka gaayo ge gokka agajja okuba nga gafuga abantu. Onooba omu ku batuuze abalungi ab’Obwakabaka bwa Katonda abanaabaawo mu kiseera ekyo? Kino kye kiseera okukiraga nti ojja kuba mutuuze mulungi. N’olwekyo, buli kimu ky’okola, kikole olw’okuweesa Yakuwa ekitiibwa okirage nti weeyisa ng’omutuuze omulungi ow’Obwakabaka bwa Katonda.—1 Kol. 10:31.
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Awake! eya Jjulaayi 2011, olupapula 24-27; Agusito 2011, olupapula 10-13; n’eya Febwali 2012, olupapula 3-9.
c Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 15, 2011, olupapula 6-7 ne Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2011, olupapula 3-6.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 14]
Ofuba okukolera ku kulabula okutuweebwa okukwata ku kukozesa Intaneeti?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Okufaananako batabani ba Koola, naawe oyagala nnyo okusinza okw’amazima n’ebyafaayo byakwo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Okusinza kw’Amaka kujja kukuyamba awamu n’ab’omu maka go okuba abatuuze b’Obwakabaka abalungi