ESSUULA 17
“Ndi Mulabe Wo Ggwe Googi”
OMULAMWA: Amakulu ga “Googi” ‘n’ensi’ gy’alumba
1, 2. Lutalo ki olw’amaanyi olunaatera okubaawo, era bibuuzo ki ebijjawo? (Laba ekifaananyi waggulu.)
OKUMALA enkumi n’enkumi z’emyaka, abantu balwanye entalo ezifiiriddemu obukadde n’obukadde bw’abantu, nga muno mwe muli n’abo abaafiira mu Ssematalo eyasooka ne mu Ssematalo ow’okubiri ezaaliwo mu kyasa ekya 20. Naye olutalo olugenda okusinga entalo zonna ezaali zibadde ku nsi lukyali mu maaso. Olutalo olwo terujja kuba wakati w’abantu, ng’amawanga ku nsi galwanagana gokka na gokka. Luno lutalo “olujja okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.” (Kub. 16:14) Omulabe ow’amalala ajja kulumba ensi Katonda gy’atwala nga ya muwendo kiviireko Yakuwa Mukama Afuga Byonna okulwana olutalo olwo olutalabwangako ku nsi.
2 Ekyo kituleetera okwebuuza ebibuuzo bino: Omulabe oyo y’ani? Nsi ki gy’ajja okulumba? Ddi era lwaki ajja kulumba ensi eyo, era anaagirumba atya? Okuva bwe kiri nti ebintu ebyo bijja kutukwatako ffe abaweereza ba Yakuwa ku nsi, twetaaga okumanya eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo. Eby’okuddamu bisangibwa mu bunnabbi obuli mu Ezeekyeri essuula 38 ne 39.
Omulabe—Googi ow’e Magoogi
3. Mu bufunze, obunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku Googi ow’e Magoogi bugamba ki?
3 Soma Ezeekyeri 38:1, 2, 16, 18; 39:4, 11. Mu bufunze, obunnabbi obwo bugamba nti: “Mu nnaku ezisembayo,” omulabe ayitibwa ‘Googi ow’e Magoogi’ alumba “ensi” y’abantu ba Katonda. Naye obulumbaganyi obwo buviirako ‘obusungu bwa Yakuwa’ okubuubuuka, era Yakuwa asitukiramu n’alwanyisa Googi n’amuwangula.a Oluvannyuma lw’okuwangula omulabe oyo awamu n’abo abali naye, Yakuwa abawaayo ‘ne baliibwa ebinyonyi ebirya ennyama ebya buli ngeri n’ensolo ez’omu nsiko.’ Oluvannyuma Yakuwa awa Googi “ekifo eky’okumuziikamu.” Okusobola okutegeera engeri obunnabbi obwo gye bujja okutuukirizibwamu mu maaso awo, twetaaga okusooka okutegeera Googi.
4. Kiki kye tumanyi ku Googi ow’e Magoogi?
4 Kati olwo Googi ow’e Magoogi y’ani? Okusinziira ku bunnabbi bwa Ezeekyeri tusobola okugamba nti Googi mulabe w’abantu ba Katonda. Googi linnya lya bunnabbi erya Sitaani, omulabe lukulwe ow’okusinza okw’amazima? Okumala emyaka mingi, ebitabo byaffe bwe bityo bwe byali bigamba. Naye bwe tweyongera okwekenneenya obunnabbi bwa Ezeekyeri, twakiraba nti twali twetaaga okukyusa mu ngeri gye twali tutegeeramu obunnabbi obwo. Omunaala gw’Omukuumi gwakiraga nti Googi ow’e Magoogi si kitonde eky’omwoyo wabula bantu. Googi ow’e Magoogi ge mawanga agagenda okwegatta awamu okulwanyisa okusinza okulongoofu.b Nga tetunnalaba kwe tusinziira okugamba bwe tutyo, ka tusooke tulabeyo ebintu bibiri ebiri mu bunnabbi bwa Ezeekyeri ebiraga nti Googi si kitonde kya mwoyo.
5, 6. Obunnabbi bwa Ezeekyeri bulaga butya nti Googi ow’e Magoogi si kitonde kya mwoyo?
5 “Ndibawaayo ne muliibwa ebinyonyi ebirya ennyama.” (Ezk. 39:4) Emirundi mingi Ebyawandiikibwa bwe byogera ku binyonyi ebirya emirambo biba birabula abantu ku musango Yakuwa gw’aba asaze. Yakuwa yawa okulabula ng’okwo eri eggwanga lya Isirayiri n’eri amawanga amalala. (Ma. 28:26; Yer. 7:33; Ezk. 29:3, 5) Weetegereze nti okulabula okwo tekwaweebwa bitonde bya mwoyo wabula bantu, abalina omubiri ogw’ennyama n’omusaayi. Ekyo kiri kityo, kubanga ebinyonyi n’ensolo birya nnyama, so si mwoyo. N’olwekyo, okulabula okwo okuli mu bunnabbi bwa Ezeekyeri kulaga nti Googi si kitonde kya mwoyo.
6 “Ndiwa Googi ekifo eky’okumuziikamu mu Isirayiri.” (Ezk. 39:11) Ebyawandiikibwa tebiraga nti ebitonde eby’omwoyo biziikibwa ku nsi. Naye bigamba nti Sitaani ne badayimooni bajja kusuulibwa mu bunnya babeeremu okumala emyaka 1,000, era oluvannyuma bajja kusuulibwa mu nnyanja ey’omuliro, ekiikirira okuzikirizibwa okw’emirembe n’emirembe. (Luk. 8:31; Kub. 20:1-3, 10) Okuva bwe kiri nti Googi ajja kuweebwa “ekifo eky’okumuziikamu” ku nsi, kiraga nti si kitonde kya mwoyo.
7, 8. Ddi “kabaka ow’ebukiikakkono” lw’anaatuuka ku nkomerero ye, era ekyo ekigenda okumutuukako kifaananako kitya n’ekyo ekigenda okutuuka ku Googi ow’e Magoogi?
7 Bwe kiba nti Googi, omulabe ajja okulumba abaweereza ba Katonda, si kitonde kya mwoyo, kati olwo y’ani? Lowooza ku bunnabbi bwa mirundi ebiri mu Bayibuli obutuyamba okutegeera Googi ow’e Magoogi.
8 “Kabaka ow’ebukiikakkono.” (Soma Danyeri 11:40-45.) Danyeri yalaga obufuzi kirimaanyi obwandizze bubaawo okuva mu kiseera kye okutuukira ddala mu kiseera kyaffe. Obunnabbi obwo era bwogera ku bufuzi obwandibadde ku mbiranye, kwe kugamba, “kabaka ow’ebukiikaddyo” ne “kabaka ow’ebukiikakkono,” era ng’ebyasa bwe bizze biyitawo bakabaka abo ababiri bazze bakyukakyuka ng’amawanga agatali gamu galwana okuba ku ntikko. Ng’ayogera ku lulumba olusembayo olujja okukolebwa kabaka ow’ebukiikakkono mu “kiseera eky’enkomerero,” Danyeri agamba nti: “Mu busungu obungi aligenda okuzikiriza n’okusaanyaawo bangi.” Okusingira ddala kabaka ow’ebukiikakkono alumba baweereza ba Yakuwa.c Naye okufaananako Googi ow’e Magoogi, kabaka ow’ebukiikakkono ajja kutuuka “ku nkomerero ye” oluvannyuma lw’okuwangulwa ng’alumbye abantu ba Katonda.
9. Kufaanagana ki okuliwo wakati w’ekyo ekituuka ku Googi ow’e Magoogi n’ekyo ekituuka “bakabaka b’ensi yonna”?
9 “Bakabaka b’ensi yonna.” (Soma Okubikkulirwa 16:14, 16; 17:14; 19:19, 20.) Ekitabo ky’Okubikkulirwa kyogera ku bulumbaganyi “bakabaka b’ensi” bwe bajja okukola ku “Kabaka wa bakabaka” Yesu, ali mu ggulu. Naye olw’okuba bajja kuba tebasobola kutuuka mu ggulu, abalabe abo bajja kulumba abaweereza ba Katonda ku nsi abawagira Obwakabaka bwa Katonda. Naye bakabaka b’ensi bajja kuwangulwa ku lutalo Amagedoni. Weetegereze nti bakabaka abo batuuka ku nkomerero yaabwe oluvannyuma lw’okulumba abantu ba Yakuwa. Ekyo kifaanana n’ekyo ekyogerwa ku Googi ow’e Magoogi.d
10. Kiki kye tuyinza okwogera ku Googi ow’e Magoogi?
10 Okusinziira ku ebyo bye twakalaba, kiki kye tuyinza okwogera ku Googi? Ekisooka, Googi si kitonde kya mwoyo. Eky’okubiri, Googi ge mawanga ku nsi agagenda okulumba abantu ba Katonda mu kiseera ekitali kya wala. Amawanga ago gajja kukola omukago, kwe kugamba, gajja kwegatta wamu. Lwaki? Okuva bwe kiri nti abantu ba Katonda basangibwa mu bitundu byonna eby’ensi, amawanga kijja kugeetaagisa okwegatta awamu okusobola okutuukiriza ekigendererwa kyago eky’okubalumba. (Mat. 24:9) Sitaani y’ajja okuba emabega w’obulumbaganyi obwo. Sitaani amaze ekiseera kiwanvu ng’akozesa amawanga okulwanyisa okusinza okw’amazima. (1 Yok. 5:19; Kub. 12:17) Naye obunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku Googi ow’e Magoogi essira bulissa ku ekyo amawanga agagenda okulumba abantu ba Yakuwa kye gagenda okukola.e
“Ensi” gy’Anaalumba y’Eruwa?
11. Obunnabbi bwa Ezeekyeri bwogera ki ku ‘nsi’ Googi gy’anaalumba?
11 Nga bwe twalabye mu katundu 3, Googi ajja kuleetera obusungu bwa Yakuwa okubuubuuka, bw’anaalumba ensi Yakuwa gy’atwala nga ya muwendo. Nsi ki eyo? Ka tuddemu twekenneenye obunnabbi bwa Ezeekyeri. (Soma Ezeekyeri 38:8-12.) Bugamba nti Googi ‘alirumba ensi y’abantu abaawona ne bakomawo’ era “abakuŋŋaanyiziddwa okuva mu mawanga.” Ate era nga bwogera ku baweereza ba Katonda abazzibwawo, ababeera mu nsi eyo, obunnabbi obwo bugamba nti: “Bali mu mirembe”; babeera mu byalo “ebitaliiko bbugwe wadde enzigi n’ebisiba”; era nti ‘bafuna eby’obugagga.’ Eno ye nsi abantu ba Yakuwa bonna gye balimu. Lwaki tugamba bwe tutyo?
12. Kuzzibwawo ki okwaliwo mu nsi ya Isirayiri ey’edda?
12 Kikulu okwekenneenya okuzzibwawo okwaliwo mu Isirayiri ey’edda, ensi abantu ba Katonda mwe baali babeera, mwe baali bakolera emirimu gyabwe, era mwe baasinziza Katonda okumala ebyasa bingi. Abayisirayiri bwe baafuuka abatali beesigwa, Yakuwa ng’ayitira mu Ezeekyeri, yagamba nti ensi yaabwe yandifuuse matongo. (Ezk. 33:27-29) Naye era Yakuwa yagamba nti wandibaddewo abantu abeenenya abandikomezeddwawo okuva mu buwaŋŋanguse e Babulooni ne bazzaawo okusinza okulongoofu mu nsi eyo. Yakuwa yandiwadde ensi ya Isirayiri omukisa n’eba nnungi, ‘ng’efaanana ng’olusuku Edeni.’ (Ezk. 36:34-36) Okuzzibwawo okwo kwatandika okubaawo mu 537 E.E.T., Abayudaaya bwe baakomawo e Yerusaalemi okuzzaawo okusinza okw’amazima mu nsi yaabwe.
13, 14. (a) Ensi ey’eby’omwoyo y’eruwa? (b) Lwaki ensi eyo ya muwendo eri Yakuwa?
13 Ne mu kiseera kyaffe, abaweereza ba Katonda nabo balabye okuzzibwawo okufaananako n’okwo okwaliwo mu Isirayiri ey’edda. Nga bwe twalaba mu Ssuula 9 ey’ekitabo kino, mu 1919, abantu ba Katonda baggibwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene gye baali bamaze ebbanga eddene. Mu mwaka ogwo Yakuwa yaleeta abantu be mu nsi ey’eby’omwoyo. Ensi eyo lwe lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo, kwe kugamba, embeera ennungi ey’eby’omwoyo mwe tufunira obukuumi era mwe tusinziza Katonda ow’amazima. Mu nsi eyo, tuli bumu era tulina emirembe mu mutima. (Nge. 1:33) Tufuniramu emmere nnyingi ey’eby’omwoyo era tulina bingi eby’okukola mu mulimu ogw’okulangirira Obwakabaka bwa Katonda. Mazima ddala, tulaba obutuufu bw’ebigambo bino: “Omukisa gwa Yakuwa gwe gugaggawaza, era tagugattako bulumi.” (Nge. 10:22) Wonna wonna we tuba tuli ku nsi, tuba tuli mu nsi eyo, kwe kugamba, olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo, kasita tuba nga tuwagira okusinza okulongoofu mu bigambo ne mu bikolwa.
14 Ensi eyo ey’eby’omwoyo ya muwendo nnyo eri Yakuwa. Lwaki? Mu maaso ga Yakuwa abo abali mu nsi eyo batwalibwa nga “ebintu eby’omuwendo eby’amawanga gonna,” abantu Yakuwa b’aleese mu kusinza okulongoofu. (Kag. 2:7; Yok. 6:44) Abantu abo bafuba nnyo okwambala omuntu omuggya, nga booleka engeri za Katonda. (Bef. 4:23, 24; 5:1, 2) Abaweereza ba Katonda abo ab’amazima baweereza Katonda n’obunyiikivu, era bamuweereza mu ngeri emuweesa ekitiibwa era eraga nti bamwagala. (Bar. 12:1, 2; 1 Yok. 5:3) Yakuwa ateekwa okuba ng’asanyuka nnyo okulaba abaweereza be nga bafuba okulungiya ensi eyo ey’eby’omwoyo. Kirowoozeeko: Bw’okulembeza okusinza okulongoofu mu bulamu bwo, olungiya olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo era osanyusa omutima gwa Yakuwa!—Nge. 27:11.
Googi Anaalumba Ddi Ensi Eyo, Lwaki Ajja Kugirumba, era Anaagirumba Atya?
15, 16. Googi ow’e Magoogi anaalumba ddi ensi ey’eby’omwoyo abantu ba Katonda gye balimu?
15 Nga bwe tulabye, amawanga gajja kwegatta wamu galumbe ensi yaffe ey’eby’omwoyo ey’omuwendo. Okuva bwe kiri nti obulumbaganyi obwo bujja kukolebwa ku ffe abantu ba Yakuwa, kikulu okumanya ebisingawo ebibukwatako. N’olwekyo ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo bisatu.
16 Googi ow’e Magoogi anaalumba ddi ensi ey’eby’omwoyo gye tulimu? Obunnabbi bugamba nti Googi ajja kulumba abantu ba Katonda “mu nnaku ezisembayo.” (Ezk. 38:16) Ekyo kiraga nti ajja kubalumba ng’ebula ekiseera kitono enteekateeka y’ebintu eno ezikirizibwe. Kijjukire nti ekibonyoobonyo ekinene kijja kutandika n’okuzikirizibwa kwa Babulooni Ekinene, amadiini gonna ag’obulimba. Oluvannyuma lw’amadiini ag’obulimba okuzikirizibwa naye nga Amagedoni tannatandika, Googi ajja kukola olulumba ssinziggu ku bantu ba Yakuwa.
17, 18. Yakuwa anaakola ki mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene?
17 Lwaki Googi ajja kulumba ensi ey’eby’omwoyo abantu ba Yakuwa mwe bali? Obunnabbi bwa Ezeekyeri bulaga ebintu bibiri: ekisooka, mujja kubaamu omukono gwa Yakuwa, n’eky’okubiri, Googi ajja kwagala okutuukiriza ebigendererwa bye ebibi.
18 Omukono gwa Yakuwa. (Soma Ezeekyeri 38:4, 16.) Weetegereze nti Yakuwa agamba Googi nti: ‘Nditeeka amalobo mu mba zo’ era “ndikuleeta n’olumba ensi yange.” Ebigambo ebyo biraga nti Yakuwa ajja kuwaliriza amawanga okulumba abantu be? Nedda! Yakuwa tayinza kuleetera bantu be bintu bibi. (Yob. 34:12) Naye Yakuwa amanyi bulungi abalabe be. Akimanyi nti bajja kukyawa nnyo abaweereza be era babe nga baagala okukozesa akakisa konna ke bafuna okubasaanyawo. (1 Yok. 3:13) Yakuwa ajja kukakasa nti ebintu bitambula nga bw’ayagala era mu kiseera kyennyini ky’ayagala, bw’atyo abe ng’atadde eddobo mu mba za Googi okumuleeta okulumba ensi ye. Nga Babulooni Ekinene kimaze okuzikirizibwa, kirabika Yakuwa ajja kuteekawo embeera ejja okuleetera amawanga okukola ekyo ekiri mu mitima gyago. Amawanga gajja kulumba abantu be, ekyo kiviireko olutalo Amagedoni olutabangawo ku nsi. Yakuwa ajja kuwonyawo abantu be, agulumize obufuzi bwe, era atukuze erinnya lye.—Ezk. 38:23.
Amawanga gajja kwagala okunyaga okusinza okulongoofu olw’okuba tegakwagalira ddala awamu n’abo abakwenyigiramu
19. Kiki ekijja okuleetera Googi okugezaako okunyaga okusinza okulongoofu?
19 Ebigendererwa bya Googi ebibi. Amawanga gajja kukola “olukwe.” Gajja kwagala okumalira obusungu bwago ku baweereza ba Yakuwa be gamaze ekiseera ekiwanvu nga tegabaagala. Abaweereza ba Katonda bajja kulabika ng’abatalina bukuumi bwonna, nga bali ng’abali “mu byalo ebitaliiko bbugwe wadde enzigi n’ebisiba.” Ate era amawanga gajja kwagala okufuna “omunyago mungi” ku abo ‘abafuna eby’obugagga.’ (Ezk. 38:10-12) ‘Bya bugagga’ ki ebyo? Abaweereza ba Yakuwa tulina eby’obugagga bingi eby’omwoyo, era ng’eky’obugagga kyaffe ekisingayo okuba eky’omuwendo kwe kusinza okulongoofu kwe tuwa Yakuwa yekka. Amawanga gajja kwagala okunyaga okusinza okulongoofu, si lwa kuba nti gakutwala nga kwa muwendo, wabula lwa kuba nti tegakwagalira ddala era tegaagala n’abo abakwenyigiramu.
20. Googi anaalumba atya ensi ey’eby’omwoyo oba olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo?
20 Googi anaalumba atya ensi ey’eby’omwoyo oba olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo? Amawanga gayinza okugezaako okutaataaganya engeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe n’okutulemesa okusinza Yakuwa. Oboolyawo gajja kugezaako okutulemesa okufuna emmere ey’eby’omwoyo, okukuŋŋaana awamu, okulangirira n’obunyiikivu obubaka bwa Yakuwa, n’okumalawo obumu bwe tulina. Ebintu ebyo byonna bye bimu ku ebyo ebikola olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo lwe tulimu. Sitaani ajja kuleetera amawanga okugezaako okusaanyaawo abaweereza ba Yakuwa awamu n’okusinza okulongoofu ku nsi.
21. Lwaki osaanidde okusiima Yakuwa olw’okutumanyisa nga bukyali ebintu ebinaatera okubaawo
21 Obulumbaganyi Googi bw’anaakola bujja kukwata ku baweereza ba Katonda bonna abali mu nsi ey’eby’omwoyo. Nga tuli basanyufu okuba nti Yakuwa atutegeezezza nga bukyali ebintu ebyo ebinaatera okubaawo! Nga bwe tulindirira ekibonyoobonyo ekinene, ka tube bamalirivu okweyongera okuwagira okusinza okulongoofu, nga tukukulembeza mu bulamu bwaffe. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kwongera okulungiya ensi ey’eby’omwoyo gye tulimu. Ate era tujja kusobola okulaba ekintu eky’ekitalo ekinaatera okubaawo. Tujja kulaba engeri Yakuwa gy’ajja okulwaniriramu abantu be n’erinnya lye ettukuvu ku Amagedoni ng’essuula eddako bw’eraga.
a Mu ssuula eddako ey’ekitabo kino, tujja kulaba engeri obusungu bwa Yakuwa gye bujja okubuubuukiramu Googi ow’e Magoogi na ddi lwe bujja okubuubuuka. Era tujja kulaba engeri ekyo gye kijja okukwata ku baweereza ba Yakuwa.
b Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Maayi 15, 2015, lup. 29-30.
c Danyeri 11:45 walaga nti kabaka ow’ebukiikakkono ajja kulumba abantu ba Katonda, kubanga wagamba nti kabaka oyo “alisimba weema ez’obwakabaka bwe wakati w’ennyanja ennene [Meditereniyani] n’olusozi olutukuvu olw’Ekitiibwa [edda olwaliko yeekaalu ya Katonda abantu ba Katonda mwe baasinzizanga].”
d Bayibuli era eyogera ku bulumbaganyi “Omwasuli” ow’omu kiseera kino bw’ajja okukola ng’ayagala okusaanyaawo abantu ba Katonda. (Mi. 5:5) Bayibuli bw’eyogera ku bulumbaganyi obuna obugenda okukolebwa ku bantu ba Katonda, kwe kugamba, obulumbaganyi bwa Googi ow’e Magoogi, obwa kabaka ow’ebukiikakkono, obwa bakabaka b’ensi, n’obw’Omwasuli, eyinza okuba ng’eyogera ku bulumbaganyi bwe bumu naye ng’ekozesa amannya ga njawulo.
e Okusobola okumanya “Googi ne Magoogi” aboogerwako mu Okubikkulirwa 20:7-9, laba Essuula 22 ey’ekitabo kino.